Obutuukirivu
Ani yekka alina obuyinza okuteekawo omutindo ogukwata ku kituufu?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 18:23-33—Ibulayimu ayambibwa okukitegeera nti Yakuwa Mulamuzi mutuukirivu
-
Zb 72:1-4, 12-14—Omuwandiisi wa zabbuli atendereza Kabaka Masiya, oyo ayoleka obutuukirivu bwa Yakuwa mu ngeri etuukiridde
-
Tuganyulwa tutya bwe tukolera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu?
Zb 37:25, 29; Yak 5:16; 1Pe 3:12
Laba ne Zb 35:24; Is 26:9; Bar 1:17
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Yob 37:22-24—Eriku atendereza obutuukirivu bwa Yakuwa, Oyo atenderezebwa abaweereza be olw’ekitiibwa kye ekingi
-
Zb 89:13-17—Omuwandiisi wa zabbuli atendereza Yakuwa olw’okuba bulijjo afuga mu butuukirivu
-
Kitegeeza ki okunoonya obutuukirivu bwa Katonda?
Ezk 18:25-31; Mat 6:33; Bar 12:1, 2; Bef 4:23, 24
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 6:9, 22; 7:1—Nuuwa akiraga nti mutuukirivu ng’akola byonna Yakuwa by’amulagira
-
Bar 4:1-3, 9—Yakuwa atwala Ibulayimu okuba omutuukirivu olw’okuba ayoleka okukkiriza okw’amaanyi
-
Lwaki obutuukirivu bwaffe bulina kwesigama ku kwagala Yakuwa so si ku kwagala kulabibwa bantu?
Mat 6:1; 23:27, 28; Luk 16:14, 15; Bar 10:10
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Mat 5:20; 15:7-9—Yesu agamba abantu okuba abatuukirivu, naye ng’obutuukirivu bwabwe tebwesigama ku mitindo gya Bafalisaayo n’Abawandiisi bannanfuusi
-
Luk 18:9-14—Yesu agera olugero okutereeza endowooza y’abo abeetwala okuba abatuukirivu naye nga banyooma abalala
-
Lwaki obulungi businga obutuukirivu?
Lwaki tusaanidde okwewala okweteerawo emitindo egyaffe ku bwaffe egy’obutuukirivu n’okwetwala nti tuli batuukirivu okusinga abalala?