ESSUULA 28
‘Ggwe Mwesigwa Wekka’
1, 2. Lwaki kiyinza okugambibwa nti obutali bwesigwa tekyali kippya eri Kabaka Dawudi?
OBUTALI bwesigwa tekyali kippya eri Kabaka Dawudi. Mu kiseera ekimu eky’obufuzi bwe, ab’omu ggwanga lye bennyini baamulyamu olukwe. Ate era, abo abandisuubiddwa okuba mikwano gya Dawudi egy’oku lusegere, nabo baamulyamu olukwe. Lowooza ku Mikali, mukyala wa Dawudi eyasooka. Mu kusooka, ‘yali ayagala Dawudi,’ awatali kubuusabuusa ng’amuwagira mu mirimu gye nga kabaka. Kyokka, oluvannyuma, ‘yamunyooma mu mutima gwe,’ n’atuuka n’okumuyita “omu ku basajja abataliiko kye bagasa.”—1 Samwiri 18:20; 2 Samwiri 6:16, 20.
2 Ate waaliwo Akisoferi, eyawanga Dawudi amagezi. Amagezi ge yawanga gaatwalibwanga okuba ag’omuwendo ennyo, nga gy’obeera gaavanga wa Yakuwa butereevu. (2 Samwiri 16:23) Kyokka, oluvannyuma lw’ekiseera, omuwi w’amagezi ono yeewaggula era ne yeegatta ku abo abaajeemera Dawudi. Ani yakulembera olukwe olwo? Abusaalomu kennyini, mutabani wa Dawudi! Kalinkwe oyo ‘yatwala emitima gy’abasajja ba Isiraeri,’ era ne yeefuula Kabaka. Obwewagguzi bwa Abusaalomu bwali bwa maanyi nnyo, Kabaka Dawudi n’atuuka n’okudduka okuwonya obulamu bwe.—2 Samwiri 15:1-6, 12-17.
3. Dawudi yalina bugumu ki?
3 Tewaaliwo n’omu eyasigala nga mwesigwa eri Dawudi? Mu buzibu obwo bwonna bwe yalimu, Dawudi yali amanyi nti waliwo eyali omwesigwa gy’ali. Ani? Yakuwa Katonda kennyini. Dawudi yayogera bw’ati ku Yakuwa: ‘Oli mwesigwa eri abo abeesigwa gy’oli.’ (2 Samwiri 22:26, NW) Obwesigwa kye ki, era Yakuwa assaawo atya ekyokulabirako ekisingirayo ddala obulungi eky’obwesigwa?
Obwesigwa Kye Ki?
4, 5. (a) ‘Obwesigwa’ kye ki? (b) Obwesigwa ebintu ebitalina bulamu bye bulaga bwawukana butya ku obwo omuntu bw’alaga?
4 “Obwesigwa” nga bwe kikozesebwa mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, kye kisa ekiragibwa ekintu okutuusa ng’ekigendererwa ky’ekisa ekyo kituukiddwako. Omuntu omwesigwa aba n’okwagala. Omuwandiisi wa Zabbuli yayita omwezi “omujulirwa omwesigwa mu ggulu” kubanga tegwosa kulabika buli lunaku. (Zabbuli 89:37) Mu ngeri eno, omwezi gwesigika. Naye omwezi si mwesigwa mu ngeri omuntu gy’aba omwesigwa. Lwaki? Kubanga obwesigwa bw’omuntu bwoleka okwagala, ebintu ebitalina bulamu kwe bitayinza kwoleka.
Omwezi guyitibwa omujulirwa omwesigwa, kyokka ebitonde ebitegeera bye byokka ebiyinza okwoleka obwesigwa bwa Yakuwa
5 Mu Byawandiikibwa, obwesigwa bubaamu omukwano. Waliwo akakwate wakati w’omuntu alaga obwesigwa n’oyo alagibwa obwesigwa. Obwesigwa ng’obwo tebusagaasagana. Tebulinga mayengo ga nnyanja agazzibwa eno n’eri olw’embuyaga. Wabula, obwesigwa busobozesa omuntu okuvvuunuka ebizibu eby’amaanyi ennyo.
6. (a) Obwesigwa bwenkana wa mu bantu, era kino kiragibwa kitya mu Baibuli? (b) Ngeri ki esingayo obulungi ey’okuyigamu ebizingirwa mu bwesigwa, era lwaki?
