Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 14

Beera Mwesigwa mu Bintu Byonna

Beera Mwesigwa mu Bintu Byonna

“Twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.”​—ABEBBULANIYA 13:18.

1, 2. Yakuwa awulira atya bw’alaba nga tufuba okuba abeesigwa?

KUBA akafaananyi ng’omwana bw’abadde ava ku ssomero alonze akasawo akalimu ssente nnyingi. Kiki ky’akola? Asobola okusalawo okukeesigaliza, naye mu kifo ky’ekyo, anoonya nnyini ko n’akamuddiza. Maama w’omwana oyo bw’akimanya, asanyuka nnyo.

2 Abazadde bangi basanyuka nnyo bwe balaba abaana baabwe nga booleka obwesigwa. Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu ye “Katonda omwesigwa,” era kimusanyusa nnyo bwe tuba abeesigwa. (Zabbuli 31:5) Olw’okuba twagala okumusanyusa tufuba “okubeera abeesigwa mu bintu byonna.” (Abebbulaniya 13:18) Tugenda kulaba embeera za mirundi ena mwe kiyinza okutubeerera ekizibu okuba abeesigwa. Era tugenda kulaba emikisa egiva mu kuba abeesigwa.

OKWETUNUULIRA MU BWESIMBU

3-5. (a) Tuyinza tutya okwerimbalimba? (b) Kiki ekiyinza okutuyamba okwekebera mu bwesimbu?

3 Okusobola okuba abeesigwa eri abalala, ffe ffennyini tulina okwetunuulira mu ngeri entuufu. Oluusi ekyo tekiba kyangu. Mu kyasa ekyasooka, ab’oluganda mu kibiina ky’e Lawodikiya baali beerimbalimba nga balowooza nti basanyusa Katonda, naye ng’ekituufu kiri nti baali tebamusanyusa. (Okubikkulirwa 3:17) Naffe tuyinza okwerimbalimba ne tuteetunuulira ddala nga bwe tuli.

4 Omuyigirizwa Yakobo yagamba nti: “Omuntu yenna bw’alowoozanga nti asinza Katonda, kyokka n’atafuga lulimi lwe, aba alimbalimba omutima gwe, era okusinza kwe tekugasa.” (Yakobo 1:26) Bwe tuba nga twogera bubi eri abalala, nga tubaduulira, oba nga tulimba, ne tulowooza nti tusanyusa Katonda olw’okuba tulinayo ebintu ebirungi bye tukola, tuba twerimba. Kiki ekiyinza okutuyamba obuteerimba?

5 Bwe twetunuulira mu ndabirwamu, tweraba bwe tufaanana kungulu. Bwe tusoma Bayibuli tweraba ekyo kye tuli munda. Bayibuli esobola okutuyamba okumanya biki bye tukola obulungi na wa we tulina obunafu. Etuyamba okumanya enkyukakyuka ze twetaaga okukola mu ngeri gye tulowoozaamu, mu ngeri gye tweyisaamu, ne mu ngeri gye twogeramu. (Soma Yakobo 1:23-25.) Bwe tulowooza nti tetulina bunafu bwonna, tuba tetusobola kukola nkyukakyuka zeetaagisa. Tusaanidde okukozesa Ekigambo kya Katonda, Bayibuli, okwekebera mu bwesimbu. (Okukungubaga 3:40; Kaggayi 1:5) Okusaba nakwo kusobola okutuyamba okutegeera ekyo kye tuli. Tusobola okusaba Yakuwa atukebere era atuyambe okulaba obunafu bwaffe tusobole okubukolako. (Zabbuli 139:23, 24) Tusaanidde okukijjukiranga nti “Yakuwa akyayira ddala omuntu omukuusa, naye abagolokofu abafuula mikwano gye egy’oku lusegere.”​—Engero 3:32.

