Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obugumiikiriza

Obugumiikiriza

Yakuwa ayolese atya obugumiikiriza?

Bar 2:4; 9:22

Laba ne Nek 9:30

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Yer 7:​23-25​—Yakuwa alaga engeri gy’agumiikirizzaamu abantu be abajeemu

    • 2Pe 3:​3-9, 15​—Omutume Peetero alaga ensonga lwaki Yakuwa mugumiikiriza era n’engeri gy’ayoleseemu obugumiikiriza, ate era agamba nti obugumiikiriza bwa Yakuwa bujja kutuuka ekiseera bukome

Abaweereza ba Yakuwa kibeetaagisa okugumiikiriza?

Lwaki tusaanidde okuyiga okuba abagumiikiriza?

Nge 25:15; Bef 4:​1-3; 2Ti 2:​24, 25; 4:2

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lub 39:​19-21; 40:​14, 15, 23; 41:​1, 9-14​—Wadde nga Yusufu atundibwa mu buddu e Misiri era n’asibibwa mu kkomera okumala emyaka mingi olw’emisango gy’atazza, agumiikiriza era asigala nga mwesigwa eri Katonda

    • Beb 6:​10-15​—Omutume Pawulo akozesa ekyokulabirako kya Ibulayimu okuyigiriza Abakristaayo nti kikulu okugumiikiriza

Lwaki twandisuubidde abantu abamu obutawuliriza bubaka bwaffe oba n’okugezaako okutulemesa okubuulira?

Mat 10:22; Yok 15:​18, 19; 2Ko 6:​4, 5

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 2Pe 2:5; Lub 7:23; Mat 24:​37-39​—Wadde nga Nuuwa ‘mubuulizi wa butuukirivu,’ abantu abasinga obungi tebamuwuliriza, era ye n’ab’omu maka ge bokka be bawonawo mu Mataba

    • 2Ti 3:​10-14​—Omutume Pawulo ayogera ku ngeri gye yagumiikirizaamu okubonaabona okumala ekiseera kiwanvu, era akubiriza ne Timoseewo okugumiikiriza

Lwaki tekyanditwewuunyisizza ab’eŋŋanda zaffe bwe bagezaako okutulemesa okuweereza Yakuwa?

Mat 10:​22, 36-38; Luk 21:​16-19

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lub 4:​3-11; 1Yo 3:​11, 12​—Kayini atta muganda we olw’okuba ebikolwa bya Kayini bibi, ate ng’ebya muganda we, Abbeeri, bya butuukirivu

    • Lub 37:​5-8, 18-28​—Baganda ba Yusufu bamusuula mu kinnya era oluvannyuma ne bamutunda mu buddu olw’okubabuulira ekirooto kye yaloota

Bwe tuyigganyizibwa, lwaki tetusaanidde kutya kufa?

Mat 10:28; 2Ti 4:​6, 7

Laba ne Kub 2:10

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Dan 3:​1-6, 13-18​—Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego bagaana okusinza ekifaananyi wadde nga kabaka agambye nti ekyo kijja kubaviirako okuttibwa

    • Bik 5:​27-29, 33, 40-42​—Abatume beeyongera okubuulira wadde nga waliwo ababeewerera okubatta

Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa ne bwe tuba nga tukangavvuddwa?

Nge 3:​11, 12; Beb 12:​5-7

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

Obutali bwesigwa bw’abalala buyinza butya okukifuula ekizibu gye tuli okugumiikiriza?

Yer 1:​16-19; Kab 1:​2-4

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Zb 73:​2-24​—Oluvannyuma lw’okulowooza ku mirembe n’obugagga abantu ababi bye balina, omuwandiisi wa Zabbuli yeebuuza obanga kya makulu okweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa

    • Yok 6:​60-62, 66-68​—Wadde nga bangi balekera awo okuba abagoberezi ba Yesu, okukkiriza Peetero kw’alina kumuyamba okunywerera ku Yesu

Kiki ekinaatuyamba okugumiikiriza?

Okunywerera ku Yakuwa

Okusoma Bayibuli n’okugifumiitirizaako

Okusaba Yakuwa obutayosa ne tumubuulira ebituli ku mutima

Bar 12:12; Bak 4:2; 1Pe 4:7

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Dan 6:​4-11​—Nnabbi Danyeri yeeyongera okusaba wadde ng’ekyo kissa obulamu bwe mu kabi

    • Mat 26:​36-46; Beb 5:7​—Mu kiro ekisembayo amale attibwe, Yesu asaba nnyo era akubiriza abalala okukola kye kimu

Okukuŋŋaana awamu ne bakkiriza bannaffe okusinza

Okussa ebirowoozo byaffe ku bintu Yakuwa by’atusuubiza

Okwongera okunyweza okwagala kwe tulina eri Yakuwa, eri bakkiriza bannaffe, n’eri ebintu eby’obutuukirivu

Okunyweza okukkiriza kwaffe

Okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku kubonaabona

Egimu ku miganyulo egiva mu kugumiikiriza gye giruwa?

Tuleetera Yakuwa ettendo

Nge 27:11; Yok 15:​7, 8; 1Pe 1:​6, 7

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Yob 1:​6-12; 2:​3-5​—Sitaani agamba Yakuwa nti Yobu amuweereza olw’okuba amuwa emikisa; Yobu asigala nga mwesigwa ng’ageseddwa n’akiraga nti Sitaani mulimba

    • Bar 5:19; 1Pe 1:​20, 21​—Yesu bwe yagumiikiriza n’asigala nga mwesigwa okutuukira ddala ku nkomerero, yaddamu ekibuuzo kino ekikulu: Omuntu atuukiridde asobola okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa bw’aba ng’ageseddwa ku kigero ekisingayo?

Tuyamba abalala nabo okugumiikiriza

Okugumiikiriza kutuyamba okufuna emikisa mu buweereza bwaffe

Yakuwa atusiima era ajja kutuwa empeera