Okukkiriza
Tumanya tutya nti okukkiriza Yakuwa akutwala nga kwa muwendo nnyo?
Yok 3:16, 18; Bag 3:8, 9, 11; Bef 6:16; Beb 11:6
Laba ne 2Ko 5:7
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Beb 11:1–12:3—Omutume Pawulo annyonnyola amakulu g’okukkiriza, era ayogera ku bantu bangi abaayoleka okukkiriza ng’atandikira ku Abbeeri n’akomekkereza ne Yesu
-
Yak 2:18-24—Yakobo akozesa eky’okulabirako kya Ibulayimu okukiraga nti okukkiriza kulina okubaako ebikolwa
-
Kiki ekinaatuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe?
Bar 10:9, 10, 17; 1Ko 16:13; Yak 2:17
Laba ne Beb 3:12-14
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
2By 20:1-6, 12, 13, 20-23—Abantu ba Katonda bwe boolekagana n’akabi ak’amaanyi, Kabaka Yekosafaati abagamba nti okusobola okuwona akabi ako balina okwesiga Yakuwa ne bannabbi be
-
1Sk 18:41-46—Nnabbi Eriya ayoleka okukkiriza ng’alindirira Yakuwa n’obugumiikiriza okukomya ekyeya ekimaze ekiseera ekiwanvu
-