Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 11

“Amakubo Ge Gonna ga Bwenkanya”

“Amakubo Ge Gonna ga Bwenkanya”

1, 2. (a) Yusufu yayisibwa atya mu ngeri etali ya bwenkanya? (b) Yakuwa yamalawo atya obutali bwenkanya?

BWALI butali bwenkanya obw’enkukunala. Omuvubuka alabika obulungi yali talina musango gwonna gw’azizza, kyokka yasuulibwa mu kkomera ng’avunaanibwa okugezaako okukwata omukazi. Ate ogwo si gwe gwali omulundi ogusooka okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Emabegako, ng’aweza emyaka 17, omuvubuka ono, ayitibwa Yusufu, baganda be baamulyamu olukwe, era katono bamutte. Yatundibwa mu buddu mu nsi engwira. Ng’ali mu nsi eyo, yagaana okwetaba ne mukyala wa mukama we eyali amusendasenda. Omukazi gwe yagaana yayogera eby’obulimba ku Yusufu, era mu ngeri eyo n’asibibwa mu kkomera. Eky’ennaku, kyalabika nga awataaliwo n’omu yali ayinza kuwolereza Yusufu.

Mu butali bwenkanya, Yusufu yasuulibwa mu ‘kkomera’

2 Kyokka, Katonda “ayagala obutuukirivu n’amazima [“n’obwenkanya,” NW]” yali alaba ebigenda mu maaso. (Zabbuli 33:5) Yakuwa alina kye yakolawo okumalawo obutali bwenkanya, era mu nkomerero Yusufu n’asumululwa. Ng’oggyeko okusumululwa mu ‘kkomera,’ oluvannyuma yaweebwa ekifo eky’obuvunaanyizibwa era eky’ekitiibwa. (Olubereberye 40:15; 41:41-43; Zabbuli 105:17, 18) Mu nkomerero, kyakakasibwa nti Yusufu talina musango gwonna gwe yazza, era yakozesa ekifo kye okutuukiriza ebigendererwa bya Katonda.​—Olubereberye 45:5-8.

3. Lwaki tekyewuunyisa nti ffenna twagala okuyisibwa mu ngeri ey’obwenkanya?

3 Ebyaliwo ng’ebyo bikwata ku mitima gyaffe, si bwe kiri? Ani ku ffe atalabangako butali bwenkanya oba atayisibwangako mu ngeri etali ya bwenkanya? Mazima ddala, ffenna twagala okuyisibwa mu ngeri ey’obwenkanya. Ekyo tekyewuunyisa kubanga Yakuwa yatutonda nga tulina engeri ezifaananako ezize, era obwenkanya y’emu ku ngeri ze enkulu. (Olubereberye 1:27) Okusobola okumanya Yakuwa obulungi, twetaaga okutegeera engeri gy’atunuuliramu obwenkanya. Mu ngeri eyo, tuyinza okweyongera okusiima amakubo ge era ne tusikirizibwa okufuna enkolagana ennungi naye.

Obwenkanya Kye Ki?

4. Okusinziira ku bantu, obwenkanya kye ki?

4 Okusinziira ku bantu, obwenkanya butwalibwa ng’okugoberera amateeka kye gagamba. Ekitabo ekiyitibwa Right and Reason​Ethics in Theory and Practice (Obwenkanya n’Endowooza Ennuŋŋamu​—Emitindo gy’Empisa mu Bigambo ne mu Bikolwa) kigamba nti “obwenkanya bukwataganyizibwa n’amateeka, obuvunaanyizibwa, n’eddembe ly’omuntu era tebubaamu kusosola kwonna.” Kyokka, bwo obwenkanya bwa Yakuwa butwaliramu ekisingawo ku kugoberera obugoberezi amateeka okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa.

5, 6. (a) Ebigambo ebyakozesebwa mu lulimi olwasooka ebivvuunulwa “obwenkanya,” birina makulu ki? (b) Katonda okubeera omwenkanya kitegeeza ki?

5 Tuyinza okutegeera obulungi obwenkanya bwa Yakuwa bwe twekenneenya ebigambo ebyakozesebwa mu Baibuli mu lulimi olwasooka. Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, ebigambo bisatu ebikulu bikozesebwa. Ekigambo ekitera okuvvuunulwa nga ‘obwenkanya’ era kiyinza okuvvuunulwa nga “ekituufu.” (Olubereberye 18:25, NW) Ebigambo ebirala ebibiri bitera kuvvuunulwa nga “obutuukirivu.” Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani eby’Ekikristaayo, ekigambo ekivvuunulwa “obutuukirivu” kinnyonnyolwa nga “ekituufu oba eky’obwenkanya.” N’olwekyo, okutwalira awamu, tewaliwo njawulo wakati wa butuukirivu na bwenkanya.​—Amosi 5:24, NW.

