EKITUNDU 2
“Ayagala Obwenkanya”
Obutali bwekanya bucaase mu nsi leero era mu bukyamu abantu omusango baguteeka ku Katonda. Kyokka, Baibuli eyigiriza amazima ag’omuwendo—nti “Yakuwa ayagala obwenkanya.” (Zabbuli 37:28, NW) Mu kitundu kino tujja kulaba engeri gy’atuukanye n’ebigambo ebyo, ng’awa abantu bonna essuubi.
MU KITUNDU KINO
ESSUULA 11
“Amakubo Ge Gonna ga Bwenkanya”
Mu ngeri ki obwenkanya bwa Katonda gye buli obulungi ennyo?
ESSUULA 14
Yakuwa Akola Enteekateeka ‘y’Ekinunulo ku lw’Abangi’
Enjigiriza eno esobola okukuyamba okufuna enkolagana ennungi ne Katonda.
ESSUULA 15
Yesu ‘Aleeta Obwenkanya mu Nsi’
Yesu yatumbula atya obwenkanya mu biseera ebyayita? Abutumbula atya leero? Era anaaletawo atya obwenkanya mubiseera eby’omu maaso?
ESSUULA 16
“Yoleka Obwenkanya” ng’Otambula ne Katonda
Lwaki Yesu yalabula nti: “Temusalanga musango, muleme okusalirwa [omusango]”?