Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 6

Amaanyi Agazikiriza​—‘Yakuwa, Mulwanyi Muzira’

Amaanyi Agazikiriza​—‘Yakuwa, Mulwanyi Muzira’

1-3. (a) Abaisiraeri baali boolekaganye na kabi ki okuva eri Abamisiri? (b) Yakuwa yalwanirira atya abantu be?

ABAISIRAERI tebaalina wa kuddukira. Ku njuyi zaabwe zombi waaliyo ensozi engulumivu ng’ate mu maaso gaabwe waliyo ennyanja. Eggye ly’Abamisiri, ery’amaanyi ennyo lyali libawondera, nga limaliridde okubazikiriza. * Wadde kyali kityo, Musa yakubiriza abantu ba Katonda obutaggwaamu ssuubi. Yabazzaamu amaanyi ng’abagamba, ‘Mukama kennyini anaabalwanirira.’​—Okuva 14:14.

2 Wadde kyali kityo, Musa yakaabirira Yakuwa, era Katonda n’amuddamu ng’agamba: ‘Lwaki onkaabirira, yimusa omuggo gwo, ogolole omukono gwo ku nnyanja, ogyawulemu.’ (Okuva 14:15, 16) Teeberezaamu ebyo ebyaddirira. Amangu ago Yakuwa atuma malayika, era empagi y’ekire eyimirira emabega wa Isiraeri, oboolyawo ng’eringa ekisenge ekiziyiza Abamisiri okubalumba. (Okuva 14:19, 20; Zabbuli 105:39) Musa agolola omukono gwe. Embuyaga ey’amaanyi ekunta n’eyawulamu ennyanja. Amazzi geetuuma ne gayimirira ng’ebisenge ku buli luuyi, ne kisobozesa eggwanga lyonna okuyitamu!​—Okuva 14:21; 15:8.

3 Falaawo bwe yandirabye ekikolwa ekyo eky’amaanyi, yandibadde alagira amagye ge okudda ennyuma. Naye, mu kifo ky’ekyo, Falaawo ow’amalala alagira eggye lye okulumba. (Okuva 14:23) Abamisiri bawondera Abaisiraeri mu nnyanja, era wabaawo akavuyo ka maanyi nga nnamuziga ziva ku magaali g’Abamisiri. Nga Abaisiraeri bamaze okutuuka emitala w’ennyanja, Yakuwa alagira Musa: “Golola omukono gwo ku nnyanja, amazzi gadde ku Bamisiri, ku magaali gaabwe ne ku beebagazi baabwe.” Amazzi gakomawo ne gazikiriza Falaawo n’eggye lye.​—Okuva 14:24-28; Zabbuli 136:15.

Ku Nnyanja Emmyufu, Yakuwa yeeraga nga bw’ali ‘omulwanyi omuzira’

4. (a) Yakuwa yeeraga kubeera ki ku Nnyanja Emmyufu? (b) Abamu bayinza kulowooza batya ku Yakuwa ng’ayitiddwa omulwanyi omuzira?

4 Okununulibwa kw’eggwanga lya Isiraeri ku Nnyanja Emmyufu kyali kintu kikulu nnyo mu byafaayo ku bikwata ku ngeri Katonda gye yakolaganamu n’abantu. Awo, Yakuwa yeeraga nga bw’ali ‘omulwanyi omuzira.’ (Okuva 15:3) Yakuwa okuyitibwa omulwanyi omuzira kikuleetera kumulowoozaako otya? Kyo kituufu nti, entalo zireetedde abantu obulumi n’obuyinike. Kyandiba nti engeri Katonda gy’akozesaamu amaanyi ge okuzikiriza ekutiisa butiisa mu kifo ky’okwagala okumufuula mukwano gwo?

Entalo za Katonda bw’Ozigeraageranya n’ez’Abantu

5, 6. (a) Lwaki Katonda ayitibwa ‘Yakuwa ow’eggye’? (b) Entalo za Katonda zaawukana zitya ku z’abantu?

