Okwewaayo
Kiki ekyandituleetedde okusalawo okwewaayo eri Yakuwa Katonda?
Ma 6:5; Luk 10:25-28; Kub 4:11
Laba ne Kuv 20:5
Bwe tuba nga twagala okuweereza Katonda, Bayibuli tulina kuba nga tugitwala tutya?
Zb 119:105; 1Se 2:13; 2Ti 3:16
Laba ne Yok 17:17; Beb 4:12
Yakuwa akoze nteekateeka ki abantu okusonyiyibwa ebibi, era lwaki ekyo buli omu ku ffe alina okukikkiriza?
Kiki ekizingirwa mu kwenenya ebibi bye twakola?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Luk 19:1-10—Zaakayo, akulira abasolooza omusolo, yeenenya olw’okukumpanya ssente ku bantu era abo be yakumpanya abaddiza ssente zaabwe
-
1Ti 1:12-16—Omutume Pawulo akiraga nti yalekera awo okukola ebibi eby’amaanyi era nti Katonda ne Kristo baamusaasira ne bamusonyiwa
-
Ng’oggyeeko okulekera awo okukola ebintu ebibi, kiki ekirala kye tulina okukola?
Mitindo ki egy’empisa gye tusaanidde okugoberera okusobola okuweereza Katonda mu ngeri gy’asiima?
1Ko 6:9-11; Bak 3:5-9; 1Pe 1:14, 15; 4:3, 4
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1Ko 5:1-13—Omutume Pawulo alagira ekibiina ky’e Kkolinso okugoba omusajja omugwenyufu
-
2Ti 2:16-19—Omutume Pawulo alabula Timoseewo obutawuliriza bigambo bya bakyewaggula eby’akabi
-
Lwaki abaweereza ba Katonda tebasaanidde kuwagira gavumenti za nsi?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Yok 6:10-15—Yesu bw’amala okuliisa abantu mu ngeri ey’eky’amagero, bagezaako okumufuula kabaka naye abaviira
-
Yok 18:33-36—Yesu agamba nti Obwakabaka bwe tebulina kakwate na gavumenti z’abantu
-
Omwoyo omutukuvu gutuyamba gutya okuweereza Katonda?
Laba ne Bik 20:28; Bef 5:18
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Bik 15:28, 29—Omwoyo omutukuvu guyamba akakiiko akafuzi mu Yerusaalemi okusalawo ensonga enkulu ekwata ku kukomolebwa
-
Mu ngeri ki gye tuyinza okuweerezaamu Katonda nga Yesu Kristo bwe yakola?
Lwaki Abakristaayo ababa beewaddeyo eri Katonda balina okubatizibwa?
Mat 28:19, 20; Bik 2:40, 41; 8:12; 1Pe 3:21
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Mat 3:13-17—Yesu abatizibwa bw’atyo n’akyoleka nti mwetegefu okukola Katonda by’ayagala
-
Bik 8:26-39—Omukungu Omwesiyopiya, eyali yakyuka n’adda mu ddiini y’Ekiyudaaya, asalawo okubatizibwa oluvannyuma lw’okuyiga amazima agakwata ku Yesu
-