Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okubudaabuda

Okubudaabuda

Okubudaabuda kwe tufuna okuva mu Bayibuli nga tuweddemu amaanyi

Okweraliikirira

Laba “Okweraliikirira

Okunakuwala; okunyiiga

Abamu banakuwala olw’okufuna ekizibu eky’amaanyi oba ebizibu eby’okumukumu

Mub 9:​11, 12

Laba ne Zb 142:4; Mub 4:1; 7:7

Abamu baggweebwako essanyu olw’enneeyisa y’abalala embi

Mub 4:​1, 2

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Sa 1:​6, 7, 10, 13-16​—Kaana anakuwala nnyo olwa Penina okumuyisa obubi n’olwa Eli, Kabona Asinga Obukulu, okumulowooleza ky’atali

    • Yob 8:​3-6; 16:​1-5; 19:​2, 3​—Mikwano gya Yobu abasatu beetwala okuba abatuukirivu era bamusalira omusango, ekiviirako Yobu okweyongera okunakuwala

  • Ebyawandiikibwa ebizzaamu amaanyi:

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli ebisobola okukuzzaamu amaanyi:

    • 1Sa 1:​9-11, 18​—Kaana bw’amala okweyabiza Yakuwa, awulira obuweerero

    • Yob 42:​7, 8, 10, 17​—Yobu bw’amala okusonyiwa mikwano gye, Yakuwa amuwonya obulwadde era amusobozesa okuddamu okuba omusanyufu

Okulumirizibwa omutima

Ezr 9:6; Zb 38:​3, 4, 8; 40:12

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 2Sk 22:​8-13; 23:​1-3​—Kabaka Yosiya n’abantu b’afuga bakitegeera nti baliko omusango omunene mu maaso ga Yakuwa oluvannyuma lw’okuwulira Amateeka ga Musa nga gasomebwa

    • Ezr 9:​10-15; 10:​1-4​—Ezera n’abantu banakuwala nnyo olw’okuba abamu ku bo baamenya etteeka lya Yakuwa ne bawasa abakazi abagwira

    • Luk 22:​54-62​—Omutume Peetero anakuwala nnyo oluvannyuma lw’okwegaana Yesu emirundi esatu

  • Ebyawandiikibwa ebizzaamu amaanyi:

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli ebisobola okukuzzaamu amaanyi:

    • 2By 33:​9-13, 15, 16​—Manase y’omu ku bakabaka ba Yuda abasingayo okuba ababi, kyokka yeenenya era Yakuwa n’amusonyiwa

    • Luk 15:​11-32​—Yesu agera olugero lw’omwana eyazaawa okulaga nti Yakuwa mwetegefu okusonyiwa abantu

Okuggwaamu amaanyi ng’abalala bakoze ebintu ebitulumya, nga tebakoze kye tubasuubiramu, oba nga batuliddemu olukwe

Okuggwaamu amaanyi olw’obunafu bwaffe oba olw’ensobi ze tukola

Okubuusabuusa obanga tuli ba mugaso

Laba “Okubuusabuusa

Tuyinza okuwulira nti tetusobola kugonjoola kizibu oba kutuukiriza buvunaanyizibwa bwaffe

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Kuv 3:11; 4:10​—Nnabbi Musa awulira nti tasobola kugenda kwogera na Falaawo oba okukulemberamu abantu ba Katonda okuva e Misiri

    • Yer 1:​4-6​—Yeremiya awulira nti akyali muto era nti tasobola kulangirira bubaka bwa Yakuwa mu bantu abataagala kuwuliriza

  • Ebyawandiikibwa ebizzaamu amaanyi:

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli ebisobola okukuzzaamu amaanyi:

    • Kuv 3:12; 4:​11, 12​—Yakuwa akakasa nnabbi Musa enfunda n’enfunda nti ajja kumuyamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’amuwadde

    • Yer 1:​7-10​—Yakuwa agamba Yeremiya nti tasaanidde kutya kubanga ajja kumuyamba okwaŋŋanga buli mbeera gy’anaayolekagana nayo

Obuggya; ensaalwa

Laba “Obuggya

Okulemererwa okukola ebintu ebimu olw’obulwadde oba olw’okukaddiwa

Zb 71:​9, 18; Mub 12:​1-7

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 2Sk 20:​1-3​—Kabaka Keezeekiya akaaba nnyo olw’okuba mulwadde nnyo era anaatera okufa

    • Baf 2:​25-30​—Epafulodito mwennyamivu olw’okuba ekibiina kyawulira nti yalwala nnyo era mweraliikirivu olw’okuba alowooza nti ab’oluganda bakitwala nti yalemererwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe

  • Ebyawandiikibwa ebizzaamu amaanyi:

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli ebisobola okukuzzaamu amaanyi:

    • 2Sa 17:​27-29; 19:​31-38​—Baluziraayi assibwamu nnyo ekitiibwa, naye mu bwetoowaze agaana okukkiriza obuvunaanyizibwa obumuweereddwa olw’okuba akiraba nti akaddiye nnyo

    • Zb 41:​1-3, 12​—Wadde nga Kabaka Dawudi ayinza okuba mulwadde nnyo, mukakafu nti Yakuwa ajja kumuyamba

    • Mak 12:​41-44​—Yesu atendereza nnamwandu omwavu olw’okuba awaddeyo kyonna ky’alina

Okuwulira obulumi okumala ekiseera kiwanvu olw’okuyisibwa obubi

Laba “Okuyisibwa Obubi

Okutya ennyo; okukubwa enkyukwe

Laba “Okutya

Okuyigganyibwa

Laba “Okuyigganyibwa