5 Emirundi ng’ebikumi bisatu mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, ate era emirundi ebiri mu Byawandiikibwa eby’Ekikristaayo, Katonda ayitibwa ‘Yakuwa ow’eggye.’ (1 Samwiri 1:11) Ng’Omufuzi w’Obutonde Bwonna, Yakuwa alina eggye eddene erya bamalayika. (Yoswa 5:13-15; 1 Bassekabaka 22:19) Eggye eryo lya maanyi nnyo. (Isaaya 37:36) Tekisanyusa okulowooza ku kuzikirizibwa kw’abantu. Kyokka, tuteekwa okujjukira nti entalo za Katonda teziringa z’abantu. Bannabyabufuzi n’abakulu mu magye bayinza okubaako bye beekwasa nga batandikawo entalo. Naye entalo z’abantu zisibuka ku mululu n’okwerowoozaako.

6 Okwawukana ku ekyo, Yakuwa tamala gakola bintu awatali nsonga ntuufu. Ekyamateeka 32:4, lugamba: “Lwazi, omulimu gwe gwatuukirira; kubanga amakubo ge gonna musango [“ga bwenkanya,” NW]: Katonda ow’obwesigwa atalina bubi, wa mazima oyo era wa nsonga.” Ekigambo kya Katonda kivumirira obusungu, obukambwe, n’ettemu. (Olubereberye 49:7; Zabbuli 11:5) N’olwekyo, kyonna Yakuwa ky’akola kibaako ensonga. Tamala gakozesa maanyi ge kuzikiriza, era bw’aba agakozesezza, aba talina kirala kyonna kya kukola okugonjoola ensonga. Kiri ddala nga bwe yayogera okuyitira mu nnabbi we Ezeekyeri: “Nnina essanyu lye nsanyukira okufa kw’omubi? bw’ayogera Mukama Katonda: naye saagala bwagazi akomewo okuva mu kkubo lye abeere omulamu?”​—Ezeekyeri 18:23.

7, 8. (a) Ndowooza ki enkyamu Yobu gye yalina ku kubonaabona kwe? (b) Eriku yatereeza atya endowooza ya Yobu? (c) Kiki kye tuyinza okuyigira ku kyatuuka ku Yobu?

7 Kati olwo, lwaki Yakuwa akozesa amaanyi ge okuzikiriza? Nga tetunnaddamu kibuuzo ekyo, tuyinza okulowooza ku Yobu, omusajja omutuukirivu. Setaani yagamba nti Yobu oba omuntu omulala yenna teyandisigadde nga mugolokofu ng’agezesebwa. Yakuwa yakkiriza Setaani okugezesa obugolokofu bwa Yobu. N’ekyavaamu, Yobu yalwala, yafiirwa eby’obugagga bye, era n’abaana be. (Yobu 1:1–2:8) Olw’obutamanya nsonga zonna zizingirwamu, mu bukyamu Yobu yalowooza nti Katonda yali amubonereza mu ngeri etali ya bwenkanya. Yabuuza Katonda lwaki yali amufudde “sabbaawa,” oba “omulabe.”​—Yobu 7:20; 13:24.

8 Omuvubuka ayitibwa Eriku, yalaga obukyamu obwali mu ndowooza ya Yobu ng’agamba: “Oyogera nti obutuukirivu bwange businga obwa Katonda?” (Yobu 35:2) Yee, si kya magezi okulowooza nti ffe tumanyi okusinga Katonda oba nti alina ky’akoze ekitali kya bwenkanya. “Tekisoboka n’akatono Katonda ow’amazima okukola obubi, era Omuyinza w’Ebintu byonna okukola ebitali bya bwenkanya,” bw’atyo Eriku bwe yagamba. Oluvannyuma yagamba: “Omuyinza w’ebintu byonna tetuyinza kumunoonya; asinga bonna obuyinza: era mu musango ne mu butuukirivu obusukkirivu talibonyaabonya.” (Yobu 34:10, NW; 36:22, 23; 37:23) Tuyinza okuba abakakafu nti Katonda bw’alwana, aba n’ensonga ennungi. Nga tulina ekyo mu birowoozo, ka tulabe ensonga lwaki Katonda ow’emirembe emirundi egimu kimwetaagisa okulwana.​—1 Abakkolinso 14:33.

