Okukola Emirimu
Kakwate ki akaliwo wakati w’okukola emirimu n’essanyu?
Egimu ku miganyulo egiva mu kukola obulungi emirimu gye giruwa?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1Sa 16:16-23—Dawudi amanyiddwa ng’omukubi w’ebivuga omukugu, era bw’abikuba, kabaka wa Isirayiri afuna obuweerero
-
2By 2:13, 14—Olw’okuba Kiramu-abi mukozi mukugu, Kabaka Sulemaani amukozesa mu mulimu gw’okuzimba
-
Abaweereza ba Yakuwa baagala kumanyibwa nga bakozi ba ngeri ki?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 24:10-21—Lebbeeka mukozi munyiikivu, era akola ekisinga ku ekyo omuweereza wa Ibulayimu ky’amusabye
-
Baf 2:19-23—Omutume Pawulo awa Timoseewo akyali omuto obuvunaanyizibwa obw’amaanyi olw’okuba Timoseewo mwetoowaze era mukozi munyiikivu
-
Lwaki abaweereza ba Katonda tebalina kuba bagayaavu?
Nge 13:4; 18:9; 21:25, 26; Mub 10:18
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Nge 6:6-11—Kabaka Sulemaani akozesa ekyokulabirako ky’enkuyege okutulaga nti tetulina kuba bagayaavu
-
Lwaki tusaanidde okukola ennyo okusobola okwetuusaako ebyetaago byaffe?
Lwaki tusaanidde okukola n’obunyiikivu okusobola okulabirira ab’omu maka gaffe?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lus 1:16, 17; 2:2, 3, 6, 7, 17, 18—Luusi, nnamwandu omuto, akola emirimu n’obunyiikivu okulabirira nnazaala we Nawomi
-
Mat 15:4-9—Yesu anenya abo abalagajjalira obuvunaanyizibwa obw’okulabirira bazadde baabwe nga beekwasa nti baweereza Katonda
-
Lwaki kikulu okugabirako abalala ku ebyo bye tufuna olw’okukola n’obunyiikivu?
Ndowooza ki etagudde lubege gye tusaanidde okuba nayo ku ssente ze tufuna mu mirimu gye tukola?
Tumanya tutya nti Yakuwa mwetegefu okutuyamba nga tufuba okwetuusaako ebyetaago byaffe eby’omubiri?
Mat 6:25, 30-32; Luk 11:2, 3; 2Ko 9:10
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 31:3-13—Labbaani ayisa bubi omukozi we Yakobo, naye Yakuwa awa Yakobo emikisa olw’okuba mukozi munyiikivu
-
Lub 39:1-6, 20-23—Yakuwa awa emirimu gya Yusufu omukisa nga Yusufu aweereza ng’omuddu mu nnyumba ya Potifaali, era n’oluvannyuma ng’ali mu kkomera
-
Lwaki emirimu gyaffe tetulina kugitwala nga mikulu okusinga okuweereza Katonda?
Zb 39:5-7; Mat 6:33; Yok 6:27
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Luk 12:15-21—Yesu agera olugero olulaga nti kya busirusiru okukitwala nti ebintu bikulu nnyo okusinga okuweereza Katonda
-
1Ti 6:17-19—Omutume Pawulo alabula Abakristaayo abagagga obuteetwala nti ba waggulu ku balala, naye abakubiriza ‘okuba abagagga mu bikolwa ebirungi’
-
Misingi ki eginaatuyamba okusalawo obulungi emirimu gye tunaakola?
-
Kuv 20:4; Bik 15:29; Bef 4:28; Kub 21:8—Omulimu guno gunandeetera okukola ekintu kyonna Yakuwa ky’atayagala?
-
Kuv 21:22-24; Is 2:4; 1Ko 6:9, 10; 2Ko 7:1—Omulimu guno guwagira ebintu Yakuwa by’atayagala, ekiyinza okunviirako okulumizibwa omuntu wange ow’omunda?
-
Bar 13:1-7; Tit 3:1, 2—Omulimu guno gunandeetera okumenya amateeka ga gavumenti?
-
2Ko 6:14-16; Kub 18:2, 4—Omulimu guno gunandeetera okuwagira oba okwenyigira mu kusinza okw’obulimba?
Okukolera Yakuwa
Mulimu ki ogusinga obukulu Abakristaayo gwe bakola?
Lwaki tufuba okukola ekisingayo obulungi nga tuweereza Yakuwa?
Lwaki tetusaanidde kusuubira baweereza ba Yakuwa bonna kukola kye kimu mu buweereza bwabwe?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Mat 25:14, 15—Yesu agera olugero olulaga nti tasuubira bagoberezi be bonna kukola kye kimu nga baweereza Katonda
-
Luk 21:2-4—Yesu asiima nnyo ekitono nnamwandu omwavu ky’asobodde okuwaayo
-
Amaanyi ge twetaaga okukola ebyo Yakuwa by’ayagala, tugaggya wa?
2Ko 4:7; Bef 3:20, 21; Baf 4:13
-
Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
2Ti 4:17—Omutume Pawulo agamba nti buli lwe yabanga yeetaaga amaanyi okukola Yakuwa by’ayagala, yagafunanga
-
Lwaki okukola ennyo nga tuweereza Yakuwa kireeta essanyu lingi?
Laba ne Mat 25:23