6 Bwe kityo, Baibuli bw’egamba nti Katonda mwenkanya, eba etutegeeza nti bulijjo akola ekiba ekituufu awatali kusosola. (Abaruumi 2:11) Mazima ddala tasobola n’akamu okukola ekitali kituufu oba ekitali kya bwenkanya. Eriku omwesigwa yagamba: “Katonda ow’amazima tayinza n’omulundi n’ogumu okukola obubi, era Omuyinza w’ebintu byonna, tayinza kukola bitali bya bwenkanya.” (Yobu 34:10, NW) Mazima ddala, tekiyinzika n’akamu Yakuwa ‘okweyisa mu ngeri etali ya bwenkanya.’ Lwaki? Olw’ensonga bbiri enkulu.

7, 8. (a) Lwaki Yakuwa tasobola kweyisa mu ngeri etali ya bwenkanya? (b) Kiki ekikubiriza Yakuwa okubeera omutuukirivu oba omwenkanya mu ngeri gy’akolaganamu n’abalala?

7 Ensonga esooka, mutukuvu. Nga bwe twalaba mu Ssuula 3, Yakuwa mulongoofu ddala. N’olwekyo, tayinza kukola kitali kya butuukirivu oba kitali kya bwenkanya. Fumiitiriza ekyo kye kitegeeza. Olw’okuba Kitaffe ali mu ggulu mutukuvu, tuli bakakafu nti tayinza n’akamu kuyisa bubi baana be. Yesu yalina obwesige ng’obwo. Ekiro ekyasembayo ng’ali ku nsi, yasaba: ‘Kitange Omutukuvu, abayigirizwa obakuumenga olw’erinnya lyo.’ (Yokaana 17:11) Mu Byawandiikibwa, ebigambo ‘Kitaffe Omutukuvu,’ bikozesebwa ku Yakuwa yekka. Kino kituukirawo, kubanga tewali taata yenna ku nsi amwenkana obutukuvu. Yesu yalina obwesige nti abayigirizwa be bandibadde bulungi nga balabirirwa Kitaawe, omulongoofu era atalina kakwate na bubi bwonna.​—Matayo 23:9.

8 Ensonga ey’okubiri, Katonda ayoleka okwagala okw’ekitalo mu buli mbeera. Okwagala ng’okwo kumuleetera okuba omutuukirivu oba omwenkanya mu ngeri gy’akolaganamu n’abalala. Kyokka obutali bwenkanya obw’engeri zonna​—gamba ng’obusosoze, ne kyekubiira​—busibuka ku mululu n’okwerowoozaako, ebintu ebikontana n’okwagala. Baibuli eyogera bw’eti ku Katonda ow’okwagala: “Mukama mutuukirivu; ayagala eby’obutuukirivu.” (Zabbuli 11:7) Yakuwa kennyini yeeyogerako bw’ati: “Nze, Yakuwa, njagala obwenkanya.” (Isaaya 61:8, NW) Tekizzaamu amaanyi okumanya nti Katonda waffe ayagala okukola ekituufu oba eky’obwenkanya?​—Yeremiya 9:24.

Obusaasizi n’Obwenkanya bwa Yakuwa Obutuukiridde

9-11. (a) Kakwate ki akaliwo wakati w’obwenkanya bwa Yakuwa n’obusaasizi bwe? (b) Obwenkanya bwa Yakuwa awamu n’obusaasizi bwe byeyoleka bitya mu ngeri gy’akolaganamu n’abantu aboonoonyi?

9 Obwenkanya bwa Yakuwa, okufaananako engeri ze endala, butuukiridde, era tebulina kye bubulako. Ng’agulumiza Yakuwa, Musa yawandiika: “Lwazi, omulimu gwe gwatuukirira, kubanga amakubo ge gonna ga bwenkanya. Katonda omwesigwa, ateeyisa mu ngeri etali ya bwenkanya; mutuukirivu era mugolokofu.” (Ekyamateeka 32:3, 4, NW) Yakuwa bw’aba alaga obwenkanya, tawa bbeetu lya nsusso ate taba mukambwe kiyitiridde.

