Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU 3

Ebitunyiiza​—Bwe Tuba ‘n’Ensonga ku Munnaffe’

Ebitunyiiza​—Bwe Tuba ‘n’Ensonga ku Munnaffe’

“Muganda waffe omu mu kibiina yampaayiriza nti nnabba ssente ze. Abalala mu kibiina bwe baakiwulira baamuwagira. Nga wayiseewo akaseera, mwannyinaffe oyo yaŋŋamba nti yakizuula nti si nze eyali atutte ssente ze. Wadde nga yanneetondera, mu mutima gwange nnawulira nga sisobola kumusonyiwa olw’ekyo kye yali ankoze.”​—Linda.

EKYATUUKA ku Linda, eyayisibwa obubi olw’ekyo mukkiriza munne kye yamukola, kyali kikutuuseeko? Eky’ennaku, abamu batuuse n’okuddirira mu by’omwoyo olw’enneeyisa y’abalala. Naawe ekyo kye kyakutuukako?

Waliwo Ayinza ‘Okutwawukanya ku Kwagala kwa Katonda’?

Kyo kituufu nti kiyinza okutuzibuwalira okusonyiwa mukkiriza munnaffe atukoze ekintu ekitulumizza ennyo. Ekyo kiri bwe kityo kubanga tukimanyi nti Abakristaayo basaanidde okwagalana. (Yokaana 13:34, 35) Mukkiriza munnaffe bw’atukola ekintu ekitunyiiza, tuyisibwa bubi nnyo.​—Zabbuli 55:12.

Bayibuli egamba nti ebiseera ebimu Omukristaayo ayinza okuba “n’ensonga” ku Mukristaayo munne. (Abakkolosaayi 3:13) Kyokka ekyo bwe kitutuukako, tukisanga nga kizibu okukyaŋŋanga. Kati olwo kiki ekiyinza okutuyamba? Lowooza ku misingi esatu egiri mu Bayibuli:

Kitaffe ow’omu ggulu amanyi buli kimu. Yakuwa alaba buli kintu ekibaawo, nga mw’otwalidde n’ebintu eby’obutali bwenkanya ebitutuukako era n’engeri gye tuyisibwamu. (Abebbulaniya 4:13) Ate era, Yakuwa atulumirirwa bw’alaba nga tubonaabona. (Isaaya 63:9) Tasobola kukkiriza “kubonaabona, kulumwa” oba ekintu ekirala kyonna​—k’abe muweereza we omulala​—“kutwawukanya ku kwagala kwa Katonda.” (Abaruumi 8:35, 38, 39) Naffe tetusaanidde kukkiriza kintu kyonna oba muntu yenna kutwawukanya ne Yakuwa.

Okusonyiwa tekuba kuwagira nsobi. Bwe tusonyiwa abo ababa batukoze ekibi, tekitegeeza nti tubuusa amaaso ebikolwa byabwe oba nti tubiwagira. Kijjukire nti Yakuwa tawagira bikolwa bibi, naye bw’aba n’ensonga kw’asinziira okusonyiwa abantu, abasonyiwa. (Zabbuli 103:12, 13; Kaabakuuku 1:13) Yakuwa bw’atukubiriza okusonyiwa abalala aba ayagala tumukoppe. ‘Tasiba kiruyi mirembe na mirembe.’​—Zabbuli 103:9; Matayo 6:14.

Obutasiba kiruyi kiganyula ffe. Mu ngeri ki? Lowooza ku mbeera eno. Singa olonda ejjinja, oboolyawo nga lizitowamuko, kiba kyangu okulikwata mu mukono gwo okumala akaseera katono. Naye watya singa olikwata okumala ekiseera ekiwerako? Oyinza kumala bbanga ki ng’olikutte​—eddakiika ntonotono? essaawa emu? oba ekiseera ekisingawo? Tewali kubuusabuusa nti ekiseera kituuka omukono ne gukoowa! Kya lwatu, obuzito bw’ejjinja buba tebukyuse naye gy’okoma okulikwata gy’okoma okuwulira obuzito. Okusiba ekiruyi nakwo bwe kutyo bwe kuli. Gye tukoma okusiba ekiruyi​—ne bwe kiba kitono kitya​—gye tukoma okwerumya. Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa atukubiriza obutasiba kiruyi. Mu butuufu, obutasiba kiruyi kiganyula ffe.​—Engero 11:17.

Obutasiba kiruyi kiganyula ffe

“Nnawulira nga Yakuwa Kennyini Ye Yali Ayogera Nange”

Kiki ekyayamba Linda obutasiba kiruyi olw’engeri mukkiriza munne gye yamuyisaamu? Ekimu ku byamuyamba kwe kufumiitiriza ku nsonga eziri mu Bayibuli eziraga obukulu bw’okusonyiwa. (Zabbuli 130:3, 4) Emu ku nsonga Linda ze yafumiitirizaako eri nti, bwe tusonyiwa abalala ne Yakuwa atusonyiwa. (Abeefeso 4:32–5:2) Linda bw’alowooza ku nsonga eyo, agamba nti: “Nnawulira nga Yakuwa kennyini ye yali ayogera nange.”

Oluvannyuma lw’ekiseera, Linda yalekera awo okusiba ekiruyi. Yasonyiwa mwannyinaffe oyo era kati ba mukwano nnyo. Linda akyaweereza Yakuwa. Ba mukakafu nti Yakuwa ayagala okukuyamba nga bwe yayamba Linda.