Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Balubaale Balimba nti Abafu Balamu

Balubaale Balimba nti Abafu Balamu

Baibuli egamba nti Setaani “akyamya ensi yonna.” (Okubikkulirwa 12:9, NW) Setaani ne balubaale be tebaagala tukkirize Kigambo kya Katonda, Baibuli. Bagezaako okuleetera abantu okukkiriza nti abafu balamu awantu awamu mu ttwale ery’emyoyo. Ka tulabe engeri gye bakolamu ekyo.

Eddiini ez’Obulimba

Abantu, ebisolo, ebyennyanja, n’ebinyonyi—byonna mmeeme

Eddiini nnyingi ziyigiriza nti buli muntu alina emmeeme egenda mu ttwale ery’emyoyo oluvannyuma lw’okufa kw’omubiri. Bagamba nti omubiri gufa naye emmeeme tefa. Ate era, bakiggumiza nti emmeeme tesobola kufa, nti yo tefa.

Naye Ekigambo kya Katonda tekiyigiriza ekyo. Baibuli eraga nti emmeeme ye muntu, so si ekintu ekiri munda mu muntu. Ng’ekyokulabirako, ng’ennyonnyola okutondebwa kwa Adamu, Baibuli etegeeza nti: “Yakuwa Katonda n’abumba omuntu okuva mu nfuufu y’ettaka n’amufuuwa mu nnyindo ze omukka ogw’obulamu, n’omuntu n’afuuka emmeeme ennamu.” (Olubereberye 2:7, NW) Bwe kityo Adamu teyaweebwa mmeeme; yali mmeeme.

Ebisolo nabyo biyitibwa mmeeme.​—Olubereberye 1:20, 21, 24, 30, NW.

Okuva ekigambo kya Baibuli “emmeeme” bwe kitegeeza omuntu kennyini, tekyanditwewuunyisizza kuyiga nti emmeeme ziyinza okufa era zifa. Ebyawandiikibwa bigamba nti:

  • “Emmeeme ekola ekibi ye erifa.”​Ezeekyeri 18:4.

  • Abanoonya emmeeme yange okugizikiriza.”​—Zabbuli 40:14.

  • “Kye kirungi ku lunaku lwa ssabbiiti okukola obulungi nantiki okukola obubi? kuwonya [mmeeme, NW] nantiki kutta?”​Makko 3:4.

Bayibuli eraga nti emmeeme afa

Ebyawandiikibwa ebirala biraga nti emmeeme ziyinza okuzikirizibwa (Zabbuli 63:9), okuttibwa n’ekitala (Zabbuli 22:20), okutugibwa (Yobu 7:15), era n’okufa amazzi (Yona 2:5, NW). Bwe kityo, emmeeme efa.

Singa oba osomye Baibuli okuva ku ddiba okutuuka ku ddiba, tojja kusangamu kigamba nti “emmeeme tefa.” Emmeeme y’omuntu si mwoyo. Enjigiriza nti emmeeme tefa si njigiriza ya mu Baibuli. Njigiriza ya Setaani ne balubaale be. Yakuwa akyawa obulimba bwonna obw’eddiini.​—Engero 6:16-19; 1 Timoseewo 4:1, 2.

Abalubaale

Ddala balubaale beefuusafuusa okuba emyoyo gy’abafu

Engeri endala Setaani gy’abuzaabuzaamu abantu kwe kuyitira mu balubaale. Omulubaale ye muntu asobola okufuna obubaka butereevu okuva mu nsi y’emyoyo. Abantu bangi ddala, ng’otwaliddemu n’abalubaale bennyini, bakkiriza nti obubaka buno buva eri emyoyo gy’abafu. Naye nga bwe tulabye okuva mu Baibuli, kino tekisoboka.​—Omubuulizi 9:5, 6, 10.

Olwo, obubaka buno buva eri baani? Balubaale bennyini! Balubaale basobola okwetegereza omuntu ng’akyali mulamu; bamanyi engeri gye yayogerangamu, bwe yali afaanana, bye yakola, ne bye yali amanyi. Bwe kityo kyangu nnyo gye bali okugeegenya abantu abaafa.​—1 Samwiri 28:3-19.

Enfumo ez’Obulimba

Engeri endala Setaani gy’akulaakulanyamu obulimba ku bafu kwe kuyitira mu nfumo ez’obulimba. Enfumo ng’ezo zitera okukyamya abantu okubaggya ku mazima ga Baibuli.​—2 Timoseewo 4:4.

