Okuyigganyizibwa
Lwaki Abakristaayo basaanidde okusuubira okuyigganyizibwa?
Bwe tuba tuyigganyizibwa, lwaki tusaanidde okusaba Yakuwa okutuyamba?
Zb 55:22; 2Ko 12:9, 10; 2Ti 4:16-18; Beb 13:6
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1Sk 19:1-18—Nnabbi Eriya bw’aba ayigganyizibwa yeeyabiza Yakuwa, era Yakuwa amuzzaamu amaanyi era amubudaabuda
-
Bik 7:9-15—Yusufu baganda be bamuyigganya, naye Yakuwa abeera wamu naye, amununula, era amukozesa okununula ab’ewaabwe
-
Abakristaayo bayigganyizibwa mu ngeri ki?
Bavumibwa
2By 36:16; Mat 5:11; Bik 19:9; 1Pe 4:4
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
2Sk 18:17-35—Labusake, omwogezi wa kabaka wa Bwasuli, avuma Yakuwa era avuma n’abantu b’omu Yerusaalemi
-
Luk 22:63-65; 23:35-37—Abalabe ba Yesu bwe bamukwata bamuvuma, era bamukudaalira ng’ali ku muti ogw’okubonaabona
-
Baziyizibwa ab’eŋŋanda zaabwe
Bakwatibwa era ne batwalibwa mu b’obuyinza
Batulugunyizibwa
Balumbibwa ebibinja by’abantu
Battibwa
Abakristaayo basaanidde kweyisa batya nga bayigganyizibwa?
Mat 5:44; Bik 16:25; 1Ko 4:12, 13; 1Pe 2:23
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Bik 7:57–8:1—Wadde ng’omuyigirizwa Siteefano anaatera okufa oluvannyuma lw’abantu okumukuba amayinja, asaba Katonda asaasire abo abamuyigganya, omuli ne Sawulo ow’e Taluso
-
Bik 16:22-34—Wadde ng’omutume Pawulo akubiddwa era n’ateekebwa mu nvuba, alaga omukuumi w’ekkomera ekisa, era ekyo kiviirako omukuumi oyo n’ab’omu maka ge okufuuka abakkiriza
-
Kiki ekyatuuka ku bamu ku Bakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka?
Tusaanidde kutwala tutya okuyigganyizibwa?
Essuubi lye tulina erikwata ku biseera eby’omu maaso lituyamba litya nga tuyigganyizibwa?
Lwaki tetukkiriza kuyigganyizibwa kutuleetera kuggwaamu maanyi, kutya, oba kuswala, era lwaki tetukkiriza kulekera awo kuweereza Yakuwa?
Zb 56:1-4; Bik 4:18-20; 2Ti 1:8, 12
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
2By 32:1-22—Kabaka Keezeekiya omwesigwa bw’alumbibwa eggye eddene ennyo erya Kabaka Sennakeribu, yeesiga Yakuwa era agumya abantu; Yakuwa amuyamba
-
Beb 12:1-3—Abo abayigganya Yesu bamukola ebintu ebiswaza, naye okuswala Yesu takutwala nga kikulu era takukkiriza kumumalamu maanyi
-
Birungi ki ebiyinza okuva mu kuyigganyizibwa?
Bwe tugumiikiriza nga tugezesebwa kisanyusa Yakuwa era kiweesa erinnya lye ekitiibwa
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Yob 1:6-22; 2:1-10—Wadde nga Yobu tamanyi nti Sitaani y’amuleetedde ebizibu ebyo eby’amaanyi, asigala mwesigwa eri Yakuwa, bw’atyo n’agulumiza Katonda era n’akiraga nti Sitaani mulimba
-
Dan 1:6, 7; 3:8-30—Kananiya, Misayeri, ne Azaliya (Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego) beetegefu okuttibwa mu bukambwe mu kifo ky’okujeemera Yakuwa; n’ekivaamu, Kabaka Nebukadduneeza omukafiiri agulumiza Yakuwa mu lujjudde
-
Okuyigganyizibwa kuyinza okuviirako abalala okuyiga ebikwata ku Yakuwa
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Bik 11:19-21—Abakristaayo bwe basaasaana olw’okuyigganyizibwa, beeyongera okubuulira amawulire amalungi mu bitundu bingi
-
Baf 1:12, 13—Omutume Pawulo musanyufu okukimanya nti okusibibwa kwe kuviiriddeko abantu bangi okuwulira amawulire amalungi
-
Bwe tugumiikiriza nga tuyigganyizibwa, kiyinza okunyweza bakkiriza bannaffe
Abakulembeze b’amaddiini ne bannabyabufuzi bakoze kyenkana wa mu kuyigganya abaweereza ba Yakuwa?
Yer 26:11; Mak 3:6; Yok 11:47, 48, 53; Bik 25:1-3
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Bik 19:24-29—Abantu b’omu Efeso abakola obusabo bwa katonda ayitibwa Atemi bakiraba nti obubaka Abakristaayo bwe babuulira obugaana abantu okusinza ebifaananyi bubafiiriza mu bizineesi yaabwe, bwe kityo bayigganya Abakristaayo
-
Bag 1:13, 14—Nga Pawulo (Sawulo) tannafuuka Mukristaayo, ayigganya nnyo Abakristaayo olw’okuba ayagala nnyo eddiini y’Ekiyudaaya
-
Ani ali emabega w’okuyigganya abaweereza ba Yakuwa?