Okuggwaamu amaanyi
Lwaki okuggwaamu amaanyi kya bulabe eri abaweereza ba Yakuwa?
Lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba okulwanyisa ebitumalamu amaanyi?
Zb 23:1-6; 113:6-8; Is 40:11; 41:10, 13; 2Ko 1:3, 4
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
Mat 11:28-30—Yesu, ayolekera ddala engeri za Kitaawe, wa kisa era azzaamu abalala amaanyi
Mat 12:15-21—Yesu Kristo atuukiriza obunnabbi obuli mu Isaaya 42:1-4, ng’alaga ekisa abo abaweddemu amaanyi
Ebyawandiikibwa okuva mu Bayibuli ebisobola okuyamba abo abaweddemu amaanyi
Laba “Okubudaabuda”
Lwaki tusaanidde okufuba okuzzaamu abalala amaanyi?
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
Kbl 32:6-15—Abakessi ekkumi abatalina kukkiriza bamalamu Abayisirayiri amaanyi, era eggwanga lifuna ebizibu eby’amaanyi
2By 15:1-8—Obubaka okuva eri Yakuwa buyamba Kabaka Asa okufuna obuvumu n’aggyawo okusinza ebifaananyi mu nsi ya Yuda