Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebyongerezeddwako

Ebyongerezeddwako

 1 EMISINGI

Amateeka ga Yakuwa geesigamiziddwa ku misingi gye. Emisingi egyo ge mazima agatakyukakyuka agali mu Bayibuli agatuyamba okumanya endowooza ye. Emisingi era gitusobozesa okusalawo mu ngeri ey’amagezi n’okukola ekituufu. N’okusingira ddala gituyamba nga tusalawo ku bintu ebitoogerwako butereevu mu Bayibuli.

Essuula 1, akatundu 8

 2 OBUWULIZE

Okuba abawulize eri Yakuwa oba okumugondera kwe kuba abeetegefu okukola by’atulagira. Yakuwa ayagala tumugondere olw’okuba tumwagala. (1 Yokaana 5:3) Bwe tuba twagala Katonda era nga tumwesiga, tukolera ku bulagirizi bwe mu mbeera zonna. Tumugondera ne bwe kiba nga si kyangu gye tuli. Bwe tugondera Yakuwa kituganyula kubanga kituyamba okuba n’obulamu obulungi mu kiseera kino era kijja kutusobozesa okufuna emikisa mingi mu biseera eby’omu maaso.​—Isaaya 48:17.

Essuula 1, akatundu 10

 3 EDDEMBE ERY’OKWESALIRAWO

Yakuwa yawa buli muntu eddembe ery’okwesalirawo, oba obusobozi bw’okusalawo. Teyatutonda nga tulinga loboti. (Ekyamateeka 30:19; Yoswa 24:15) Tusobola okukozesa eddembe Katonda lye yatuwa okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Naye bwe tuteegendereza tuyinza okusalawo mu ngeri etali ya magezi. Okuba nti tulina eddembe ery’okwesalirawo kitegeeza nti tulina okwesalirawo kinnoomu okuba abeesigwa eri Yakuwa, ne tukiraga nti ddala tumwagala.

Essuula 1, akatundu 12

 4 EMITINDO GY’EMPISA

Yakuwa yatuteerawo emitindo gy’empisa oba obulagirizi obukwata ku ngeri gye tusaanidde okweyisaamu. Bayibuli etuyamba okumanya emitindo egyo n’engeri gye giyinza okutuyambamu okutambuza obulamu bwaffe mu ngeri ey’amagezi. (Engero 6:16-19; 1 Abakkolinso 6:9-11) Emitindo egyo gituyamba okumanya ebyo Katonda by’atwala ng’ebituufu oba ebikyamu. Ate era gituyamba okumanya engeri gye tuyinza okwolekamu okwagala, okusalawo mu ngeri ey’amagezi, n’okulaga abalala ekisa. Wadde ng’emitindo gy’empisa mu nsi gyeyongera okusereba, gyo emitindo gya Yakuwa egikwata ku mpisa tegikyuka. (Ekyamateeka 32:4-6; Malaki 3:6) Okukolera ku mitindo gya Katonda kituyamba okwewala emitawaana.

Essuula 1, akatundu 17

 5 OMUNTU OW’OMUNDA

Omuntu ow’omunda bwe busobozi bwe tulina obw’okumanya ekituufu n’ekikyamu. Buli omu ku ffe Yakuwa yamuwa omuntu ow’omunda. (Abaruumi 2:14, 15) Omuntu waffe ow’omunda okusobola okukola obulungi, tulina okumutendeka nga tusinziira ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa. Bwe tumutendeka, asobola okutuyamba okusalawo mu ngeri esanyusa Katonda. (1 Peetero 3:16) Omuntu waffe ow’omunda asobola okutulabula nga tugenda okusalawo mu ngeri etali ya magezi oba okutulumiriza nga tukoze ekintu ekikyamu. Omuntu waffe ow’omunda asobola okuba nga takyakola bulungi, naye Yakuwa asobola okutuyamba n’addamu okutereera. Omuntu ow’omunda omulungi atusobozesa okuba n’emirembe mu mutima n’okuwulira nga tuli bantu ba kitiibwa.