10 Waliwo akakwate ka maanyi wakati w’obwenkanya bwa Yakuwa n’obusaasizi bwe. Zabbuli 116:5 egamba: “Mukama wa kisa, era mutuukirivu [“mwenkanya,” The New American Bible]; weewaawo, Katonda waffe alina okusaasira.” Yee, Yakuwa mwenkanya era musaasizi. Engeri ezo zombi tezikontana. Bw’alaga obusaasizi, aba tabuusa maaso bwenkanya bwe, nga gy’obeera nti bw’atandiraze busaasizi, obwenkanya bwe bwandibadde bukakali nnyo. Wabula, engeri ezo ebbiri, emirundi mingi azooleka mu kiseera kye kimu oba mu kikolwa kimu. Lowooza ku kyokulabirako kino.

11 Abantu bonna baasikira ekibi era bwe kityo bagwanidde okusasulwa empeera y’ekibi, okufa. (Abaruumi 5:12) Naye Yakuwa tasanyukira kufa kwa babi. Ye “Katonda eyeeteeseteese okusonyiwa, ow’ekisa era ajjudde okusaasira.” (Nekkemiya 9:17) Wadde kiri kityo, olw’okuba mutukuvu, tayinza kubuusa maaso butali butuukirivu. Kati olwo, asaasira abantu abaasikira ekibi? Eky’okuddamu kikwataganyizibwa n’amazima agasingayo okuba ag’omuwendo agali mu Kigambo kya Katonda: enteekateeka ya Yakuwa ey’okulokola abantu okuyitira mu kinunulo. Mu Ssuula 14, tujja kuyiga ebisingawo ebikwata ku nteekateeka eno ey’okwagala. Ate era, enteekateeka eno ya bwenkanya era ya busaasizi. Okuyitira mu nteekateeka eyo, Yakuwa ayinza okusaasira aboonoonyi abeenenya ng’ate mu kiseera kye kimu agoberera emitindo gye eby’obwenkanya.​—Abaruumi 3:21-26.

Obwenkanya bwa Yakuwa Bubuguumiriza

12, 13. (a) Lwaki obwenkanya bwa Yakuwa butusikiriza gy’ali? (b) Kiki Dawudi kye yategeera ku bikwata ku bwenkanya bwa Yakuwa, era ekyo kiyinza kitya okutuzzaamu amaanyi?

12 Obwenkanya bwa Yakuwa si ngeri etasikiriza, wabula ngeri etwagazisa okufuna enkolagana ennungi naye. Baibuli ennyonnyola bulungi obwenkanya bwa Yakuwa, oba obutuukirivu bwe. Ka tulabe ezimu ku ngeri ezibuguumiriza Yakuwa mw’alagira obwenkanya bwe.

13 Obwenkanya bwa Yakuwa bumuleetera okubeera omwesigwa eri abaweereza be. Dawudi, omuwandiisi wa Zabbuli, yasiima engeri eno ey’obwenkanya bwa Yakuwa. Okuva ku byamutuukako ne bye yayiga ku ngeri Katonda gy’akolamu ebintu, Dawudi yategeera ki? Yagamba: “Yakuwa ayagala obwenkanya era taleka bantu be abeesigwa. Bakuumibwa emirembe gyonna.” (Zabbuli 37:28, NW) Ng’ebigambo ebyo bizzaamu nnyo amaanyi! Katonda waffe tayinza n’akamu kwabulira abo abamwesiga. N’olwekyo, tuyinza okuba abakakafu nti ajja kubeeranga naffe era atulabirire. Obwenkanya bwe butusobozesa okuba abakakafu ku kino!​—Engero 2:7, 8.

14. Amateeka Yakuwa ge yawa Isiraeri gaalaga gatya nti afaayo ku banaku?

14 Obwenkanya bwa Katonda bumuleetera okumanya ebyetaago by’abo abali mu nnaku. Amateeka Yakuwa ge yawa Isiraeri gaalaga bulungi nti afaayo ku banaku. Ng’ekyokulabirako, Amateeka ago gaalimu enteekateeka ey’enjawulo esobozesa bamulekwa ne bannamwandu okulabirirwa. (Ekyamateeka 24:17-21) Ng’ategeera engeri obulamu gye bwandizibuwalidde abantu ng’abo, Yakuwa kennyini yafuuka Omulamuzi waabwe era Omukuumi waabwe, oyo “asalira omusango mulekwa ne nnamwandu.” (Ekyamateeka 10:18; Zabbuli 68:5) Yakuwa yalabula Abaisiraeri nti bwe bandiyisizza obubi abakazi n’abaana abatalina mwasirizi, yandibadduukiridde. Yagamba: “Obusungu bwange bulyaka nnyo.” (Okuva 22:22-24) Wadde ng’obusungu si ngeri ya Yakuwa enkulu, asunguwala, singa abanaku n’abatalina buyambi, mu bugenderevu, bayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya.​—Zabbuli 103:6.