6 Kyo kituufu nti, obwesigwa ng’obwo bwa kkekwa leero. Engero 18:24; Malaki 2:14-16) Enkwe zicaase nnyo ne kiba nti tuyinza okuba nga tukkiriziganya n’ebigambo bya nnabbi Mikka: ‘Omwesigwa abuze mu nsi.’ (Mikka 7:2) Wadde ng’emirundi mingi abantu balemererwa okulaga ekisa, ye Yakuwa mwesigwa. Mu butuufu, engeri esingayo obulungi ey’okumanya obwesigwa kye buzingiramu, kwe kwekkaanya engeri Yakuwa gy’ayolekamu engeri eno eraga okwagala kwe.
Emirundi mingi, ab’omukwano ‘bayinza buli omu okuzikiriza munne.’ Emirundi mingi tuwulira abafumbo abaabulira bannaabwe. (Obwesigwa bwa Yakuwa Obutageraageranyizika
7, 8. Lwaki kiyinzika okugambibwa nti Yakuwa yekka ye mwesigwa?
7 Baibuli eyogera bw’eti ku Yakuwa: ‘Ggwe wekka, ggwe mwesigwa.’ (Okubikkulirwa 15:4) Ekyo kisoboka kitya? Abantu ne bamalayika teboolese bwesigwa obw’ekitalo ebiseera ebimu? (Yobu 1:1; Okubikkulirwa 4:8) Ate Yesu Kristo? Si y’asingayo okuba ‘omwesigwa’ eri Katonda? (Zabbuli 16:10, NW) Kati olwo, kiyinza kitya okugambibwa nti Yakuwa yekka ye mwesigwa?
8 Okusooka, jjukira nti obwesigwa ngeri emu ey’okwagala. Okuva ‘Katonda bw’ali okwagala,’ ani ayinza okwoleka obwesigwa okumusinga? (1 Yokaana 4:8) Mazima ddala, bamalayika n’abantu bayinza okwoleka engeri za Katonda, naye Yakuwa yekka y’ayoleka obwesigwa ku kigero ekisingirayo ddala. Nga “Omukadde Eyaakamala ennaku ennyingi,” alaze ekisa ekyesigamiziddwa ku kwagala ekiseera kiwanvu okusinga ekitonde kyonna, ku nsi oba mu ggulu. (Danyeri 7:9) Bwe kityo, Yakuwa y’asingirayo ddala okwoleka obwesigwa. Ayoleka engeri eno mu ngeri omuntu yenna gy’atayinza. Lowooza ku byokulabirako bino.
9. Mu ngeri ki Yakuwa gy’ali ‘omwesigwa mu makubo ge gonna’?
9 Yakuwa ‘mwesigwa mu makubo ge gonna.’ (Zabbuli 145:17) Mu ngeri ki? Zabbuli 136 (NW) etuwa eky’okuddamu. Mu ssuula eyo ebikolwa bya Yakuwa eby’okuwonya ebitali bimu byogerwako, nga mw’otwalidde n’okununula Abaisiraeri mu Nnyanja Emmyufu. Buli lunyiriri olwa Zabbuli eno lulimu ebigambo: “Ekisa kye ekyesigamiziddwa ku kwagala [oba obwesigwa bwe] bwa mirembe gyonna.” Zabbuli eno eteekeddwa mu Bibuuzo eby’Okufumiitirizaako ku lupapula 289. Ng’osoma ennyiriri ezo, owuniikirira olw’engeri ennyingi Yakuwa mwe yalagira abantu be ekisa ekyesigamiziddwa ku kwagala. Yee, Yakuwa mwesigwa eri abaweereza be abeesigwa era abaako ne ky’akolawo mu kiseera kye ekigereke bwe bamukaabirira okubayamba. (Zabbuli 34:6) Yakuwa abeera mwesigwa eri abaweereza be kasita basigala nga beesigwa gy’ali.
10. Yakuwa alaga atya obwesigwa ku bikwata ku mitindo gye?
10 Okugatta ku ekyo, Yakuwa ayoleka obwesigwa bwe eri abaweereza be ng’anywerera ku mitindo gye. Okwawukana ku bantu abakyukakyuka era abamala gakola ebintu olw’okukwatibwa ekinyegenyege, Yakuwa takyukakyuka ku bikwata ku kituufu oba ekikyamu. Mu bikumi n’ebikumi by’emyaka ebiyiseewo, endowooza ye ku bintu nga obusamize, okusinza ebifaananyi, n’obutemu tekyuse. Yayogera bw’ati okuyitira mu nnabbi we Isaaya: “N’okutuusa ku bukadde nze nzuuyo [sikyuka].” (Isaaya 46:4) Bwe kityo, tuyinza okubeera abakakafu nti tujja kuganyulwa bwe tugoberera obulagirizi obukwata ku mpisa obusangibwa mu Kigambo kya Katonda.—Isaaya 48:17-19.