Ensonga Lwaki Katonda ow’Emirembe Awalirizibwa Okulwana

9. Lwaki Katonda ow’emirembe alwana?

9 Oluvannyuma lw’okutendereza Katonda nga ‘omulwanyi omuzira,’ Musa yagamba: “Ani afaanana nga ggwe, Mukama, mu bakatonda? Ani afaanana nga ggwe alina ekitiibwa mu butukuvu?” (Okuva 15:11) Mu ngeri y’emu, nnabbi Kaabakuuku yawandiika: “Ggwe alina amaaso agayinze obulongoofu obutatunuulira bubi, so toyinza kulaba bukyamu.” (Kaabakuuku 1:13) Yakuwa, Katonda wa kwagala, ate era mutukuvu, mutuukirivu, era wa bwenkanya. Emirundi egimu, engeri ze ezo zimuwaliriza okukozesa amaanyi ge okuzikiriza. (Isaaya 59:15-19; Lukka 18:7) N’olwekyo, Katonda aba tasudde muguluka butukuvu bwe bw’alwana. Wabula, alwana kubanga mutukuvu.​—Okuva 39:30.

10. (a) Ddi lwe kyasooka okwetaagisa Katonda okulwana, era yalwana mu ngeri ki? (b) Obulabe obwayogerwako mu Olubereberye 3:15 bulikoma ddi era abantu abatuukirivu baliganyulwa batya?

10 Lowooza ku kyaliwo oluvannyuma lw’abantu ababiri abaasooka, Adamu ne Kaawa, okujeemera Katonda. (Olubereberye 3:1-6) Singa Yakuwa yabuusa amaaso obutali butuukirivu bwabwe, yandifeebezza ekifo kye ng’Omufuzi w’Obutonde Bwonna. Olw’okuba Katonda mutuukirivu, yalina okubasalira ogw’okufa. (Abaruumi 6:23) Mu bunnabbi bwa Baibuli obwasooka, yalagula nti wandibaddewo obulabe wakati w’abaweereza be n’abagoberezi ‘b’omusota,’ Setaani. (Okubikkulirwa 12:9; Olubereberye 3:15) Obulabe obwo bwandikomye nga Setaani azikiriziddwa. (Abaruumi 16:20) Ekikolwa ekyo eky’okuzikiriza Setaani kijja kuleetera abantu abatuukirivu emikisa mingi, enkola ya Setaani eveewo ku nsi, era waddewo Olusuku lwa Katonda. (Matayo 19:28) Okutuusa nga Setaani amaze okuggibwawo, abo abeegatta ku Setaani bajja kweyongera okuba ab’obulabe eri abantu ba Katonda mu by’omubiri ne mu by’omwoyo. Emirundi egimu, kiba kyetaagisa Yakuwa okuyingira mu nsonga z’abantu.

Katonda Abaako ky’Akola Okumalawo Obubi

11. Lwaki Katonda kyali kimwetaagisa okuleeta amataba?

11 Amataba g’omu kiseera kya Nuuwa kyakulabirako ekimu ekiraga nti Katonda ayingira mu nsonga z’abantu. Olubereberye 6:11, 12 wagamba: “Ensi n’eyonooneka mu maaso ga Katonda, ensi n’ejjula eddalu [“ettemu,” NW]. Katonda n’alaba ensi, ng’eyonoonese; kubanga [buli] ekirina omubiri kyonna kyali nga kimaze okwonoona ekkubo lyakyo ku nsi.” Katonda yandirese ababi okwonoonera ddala empisa z’abantu ku nsi? Nedda. Yakuwa yalaba nga kyali kyetaagisa okuleeta amataba mu nsi yonna okuzikiriza abo abaali benyigidde mu bikolwa eby’ettemu n’obugwenyufu.

