Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Olusuku lwa Katonda ku Nsi

Olusuku lwa Katonda ku Nsi

Yakuwa ajja kumalirawo ddala obubi bwonna Setaani bw’akoze. Yakuwa amaze okufuula Yesu Kristo Kabaka w’ensi yonna. Wansi w’obufuzi bwe, ensi ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda.​—Danyeri 7:13, 14; Lukka 23:43.

Yakuwa asuubiza ebintu bino:

  • EMMERE NNYINGI: “Ensi ereese ekyengera kyayo: Katonda, ye Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.” “Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y’ensozi.”​—Zabbuli 67:6; 72:16.

  • TEWAKYALI NTALO: “Mujje, mulabe ebikolwa bya [Yakuwa, NW], okuzikiriza kwe yaleeta mu nsi. Aggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y’ensi.”​—Zabbuli 46:8, 9.

  • TEWALI BANTU BABI: “Kubanga abakola obubi balizikirizibwa . . . Kubanga waliba akaseera katono, n’omubi talibeerawo. Weewaawo ekifo kye olikitunuulira ddala, naye talibeerawo.”​—Zabbuli 37:9, 10.

  • TEWALI BULWADDE, NNAKU, OBA KUFA: “Awo amaaso g’omuzibe w’amaaso ne galyoka gazibuka, n’amatu g’omuggavu w’amatu galigguka. Awo awenyera n’alyoka abuuka ng’ennangaazi n’olulimi lwa kasiru luliyimba.”​—Isaaya 35:5, 6.

    “Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo, Katonda waabwe: naye alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.”​—Okubikkulirwa 21:3, 4.

Obutafaananako Setaani ne balubaale, Yakuwa talimba. Buli kintu ky’asuubiza kiteekwa okutuukirira. (Lukka 1:36, 37) Yakuwa akwagala era ayagala obeere mu Lusuku lwe lw’ajja okukola. Kale tuukirira Abajulirwa ba Yakuwa okuyiga ebisingawo ku mazima ag’ekitalo agasangibwa mu Kigambo kya Katonda. Singa ogoberera amazima mu bulamu bwo, ojja kusumululwa okuva mu busibe eri obulimba, obulombolombo obutaliimu, n’obutamanya. Oluvannyuma, ojja kusumululwa ne mu busibe eri ekibi n’okufa. Nga Yesu bwe yagamba nti: “Mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe.”​—Yokaana 8:32.