Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Balubaale Bassi!

Balubaale Bassi!

Setaani ne balubaale bulijjo babadde bakambwe era ba kabi nnyo. Mu biseera eby’edda Setaani yatta ebisolo n’abaweereza ba Yobu omwesigwa. Ate era, n’atta abaana ba Yobu ekkumi ng’aleetera “embuyaga nnyingi” okuzikiriza ennyumba mwe baali. Oluvannyuma lw’ekyo Setaani yalwaza Yobu “amayute amazibu okuva ku bigere bye munda okutuuka ku bwezinge bwe.”​—Yobu 1:7-19; 2:7.

Mu kiseera kya Yesu, balubaale baafuula abantu abamu bakasiru era abazibe b’amaaso. (Matayo 9:32, 33; 12:22) Baabonyaabonya omusajja omu ne bamuleetera okwesalasalanga n’amayinja. (Makko 5:5) Era baaleetera omulenzi okukaaba, ne bamusuula wansi, era ne ‘bamutaagula nnyo.’​—Lukka 9:42.

Mu biseera ebyayita, balubaale baalwazanga abantu abamu era baataagulataagulanga abalala

Leero, Setaani ne balubaale era bakyali bassi ng’edda. Mu butuufu, emirimu gyabwe emibi gyeyongedde okuva lwe baasuulibwa okuva mu ggulu. Lipoota ezifunibwa okwetooloola ensi ziwa obukakafu ku bukambwe bwabwe. Bakuba abantu abamu obulwadde. Abalala ne babateganya ekiro, nga babalemesa okwebaka oba nga babawa ebirooto eby’entiisa. Abalala babakolako ebikolobero eby’obugwenyufu. Ate abalala ne babasuula eddalu, ne babaleetera okutta, oba okwetta.

Leero balubaale baleetera abantu abamu okuba abatemu; bateganya abalala ekiro, nga babawa ebirooto eby’entiisa

Lintina, abeera mu Suriname, ategeeza nti lubaale, oba omwoyo omubi, yatta abantu 16 ab’omu maka ge era n’amubonyaabonya ku mubiri ne mu birowoozo okumala emyaka 18. Okusinziira ku bye yayitamu ye kennyini, ategeeza nti balubaale “banyumirwa okutulugunya abantu baabwe be bakwasizza okutuusa okufa.”

Naye Yakuwa asobola okukuuma abaweereza be okuva ku bulumbi bwa Setaani.​—Engero 18:10.