Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okufundikira

Okufundikira

Otera okujjukira ebiseera eby’essanyu bye walina ng’okyali wamu n’abantu ba Yakuwa​—olukuŋŋaana lw’ekibiina olwakuzzaamu amaanyi, olukuŋŋaana olunene olwakusanyusa ennyo, ebirungi bye wafuna ng’obuulira, oba ekintu kye wanyumyako ne mukkiriza munno ekyakuzzaamu amaanyi? Tonneerabira Yakuwa, era naye takwerabiranga. Akyajjukira engeri gye wamuweerezangamu n’obwesigwa. Era mwetegefu okukuyamba okukomawo gy’ali.

Yakuwa agamba nti: “Nze kennyini nja kunoonya endiga zange, era nja kuzirabirira. Nja kulabirira endiga zange ng’omusumba azudde endiga ze ezibadde zisaasaanye n’aziriisa. Nja kuziggya mu bifo byonna gye zaasaasaanira.”​—Ezeekyeri 34:11, 12.