Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obugolokofu

Obugolokofu

Obugolokofu kye ki?

Zb 18:​23-25; 26:​1, 2; 101:​2-7; 119:​1-3, 80

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lev 22:​17-22​—Yakuwa ayagala abantu be baweeyo ssaddaaka z’ensolo “ennamu obulungi,” oba ezitaliiko bulemu. Ekigambo “ennamu obulungi” kirina akakwate n’ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “obugolokofu,” ekiraga nti obugolokofu buzingiramu okwemalira ku Yakuwa oba okumuweereza n’omutima gwaffe gwonna

    • Yob 1:​1, 4, 5, 8; 2:3​—Ebyaliwo mu bulamu bwa Yobu biraga nti omuntu okuba omugolokofu, alina okuba ng’assaamu nnyo Yakuwa ekitiibwa, ng’asinza ye yekka, era nga yeewala okukola ebintu ebibi mu maaso ge

Lwaki kikulu okuba abagolokofu?

Kiki ekitukubiriza okukuuma obugolokofu?

Tuyinza tutya okukuuma obugolokofu?

Yos 24:​14, 15; Zb 101:​2-4

Laba ne Ma 5:29; Is 48:​17, 18

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Yob 31:​1-11, 16-33​—Mu bulamu bwe, Yobu asigala mwesigwa eri Yakuwa nga yeewala obugwenyufu, ng’ayisa abalala mu ngeri ey’ekisa, era ng’abawa ekitiibwa. Asinza Yakuwa yekka so si bifaananyi, era enkolagana ye ne Yakuwa agitwala nga nkulu nnyo okusinga eby’obugagga

    • Dan 1:​6-21​—Wadde nga Danyeri ne banne abasatu bali mu bantu abatasinza Yakuwa, bagondera etteeka lya Katonda erikwata ku by’okulya

Omuntu bw’akola ensobi ez’amaanyi, asobola okuddamu okuba omwesigwa eri Katonda?

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Sk 9:​2-5; Zb 78:​70-72​—Olw’okuba Kabaka Dawudi yeenenya ebibi bye, Yakuwa asigala amutwala ng’omuntu omugolokofu

    • Is 1:​11-18​—Wadde nga Yakuwa agamba nti abantu be bannanfuusi era boonoonyi, asuubiza okubasonyiwa bwe beenenya mu bwesimbu era ne bakyusa amakubo gaabwe