Okugoba Omuntu mu Kibiina
Lwaki abakadde basaanidde okufuba ennyo okukuuma ekibiina nga kiyonjo?
Enneeyisa embi ey’Omukristaayo omu eyinza kukola ki ku kibiina kyonna?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Yos 7:1, 4-14, 20-26—Ekibi Akani kye yakola, era nga kirabika yawagirwa ab’omu maka ge, kireetera eggwanga lyonna emitawaana
-
Yon 1:1-16—Olw’okuba Yona yajeemera Yakuwa, abalunnyanja abali naye mu kyombo bawonera watono okufa
-
Mpisa za kika ki ezitakkirizibwa mu kibiina Ekikristaayo?
Kiki ekirina okukolebwa singa Omukristaayo omubatize yeeyongera okukola ekibi eky’amaanyi?
Abakadde bwe baba batudde mu kakiiko akalamuzi, biki bye balina okumanya nga tebannasalawo?
Laba ne Nge 18:13; 1Ti 5:21
Abakadde bakakasa batya nti omuntu yakoze ekibi eky’amaanyi era nti akakiiko akalamuzi kalina okussibwawo?
Lwaki oluusi kyetaagisa abamu okugobebwa mu kibiina oba okukangavvulwa, era ekibiina kiganyulwa kitya?
Bayibuli eraga nti tusaanidde kuyisa tutya abo ababa bagobeddwa mu kibiina?
Omuntu agobeddwa mu kibiina bwe yeenenya, asobola okukomezebwawo?
Laba ne “Okwenenya”
Ffenna tuyinza tutya okukuuma ekibiina nga kiyonjo?
Laba ne Ma 13:6-11
Lwaki kiba kikyamu Omukristaayo akoze ekibi eky’amaanyi okukweka ekibi ekyo, oboolyawo olw’okutya okugobebwa mu kibiina?
Lwaki mu mbeera ezimu kiba kya magezi obutakolagana nnyo na muntu ne bw’aba nga tagobeddwa mu kibiina?
Omukristaayo bw’ayogerwako eby’obulimba oba bw’akumpanyizibwa, kiki ky’ayinza okusalawo okukola era lwaki?
Lwaki Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo basaanidde okubuulirira abo abateeyisa mu ngeri y’amagezi?