Essuula 2, akatundu 3

 6 OKUTYA KATONDA

Bwe tuba nga tutya Katonda, tuba tumwagala era nga tumussaamu nnyo ekitiibwa ne kiba nti tetwagala kukola kintu kyonna kimunyiiza. Okutya Katonda kituyamba okukola ebirungi n’okwewala ebibi. (Zabbuli 111:10) Kutuleetera okussaayo ennyo omwoyo ku ebyo byonna Yakuwa by’atugamba. Era kutuyamba okutuukiriza byonna bye tweyama gy’ali olw’okuba tumussaamu nnyo ekitiibwa. Okutya Katonda kukwata ku ngeri gye tulowoozaamu, gye tuyisaamu abalala, ne ku ebyo bye tusalawo buli lunaku.

Essuula 2, akatundu 9

 7 OKWENENYA

Okwenenya kuzingiramu okunyolwa ennyo olw’ekibi kye tuba tukoze. Abo abaagala Katonda bawulira bubi nnyo nga bakoze ekintu ekikontana n’emitindo gye. Bwe tukola ekintu ekibi, tusaanidde okusaba Yakuwa atusonyiwe ng’asinziira ku ssaddaaka ya Yesu. (Matayo 26:28; 1 Yokaana 2:1, 2) Bwe twenenya mu bwesimbu era ne tulekera awo okukola ekibi, tuba bakakafu nti Yakuwa ajja kutusonyiwa. Omutima gwaffe guba tegusaanidde kweyongera kutulumiriza olw’ekibi ekyo. (Zabbuli 103:10-14; 1 Yokaana 1:9; 3:19-22) Tulina okuyigira ku nsobi ze tuba tukoze, ne tukyusa endowooza yaffe, era ne tutambulira ku mitindo gya Yakuwa.

Essuula 2, akatundu 18

 8 OKUGOBA OMUNTU MU KIBIINA

Omuntu bw’akola ekibi eky’amaanyi n’agaana okwenenya oba okukolera ku mitindo gya Yakuwa, aba tagwana kuba mu kibiina kya Yakuwa. Aba alina okugobebwa mu kibiina. Omuntu bw’agobebwa mu kibiina, tulekera awo okukolagana naye n’okwogera naye. (1 Abakkolinso 5:11; 2 Yokaana 9-11) Enteekateeka ey’okugoba mu kibiina aboonoonyi abateenenya ekuuma ekibiina era ereetera erinnya lya Yakuwa obutavumaganyizibwa. (1 Abakkolinso 5:6) Okugobebwa mu kibiina era kuba kukangavvula okuweebwa omuntu okusobola okumuyamba okwenenya n’adda eri Yakuwa.​—Lukka 15:17.

Essuula 3, akatundu 19

 9 OBULAGIRIZI N’OKUWABULWA

Yakuwa atwagala nnyo era ayagala okutuyamba. Eyo ye nsonga lwaki atuwa obulagirizi era atuwabula okuyitira mu Bayibuli ne mu bantu abamwagala. Olw’okuba tetutuukiridde, twetaaga nnyo obulagirizi n’okuwabula ebiva eri Katonda. (Yeremiya 17:9) Bwe tuwuliriza abo Katonda b’akozesa okutuwa obulagirizi, kiba kiraga nti tumussaamu ekitiibwa era nti twagala okumugondera.​—Abebbulaniya 13:7.