Abamu balowooza nti balabye abantu abakomyewo okuva mu bafu

Mu Afirika waliwo enfumo nnyingi ezikwata ku bantu abaalabibwako nga balamu nga bamaze okufa. Emirundi egisinga, okulabibwa ng’okwo kutera kuba wala nnyo okuva awo omuntu we yabeeranga. Naye weebuuze: ‘Kifaanana okuba nga kya nsonga okuba nti singa omuntu yalina obuyinza okukomawo okuva mu bafu, yandizze mu kifo ekiri ewala ennyo okuva ku b’omu maka ge ne mikwano gye?’

Ate era, tekiyinza kuba nti omuntu oyo eyalabibwa yali afaanana bufaananyi omuntu eyafa? Ng’ekyokulabirako, abaweereza babiri Abakristaayo abaali babuulira mu kyalo ekimu baalaba omusajja omu omukadde eyali ajja abagoberera okumala essaawa eziwerako. Bwe baamubuuza, ne bakitegeera nti omusajja yalowooza nti omu ku baweereza bano yali muganda we eyali afudde emyaka egiwerako emabega. Kyo kiri nti yali mukyamu, naye yagaana okukkiriza nti yali mukyamu. Teeberezaamu omusajja oyo omukadde oluvannyuma kye yagamba bakwano be ne baliraanwa!

Okwolesebwa, Ebirooto, n’Amaloboozi

Balubaale babuzaabuza okuyitira mu birooto, okwolesebwa, n’amaloboozi

Tewali kubuusabuusa omanyi ku bintu ebyewuunyisa abantu bye balabye, bye bawulidde, oba bye baloose. Ebintu ng’ebyo ebitali bya bulijjo bitera okutiisa abo ababituukibwako. Marein, eyabeeranga mu Afirika ow’Ebugwanjuba, yawuliranga eddoboozi lya jjajjaawe omufu nga limuyita buli kiro. Olw’okutya, Marein yaleekaananga, n’azuukusa ab’omu nnyumba yonna. Mu nkomerero ya byonna, yagwa eddalu.

Kati, ddala singa abafu baali balamu, kya nsonga okulowooza nti banditiisizza abaagalwa baabwe? Ddala nedda. Ensibuko y’obubaka obw’okulumya ng’obwo be balubaale.

Naye ate bwo obubaka obufaanana okuba obw’okuyamba n’okugumya? Ng’ekyokulabirako, Gbassay, ow’omu Sierra Leone, yali mulwadde. Yafuna ekirooto kitaawe omufu mwe yamulabikira. Yamulagira okugenda ku muti ogumu, aggyeko ekikoola, akitabule mu mazzi, anywe. Teyali wa kubuulirako muntu yenna nga tannakikola. Yakola kino era n’aba bulungi.

Omukyala omulala yagamba nti bbaawe yamulabikira ekiro ekimu ng’amaze okufa. Yagamba nti bbaawe yali alabika bulungi era ng’ayambadde engoye nnungi.

Obubaka ng’obwo n’okwolesebwa bifaanana okuba ebirungi era ebiyamba. Biva eri Katonda? Nedda, si gye biva. Yakuwa ye “Katonda ow’amazima.” (Zabbuli 31:5) Tayinza kukkiriza kutubuzabuza oba kutulimba. Balubaale bokka be bakola ekyo.

Naye waliyo balubaale abalungi? Nedda. Newakubadde nga bayinza okulabika ng’abayamba oluusi, bonna bonna babi. Omulyolyomi bwe yayogera ne Kaawa, yalabika ng’ow’omukwano. (Olubereberye 3:1) Naye kiki ekyatuuka ku Kaawa oluvannyuma lw’okumuwuliriza n’okukola kye yagamba? Yafa.

Setaani yagamba Kaawa nti teyali wa kufa. Kaawa yamukkiriza, naye oluvannyuma yafa

Omanyi nti kya bulijjo omuntu omubi okwefuula ow’omukwano eri abo b’ayagala okulimba n’okubuzaabuza. “Mannyo meeru, mutima muddugavu,” bwe lutyo olugero lw’Abaafirika bwe lugamba. Era Ekigambo kya Katonda kigamba nti “Setaani yeefaananya nga malayika ow’omusana.”​—2 Abakkolinso 11:14.

Katonda takyayogera na bantu ku nsi ng’ayitira mu birooto, okwolesebwa, oba amaloboozi okuva mu nsi y’emyoyo. Abakulembera era abayigiriza okuyitira mu Baibuli, eyinza okufuula omuntu okuba “ng’alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.”​—2 Timoseewo 3:17.

Bwe kityo, Yakuwa bw’atulabula ku bukodyo bw’Omulyolyomi, akikola olw’okuba atwagala. Amanyi nti balubaale balabe babi nnyo.