15, 16. Bujulizi ki obw’enkukunala obulaga nti Yakuwa tasosola?

15 Era Yakuwa atukakasa nti ‘tasosola era talya nguzi.’ (Ekyamateeka 10:17) Okwawukana ku bantu bangi abalina obuyinza, Yakuwa ye tatunuulira bya bugagga omuntu by’alina wadde endabika ye ey’okungulu. Tasosola n’akamu. Weetegereze obujulizi obw’enkukunala obulaga nti Yakuwa tasosola. Omukisa gw’okufuuka abasinza be ab’amazima, abalina essuubi ery’obulamu obutwaggwaawo, teguweebwa batono abalondemu. Wabula, “mu ggwanga lyonna amutya n’akola obutuukirivu amukkiriza.” (Ebikolwa 10:34, 35) Essuubi lino ery’ekitalo liyinza okufunibwa buli muntu k’abe mu mbeera ki, kika ki, oba ggwanga ki. Obwo si bwenkanya obuli ku kigero ekya waggulu ennyo?

16 Waliwo engeri endala ey’obwenkanya bwa Yakuwa egwanidde okulowoozebwako: engeri gy’ayisaamu abo abatatuukiriza mitindo gye egy’obutuukirivu.

Talekaayo Kubonereza

17. Nnyonnyola lwaki obutali bwenkanya obuli mu nsi tebutegeeza nti obwenkanya bwa Yakuwa buliko ekikyamu.

17 Abamu bayinza okugamba: ‘Bwe kiba nti Yakuwa tabuusa maaso butali butuukirivu, lwaki obutali bwenkanya, okubonaabona n’obulyi bw’enguzi bicaase nnyo leero?’ Ebikolwa ng’ebyo ebibi ebiriwo tebitegeeza nti obwenkanya bwa Yakuwa buliko ekikyamu. Obutali bwenkanya obuliwo leero busibuka ku kibi abantu kye baasikira ku Adamu. Mu nsi abantu mwe basazeewo okugoberera amakubo gaabwe amabi, obutali bwenkanya bungi nnyo, naye tebujja kubaawo kiseera kiwanvu.​—Ekyamateeka 32:5.

18, 19. Kiki ekiraga nti Yakuwa tajja kugumiikiriza emirembe gyonna abo abamenya amateeka ge ag’obutuukirivu mu bugenderevu?

18 Wadde nga Yakuwa alaga obusaasizi abo abafuba okubeera n’enkolagana ennungi naye, tayinza kugumiikiriza bbanga lyonna mbeera ereeta ekivume ku linnya lye ettukuvu. (Zabbuli 74:10, 22, 23) Katonda ow’obwenkanya tasekererwa; era tajja kulema kubonereza abo abagwanidde okubonerezebwa. Yakuwa ye “Katonda ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n’amazima amangi: . . . era atalimuggyako omusango n’akatono oyo aligubaako.” (Okuva 34:6, 7) Ng’atuukagana n’ebigambo ebyo, emirundi egimu Yakuwa akisanze nga kyetaagisa okubonereza abo abamenya amateeka ge ag’obutuukirivu mu bugenderevu.

19 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Katonda gye yakolaganamu ne Isiraeri ey’edda. Ne bwe baali nga bamaze okutuuka mu Nsi Ensuubize, enfunda n’enfunda Abaisiraeri benyigiranga mu bikolwa ebibi. Wadde amakubo gaabwe amabi ‘gaanakuwaza’ Yakuwa, teyabaabulira mangu ago. (Zabbuli 78:38-41) Wabula, yabawa omukisa okukyusa amakubo gaabwe. Yabagamba: “Sirina ssanyu lye nsanyukira okufa kw’omubi: wabula omubi akyuke ave mu kkubo lye abeere omulamu: mukyuke, mukyuke okuva mu makubo gammwe amabi; kubanga mwagalira ki okufa, ai ennyumba ya Isiraeri?” (Ezeekyeri 33:11) Ng’atwala obulamu bwabwe okuba obw’omuwendo, enfunda n’enfunda Yakuwa yatuma bannabbi be eri Abaisiraeri basobole okuleka amakubo gaabwe amabi. Naye, okutwalira awamu, abantu abo abakakanyavu baagaana okuwuliriza n’okwenenya. Mu nkomerero, ku lw’erinnya lye ettukuvu n’ekyo kye likiikirira, Yakuwa yabawaayo mu mikono gy’abalabe baabwe.​—Nekkemiya 9:26-30.