11. Waayo ebyokulabirako ebiraga nti Yakuwa atuukiriza by’asuubiza.
11 Yakuwa era alaga obwesigwa ng’atuukiriza bye yasuubiza. Bw’alagula ekintu, kituukirira. N’olwekyo, Yakuwa yagamba: “Ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange: tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola ekyo kye njagala, era kiriraba omukisa mu ekyo kye nnakitumirira.” (Isaaya 55:11) Bw’atuukiriza ekigambo kye, Yakuwa alaga obwesigwa eri abantu be. Tabasuubiza kintu ky’atagenda kutuukiriza. Yakuwa akoze erinnya eddungi mu nsonga eno ne kiba nti omuweereza we Yoswa yagamba: “Tewali kigambo ekitaatuuka mu birungi byonna Mukama bye yagamba ennyumba ya Isiraeri; byonna byatuuk[irir]a.” (Yoswa 21:45) N’olwekyo, tuyinza okuba abakakafu nti tetujja kuggwaamu maanyi kubanga Yakuwa tayinza kulemererwa kutuukiriza bisuubizo bye.—Isaaya 49:23; Abaruumi 5:5.
12, 13. Mu ngeri ki ekisa kya Yakuwa ekyesigamiziddwa ku kwagala gye kiri ‘eky’emirembe n’emirembe’?
12 Nga bwe twalabye emabegako, Baibuli etutegeeza nti ekisa kya Yakuwa ekyesigamiziddwa ku kwagala ‘kya mirembe gyonna.’ (Zabbuli 136:1, NW) Mu ngeri ki? Engeri emu, olw’okuba Yakuwa asonyiyira ddala ebibi. Nga bwe twalabye mu Ssuula 26, tanonooza bibi eby’emabega omuntu bye yasonyiyibwa. Okuva ‘bonna bwe baayonoona ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda,’ buli omu ku ffe yandibadde musanyufu olw’okuba ekisa kya Yakuwa ekyesigamiziddwa ku kwagala kya mirembe na mirembe.—Abaruumi 3:23.
13 Naye ekisa kya Yakuwa ekyesigamiziddwa ku kwagala kya mirembe n’emirembe ne mu ngeri endala. Ekigambo kye kigamba nti omutuukirivu “alifaanana ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’ensulo ez’amazzi, ogubala emmere yaagwo mu ntuuko zaayo, era amalagala gaagwo tegawotoka; na buli ky’akola, akiweerwako omukisa.” (Zabbuli 1:3) Teeberezaamu omuti omugimu ng’ebikoola byagwo tebiwotoka! Naffe singa tusanyukira Ekigambo kya Katonda, obulamu bwaffe bujja kubaamu emirembe era tujja kuwangaala. Emikisa Yakuwa gy’awa abaweereza be abeesigwa gya lubeerera. Mu nsi empya Yakuwa gy’anaaleeta, ajja kulaga abantu be abawulize ekisa ekyesigamiziddwa ku kwagala emirembe n’emirembe.—Okubikkulirwa 21:3, 4.
Yakuwa ‘Talireka Bantu Be Abeesigwa’
14. Yakuwa asiima atya obwesigwa bw’abaweereza be?
14 Emirundi mingi Yakuwa ayolesezza obwesigwa bwe. Okuva Yakuwa bw’atakyukakyuka, obwesigwa bw’alaga abaweereza be abeesigwa tebuddirira. Omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika bw’ati: “Nnali muto, kaakano nkaddiye; naye sirabanga mutuukirivu ng’alekeddwa, newakubadde ezzadde lye nga basaba emmere. Kubanga Mukama ayagala ensonga, era taleka batukuvu be [“abantu be abeesigwa,” NW].” (Zabbuli 37:25, 28) Kituufu nti, ng’Omutonzi, Yakuwa agwanidde okusinzibwa. (Okubikkulirwa 4:11) Wadde kiri kityo, olw’okuba Yakuwa mwesigwa, asiima nnyo ebikolwa byaffe eby’obwesigwa.—Malaki 3:16, 17.