OBWESIGWA MU MAKA

6. Lwaki omwami n’omukyala buli omu asaanidde okuba omwesigwa eri munne?

6 Obwesigwa kintu kikulu nnyo mu maka. Omwami n’omukyala bwe baba nga buli omu talina ky’akisa munne, baba beesigaŋŋana. Obutali bwesigwa mu bufumbo bweyolekera mu ngeri ezitali zimu. Ng’ekyokulabirako, omu ku bafumbo ayinza okutandika okuzannyirira n’omuntu gw’atafaanaganya naye kikula, okulaba ebifaananyi eby’obuseegu, oba okwegwanyiza omuntu omulala atali munne mu bufumbo. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Sibeera na bantu balimba, era nneewala abo abakweka kye bali.” (Zabbuli 26:4) Bw’otoba mwesigwa eri munno mu bufumbo, ne bwe kiba mu birowoozo byo, kyonoona obufumbo bwammwe.

Ba mumalirivu okwewala ekintu kyonna ekiyinza okwonoona obufumbo bwo

7, 8. Oyinza otya okukozesa Bayibuli okuyigiriza abaana okumanya obukulu bw’okuba abeesigwa?

7 Abaana nabo balina okuyiga nti obwesigwa kintu kikulu nnyo. Abazadde bayinza okukozesa Bayibuli okubayigiriza okubeera abeesigwa. Bayibuli erimu ebyokulabirako by’abantu abataali beesigwa, nga mu bano mwe mwali, Akani eyabba, Gekazi eyalimba okusobola okufuna ssente, ne Yuda eyabbanga ssente era oluvannyuma eyalyamu Yesu olukwe okusobola okufuna ebitundu bya ffeeza 30.​—Yoswa 6:17-19; 7:11-25; 2 Bassekabaka 5:14-16, 20-27; Matayo 26:14, 15; Yokaana 12:6.

8 Ate era Bayibuli erimu ebyokulabirako bingi eby’abantu abaali abeesigwa, nga mu bano mwe muli Yakobo eyagamba batabani be okuzzaayo ssente ze baali basanze mu nsawo zaabwe, Yefusa ne muwala we abaatuukiriza obweyamo Yefusa bwe yali akoze, ne Yesu eyali omwesigwa ne mu mbeera enzibu ennyo. (Olubereberye 43:12; Ekyabalamuzi 11:30-40; Yokaana 18:3-11) Ebyokulabirako ebyo biyinza okuyamba abaana okutegeera obukulu bw’okuba abeesigwa.

9. Abazadde bwe baba abeesigwa kiyamba kitya abaana?

9 Kikulu nnyo abazadde okukolera ku musingi gwa Bayibuli guno ogugamba nti: “Ggwe ayigiriza omulala, teweeyigiriza wekka? Ggwe ayigiriza nti, ‘Tobbanga,’ obba?” (Abaruumi 2:21) Abazadde bwe boogera ekintu naye nga tebakikolerako, abaana bakiraba. Bwe tukubiriza abaana baffe okuba abeesigwa naye nga ffe tetuli beesigwa, abaana batabulwatabulwa. Abaana bwe balaba nga bazadde baabwe balimba, ka kibe mu buntu obutono, nabo bajja kukola kye kimu. (Soma Lukka 16:10.) Ku luuyi olulala, abaana bwe balaba nga bazadde baabwe beesigwa, nabo bwe banaakula bajja kuba beesigwa.​—Engero 22:6; Abeefeso 6:4.

OBWESIGWA MU KIBIINA

10. Tuyinza tutya okuba abeesigwa nga twogera ne bakkiriza bannaffe?

10 Ate era tulina okuba abeesigwa eri baganda baffe ne bannyinaffe. Bwe tuba tunyumya n’abalala tuyinza okwesanga nga tutandise okukola olugambo oba okuwaayiriza abalala. Bwe twogera ekintu kye twawulidde naye nga tetukakasa obanga kituufu tuyinza okuba nga tusaasaanya ebigambo eby’obulimba. N’olwekyo kikulu ‘okufuga emimwa gyaffe.’ (Engero 10:19) Okuba abeesigwa tekitegeeza kwogera buli kintu kye tulowooza, kye tumanyi, oba kye tuwuliddeko. Ne bwe kiba nti kye twagala okwogera kituufu, kiyinza okuba nga tekitukwatako, nga tekyetaagisa kukyogerako, oba ng’okukyogerako tekiba kikolwa kya kwagala. (1 Abassessalonika 4:11) Abantu abamu boogera mu ngeri etali ya kisa nga bagamba nti, bo beesimbu tebaluma mu bigambo. Naye ffe abaweereza ba Yakuwa bulijjo twagala ebigambo byaffe bibe bya kisa.​—Soma Abakkolosaayi 4:6.