Essuula 4, akatundu 2

 10 AMALALA N’OBWETOOWAZE

Olw’okuba tetutuukiridde, kyangu okuba nga twefaako ffekka n’okuba ab’amalala. Naye Yakuwa ayagala tube beetoowaze. Bulijjo bwe tukijjukira nti Yakuwa asukkulumye ku bintu byonna, kituyamba okukiraba nti tuli ba wansi nnyo ku Yakuwa era mu ngeri eyo tuyiga okuba abeetoowaze. (Yobu 38:1-4) Ekintu ekirala ekisobola okutuyamba okuba abeetoowaze kwe kukulembeza eby’abalala mu kifo ky’okukulembeza ebyaffe. Emirundi mingi amalala galeetera omuntu okuwulira nti wa waggulu ku balala. Omuntu omwetoowaze yeetunuulira mu bwesimbu n’alaba ebyo by’akola obulungi era n’alaba n’obunafu bwe. Akkiriza ensobi ze era aba mwetegefu okwetonda n’okukyusaamu ng’awabuddwa. Omuntu omwetoowaze yeesiga Yakuwa era akolera ku bulagirizi bw’atuwa.​—1 Peetero 5:5.

Essuula 4, akatundu 4

 11 OBUYINZA

Omuntu alina obuyinza y’aba alina obuvunaanyizibwa obw’okuwa abalala ebiragiro n’okusalawo ku bintu ebitali bimu. Yakuwa y’alina obuyinza obw’enkomeredde mu ggulu ne ku nsi. Olw’okuba ye yatonda ebintu byonna, y’asingayo okuba ow’amaanyi mu ggulu ne ku nsi. Bulijjo akozesa obuyinza bw’alina okuganyula abalala. Yakuwa alina abantu b’awadde obuvunaanyizibwa okutulabirira. Ng’ekyokulabirako, abazadde, abakadde mu kibiina, n’ab’obuyinza mu gavumenti balina obuyinza obw’ekigero Yakuwa bwe yabawa, era ayagala tubagondere. (Abaruumi 13:1-5; 1 Timoseewo 5:17) Naye amateeka g’abantu bwe gakontana n’amateeka ga Yakuwa, tugondera Katonda so si bantu. (Ebikolwa 5:29) Bwe tugondera abo Yakuwa b’awadde obuyinza, tuba tukiraga nti tumussaamu ekitiibwa.

Essuula 4, akatundu 7

 12 ABAKADDE

Yakuwa akozesa abakadde, ab’oluganda abalina obumanyirivu, okulabirira ekibiina. (Ekyamateeka 1:13; Ebikolwa 20:28) Abasajja abo batuyamba okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa n’okumusinza mu mirembe era mu ngeri entegeke obulungi. (1 Abakkolinso 14:33, 40) Abakadde abalondebwa omwoyo omutukuvu, balina okuba nga batuukiriza ebisaanyizo ebiri mu Bayibuli. (1 Timoseewo 3:1-7; Tito 1:5-9; 1 Peetero 5:2, 3) Tugondera abakadde olw’okuba twesiga ekibiina kya Katonda era twagala okukiwagira.​—Zabbuli 138:6; Abebbulaniya 13:17.

Essuula 4, akatundu 8

 13 OMUTWE GW’AMAKA

Yakuwa yawa abazadde obuvunaanyizibwa okulabirira abaana baabwe n’amaka gaabwe. Naye Bayibuli egamba nti omwami gwe mutwe gw’amaka. Mu maka bwe mutabaamu taata, maama y’aba omutwe gw’amaka. Omutwe gw’amaka alina obuvunaanyizibwa obw’okufunira ab’omu maka ge emmere, eby’okwambala, n’aw’okubeera. Ate era omutwe gw’amaka alina okukulembera ab’omu maka ge mu kusinza Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, akakasa nti bagenda mu nkuŋŋaana, beenyigira mu mulimu gw’okubuulira, era basomera wamu Bayibuli obutayosa. Omutwe gw’amaka y’avunaanyizibwa ku kusalawo engeri ebintu gye birina okukolebwamu mu maka ge. Afuba okukoppa Yesu ng’aba wa kisa, nga taba mukakanyavu, era nga taba mukambwe. Ekyo kireetawo embeera ennungi mu maka era kiyamba bonna mu maka okwongera okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa.