15. Nnyonnyola engeri Yakuwa gye yakolaganamu ne Isiraeri gy’eyolekamu obwesigwa bwe.
15 Olw’ekisa kye ekyesigamiziddwa ku kwagala, enfunda n’enfunda Yakuwa ayamba abantu be nga bali mu nnaku. Omuwandiisi wa Zabbuli atugamba: “Akuuma emmeeme z’abatukuvu be [“abeesigwa be,” NW]; abawonya mu mukono gw’omubi.” (Zabbuli 97:10) Lowooza ku ngeri gye yakolaganamu n’eggwanga lya Isiraeri. Oluvannyuma lw’okununulibwa mu Nnyanja Emmyufu, Abaisiraeri baayimbira Yakuwa nti: “Mu kisa kyo wabakulembera abantu be wanunula.” (Okuva 15:13) Okununulibwa kw’oku Nnyanja Emmyufu, mazima ddala kyali kikolwa kya Yakuwa eky’obwesigwa. N’olwekyo, Musa yagamba Abaisiraeri: “Mukama teyabassaako kwagala kwe, so teyabalonda, kubanga mwasinga eggwanga lyonna obungi; kubanga mwali batono okusinga amawanga gonna: naye kubanga Mukama abaagala, era kubanga ayagala okukwata ekirayiro kye yalayirira bajjajja bammwe, Mukama kyeyava abaggyamu n’engalo ez’amaanyi, n’abanunula mu nnyumba y’obuddu, mu mukono gwa Falaawo kabaka w’e Misiri.”—Ekyamateeka 7:7, 8.
16, 17. (a) Mu ngeri ki Abaisiraeri gye bataasiima Yakuwa, kyokka yabasaasira atya? (b) Abaisiraeri abasinga obungi baalaga batya nti ‘tewaali kuwona’ gye bali, era kiki kye tuyigira ku ekyo?
Zabbuli 78:17) Ebyasa bwe byagenda biyitawo, baajeema enfunda n’enfunda, ne baleka Yakuwa, ne basinza bakatonda ab’obulimba era ne beenyigira mu bikolwa eby’ekikaafiiri ebyaboonoonera ddala. Wadde kyali kityo, Yakuwa teyamenya ndagaano ye. Wabula, okuyitira mu nnabbi Yeremiya, Yakuwa yeegayirira abantu be: ‘Komawo Isiraeri omujeemu, siibatunuulire n’obusungu, kubanga ndi mwesigwa.’ (Yeremiya 3:12) Kyokka, nga bwe twalabye mu Ssuula 25, Abaisiraeri abasinga obungi tebaakola nkyukakyuka. Mazima ddala, “baaduuliranga ababaka ba Katonda ne banyoomanga ebigambo bye ne basekereranga bannabbi be.” Biki ebyavaamu? Mu nkomerero, “obusungu bwa Mukama bwabaawo eri abantu be, ne watabaawo kuwona.”—2 Ebyomumirembe 36:15, 16.
16 Kya lwatu, ng’eggwanga, Abaisiraeri baalemererwa okusiima ekisa kya Yakuwa ekyesigamiziddwa ku kwagala, kubanga oluvannyuma lw’okununulibwa ‘baayongera okwonoona nga bajeemera Ali Waggulu Ennyo mu ddungu.’ (17 Kiki kye tuyigira ku bino? Nti obwesigwa bwa Yakuwa bwesigamiziddwa ku misingi. Kyo kituufu nti Yakuwa ‘wa kisa kingi,’ era mwetegefu okusaasira nga waliwo ensonga esinziirwako okusaasira. Naye kiki ekibaawo singa omwonoonyi agugubira mu kibi kye? Mu mbeera ng’eyo, Yakuwa agoberera emitindo gye egy’obutuukirivu era n’abonereza ababi. Nga Musa bwe yagambibwa, ‘Yakuwa taggyako musango oyo agwana okubonerezebwa.’—Okuva 34:6, 7.
18, 19. (a) Mu ngeri ki gye kiri ekikolwa eky’obwesigwa Yakuwa okubonereza ababi? (b) Yakuwa alyoleka atya obwesigwa eri abaweereza be abayigganyiziddwa ne batuuka n’okuttibwa?
