Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuwabula

Okuwabula

Bwe bakuwabula

Lwaki tusaanidde okukkiriza amagezi agatuweebwa ageesigamiziddwa ku Bayibuli?

Lwaki kirungi okukkiriza okuwabulwa mu kifo ky’okwekwasa obusongasonga?

Nge 12:15; 29:1

Laba ne Nge 1:​23-31; 15:31

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Sa 15:​3, 9-23​—Nnabbi Samwiri bw’awabula kabaka Sawulo, Sawulo yeekwasa obusongasonga n’atawuliriza; olw’ensonga eyo Yakuwa alekera awo okukolagana naye

    • 2By 25:​14-16, 27​—Nnabbi wa Yakuwa bw’agezaako okuwabula Kabaka Amaziya, Amaziya agaana okuwuliriza era bw’atyo Yakuwa alekera awo okumusiima era n’amuggyako obukuumi

Lwaki tusaanidde okussa ekitiibwa mu balabirizi abatuwabula?

1Se 5:12; 1Ti 5:17; Beb 13:​7, 17

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 3Yo 9, 10​—Omutume Yokaana akaddiye anenya Diyotuleefe olw’obutassa kitiibwa mu abo abatwala obukulembeze mu kibiina Ekikristaayo

Lwaki tusaanidde okuwuliriza abo abakuze mu myaka?

Lev 19:32; Nge 16:31

Laba ne Yob 12:12; 32:7; Tit 2:​3-5

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Sa 23:​16-18​—Kabaka Dawudi awuliriza amagezi agamuweebwa Yonasaani amusingako emyaka 30 obukulu, era azzibwamu amaanyi

    • 1Sk 12:​1-17​—Kabaka Lekobowaamu agaana okuwuliriza amagezi amalungi agamuweebwa abasajja abakadde n’awuliriza amagezi amabi agamuweebwa abavubuka, era kivaamu ebizibu bingi

Kiki ekiraga nti abakazi abatya Katonda n’abaweereza ba Yakuwa abakyali abato basobola okuwa abalala amagezi amalungi?

Yob 32:​6, 9, 10; Nge 31:​1, 10, 26; Mub 4:13

Laba ne Zb 119:100

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Sa 25:​14-35​—Abiggayiri awabula Kabaka Dawudi, ekyo kiwonya obulamu bw’abantu bangi era kiwonya Dawudi okubaako omusango gw’okuyiwa omusaayi

    • 2Sa 20:​15-22​—Omukazi ow’amagezi ow’omu kibuga ky’e Abbeeri awonyaawo obulamu bw’abantu bonna ab’omu kibuga olw’amagezi ge yawa

    • 2Sk 5:​1-14​—Omuwala omuto Omuyisirayiri abuulira omulwanyi ow’amaanyi ekiyinza okumuwonya ebigenge

Lwaki tetusaanidde kukolera ku magezi agatuweebwa abo abatassa kitiibwa mu Yakuwa oba mu Kigambo kye, Bayibuli?

Zb 1:1; Nge 4:14

Laba ne Luk 6:39

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1By 10:​13, 14​—Kabaka Sawulo yeebuuza ku mukazi omulaguzi mu kifo ky’okwebuuza ku Yakuwa era afa olw’okujeemera Yakuwa

    • 2By 22:​2-5, 9​—Kabaka Akaziya alonda abawi b’amagezi ababi, era ekyo kimuviirako okufa

    • Yob 21:​7, 14-16​—Yobu yeewala okuba n’endowooza ng’ey’abo abatassa kitiibwa mu Yakuwa

Okuwabula abalala

Lwaki kya magezi okusooka okuwuliriza, okumanya byonna ebizingirwamu, n’okuwulira enjuyi zombi nga tetunnawabula muntu?

Nge 18:​13, 17

Laba ne Nge 25:8

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Sa 1:​9-16​—Eli, kabona asinga obukulu, awabula Kaana mu ngeri etali ya kisa. Olw’okuba tamanyi byonna bizingirwamu, alowooza nti omukyala oyo omwesigwa atamidde

    • Mat 16:​21-23​—Omutume Peetero anenya Yesu, era agezaako okuwa Yesu amagezi agatuukagana n’ebigendererwa bya Sitaani so si ebya Yakuwa

Lwaki tusaanidde okusaba Yakuwa okutuwa obulagirizi nga tetunnawabula muntu?

