Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi
Mukkiriza munnaffe omwagalwa:
Nga bw’omanyi, Bayibuli esinga kwogera ku bantu. Bangi ku bo baali basajja n’abakazi abeesigwa abaayolekagana n’ebizibu bye twolekagana nabyo leero. Baali ‘bantu nga ffe.’ (Yakobo 5:17) Abamu baanakuwalanga olw’ebizibu oba ebintu ebirala ebyabeeraliikirizanga. Abalala baggwaamu amaanyi olw’ebyo ab’omu maka gaabwe oba bakkiriza bannaabwe bye baakola. Ate abamu omuntu waabwe ow’omunda yabalumirizanga olw’ensobi ze baakola.
Abantu ng’abo baali baviiridde ddala ku Yakuwa? Nedda. Bangi baali ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyasaba Katonda nti: “Mpabye, nninga endiga eyabula. Noonya omuweereza wo, kubanga seerabidde biragiro byo.” (Zabbuli 119:176) Naawe owulira ng’omuwandiisi wa Zabbuli oyo?
Yakuwa teyeerabira baweereza be abawaba okuva mu kisibo. Wabula abayamba, era ebiseera ebisinga akozesa bakkiriza bannaabwe. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Yakuwa gye yayambamu omuweereza we Yobu eyafuna ebizibu eby’amaanyi, nga mw’otwalidde okufiirwa eby’obugagga bye, okufiirwa abaana be, n’okufuna obulwadde obw’amaanyi. Ate era abo abandibadde bamubudaabuda baamwogerera ebigambo ebirumya. Naye Yobu teyava ku Yakuwa, wadde ng’okumala akaseera yafuna endowooza etali nnuŋŋamu. (Yobu 1:22; 2:10) Yakuwa yayamba atya Yobu?
Yakuwa yayamba Yobu ng’ayitira mu mukkiriza munne Eriku. Yobu bwe yattottola ebizibu bye, Eriku yamuwuliriza bulungi era oluvannyuma n’abaako by’ayogera. Biki bye yayogera? Yavumirira Yobu oba yamuswazaswaza ng’ayagala amuleetere okumanya ensobi ye? Eriku yali akitwala nti wa waggulu ku Yobu? N’akatono! Omwoyo gwa Katonda gwasobozesa Eriku okugamba Yobu nti: “Nze nninga ggwe mu maaso ga Katonda; nange nnabumbibwa mu ttaka.” Era yamukakasa nti: “Tontya, ebigambo byange tebijja kukuzitoowerera.” (Yobu 33:6, 7) Mu kifo ky’okumalamu Yobu amaanyi, Eriku yamuwabula mu ngeri ey’okwagala era yamuzzaamu amaanyi.
Mu ngeri y’emu, tuteeseteese akatabo kano nga tulina ekiruubirirwa ekyo. Okusookera ddala, twawuliriza bulungi ebyo abamu ku abo abaggwaamu amaanyi mu by’omwoyo bye baayogera era ne twetegereza n’embeera ze baalimu. (Engero 18:13) Oluvannyuma twekenneenya ebyawandiikibwa ebiraga engeri Yakuwa gye yayambamu abaweereza be ab’edda abaayolekagana n’embeera ng’ezo. Ebyawandiikibwa ebyo twabikwataganya n’ebyo ebizze bituuka ku bamu ku baweereza ba Katonda ab’omu kiseera kino ne tubissa mu katabo kano. Tukwagala nnyo era tukukubiriza okusoma akatabo kano.
Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa