EKITUNDU 2
Okweraliikirira—“Tunyigirizibwa mu Buli Ngeri”
“Oluvannyuma lw’emyaka 25 nga tuli bafumbo, nze n’omwami wange twagattululwa. Abaana bange bonna baava mu mazima. Nnalwala endwadde ez’amaanyi ezitali zimu. Oluvannyuma nnafuuka mwennyamivu nnyo. Nnayisibwa bubi nnyo era nnali mpulira nti sisobola kugumira kintu kyonna. Nnalekera awo okugenda mu nkuŋŋaana n’okubuulira.”—June.
BULI muntu yeeraliikirira, nga mw’otwalidde n’abaweereza ba Katonda. Omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika nti: “Nnali nneeraliikirira nnyo.” (Zabbuli 94:19) Yesu naye yagamba nti mu kiseera eky’enkomerero, “okweraliikirira eby’obulamu” kwandisoomoozezza nnyo abaweereza ba Yakuwa. (Lukka 21:34) Naawe olina ebikweraliikiriza? Weeraliikirira olw’ebizibu by’eby’enfuna, ebizibu by’amaka, oba olw’obulwadde? Yakuwa ayinza atya okukuyamba okwaŋŋanga ebizibu ng’ebyo?
“Amaanyi Agasinga ku ga Bulijjo”
Tetusobola kwaŋŋanga bitweraliikiriza mu maanyi gaffe. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Tunyigirizibwa mu buli ngeri . . . ; tusoberwa . . . ; tusuulibwa wansi.” Kyokka, era yagamba nti “tetubulwa bwekyusizo,” “tuba n’obuddukiro,” era nti “tetuzikirira.” Kiki ekituyamba okugumiikiriza? “Amaanyi agasinga ku ga bulijjo,” Yakuwa Katonda, omuyinza w’ebintu byonna g’atuwa.—2 Abakkolinso 4:7-9.
Fumiitiriza ku ngeri gye wafunanga “amaanyi agasinga ku ga bulijjo” mu biseera ebyayita. Ojjukira engeri emboozi emu eyaweebwa gye yakuyamba okwongera okusiima okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka? Okukkiriza kwo mu Yakuwa kweyongeranga okunywera buli lwe wayigirizanga abalala ebikwata ku ssuubi ery’okubeera mu Lusuku lwa Katonda? Bwe tubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo era bwe tubuulira abalala ku nzikiriza zaffe, tufuna amaanyi okugumira ebitweraliikiriza era tufuna emirembe mu mutima ne tweyongera okuweereza Yakuwa nga tuli basanyufu.
“Mulegeeko Mulabe nti Yakuwa Mulungi”
Mu butuufu, oluusi oyinza okuwulira ng’osobeddwa. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa atukubiriza okukulembeza Obwakabaka era n’okwenyigira mu bintu eby’omwoyo. (Matayo 6:33; Lukka 13:24) Naye watya ng’okuziyizibwa, obulwadde, oba ebizibu by’amaka tebikusobozesa kukola ekyo kye wandyagadde okukola? Oba, watya ng’omulimu gwo gutwala ebiseera bingi n’amaanyi mangi bye wandikozesezza okwenyigira mu mirimu gy’ekibiina? Bw’oba olina eby’okukola bingi—ng’ate olina ebiseera bitono n’amaanyi matono okubikola—oyinza okuwulira ng’ozitoowereddwa. Oboolyawo oyinza n’okuba ng’olowooza nti Yakuwa by’akusuubira okukola bisukka ku busobozi bwo.
Yakuwa amanyi obusobozi bwaffe. Tatusuubira kukola bintu bisukka ku busobozi bwaffe. Ate era akimanyi nti kitwala ekiseera omuntu aba yennyamidde okuddamu amaanyi.—Zabbuli 103:13, 14.
Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Yakuwa gye yafaayo ku nnabbi Eriya. Eriya bwe yaggwaamu amaanyi era n’atya nnyo n’addukira mu ddungu, Yakuwa yamunenya era n’amulagira addeyo mangu gye yali amutumye okuweerereza? Nedda. Mu kifo ky’ekyo, emirundi ebiri Yakuwa yasindika malayika we eri Eriya n’amukwatako mpola n’amuzuukusa era n’amuwa emmere. Wadde kyali kityo, 1 Bassekabaka 19:1-19) Ebyo bituyigiriza ki? Eriya bwe yafuna ebimweraliikiriza, Yakuwa yamugumiikiriza era n’amulaga ekisa. Yakuwa takyukanga. Naffe atufaako nga bwe yafaayo ku Eriya.
oluvannyuma lw’ennaku 40, Eriya yali akyali mweraliikirivu era ng’akyalimu okutya. Biki ebirala Yakuwa bye yakola okuyamba Eriya? Ekisooka, Yakuwa yakiraga nti yali asobola okumukuuma. Eky’okubiri, Yakuwa yabudaabuda Eriya mu ‘ddoboozi erya wansi era erikkakkamu.’ N’eky’okusatu, Yakuwa yagamba Eriya nti waaliyo abantu abalala abeesigwa nkumi na nkumi abasinza Katonda. Oluvannyuma, Eriya yaddamu okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu. (Beera mwesimbu ng’olowooza ku ebyo by’oyinza okuwa Yakuwa. Togeraageranya ebyo by’osobola okukola kati ku ebyo bye wakolanga edda. Ng’ekyokulabirako, omuddusi amaze emyezi oba emyaka nga tatendekebwa tayinza kutandikirawo kudduka nga bwe yaddukanga. Asooka kuteekawo biruubirirwa ebitonotono ebimuyamba okufuna amaanyi n’obuguumiikiriza. Abakristaayo balinga baddusi. Beeteerawo ekiruubirirwa kye baba baagala okutuukako. (1 Abakkolinso 9:24-27) Naawe oyinza okweteerawo ekiruubirirwa ky’osobola okutuukako mu kiseera kino. Ng’ekyokulabirako, oyinza okweteerawo ekiruubirirwa eky’okugenda mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Saba Yakuwa akuyambe okutuuka ku kiruubirirwa kyo. Bw’oneeyongera okufuna amaanyi mu by’omwoyo, ojja ‘kulega olabe nti Yakuwa mulungi.’ (Zabbuli 34:8) Kijjukire nti buli ky’okola okulaga nti oyagala nnyo Yakuwa—ne bwe kiba kitono kitya—Yakuwa akisiima.—Lukka 21:1-4.
‘Ekyannyamba Okuddamu Okuweereza Yakuwa’
Yakuwa yayamba atya June okukomawo gy’ali? June agamba nti: “Nnasabanga Yakuwa annyambe. Oluvannyuma mukyala wa mutabani wange yantegeeza ku lukuŋŋaana olunene olwali lugenda okuba mu kabuga mwe mbeera. Nnasalawo okugenda ku lukuŋŋaana olwo, era nnafuna essanyu lya maanyi okuddamu okubeera n’abantu ba Yakuwa. Olukuŋŋaana olwo lwe lwannyamba okuddamu okuweereza Yakuwa, era kati ndi musanyufu. Obulamu bwange kati bwa makulu nnyo. Kati nkimanyi bulungi nti nneetaaga okubeera n’ab’oluganda era nneetaaga obuyambi bwabwe. Ndi musanyufu nti nnasobola okukomawo eri Yakuwa.”