Zb 32:8; 73:​23, 24; Nge 3:​5, 6

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Kuv 3:​13-18​—Nnabbi Musa asaba Yakuwa okumuyamba okumanya engeri esingayo obulungi ey’okugonjoolamu ebizibu by’Abayisirayiri

    • 1Sk 3:​5-12​—Kabaka Sulemaani akyali omuvubuka asaba Yakuwa okumuwa amagezi mu kifo ky’okwesigama ku busobozi bwe; olw’ensonga eyo Yakuwa amuwa emikisa mingi

Amagezi ge tuwa abalala n’ebyo bye tubaddamu, lwaki birina okuba nga byesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda?

Zb 119:​24, 105; Nge 19:21; 2Ti 3:​16, 17

Laba ne Ma 17:​18-20

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Mat 4:​1-11​—Ebyo Yesu by’addamu nga Sitaani amukemye, abyesigamya ku Kigambo kya Katonda so si ku magezi ge

    • Yok 12:​49, 50​—Yesu agamba nti byonna by’ayigiriza yabiggya eri Kitaawe, era atuteerawo ekyokulabirako ekirungi

Bwe tuba tuwabula abalala, lwaki tusaanidde okuba abakkakkamu era n’okubaako ekintu ekirungi kye tubasiimako bwe kiba kisoboka?

Bag 6:1; Bak 3:12

Laba ne Is 9:6; 42:​1-3; Mat 11:​28, 29

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 2By 19:​2, 3​—Ng’ayitira mu nnabbi we, Yakuwa awabula Kabaka Yekosafaati kyokka era n’amusiima olw’ebirungi bye yakola

    • Kub 2:​1-4, 8, 9, 12-14, 18-20​—Yesu asooka kubaako ebintu by’asiima ku bibiina oluvannyuma n’abiwabula

Singa mukkiriza munnaffe atugamba nti waliwo mukkiriza munnaffe eyamukumpanya oba eyamwogerako eby’obulimba, lwaki kiba kirungi okumukubiriza okusooka okwogerako n’oyo eyamuyisa obubi basobole okugonjoola ensonga eyo?

Mukkiriza munnaffe awulira nti yayisibwa bubi tuyinza tutya okumukubiriza okwoleka obusaasizi, obugumiikiriza, n’okusonyiwa?

Mat 18:​21, 22; Mak 11:25; Luk 6:36; Bef 4:32; Bak 3:13

Laba ne Mat 6:14; 1Ko 6:​1-8; 1Pe 3:​8, 9

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Mat 18:​23-35​—Yesu agera olugero olulaga ensonga lwaki kikulu nnyo okusonyiwa abalala

Lwaki tusaanidde okunywerera ku mitindo gya Yakuwa nga tuwabula abalala?

Zb 141:5; Nge 17:10; 2Ko 7:​8-11

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Sa 15:​23-29​—Nnabbi Samwiri tatya kuwabula Kabaka Sawulo

    • 1Sk 22:​19-28​—Nnabbi Mikaaya agaana okukyusa mu bubaka obw’omusango bw’ategeeza Kabaka Akabu, wadde ng’atiisibwatiisibwa era ng’ayisibwa bubi

Tuyinza tutya okuwabula omuntu omulala naye ne twewala okumwesittaza mu by’omwoyo?

Beb 12:​11-13

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Luk 22:​31-34​—Wadde nga Peetero akola ensobi ez’amaanyi, Yesu Kristo mukakafu nti ajja kutereezaamu, yeeyongere okuweereza Yakuwa, era oluvannyuma anyweze abalala

    • Fir 21​—Omutume Pawulo yeesiga Firemooni nti ajja kukolera ku magezi g’amuwadde agatuukagana n’ekyo Katonda ky’ayagala

Tuyinza tutya okwoleka ekisa nga tuwabula abo abawulira nti emirembe gibaweddeko oba abaweddemu amaanyi?

Tuyinza tutya okukiraga nti twagala okuyamba omuntu akoze ensobi okuddamu okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda?

Tuyinza tutya okukiraga nti tussa ekitiibwa mu abo be tuwabula ka babe ba myaka emeka oba ka babe ba kikula ki?

Omuntu bw’awabulwa enfunda n’enfunda naye n’agaana okukolera ku kuwabulwa okwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, lwaki abakadde basaanidde okunywerera ku kituufu?