Balubaale Bakubiriza Okujeemera Katonda
Naye lwaki Setaani ne balubaale be bakola nnyo okulimba abantu? Kubanga baagala tubeegatteko mu bujeemu bwabwe. Baagala tubasinze. Baagala tukkirize obulimba bwabwe era tukole ebintu Yakuwa by’atayagala. Bingi ku bikolwa bino bitwaliramu obulombolombo obwekuusa ku bafu.
Okufa kw’omwagalwa kuleeta obulumi munda bwa kitalo, era kya bulijjo era kituufu okunakuwala. Mukwano gwe Lazaalo ng’afudde, Yesu “n’akaaba amaziga.”—Yokaana 11:35.
Waliwo obulombolombo bungi ku bikwata ku kufa, era buno bwawuka mu ngeri nnyingi okwetooloola ensi. Bungi ku bwo tebukontana na misingi gya Baibuli. Naye nno, ebikolwa ebimu byesigamiziddwa ku ndowooza nti abafu balamu era basobola okulaba abalamu. Ennyimbe, okukaaba okuyitiridde, n’emikolo egy’ensusso mu kuziika byonna bisibuka mu kutya obutasanyusa myoyo gy’abafu. Naye okuva abafu bwe ‘bataliiko kye bamanyi,’ abo abakola ebintu ng’ebyo baba bongerayo bulimba bwa Setaani.—Omubuulizi 9:5.
Obulombolombo obulala oba emikolo bisibuka mu nzikiriza nti abafu beetaaga obuyambi okuva
ku balamu era nti bajja kulumya abalamu singa baba tebabawooyawooyezza. Mu nsi ezimu embaga zikolebwa era ne ssaddaaka ne ziweebwayo ennaku 40 nga ziyiseewo oba omwaka gumu oluvannyuma lw’okufa kw’omuntu. Kino kiba kirowoozebwa okuyamba omufu ‘okusomoka’ okuyingira mu ttwale ery’emyoyo. Ekirala ekitera okukolebwa kwe kuwaayo eby’okulya n’eby’okunywa eri abafu.Ebintu bino bikyamu kubanga bikulaakulanya obulimba bwa Setaani ku bikwata ku bafu. Yakuwa yandisiimye okwetaba kwaffe mu kintu kyonna ekyekuusa ku bulombolombo obwesigamiziddwa ku njigiriza za balubaale? N’akatono!—2 Abakkolinso 6:14-18.
Abaweereza ba Katonda ow’amazima tebeetaba n’akatono mu bikolwa ebiwagira obulimba bwa Setaani. Mu kifo ky’ekyo, mu kwagala bafuba okuyamba n’okugumya abalamu. Bamanyi nti omuntu bw’amala okufa, Yakuwa Yobu 14:14, 15.
yekka y’aba ayinza okuyamba omuntu oyo.—Obusamize Buvumirirwa Katonda
Abantu abamu boogera ne balubaale butereevu oba nga bayitira mu mulubaale. Kino kiyitibwa obusamize. Okubandwa, obulogo, obufuusa, obulaguzi, n’okubuuza abafu zonna ngeri za busamize.
Baibuli evumirira ebintu bino, ng’egamba nti: “Tewalabikanga gy’oli muntu yenna . . . akola eby’obufumu, newakubadde alaguza ebire, newakubadde omulogo, newakubadde omuganga, newakubadde omusawo, newakubadde asamira omuzimu, newakubadde emmandwa newakubadde abuuza abafu. kubanga buli akola ebyo wa muzizo eri [Yakuwa, NW].”—Ekyamateeka 18:10-12.
Lwaki Yakuwa atulabula nnyo bw’atyo eri ebikolwa bino?
Ku lw’obulungi bwaffe ffennyini, Yakuwa atulabula ku ngeri zonna ez’obusamize. Ayagala abantu era afaayo gye bali, era amanyi
nti abo abakolagana ne balubaale boolekera okubonaabona.Omu ku bantu ng’abo ye Nilda, eyali omulubaale mu Brazil. Balubaale baaleeta ennaku mu bulamu bwe. Agamba nti: “Emyoyo . . . gyannyingiramu, ne gindagiranga. Nnazirikanga ate ne nziranga engulu ate ne nziramu bw’etyo, era ne nkuumirwanga awantu ng’omutabufu w’omutwe. Balubaale banjigganya nnyo okuba nti obuteefu bw’omubiri gwange bwakwatibwako. Nnamiranga amalagala agakkakkanya era ne ntandika okunywa omwenge ne taaba awatali kuddirira. Kino kyali bwe kityo okumala emyaka egiwera.”
Ekiseera nga kiyiseewo, n’obuyambi bwa Yakuwa n’Abajulirwa be ku nsi, Nilda yeekutula ku maanyi ga balubaale era kaakano atambulira mu bulamu obw’omugaso era obulungi. Agamba nti: “Nkubiriza bonna obutagezaako, n’omulundi n’ogumu, okukolagana n’emyoyo [emibi].”