Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU 1

“Ebuze Nja Kuginoonya”

“Ebuze Nja Kuginoonya”

Endiga esobeddwa. Ebadde erya omuddo, ne yeesanga nga yeeyawudde ku ndiga endala. Kati teraba kisibo wadde omusumba, kyokka ng’obudde butandise okuziba. Ebulidde mu kiwonvu ekirimu ensolo enkambwe era terina bukuumi bwonna. Oluvannyuma, endiga ewulira eddoboozi ly’emanyi​—ery’omusumba waayo. Adduka n’agenda w’eri n’agisitula, n’agibikka ekyambalo kye, era n’agitwala eka.

EMIRUNDI mingi, Yakuwa yeegeraageranya ku musumba ng’oyo. Mu Kigambo kye, atukakasa nti: “Nze kennyini nja kunoonya endiga zange, era nja kuzirabirira.”​—Ezeekyeri 34:11, 12.

“Endiga Zange Ze Ndabirira”

Endiga za Yakuwa be baani? Endiga za Yakuwa be bantu abamwagala era abamusinza. Bayibuli egamba nti: “Mujje tusinze era tuvunname; ka tufukamire mu maaso ga Yakuwa Omutonzi waffe. Kubanga ye Katonda waffe, era tuli bantu ab’omu ddundiro lye, endiga z’alabirira.” (Zabbuli 95:6, 7) Ng’endiga bwe zigoberera omusumba, n’abaweereza ba Yakuwa baagala nnyo okugoberera Omusumba waabwe. Ekyo kitegeeza nti tebakola nsobi? Nedda. Abaweereza ba Katonda emirundi egimu boogerwako ‘ng’endiga ezisaasaanye,’ “endiga ezaabula,” era “ng’endiga ezibula.” (Ezeekyeri 34:12; Matayo 15:24; 1 Peetero 2:25) Wadde kiri kityo, omuntu bw’awaba, Yakuwa tamwabulira kubanga aba asuubira nti luliba olwo n’akomawo.

Owulira nti Yakuwa akyali Musumba wo? Leero Yakuwa akiraga atya nti Musumba waffe? Lowooza ku ngeri zino essatu:

Atuliisa mu by’omwoyo. Yakuwa agamba nti: “Nja kuziriisa omuddo omulungi . . . Zijja kugalamira eyo mu malundiro amalungi, era zijja kulya omuddo omulungi.” (Ezeekyeri 34:14) Yakuwa talemererwangako kutuwa mmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu. Waliwo ekitundu kye wasomako mu bitabo byaffe, emboozi oba vidiyo gy’ojjukira eyali eyogera ku nsonga yennyini gye wali oyogeddeko ng’osaba Yakuwa? Ekyo tekyakukakasa nti Yakuwa akufaako ng’omuntu kinnoomu?

Atukuuma era atuyamba. Yakuwa asuubiza nti: “Ebuze nja kuginoonya, ewabye nja kugikomyawo, efunye ekisago nja kugisiba, era n’enafuye nja kugizzaamu amaanyi.” (Ezeekyeri 34:16) Yakuwa azzaamu amaanyi abo abanafuye oba abatendewaliddwa olw’ebyo ebibeeraliikiriza. Endiga ze bwe zifuna ebisago​—ng’oluusi biyinza n’okuleetebwa bakkiriza bannaabwe​—azisiba ebisago ne biwona. Ate era akomyawo abo abawabye era abayinza okuba nga bawulira nti tebakyali ba mugaso.

Atufaako nnyo. Yakuwa agamba nti: “Nja kuziggya mu bifo byonna gye zaasaasaanira . . . Ebuze nja kuginoonya.” (Ezeekyeri 34:12, 16) Eri Yakuwa, endiga bw’ebula tekitegeeza nti tesobola kukomawo gy’ali. Endiga bw’ebula, Yakuwa akimanya n’aginoonya, era bw’agizuula asanyuka nnyo. (Matayo 18:12-14) Kijjukire nti abaweereza be bonna ab’amazima abayita “endiga zange ze ndabirira.” (Ezeekyeri 34:31) Naawe oli omu ku ndiga ezo.

Eri Yakuwa, endiga bw’ebula tekitegeeza nti tesobola kukomawo gy’ali. Asanyuka nnyo bw’azuula endiga eyo

“Byonna Ka Bibe nga Bwe Byabanga Edda”

Lwaki Yakuwa akunoonya era lwaki akusaba okomewo gy’ali? Kubanga ayagala obeere musanyufu. Asuubiza nti “emikisa gijja kuyiika ng’enkuba” ku ndiga ze. (Ezeekyeri 34:26) Ekisuubizo ekyo kya ddala. Ekyo wakirabako mu bulamu bwo.

Jjukira ebyaliwo mu bulamu bwo nga waakatandika okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, wawulira otya lwe wasooka okuyiga amazima agakwata ku linnya lya Katonda ne ku kigendererwa kye eri abantu? Ojjukira essanyu lye wafunanga ng’oli ne Bakristaayo banno mu nkuŋŋaana ennene? Bwe wabuuliranga omuntu amawulire amalungi n’asiima, tewaddangayo ewaka ng’obugaanye essanyu?

Osobola okuddamu okufuna essanyu eryo. Abaweereza ba Katonda ab’edda baasaba nti: “Tukomyewo gy’oli, Ai Yakuwa, naffe tujja kudda gy’oli kyeyagalire. Ebintu byonna ka bibe nga bwe byabanga edda.” (Okukungubaga 5:21) Yakuwa yaddamu okusaba kwabwe, era abantu be baakomawo gy’ali ne baddamu okumuweereza nga basanyufu. (Nekkemiya 8:17) Yakuwa ajja kukukolera kye kimu.

Wadde kiri kityo, bangi kibazibuwalira okudda eri Yakuwa. Lowooza ku kusoomoozebwa kw’oyinza okufuna, n’engeri gy’oyinza okukuvvuunukamu.