20. (a) Engeri Katonda gye yakolaganamu ne Isiraeri etuyigiriza biki ebimukwatako? (b) Lwaki kituukirawo empologoma okukiikirira obwenkanya bwa Yakuwa?

20 Engeri Yakuwa gye yakolaganamu ne Isiraeri, etuyigiriza bingi ebimukwatako. Tuyiga nti amaaso ge agalaba byonna galaba obutali butuukirivu obuliwo era nti munakuwavu nnyo olw’ebyo by’alaba. (Engero 15:3) Era kizzaamu amaanyi okumanya nti alaga obusaasizi singa wabaawo ensonga kw’ayinza okusinziira okubulaga. Era tuyiga nti tayanguyiriza kubonereza bazizza musango. Olw’obugumiikiriza bwa Yakuwa, abantu bangi balowooza mu bukyamu nti tagenda kubonereza babi. Naye ekyo si kituufu, kubanga engeri Katonda gye yakolaganamu ne Isiraeri etuyigiriza nti obugumiikiriza bwa Katonda buliko ekkomo. Yakuwa anywerera ku butuukirivu. Okwawukana ku bantu, oluusi abatya okulaga obwenkanya, tewali kiyinza kumulemesa kunywerera ku kituufu. Nga kituukirawo, empologoma ekiikirira obuvumu n’obwenkanya, ekwataganyizibwa n’entebe ya Katonda ey’obwakabaka. * (Ezeekyeri 1:10; Okubikkulirwa 4:7) N’olwekyo, tuyinza okuba abakakafu nti ajja kutuukiriza ekisuubizo kye eky’okumalawo obutali bwenkanya ku nsi. Mazima ddala, engeri gy’alamulamu eyinza okuwumbibwako bw’eti: aba munywevu we kyetaagisiza, asaasira buli lwe kiba kisoboka.​—2 Peetero 3:9.

Okufuna Enkolagana Ennungi ne Katonda ow’Obwenkanya

21. Bwe tufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’alagamu obwenkanya, twandimututte tutya, era lwaki?

21 Bwe tufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’alagamu obwenkanya, tetwandimututte okuba omulamuzi omukambwe ayagala obwagazi okusalira aboonoonyi emisango. Wabula, twandimututte nga Kitaffe ow’okwagala naye omunywevu, buli kiseera ayisa abaana be mu ngeri esingayo obulungi. Nga Kitaffe ow’obwenkanya oba omutuukirivu, Yakuwa anywerera ku kituufu ng’ate bw’asaasira abaana be ab’oku nsi, abeetaaga obuyambi n’okusonyiyibwa.​—Zabbuli 103:10, 13.

22. Olw’obwenkanya bwe, Yakuwa atusobozesezza kubeera na ssuubi ki, era lwaki?

22 Nga tuli basanyufu nnyo okumanya nti obwenkanya bwa Katonda butwaliramu ekisingawo ku kusalira obusalizi aboonoonyi emisango! Olw’obwenkanya bwe, Yakuwa atuwadde essuubi ery’ekitalo, ery’obulamu obutuukiridde, obw’emirembe n’emirembe mu nsi ‘omulituula obutuukirivu.’ (2 Peetero 3:13) Katonda waffe akolagana naffe mu ngeri eno kubanga obwenkanya bwe bulina ekigendererwa kya kuwonya so si okusalira abantu omusango. Mazima ddala, okutegeera obulungi obwenkanya bwa Yakuwa kitwagazisa okufuna enkolagana ennungi naye! Mu ssuula eziddako, tujja kwekenneenya engeri Yakuwa gy’alagamu engeri eno ennungi ennyo.

^ lup. 20 Yakuwa yeegeraageranya ku mpologoma ng’ayogera ku kubonereza Abaisiraeri abataali beesigwa.​—Yeremiya 25:38; Koseya 5:14.