Omuntu ow’Omunda
Kiki ekiraga nti Yakuwa yawa abantu bonna omuntu ow’omunda?
Laba ne 2Ko 4:2
Omuntu bwe yeeyongera okukola ebintu ebibi, kiki ekiyinza okutuuka ku muntu we ow’omunda?
Okuba nti omuntu alowooza nti ky’akola kituufu, kiba kimala?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
2By 18:1-3; 19:1, 2—Kabaka Yekosafaati ayamba Kabaka Akabu omubi era Yakuwa amunenya
-
Bik 22:19, 20; 26:9-11—Omutume Pawulo agamba nti edda yali alowooza nti kyali kituufu okuyigganya n’okutta abagoberezi ba Kristo
-
Omuntu ow’omunda ayinza atya okutendekebwa obulungi?
-
Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1Sa 24:2-7—Kabaka Dawudi omuntu we ow’omunda amuleetera obutakola kabi konna ku Kabaka Sawulo Yakuwa gwe yafukako amafuta
-
Abantu aboonoonyi bayinza batya okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo mu maaso ga Katonda?
Bef 1:7; Beb 9:14; 1Pe 3:21; 1Yo 1:7, 9; 2:1, 2
Laba ne Kub 1:5
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Is 6:1-8—Yakuwa akakasa nnabbi Isaaya nti ebibi bye bisobola okusonyiyibwa
-
Kub 7:9-14—Ab’ekibiina ekinene balina enkolagana ennungi ne Yakuwa olw’okuba ssaddaaka ya Kristo ebanaazaako ekibi
-
Lwaki tusaanidde okuwuliriza omuntu waffe ow’omunda atendekeddwa Ekigambo kya Katonda?
Bik 24:15, 16; 1Ti 1:5, 6, 19; 1Pe 3:16
Laba ne Bar 13:5
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 2:25; 3:6-13—Adamu ne Kaawa tebawuliriza muntu waabwe ow’omunda era oluvannyuma bakwatibwa ensonyi olw’okujeemera Katonda
-
Nek 5:1-13—Abayudaaya abaggya amagoba amangi ku bannaabwe, bwe bawuliriza ebyo Gavana Nekkemiya by’abagamba, omuntu waabwe ow’omunda abalumiriza ne babaako kye bakolawo
-
Lwaki tusaanidde okwegendereza tuleme kwesittaza muganda waffe oba mwannyinaffe alina omuntu ow’omunda atannaba kutendekebwa bulungi?
Buli kiseera tuba twagala omuntu waffe ow’omunda abe mu mbeera ki?