Okusalawo
Tuyinza tutya okuteekateeka ebirowoozo byaffe n’emitima gyaffe okusalawo obulungi?
Lwaki tetusaanidde kwanguyiriza kusalawo naddala ku bintu ebikulu?
Lwaki tusaanidde okwewala okwesiga emitima gyaffe egitatuukiridde nga tulina bye tusalawo?
Laba ne Kbl 15:39; Nge 14:12; Mub 11:9, 10
-
Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
2By 35:20-24—Kabaka Yosiya omulungi takkiriza bye bamugambye ebiva eri Yakuwa n’agenda okulwanyisa Falaawo Neeko
-
Lwaki tusaanidde okusaba Yakuwa nga tulina ebintu ebikulu bye tugenda okusalawo?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Luk 6:12-16—Ng’agenda okulonda abatume be 12, Yesu amala ekiro kiramba ng’asaba
-
2Sk 19:10-20, 35—Kabaka Keezeekiya bw’alumbibwa omulabe ow’amaanyi ennyo asaba Yakuwa okumuyamba, era Yakuwa amuyamba
-
Ani ayinza okutuwa obulagirizi obusingayo obulungi nga tuliko bye twagala okusalawo, era atuyamba atya?
Zb 119:105; Nge 3:5, 6; 2Ti 3:16, 17
Laba ne Zb 19:7; Nge 6:23; Is 51:4
-
Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Bik 15:13-18—Akakiiko akafuzi mu Yerusaalemi bwe kabaako ekintu ekikulu kye kalina okusalawo, kanoonyereza obulagirizi bwa Yakuwa mu Byawandiikibwa
-
Nga tusalawo ebikwata ku:
Nsonga yonna mu bulamu
Mirimu
Laba “Okukola Emirimu”
By’okwesanyusaamu
Laba “Eby’Okwesanyusaamu”
Bufumbo
Laba “Obufumbo”
By’obujjanjabi
Lev 19:26; Ma 12:16, 23; Luk 5:31; Bik 15:28, 29
-
Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Bik 19:18-20—Abakristaayo ab’omu Efeso beggyako ebintu byonna ebirina akakwate n’eby’obusamize
-
Biruubirirwa eby’eby’omwoyo
Kukozesa obulungi ebiseera
Abaweereza ba Yakuwa abakulu mu by’omwoyo bayinza batya okutuyamba okusalawo obulungi?
Yob 12:12; Nge 11:14; Beb 5:14
-
Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1Sk 1:11-31, 51-53—Basuseba awuliriza amagezi agamuweebwa nnabbi Nasani, bw’atyo n’asobola okutaasa obulamu bwe n’obwa mutabani we Sulemaani
-
Lwaki tetusaanidde kusaba balala kutusalirawo?
Lwaki tusaanidde okukolera ku bulagirizi obuva eri Katonda?
Laba ne Luk 7:30
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 19:12-14, 24, 25—Lutti alabula abasajja abaagala okuwasa bawala be ku kabi akagenda okujja, naye ne batamuwuliriza
-
2Sk 17:5-17—Abayisirayiri batwalibwa mu buwaŋŋanguse olw’okugaana okukolera ku kulabula Yakuwa kw’azze abawa
-
Lwaki tusaanidde okuwuliriza omuntu waffe ow’omunda nga tuliko bye tusalawo?
Tuganyulwa tutya bwe tulowooza ku ebyo ebiyinza okuva mu ekyo kye twagala okusalawo?
Engeri gye bikwata ku balala
Engeri gye bikwata ku biseera byaffe eby’omu maaso
Laba ne Nge 2:20, 21; 5:3-5
Engeri gye bikwata ku nkolagana yaffe ne Yakuwa
Lwaki ffe tuba tuvunaanyizibwa ku ebyo bye tuba tusazeewo?