Okuzzaamu Abalala Amaanyi
Lwaki kikulu nnyo abaweereza ba Katonda okuzziŋŋanamu amaanyi?
Is 35:3, 4; Bak 3:16; 1Se 5:11; Beb 3:13
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
2By 32:2-8—Abantu b’omu Yuda bwe balumbibwa, Kabaka Keezeekiya abazzaamu amaanyi
-
Dan 10:2, 8-11, 18, 19—Malayika azzaamu amaanyi nnabbi Danyeri akaddiye era akooye
-
Lwaki Yakuwa asuubira abakadde okuzzaamu abalala amaanyi?
Laba ne Mat 11:28-30
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Ma 3:28; 31:7, 8—Nnabbi Musa akolera ku ekyo Yakuwa ky’amulagira n’azzaamu Yoswa amaanyi, omusajja agenda okumuddira mu bigere
-
Bik 11:22-26; 14:22—Abakristaayo b’omu Antiyokiya bwe baba nga bayigganyizibwa, abatume Pawulo ne Balunabba, babazzaamu amaanyi
-
Bwe tuba tuzzaamu abalala amaanyi, lwaki kikulu okubasiima?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Bal 11:37-40—Buli mwaka, abawala b’omu Isirayiri bakyalira muwala w’Omulamuzi Yefusa okumusiima olw’okwefiiriza okuweereza ku weema entukuvu
-
Kub 2:1-4—Wadde nga Yesu kyali kimwetaagisa okuwabula Abakristaayo b’omu Efeso, era yabasiima olw’ebintu bye baali bakola obulungi
-
Abaweereza ba Yakuwa abeesigwa bayinza batya okuzziŋŋanamu amaanyi?
Nge 15:23; Bef 4:29; Baf 1:13, 14; Bak 4:6; 1Se 5:14
Laba ne 2Ko 7:13, 15, 16
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1Sa 23:16-18—Yonasaani anoonya mukwano gwe Dawudi okumuzzaamu amaanyi ng’ayolekagana n’ebizibu
-
Yok 16:33—Yesu azzaamu abagoberezi be amaanyi ng’abagamba nti yawangula ensi era nti nabo basobola okugiwangula singa bamukoppa
-
Bik 28:14-16—Omutume Pawulo bw’aba agenda e Roma okuwozesebwa, azzibwamu amaanyi bw’alaba ab’oluganda abazze okumusisinkana bamuzzeemu amaanyi
-
Lwaki kikulu okussa mu balala ekitiibwa n’okwewala okwemulugunya?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Kbl 11:10-15—Nnabbi Musa awulira bubi nnyo olw’obujeemu bw’abantu n’olw’okuba nti beemulugunya
-
Kbl 13:31, 32; 14:2-6—Ebyo abakessi ekkumi bye boogera bimalamu abantu amaanyi era bibaviirako okujeema
-
Tuzzibwamu tutya amaanyi bwe tubeerako awamu ne bakkiriza bannaffe?
Nge 27:17; Bar 1:11, 12; Beb 10:24, 25; 12:12
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
2By 20:1-19—Eggye eddene bwe lirumba Yuda, Kabaka Yekosafaati akuŋŋaanya wamu abantu okusaba
-
Bik 12:1-5, 12-17—Oluvannyuma lw’omutume Yakobo okuttibwa n’omutume Peetero okusibibwa, Abakristaayo mu kibiina ky’e Yerusaalemi bakuŋŋaana wamu ne basaba
-
Okulowooza ku bintu ebirungi Yakuwa bye yatusuubiza kituyamba kitya okuguma nga twolekagana n’ebizibu?
Bik 5:40, 41; Bar 8:35-39; 1Ko 4:11-13; 2Ko 4:16-18; 1Pe 1:6, 7
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 39:19-23; 40:1-8—Wadde nga Yusufu awaayirizibwa era n’asibibwa olw’emisango gy’atazza, asigala mwesigwa era ayagala nnyo okuyamba abalala
-
2Sk 6:15-17—Nnabbi Erisa asigala mugumu ng’azingiziddwa eggye eddene era asabira omuweereza we naye aleme kutya
-
Bayibuli esobola okutuzzaamu amaanyi
Yakuwa asuubiza kutuyamba atya?
Okufumiitiriza ku bugumiikiriza bwa Yakuwa n’obusaasizi bwe kituzzaamu kitya amaanyi?
Kiki Yakuwa ky’ayinza okukolera abo abawulira nga baweddemu amaanyi?
Zb 46:1; Is 12:2; 40:29-31; Baf 4:13
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1Sa 1:10, 11, 17, 18—Kaana bw’aba mu nnaku ey’amaanyi asaba Yakuwa, era Yakuwa amuyamba okufuna emirembe
-
1Sk 19:1-19—Nnabbi Eriya bw’aggwaamu amaanyi, Yakuwa amuwa emmere n’amazzi era amugamba ebintu ebimuyamba okuba n’essuubi
-
Ebintu Yakuwa by’atusuubiza mu Bayibuli bituzzaamu bitya amaanyi?
2By 15:7; Zb 27:13, 14; Beb 6:17-19; 12:2
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Yob 14:1, 2, 7-9, 13-15—Ne mu mbeera enzibu ennyo, Yobu abudaabudibwa bw’alowooza ku ssuubi ery’okuzuukira
-
Dan 12:13—Nnabbi Danyeri, aweza emyaka nga 100, addamu amaanyi malayika bw’amugamba nti ajja kufuna empeera mu biseera eby’omu maaso
-
Okusaba Yakuwa n’okufumiitiriza ku ebyo bye tumumanyiiko kituzzaamu kitya amaanyi?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1Sa 30:1-9—Kabaka Dawudi bw’aba mu mbeera enzibu ennyo, asaba Yakuwa n’addamu amaanyi
-
Luk 22:39-43—Yesu bw’ayolekagana n’ekigezo ekisingayo obuzibu, asaba nnyo, era Yakuwa addamu essaala ye ng’asindika malayika okumuzzaamu amaanyi
-
Okuwulira ebintu ebirungi ebikwata ku balala era n’okubibuulirako abalala kituzzaamu kitya amaanyi?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Bik 15:2-4—Omutume Pawulo ne Balunabba bazzaamu ab’oluganda amaanyi mu bibiina bye bakyalira
-
3Yo 1-4—Omutume Yokaana akaddiye addamu amaanyi bw’awulira nti abo be yabuulira amawulire amalungi bakuumye obwesigwa
-