Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebbaluwa Okuva ku Kakiiko Akafuzi

Ebbaluwa Okuva ku Kakiiko Akafuzi

Eri abo abaagala Yakuwa Katonda n’Ekigambo kye, Bayibuli:

Yesu yagamba nti: “Mujja kumanya amazima, era amazima gajja kubafuula ba ddembe.” (Yokaana 8:32) Lowooza ku ngeri gye wawuliramu bwe wasooka okumanya amazima agali mu Bayibuli! Kiteekwa okuba nga kyakusanyusa nnyo okukimanya nti kisoboka okumanya amazima mu nsi eno ejjudde obulimba.​—2 Timoseewo 3:1.

Yakuwa Katonda ayagala tumanye amazima. Olw’okuba twagala abantu, twagala okubayigiriza amazima. Naye waliwo ebirala ebizingirwa mu kuweereza Katonda. Olw’okuba tussa ekitiibwa mu misingi gya Yakuwa, tufuba okugikolerako mu bulamu bwaffe. Yesu yalaga engeri gye tuyinza okulagamu nti twagala Katonda. Yagamba nti: “Bwe mukwata ebiragiro byange, mujja kusigala mu kwagala kwange, nga nze bwe nkutte ebiragiro bya Kitange ne nsigala mu kwagala kwe.”​—Yokaana 15:10.

Yesu ayagala nnyo Kitaawe, era akola ebyo byonna Kitaawe by’amugamba okukola. Bwe tukoppa Yesu mu ngeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe, Yakuwa ajja kutwagala era tujja kufuna essanyu erya nnamaddala. Yesu yagamba nti: “Bwe mumanya ebintu bino, muba basanyufu bwe mubikola.”​—Yokaana 13:17.

Tusuubira nti akatabo kano kajja kukuyamba okuyiga okukolera ku misingi egiri Bayibuli n’okuba mukwano gwa Katonda. Era tusuubira nti ojja kweyongera okwagala Katonda era osigale ‘mu kwagala kwe’ ng’olina essuubi ery’okufuna “obulamu obutaggwaawo.”​—Yuda 21.

Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa