Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okwagala Ennyo Ssente n’Ebintu

Okwagala Ennyo Ssente n’Ebintu

Bayibuli evumirira ssente n’ebintu oba abo ababirina?

Mub 7:12

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Sk 3:​11-14​—Yakuwa awa Kabaka Sulemaani obugagga bungi olw’okubeera omwetoowaze

    • Yob 1:​1-3, 8-10​—Wadde nga Yobu mugagga nnyo, ekintu ekisinga obukulu gy’ali ye nkolagana ye ne Katonda

Lwaki ssente n’ebintu tebiwa muntu ssanyu lya nnamaddala?

Ddi eby’obugagga lwe bitaba na mugaso gwonna gye tuli?

Ssente n’ebintu biyinza kutuleetera kabi ki ak’amaanyi?

Eby’obugagga biyinza kutulimbalimba bitya?

Nge 11:​4, 18, 28; 18:11; Mat 13:22

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Bik 8:​18-24​—Simooni alowooza nti asobola okukozesa ssente okugula enkizo mu kibiina

Okwagala ennyo ssente kuyinza kutufiiriza ki?

Mat 6:​19-21; Luk 17:​31, 32

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Mak 10:​17-23​—Omusajja ayagala ennyo eby’obugagga bye afiirwa enkizo ey’okubeera omugoberezi wa Yesu

    • 1Ti 6:​17-19​—Omutume Pawulo alabula Abakristaayo abagagga okwewala okuba n’amalala, ekiyinza okubaviirako obutasiimibwa mu maaso ga Katonda

Okwagala ebintu kuyinza kutya okunafuya okukkiriza kwaffe ne kituviirako okukola ebintu Katonda by’atayagala?

Ma 8:​10-14; Nge 28:20; 1Yo 2:​15-17

Laba ne Zb 52:​6, 7; Am 3:​12, 15; 6:​4-8

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Yob 31:​24, 25, 28​—Yobu akiraba nti kya kabi okwesiga eby’obugagga kubanga aba ng’eyegaanye Katonda

    • Luk 12:​15-21​—Yesu alaga akabi akali mu kwagala ennyo ebintu ng’ayogera ku musajja eyali omugagga naye nga si mugagga eri Katonda

Tuyinza tutya okuba abamativu n’ebintu bye tulina?

Byabugagga ki eby’omuwendo okusinga ebintu bye tuyinza okuba nabyo, era lwaki?

Nge 3:​11, 13-18; 10:22; Mat 6:​19-21

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Kag 1:​3-11​—Okuyitira mu nnabbi Kaggayi, Yakuwa agamba abantu be nti abaggyeeko emikisa kubanga beemalidde ku byabwe ku bwabwe mu kifo ky’okuddamu okuzimba yeekaalu

    • Kub 3:​14-19​—Yesu anenya ab’omu kibiina ky’e Lawodikiya olw’okutwala eby’obugagga okuba eby’omuwendo okusinga okuweereza Katonda

Lwaki tusaanidde okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa ebintu bye twetaaga?