11, 12. (a) Omuntu akoze ekibi eky’amaanyi bw’atayogera mazima lwaki aba ayongera buzibu ku buzibu? (b) Kiki kye tusaanidde okwewala nga mukwano gwaffe akoze ekibi eky’amaanyi, era lwaki? (c) Tuyinza tutya okuba abeesigwa eri ekibiina kya Yakuwa?

11 Yakuwa yakwasa abakadde obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ekibiina. Kiba kyangu abakadde okutuyamba singa tubabuulira ekituufu. Lwaki? Lowooza ku kino: Watya singa obadde mulwadde n’ogenda eri omusawo akuyambe. Wandimukwese ebintu ebimu ebikwata ku bulwadde bwo? Singa obimukweka, olowooza asobola okukuyamba? Mu ngeri y’emu, naffe bwe tukola ekibi eky’amaanyi tetusaanidde kukikweka oba okulimba abakadde. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okutuukirira abakadde ne tubabuulira mu bwesimbu ku kibi ekyo. (Zabbuli 12:2; Ebikolwa 5:1-11) Kati ate lowooza ne ku mbeera eno endala: Watya singa okimanyako nti mukwano gwo yakoze ekibi eky’amaanyi? (Eby’Abaleevi 5:1) Ddala bw’osirikira ekibi ekyo, kiba kiraga nti oli mukwano gwe? Bw’oba nga ddala oli mukwano gwe, ojja kukijjukira nti abakadde be basobola okumuwa obuyambi bwe yeetaaga okusobola okuzzaawo enkolagana ye ne Yakuwa.​—Abebbulaniya 13:17; Yakobo 5:14, 15.

12 Ate era tusaanidde okuba abeesigwa eri ekibiina kya Yakuwa nga tujjuzaamu lipoota, gamba ng’ezo ezikwata ku mulimu ogw’okubuulira. Era tulina okuba abeesigwa nga tujjuzaamu foomu ez’okusaba okuweereza nga bapayoniya, oba ez’okuyingira obuweereza obulala bwonna.​—Soma Engero 6:16-19.

13. Tuyinza tutya okuba abeesigwa nga tukola bizineesi ne bakkiriza bannaffe?

13 Abakristaayo tebasaanidde kugattika bizineesi na kusinza. Ng’ekyokulabirako, tetukolera bizineesi ku Kizimbe ky’Obwakabaka oba nga tuli mu kubuulira. Ate era bwe tukola bizineesi ne bakkiriza bannaffe, tetubalyazaamaanya. Bw’oba okozesa bakkiriza banno, basasule mu budde, basasule ssente ze mwakkiriziganyako, era bawe n’ebintu ebirala by’oba olina okubawa okusinziira ku mateeka. Mu bino muyinza okuzingiramu okubayambako ku by’obujjanjabi oba okubawaayo ennaku ez’okuwummula. (1 Timoseewo 5:18; Yakobo 5:1-4) Ate era bw’oba okozesebwa mukkiriza munno, tomusuubira kukuyisa mu ngeri ya njawulo ku bakozi abalala. (Abeefeso 6:5-8) Kakasa nti otuuka ku mulimu mu budde era n’onnyuka ku ssaawa ze mwalagaana, era kolera ddala omulimu gw’oteekeddwa okukola.​—2 Abassessalonika 3:10.

14. Kiki Abakristaayo kye basaanidde okukola nga tebannatandika kukola bizineesi ne bakkiriza bannaabwe?

14 Watya singa osalawo okukola bizineesi ne mukkiriza munno? Kino kiyinza okuzingiramu okuteeka ssente mu bizineesi oba okwewola. Mu mbeera ng’eyo, kikulu okukolera ku musingi gwa Bayibuli guno: Ebintu byonna biteekebwe mu buwandiike! Nnabbi Yeremiya bwe yagula ettaka, yawandiika endagaano za mirundi ebiri, emu abajulizi ne bagissaako omukono, era zombi n’azitereka. (Yeremiya 32:9-12; laba ne Olubereberye 23:16-20.) Abamu balowooza nti okuwandiika endagaano kiba kiraga nti tebeesiga baganda baabwe. Naye ekituufu kiri nti okuwandiika endagaano kiyamba okwewala obutategeeragana obuyinza okubaawo. Kyokka bwe tuba tukola bizineesi ne bakkiriza bannaffe tusaanidde okukijjukira nti okukuuma emirembe mu kibiina kikulu okusinga bizineesi.—1 Abakkolinso 6:1-8; laba Ebyongerezeddwako 30.

