Ssente
Lwaki okwagala ennyo ssente kya kabi?
Bayibuli ekiraga etya nti si kikyamu omuntu okukola emirimu okufuna ssente asobole okulabirira ab’omu maka ge?
Mub 7:12; 10:19; Bef 4:28; 2Se 3:10; 1Ti 5:8, 18
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 31:38-42—Okusobola okulabirira ab’omu maka ge, Yakobo akolera Labbaani, kitaawe w’abakazi be; Labbaani ayisa Yakobo mu ngeri etali ya bwenkanya naye Yakuwa awa Yakobo emikisa
-
Luk 19:12, 13, 15-23—Yesu agera olugero olulaga nti mu kiseera kye abantu bateekanga ssente mu bizineesi okusobola okukola amagoba
-
Kiki Bayibuli ky’eyogera ku kwewola n’okuwola ssente?
Lwaki kikulu okwewala okuba n’amabanja agateetaagisa?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Nek 5:2-8—Abamu ku Bayisirayiri mu kiseera kya Nekkemiya bayisa bubi abo be babanja
-
Mat 18:23-25—Olugero lwa Yesu lutujjukiza nti omuntu atasasula bbanja ayinza okubonerezebwa
-
Kiki omuntu ky’asaanidde okukola nga tannatandika bizineesi na muntu yenna k’abe oyo ataweereza Yakuwa, aweereza Yakuwa, oba omu ku b’eŋŋanda ze?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 23:14-20—Okusobola okwewala enkaayana eziyinza okujjawo, Ibulayimu ayita abajulizi okubaawo ng’agula ekibanja omuli empuku ey’okuziikamu Saala
-
Yer 32:9-12—Nnabbi Yeremiya bw’agula ekibanja ku mwana wa taata we omuto, akola endagaano, agikolamu kkopi, era asasulira mu maaso g’abajulizi
-
Lwaki kya magezi okukola embalirira?
Lwaki Abakristaayo tebandikkirizza obutakkaanya obukwata ku ssente okuleetawo enjawukana mu kibiina?
Laba ne Bar 12:18; 2Ti 2:24
Tuyinza tutya okukozesa ssente zaffe mu ngeri etuleetera essanyu erya nnamaddala?