Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ennyanjula

Ennyanjula

“Nnakulira mu kaalo akamu akali mu kitundu eky’amambuka,” bw’atyo Dauda ow’omu Sierra Leone bw’ategeeza. “Lumu, bwe nnali nkyali mulenzi muto, waaliwo okukaayanira ettaka wakati w’amaka gaffe n’amaka amalala. Gombi gaali gagamba nti ettaka lyago. Okumalawo olukaayano, omuganga yayitibwa. Yawa omusajja omu endabirwamu, awo ate n’amubikkako olugoye olweru. Mu kaseera katono omusajja eyali wansi w’olugoye yatandika okukankana n’okutuuyana. Nga bw’atunuulira mu ndabirwamu, yayogerera waggulu nti: ‘Ndaba omusajja omukadde ng’ajja! Ayambadde ebyambalo ebyeru. Muwanvu ate mukadde, alina envi, era ajja akootakoota.’

“Yali annyonnyola enfaanana ya Jjajja! Awo n’ataamuuka era n’awowoganira waggulu nti: ‘Bwe muba temukkiriza kye ŋŋamba, mujje mwerabireko!’ Mu mazima, tewali n’omu ku ffe yali asobola okukola ekyo! Omuganga yamukkakkanya ng’amufukirirako ebiragalalagala ebitabule okuva mu bikoola n’amazzi, bye yali akutte mu kaleku.

“Ng’ayogerera mu musajja ow’endabirwamu, ‘Jjajja’ yagamba nti ettaka lyali lya maka gaffe. Yagamba jjajjange omukazi nti asaanidde okukozesa ettaka awatali kweraliikirira. Amaka gali amalala gakkiriza okusalawo okwo. Olukaayano ne lumalibwawo.”

Ebintu ng’ebyo bibaawo nnyo mu Afirika ow’Ebugwanjuba. Eno, era nga mu bitundu ebirala eby’ensi, abantu bukadde na bukadde bakkiriza nti abafu bagenda mu nsi ey’emyoyo, gye basobolera okwekkaanya n’okubaako kye bakola ku bulamu bw’abantu ku nsi. Enzikiriza eno ntuufu? Ddala abafu balamu? Bwe kiba nga si bwe kiri, baani abo abeegamba okuba emyoyo gy’abafu? Okumanya eby’okuddamu ebituufu mu bibuuzo bino kikulu ddala. Nsonga ya kufa na kulama.