OBWESIGWA KU MIRIMU

15. Yakuwa atwala atya obutali bwesigwa obuliwo mu bizineesi?

15 Tulina okuba abeesigwa nga tukolagana n’abantu bonna, nga mw’otwalidde n’abo abatali Bajulirwa ba Yakuwa. Yakuwa atwetaagisa okuba abeesigwa. Bayibuli egamba nti: “Yakuwa akyayira ddala minzaani ezitali ntuufu, naye ekipimo ekituufu kimusanyusa.” (Engero 11:1; 20:10, 23) Mu biseera by’edda, minzaani zaakozesebwanga nnyo mu bizineesi. Naye abasuubuzi abamu babbanga abantu nga babaguza ebintu ebitaweze oba nga babaseera. Ne leero obutali bwesigwa bungi nnyo mu bizineesi. Nga Yakuwa bwe yakyawa obutali bwesigwa mu biseera eby’edda, ne leero abukyawa.

16, 17. Obumu ku butali bwesigwa bwe tulina okwewala bwe buliwa?

16 Bulijjo ffenna twolekagana n’embeera eziyinza okukifuula ekizibu gye tuli okusigala nga tuli beesigwa, gamba nga tusaba omulimu, nga tujjuzaamu foomu za gavumenti, oba nga tukola ebigezo ku ssomero. Abantu bangi balowooza nti si kibi okulimba, okusavuwaza, oba okubuzaabuza abalala. Ekyo tekitwewuunyisa. Bayibuli yagamba nti mu nnaku ez’enkomerero, abantu bandibadde “beeyagala bokka, nga baagala nnyo ssente, . . . nga tebaagala bulungi.”​—2 Timoseewo 3:1-5.

17 Oluusi abantu abatali beesigwa ebintu biyinza okulabika ng’ebibagendera obulungi. (Zabbuli 73:1-8) Naye ye Omukristaayo ayinza okufiirwa omulimu gwe, okufiirwa ssente, oba okuyisibwa obubi ku mulimu olw’okuba omwesigwa. Kyokka okuba abeesigwa kivaamu ebirungi bingi. Lwaki?

EBIRUNGI EBIVA MU KUBA OMWESIGWA

18. Lwaki kirungi okuba omwesigwa?

18 Omuntu bw’aba omwesigwa era nga wa mazima, ayagalibwa nnyo. Buli omu ku ffe asobola okuba omwesigwa. (Mikka 7:2) Kyo kituufu nti abantu abamu bayinza okukusekerera era ne bakuyita musiru olw’okuba omwesigwa. Naye abalala bajja kukwagala nnyo olw’okuba omwesigwa era bajja kukwesiga. Okwetooloola ensi, Abajulirwa ba Yakuwa bamanyiddwa ng’abantu abeesigwa. Abantu abamu baagala okukozesa Abajulirwa ba Yakuwa kubanga bamanyi nti beesigwa. Ate era abakozi abamu bwe bagobebwa ku mirimu olw’obutaba beesigwa, emirundi mingi bo Abajulirwa ba Yakuwa basigaza emirimu gyabwe.

Bwe tuba abeesigwa ku mirimu gyaffe tuweesa Yakuwa ekitiibwa

19. Bw’oba omwesigwa kikwata kitya ku nkolagana yo ne Yakuwa?

19 Bw’oba omwesigwa mu bintu byonna kikuyamba okuba n’omuntu ow’omunda omulungi n’okuba n’emirembe mu mutima. Tusobola okuba ng’omutume Pawulo eyagamba nti: “Tumanyi nti tulina omuntu ow’omunda omuyonjo.” (Abebbulaniya 13:18) N’ekisinga obukulu, bw’ofuba okuba omwesigwa mu bintu byonna Kitaawo ow’omu ggulu ajja kukiraba era ajja kukuwa emikisa.​—Soma Zabbuli 15:1, 2; Engero 22:1.