Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU 5

Komawo eri ‘Omusumba era Omulabirizi w’Obulamu Bwo’

Komawo eri ‘Omusumba era Omulabirizi w’Obulamu Bwo’

Waliwo okusoomoozebwa kwonna okwogeddwako mu katabo kano kw’oyolekagana nakwo? Bwe kiba bwe kityo, si ggwe wekka ali mu mbeera eyo. Abaweereza ba Katonda abaaliwo edda n’abo abaliwo leero, babadde n’okusoomoozebwa ng’okwo. Yakuwa yabayamba okuvvuunuka embeera gye baalimu, era naawe ajja kukuyamba.

Yakuwa ajja kukwaniriza bw’onookomawo gy’ali

BEERA mukakafu nti Yakuwa ajja kukwaniriza bw’onookomawo gy’ali. Ajja kukuyamba okuvvuunuka ebikweraliikiriza, okugonjoola ebyakunyiiza, n’okufuna emirembe mu birowoozo ne mu mutima olw’okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo. Oluvannyuma ojja kuwulira ng’oyagala nnyo okuweereza Yakuwa ng’oli wamu ne bakkiriza banno. Naawe ojja kuba ng’Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, omutume Peetero be yawandiikira nti: “Mwali ng’endiga ezibula; naye kaakano mukomyewo eri omusumba era omulabirizi w’obulamu bwammwe.”​—1 Peetero 2:25.

Okukomawo eri Yakuwa kye kintu ekisingayo obulungi ky’oyinza okukola. Lwaki? Kubanga ojja kusanyusa nnyo Yakuwa. (Engero 27:11) Nga bw’okimanyi, Yakuwa alina enneewulira era ebintu bye tukola bimukwatako nnyo. Wadde kiri kityo, Yakuwa tatukaka kumwagala oba kumusinza. (Ekyamateeka 30:19 , 20) Omukugu omu anoonyereza ku ebyo ebiri mu Bayibuli yagamba nti: “Oluggi oluyingira mu mutima gwo teruggulira bweru. Luggulira munda.” Bwe tusinza Yakuwa n’omutima ogujjudde okwagala, tuba tugguddewo omutima gwaffe. Bwe tukola bwe tutyo, tuba tuwadde Yakuwa ekirabo eky’omuwendo​—obugolokofu bwaffe​—era ekyo kimuleetera essanyu lingi. Mu butuufu, tewali kintu kye tuyinza kugeraageranya na ssanyu lye tufuna bwe tusinza Yakuwa mu ngeri gy’agwanidde okusinzibwa.​—Ebikolwa 20:35; Okubikkulirwa 4:11.

Ate era bw’onooddamu okusinza Yakuwa, obwetaavu bwo obw’eby’omwoyo bujja kukolebwako. (Matayo 5:3) Mu ngeri ki? Abantu abatasinza Yakuwa beebuuza nti, ‘Obulamu bulina kigendererwa ki?’ Baagala okuddibwamu ebibuuzo bye beebuuza ebikwata ku kigendererwa ky’obulamu. Abantu tulina obwetaavu obwo kubanga Yakuwa yabututonderamu. Yatutonda ng’ayagala tufune essanyu eriva mu kumuweereza. Okusinza Yakuwa olw’okuba tumwagala kye kintu ekisinga okutuleetera essanyu.​—Zabbuli 63:1-5.

Kimanye nti Yakuwa ayagala okomewo gy’ali. Lwaki tugamba bwe tutyo? Lowooza ku kino: Akatabo kano kaategekebwa oluvannyuma lw’okusaba obulagirizi bwa Yakuwa. Oboolyawo omukadde mu kibiina oba ow’oluganda omulala ye yakakuleetera. Oluvannyuma watandika okukasoma n’okukolera ku ebyo ebikalimu. Buno bwonna bukakafu obulaga nti Yakuwa takwerabiranga. Mu butuufu, akusika mu ngeri ey’ekisa okomewo gy’ali.​—Yokaana 6:44.

Kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa teyeerabira baweereza be abaddiridde mu by’omwoyo. Ekyo mwannyinaffe Donna yakitegeera bulungi. Yagamba nti: “Nnawaba mpolampola ne nva mu mazima, naye nnateranga okufumiitiriza ku Zabbuli 139:23, 24, awagamba nti: ‘Nkebera, Ai Katonda, omanye omutima gwange. Ngezesa omanye ebinneeraliikiriza. Laba obanga mu nze mulimu ekkubo ery’omutawaana, onnuŋŋamye mu kkubo ery’emirembe n’emirembe.’ Nnali nkimanyi nti sirina kuba wa nsi​—mu butuufu nnali sigyayo​—era nnali nkimanyi nti nnina kubeera mu kibiina kya Yakuwa. Nnatandika okukiraba nti Yakuwa tanjabuliranga era nti kye nneetaaga okukola kwe kukomawo gy’ali. Ndi musanyufu nnyo okuba nti nnakomawo gy’ali!”

“Nnatandika okukiraba nti Yakuwa tanjabuliranga era nti kye nneetaaga okukola kwe kukomawo gy’ali”

Tukusabira, naawe osobole okuddamu okufuna “essanyu lya Yakuwa.” (Nekkemiya 8:10) Bw’onookomawo eri Yakuwa, tojja kwejjusa.