12. (a) Yakuwa yalagula ki ku bikwata ku ‘zzadde’ lya Ibulayimu? (b) Lwaki Abaamoli baali bagenda kuzikirizibwa?

12 Era bwe kyali eri omusango Katonda gwe yasalira Abakanani. Yakuwa yabikkula nti mu Ibulayimu mwe mwandiyitidde “ezzadde” abantu bonna ku nsi mwe bandiweereddwa omukisa. Nga kituukagana n’ekigendererwa ekyo, Katonda yagamba nti ezzadde lya Ibulayimu lyandiweereddwa ensi ya Kanani, ensi eyalimu abantu abayitibwa Abaamoli. Katonda yandibadde mutuufu okuggya abantu bano mu nsi yaabwe? Yakuwa yalagula nti okuggya abantu abo mu nsi yaabwe kyandibaddewo oluvannyuma lw’emyaka 400​—‘ng’obutali butuukirivu bw’Abaamoli’ bumaze ‘okutuuka ku ntikko.’ * (Olubereberye 12:1-3; 13:14, 15; 15:13, 16, NW; 22:18) Mu kiseera ekyo, empisa z’Abaamoli zeeyongera okwonooneka. Kanani yafuuka ensi omujjudde okusinza ebifaananyi, okuyiwa omusaayi, era n’ebikolwa eby’obuseegu. (Okuva 23:24; 34:12, 13; Okubala 33:52) Abantu b’omu nsi eyo baawangayo n’abaana baabwe nga ssaddaaka. Katonda omutukuvu yanditutte abantu be okubeera mu mbeera embi bw’etyo? Nedda! Yagamba: “Ensi eyonoonese: kyenva ngiwalanako obutali butuukirivu bwayo, n’ensi esesemera ddala abagituulamu.” (Eby’Abaleevi 18:21-25) Kyokka, Yakuwa teyamala gatta bantu. Abakanani ab’emitima emirungi, gamba nga Lakabu n’Abagibyoni baawonyezebwawo.​—Yoswa 6:25; 9:3-27.

Okulwanirira Erinnya Lye

13, 14. (a) Lwaki Yakuwa yalina okutukuza erinnya lye? (b) Yakuwa yaggya atya ekivume ku linnya lye?

13 Okuva Yakuwa bw’ali omutukuvu, n’erinnya lye ttukuvu. (Eby’Abaleevi 22:32) Yesu yayigiriza abayigirizwa be okusaba: “Erinnya lyo litukuzibwe.” (Matayo 6:9) Obujeemu obwaliwo mu Adeni bwasiiga enziro erinnya lya Katonda, ne kireetawo okubuusabuusa ku ngeri gy’afugamu. Yakuwa yali tayinza n’akamu kubuusa maaso bulimba n’obujeemu obwo. Yali alina okuggya ekivume ku linnya lye.​—Isaaya 48:11.

14 Era lowooza ku Baisiraeri. Bwe bandisigadde nga baddu mu Misiri, ekisuubizo kya Katonda eri Ibulayimu nti okuyitira mu Zzadde lye amawanga gonna mwe gandiweereddwa omukisa, tekyandibadde na makulu. Naye, bwe yabanunula n’abafuula eggwanga, Yakuwa yaggya ekivume ku linnya lye. Nnabbi Danyeri yasaba: “Ai Mukama Katonda waffe . . . [w]aggya abantu bo mu nsi y’e Misiri n’omukono ogw’amaanyi, ne [w]eefunira ekitiibwa.”​—Danyeri 9:15.