18 Katonda okubonereza ababi nakyo kikolwa eky’obwesigwa. Mu ngeri ki? Ensonga emu lwaki ekikolwa ekyo kya bwesigwa esangibwa mu kitabo ky’Okubikkulirwa mu kiragiro Okubikkulirwa 16:1-6.
Yakuwa kye yawa bamalayika omusanvu: “Mugende, mufuke ebibya omusanvu eby’obusungu bwa Katonda ku nsi.” Malayika ow’okusatu bw’afuka ekibya kye “mu migga ne mu nsulo z’amazzi,” bifuuka musaayi. Awo malayika n’agamba Yakuwa: “Ggwe mutuukirivu [“mwesigwa,” NW], ggwe abaawo era eyabaawo, ggwe Mutukuvu, kubanga wasala omusango bw’otyo: kubanga baafuka omusaayi gw’abatukuvu n’ogwa bannabbi, omusaayi ggwe gw’obawadde okunywa: basaanidde.”—19 Kyetegereze nti bwe yali ategeeza obubaka obwo obw’omusango gwe yali asaze, malayika yayita Yakuwa ‘Oyo Omwesigwa.’ Lwaki? Kubanga mu kuzikiriza ababi, Yakuwa ayoleka obwesigwa eri abaweereza be, nga bangi ku bo bayigganyiziddwa ne batuuka n’okufa. Mu bwesigwa, abalinga abo Yakuwa abajjukira. Ayagala nnyo okuddamu okulaba abeesigwa bano abaafa, era Baibuli ekakasa nti alina ekigendererwa eky’okubazuukiza. (Yobu 14:14, 15) Yakuwa teyeerabira baweereza be abeesigwa olw’okuba bafudde. Wabula ‘bonna balamu gy’ali.’ (Lukka 20:37, 38) Ekigendererwa kya Yakuwa eky’okuzuukiza abalinga abo, bujulizi bwa maanyi obulaga nti mwesigwa.
Obwesigwa bwa Yakuwa Busobozesa Abantu Okufuna Obulokozi
20. ‘Ebibya eby’okusaasira be baani,’ era Yakuwa abalaga atya obwesigwa?
20 Mu byafaayo byonna, Yakuwa alaze abantu be abeesigwa obwesigwa obw’ekitalo. Mu butuufu, okumala enkumi n’enkumi z’emyaka, Yakuwa ‘agumiikiriza nnyo ebibya eby’obusungu.’ Lwaki? “Alyoke amanyise obugagga obw’ekitiibwa kye ku bibya eby’okusaasirwa, bye yateekerateekera edda ekitiibwa.” (Abaruumi 9:22, 23) ‘Ebibya eby’okusaasira’ be bantu ab’emitima emyesigwa abaafukibwako omwoyo omutukuvu basobole okufugira awamu ne Kristo mu Bwakabaka bwe. (Matayo 19:28) Ng’asobozesa ebibya ebyo eby’okusaasira okufuna obulokozi, Yakuwa yalaga nti yali mwesigwa eri Ibulayimu, gwe yakola naye endagaano eno: “Mu zzadde lyo amawanga gonna ag’omu nsi mwe galiweerwa omukisa; kubanga owulidde eddoboozi lyange.”—Olubereberye 22:18.
21. (a) Yakuwa alaga atya obwesigwa eri ‘ekibiina ekinene’ abalina essuubi ery’okuyita mu ‘kibonyoobonyo ekinene’? (b) Obwesigwa bwa Yakuwa bukuleetera kukola ki?
21 Yakuwa alaga obwesigwa bwe bumu eri ‘ekibiina ekinene’ abalina essuubi ery’okuwonawo mu ‘kibonyoobonyo ekinene’ era n’okubeera abalamu emirembe gyonna ku nsi. (Okubikkulirwa 7:9, 10, 14) Wadde abaweereza be tebatuukiridde, Yakuwa abawa omukisa ogw’okubeera abalamu emirembe gyonna mu lusuku lwe ku nsi. Ekyo akikola atya? Okuyitira mu kinunulo, ekikolwa ekisingayo okwoleka obwesigwa bwa Yakuwa. (Yokaana 3:16; Abaruumi 5:8) Obwesigwa bwa Yakuwa busikiriza abo abaagala obutuukirivu. (Yeremiya 31:3) Towulira ng’olina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa olw’obwesigwa bw’alaze era n’obwo bw’aliraga? Okuva bwe twagala okufuna enkolagana ennungi ne Katonda, ka twanukule okwagala kwe nga tumalirira okumuweereza n’obwesigwa.