Obulumi Bwe Tufuna olw’Okufiirwa
Byakulabirako ki mu Bayibuli ebiraga nti si kikyamu okukaaba ng’ofiiriddwa omuntu wo?
Kiki ekiraga nti Yakuwa ayagala nnyo okubudaabuda abo ababa bafiiriddwa abantu baabwe?
Okumanya embeera abafu gye balimu kitubudaabuda kitya?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Luk 20:37, 38—Yesu alaga nti okuzuukira kwa ddala ne kiba nti mu maaso ga Yakuwa abafu balinga abalamu
-
Yok 11:5, 6, 11-14—Lazaalo bw’afa, Yesu ageraageranya okufa ku kwebaka
-
Beb 2:14, 15—Omutume Pawulo alaga nti tetusaanidde kuba mu buddu bw’okutya okufa
-
Lwaki Bayibuli egamba nti olunaku omuntu lw’afiirako lusinga olwo lw’azaalirwako?
Bayibuli eyogera ki ku kufa, era kiki Katonda ky’ajja okukolera okufa?
Lwaki tuli bakakafu nti wajja kubaawo okuzuukira?
Is 26:19; Yok 5:28, 29; Bik 24:15
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Bayibuli eyogera ku bantu mwenda abaazuukizibwa era nga munaana ku bo baazuukira ne babeera wano ku nsi. Buli kumu ku kuzuukira okwo kuzzaamu amaanyi abo ababa bafiiriddwa abantu baabwe era kubawa essuubi
-
1Sk 17:17-24—Nnabbi Eriya azuukiza omwana wa nnamwandu w’e Zalefaasi, akabuga ak’omu Sidoni
-
2Sk 4:32-37—Nnabbi Erisa azuukiza omwana mu kabuga k’e Sunemu n’amuwa bazadde be
-
2Sk 13:20, 21—Omusajja azuukira nga basudde omulambo gwe ku magumba ga nnabbi Erisa
-
Luk 7:11-15—Yesu ayimiriza abantu abava mu kibuga ky’e Nayini, n’azuukiza omwana wa nnamwandu gwe babadde bagenda okuziika
-
Luk 8:41, 42, 49-56—Yesu azuukiza muwala wa Yayiro, omukulu w’ekkuŋŋaaniro
-
Yok 11:38-44—Yesu azuukiza mukwano gwe Lazaalo, n’addamu okubeera ne bannyina, Maliza ne Maliyamu
-
Bik 9:36-42—Omutume Peetero azuukiza Doluka, Omukristaayo ayagalibwa ennyo olw’ebikolwa bye eby’ekisa
-
Bik 20:7-12—Omutume Pawulo azuukiza omuvubuka ayitibwa Yutuko, oluvannyuma lw’okuwanuka mu ddirisa n’agwa n’afa
-
-
Yesu Kristo azuukizibwa ng’ekitonde eky’omwoyo ekitafa, ekitukakasa nti ebisuubizo bya Yakuwa byonna ebikwata ku biseera eby’omu maaso bijja kutuukirira
-
Yesu y’asooka okuzuukira n’agenda mu ggulu era n’aweebwa obulamu obutayinza kuzikirizibwa naye si y’asembayo; abagoberezi be abaafukibwako amafuta 144,000 nabo bazuukizibwa mu ngeri y’emu
-
Tuyinza tutya okuyamba ababa mu nnaku olw’okufiirwa omuntu waabwe?