15. Lwaki Yakuwa yanunula Abayudaaya abaali mu buddu mu Babulooni?

15 Danyeri yasaba bw’atyo mu kiseera Abayudaaya bwe baali beetaaga Yakuwa okubaako ky’akolawo omulundi omulala ku lw’erinnya Lye. Abayudaaya abajeemu baali mu buddu, ku luno mu Babulooni. Yerusaalemi ekibuga kyabwe ekikulu, kyali matongo. Danyeri yali akimanyi nti okuzzaayo Abayudaaya ku butaka kyandigulumizza erinnya lya Yakuwa. N’olwekyo, Danyeri yasaba: ‘Ai Yakuwa, sonyiwa: ai Yakuwa, wulira okole: tolwawo: ku bubwo wekka, ai Katonda wange, kubanga ekibuga kyo n’abantu bo batuumiddwa erinnya lyo.’​Danyeri 9:18, 19.

Okulwanirira Abantu Be

16. Nnyonnyola ensonga lwaki Yakuwa okwagala okuggya ekivume ku linnya lye tekitegeeza nti yeefaako yekka.

16 Yakuwa okwagala okuggya ekivume ku linnya lye kitegeeza nti yeerowoozaako yekka? Nedda, wabula kiraga nti akuuma abantu be bwe yeeyisa mu ngeri etuukagana n’obutukuvu bwe era n’obwenkanya bwe. Lowooza ku Olubereberye essuula 14. Mu ssuula eyo tusoma ku bakabaka bana abaawamba Lutti, omwana wa muganda wa Ibulayimu, awamu n’ab’omu maka ga Lutti. Ng’ayambibwako Katonda, Ibulayimu yawangula eggye eryo eryali ery’amaanyi ennyo! Obuwanguzi buno kirabika bwe bwasooka okuwandiikibwa mu ‘kitabo ky’Entalo za Yakuwa,’ era kirabika nti ekitabo ekyo kyalimu entalo ezimu ezitaayogerwako mu Baibuli. (Okubala 21:14) Obuwanguzi obulala bungi bwandiddiridde.

17. Kiki ekiraga nti Yakuwa yalwanirira Abaisiraeri oluvannyuma lw’okuyingira mu nsi ya Kanani? Waayo ebyokulabirako.

17 Ng’Abaisiraeri banaatera okuyingira mu Kanani, Musa yabakakasa: “Mukama Katonda wammwe abakulembera ye anaabalwaniriranga, nga byonna bwe byali bye yabakolera mu Misiri mu maaso gammwe.” (Ekyamateeka 1:30; 20:1) Mazima ddala okuva mu kiseera kya Yoswa eyaddira Musa mu bigere, n’okweyongerayo mu biseera by’Abalamuzi era n’obufuzi bwa bakabaka ba Yuda abeesigwa, Yakuwa yalwanirira abantu be, n’abasobozesa okuwangula abalabe baabwe bangi.​—Yoswa 10:1-14; Ekyabalamuzi 4:12-17; 2 Samwiri 5:17-21.

18. (a) Lwaki twandisanyuse nti Yakuwa takyukakyuka? (b) Kiki ekiribaawo obulabe obwogerwako mu Olubereberye 3:15 nga butuuse ku ntikko yaabwo?

18 Yakuwa takyukanga era n’ekigendererwa kye eky’okufuula ensi eno olusuku lwe tekikyukanga. (Olubereberye 1:27, 28) Ate era Katonda akyawa obubi. Mu kiseera kye kimu, ayagala nnyo abantu be era mangu ddala ajja kubaako ky’akola ku lwabwe. (Zabbuli 11:7) Mu butuufu, obulabe obwogerwako mu Olubereberye 3:15 busuubirwa okutuuka ku ntikko mu maaso awo. Okusobola okutukuza erinnya lye n’okukuuma abantu be, Yakuwa ajja kuddamu okubeera ‘omulwanyi omuzira’!​—Zekkaliya 14:3; Okubikkulirwa 16:14, 16.

19. (a) Waayo ekyokulabirako ekiraga nti Katonda okukozesa amaanyi ag’okuzikiriza kituleetera okweyongera okumwagala. (b) Katonda okuba nti mwetegefu okutulwanirira kyanditukozeeko ki?

