Obwetoowaze
Yakuwa atwala atya abantu abeetoowaze n’ab’amalala?
Zb 138:6; Nge 15:25; 16:18, 19; 22:4; 1Pe 5:5
Laba ne Nge 29:23; Is 2:11, 12
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
2By 26:3-5, 16-21—Kabaka Uzziya afuna amalala; amenya etteeka lya Katonda era anyiiga nga bamuwabudde; Yakuwa amukuba ebigenge
-
Luk 18:9-14—Yesu akozesa ekyokulabirako okulaga engeri Yakuwa gy’atwalamu essaala z’abantu ab’amalala n’ez’abeetoowaze
-
Yakuwa atwala atya omuntu eyeetoowaza ne yeenenya mu bwesimbu?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
2By 12:5-7—Kabaka Lekobowaamu n’abaami ba Yuda beetoowaza mu maaso ga Yakuwa, era Yakuwa tabazikiriza
-
2By 32:24-26—Kabaka Keezeekiya afuna amalala, naye bwe yeetoowaza Yakuwa amusonyiwa
-
Okuba abeetoowaze kituyamba kitya okukolagana obulungi n’abalala?
Bef 4:1, 2; Baf 2:3; Bak 3:12, 13
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 33:3, 4—Yakobo yeetoowaza bw’asisinkana muganda we Esawu, era ekyo kizzaawo emirembe wakati waabwe
-
Bal 8:1-3—Omulamuzi Gidiyoni yeetoowaza n’agamba abasajja b’omu Efulayimu nti bamusinga, ekyo kibakkakkanya era tebamulwanyisa
-
Yesu Kristo yakiraga atya nti kikulu nnyo okuba abeetoowaze?
Mat 18:1-5; 23:11, 12; Mak 10:41-45
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Is 53:7; Baf 2:7, 8—Nga bwe kyalagulwa, Yesu yayoleka obwetoowaze n’ajja ku nsi era n’attibwa mu ngeri ey’obuswavu era ey’obulumi
-
Luk 14:7-11—Yesu agera olugero olukwata ku kutuula mu bifo eby’oku mwanjo ku mbaga okulaga nti kikulu okuba abeetoowaze
-
Yok 13:3-17—Yesu ateerawo abagoberezi be ekyokulabirako eky’obwetoowaze ng’anaaza abatume be ebigere
-
Okwetunuulira mu ngeri entuufu n’okutunuulira abalala mu ngeri entuufu kituyamba kitya okuba abeetoowaze?
Lwaki si kirungi okwefuula abeetoowaze?