19 Lowooza ku kyokulabirako kino: Teeberezaamu ng’amaka g’omusajja omu galumbiddwa ensolo enkambwe era omusajja oyo n’alwanyisa ensolo eyo n’agitta. Olowooza nti mukyala we n’abaana bandyesisiwadde olw’ekikolwa ekyo? Nedda, wandibasuubidde okumusiima olw’ekikolwa ekyo eky’okwagala. Mu ngeri y’emu, naffe tetwandyesisiwadde olw’engeri Katonda gy’akozesaamu amaanyi okuzikiriza. Okuba nti mwetegefu okutulwanirira kyandituleetedde okweyongera okumwagala. Era twandyeyongedde okumussaamu ekitiibwa olw’amaanyi ge agatakoma. Mu ngeri eyo, tuyinza ‘okuweereza Katonda n’okutya.’​—Abaebbulaniya 12:28.

Funa Enkolagana Ennungi ‘n’Omulwanyi Omuzira’

20. Bwe tusoma ebikwata ku ntalo za Yakuwa mu Baibuli naye ne tutabitegeera mu bujjuvu, twandikoze ki, era lwaki?

20 Kya lwatu, Baibuli tennyonnyola kalonda yenna akwata ku ntalo za Yakuwa. Naye tuyinza okubeera abakakafu ku nsonga eno: Yakuwa takozesa maanyi ge okuzikiriza mu ngeri etali ya bwenkanya, ey’ettima oba ey’obukambwe. Emirundi mingi, bwe twekenneenya byonna ebikwata ku nsonga emu eyogeddwako mu Baibuli, kituyamba okufuna ekifaananyi ekituufu. (Engero 18:13) Ne bwe tuba nga tetumanyi kalonda yenna agikwatako, okumanya ebisingawo ku Yakuwa n’okufumiitiriza ku ngeri ze ez’ekitalo kiyinza okutuyamba okuvvuunuka okubuusabuusa kwonna okuyinza okujjawo. Bwe tukola bwe tutyo, tukiraba nti tulina ensonga nnyingi nnyo okwesiga Katonda waffe, Yakuwa.​—Yobu 34:12.

21. Wadde ng’ebiseera ebimu aba ‘mulwanyi omuzira,’ Yakuwa muntu wa ngeri ki?

21 Wadde nga Yakuwa abeera ‘mulwanyi muzira’ we kyetaagisiza, ekyo tekitegeeza nti muntu awakula entalo. Mu kwolesebwa kwa Ezeekyeri okw’eggaali ery’omu ggulu, Yakuwa ayogerwako ng’omwetegefu okulwanyisa abalabe be. Ate era, Ezeekyeri yalaba Katonda nga yeetooloddwa musoke​—akabonero akooleka emirembe. (Olubereberye 9:13; Ezeekyeri 1:28; Okubikkulirwa 4:3) N’olwekyo, Yakuwa mukkakkamu era wa mirembe. “Katonda kwagala,” bw’atyo omutume Yokaana bwe yawandiika. (1 Yokaana 4:8) Yakuwa ayolesa engeri ze zonna wamu awatali kugwa lubege. Nga tulina enkizo ya maanyi okufuna enkolagana ennungi ne Katonda ng’oyo ow’amaanyi, kyokka nga wa kwagala!

^ lup. 1 Okusinziira ku Josephus, munnabyafaayo Omuyudaaya, Abebbulaniya “baawonderwa amagaali g’entalo 600, abeebagazi b’embalaasi 50,000 awamu n’abaserikale abatambuza ebigere abawerera ddala 200,000.”​—Jewish Antiquities, II, 324 [xv, 3].

^ lup. 12 Wano ekigambo “Abaamoli” kirabika kizingiramu abantu bonna ab’omu Kanani.​—Ekyamateeka 1:6-8, 19-21, 27; Yoswa 24:15, 18.