Essuula 4, akatundu 12

 14 AKAKIIKO AKAFUZI

Akakiiko Akafuzi be b’oluganda abatonotono abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu Yakuwa b’akozesa okulabirira omulimu ogukolebwa abantu be. Mu kyasa ekyasooka, Yakuwa yakozesa akakiiko akafuzi okuwa ekibiina Ekikristaayo obulagirizi obukwata ku kusinza ne ku mulimu gw’okubuulira. (Ebikolwa 15:2) Leero ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi be balina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abantu ba Katonda mu by’omwoyo n’okubawa obulagirizi. Mu byonna bye basalawo beesigama ku Kigambo kya Katonda n’obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu. Ab’oluganda abo abaafukibwako amafuta Yesu yabayita “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.”​—Matayo 24:45-47.

Essuula 4, akatundu 15

 15 OKUBIKKA KU MUTWE

Oluusi mwannyinaffe ayinza okusabibwa okubaako ekintu ky’akola ekirina okukolebwa ow’oluganda. Bw’aba akola ekintu ekyo, akiraga nti assa ekitiibwa mu nteekateeka ya Yakuwa ey’obukulembeze, ng’abikka ku mutwe. Naye oluusi eky’okubikka ku mutwe kisinziira ku mbeera eba eriwo. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe bw’aba ayigiriza omuntu Bayibuli ng’ali wamu n’omwami we oba n’ow’oluganda omubatize, aba alina okubikka ku mutwe.​—1 Abakkolinso 11:11-15.

Essuula 4, akatundu 17

 16 OBUTABAAKO LUDDA LWE TUWAGIRA MU BY’OBUFUZI

Abaweereza ba Yakuwa tetwenyigira mu bya bufuzi. (Yokaana 17:16) Tuwagira Bwakabaka bwa Katonda. Okufaananako Yesu, naffe tetwenyigira mu bukuubagano bwa nsi eno.

Yakuwa atulagira “okuwulira abafuzi n’ab’obuyinza.” (Tito 3:1, 2; Abaruumi 13:1-7) Era atulagira obutatta. N’olwekyo, omuntu ow’omunda ow’Omukristaayo aba tamukkiriza kwenyigira mu ntalo. Kyokka bwe wabaawo emirimu emirala omuntu gy’ayinza okukola mu kifo ky’okuyingizibwa mu magye, Omukristaayo aba alina okusalawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda.

Tusinza Yakuwa yekka kubanga ye Mutonzi waffe. Wadde nga tussa ekitiibwa mu bubonero bw’eggwanga, tetukubira bbendera saluti era tetuyimba luyimba lwa ggwanga. (Isaaya 43:11; Danyeri 3:1-30; 1 Abakkolinso 10:14) Ate era tetulonda. Ekyo kiri bwe kityo kubanga twasalawo dda okuwagira Obwakabaka bwa Katonda.​—Matayo 22:21; Yokaana 15:19; 18:36.

Essuula 5, akatundu 2

 17 OMWOYO GW’ENSI

Ensi etumbula endowooza ya Sitaani. Endowooza eyo eri nnyo mu bantu abatayagala Yakuwa, abataagala kumukoppa, era abataagala kukolera ku mitindo gye. (1 Yokaana 5:19) Endowooza eyo awamu n’ebikolwa by’ereetera abantu okukola biyitibwa omwoyo gw’ensi. (Abeefeso 2:2) Abantu ba Yakuwa tufuba nnyo okulaba nga tetutwalirizibwa mwoyo ogwo. (Abeefeso 6:10-18) Mu kifo ky’ekyo, twagala amakubo ga Yakuwa era tufuba okulaba nga tuba n’endowooza ng’eyiye.

Essuula 5, akatundu 7

 18 BAKYEWAGGULA

Kyewaggula ye muntu alwanyisa amazima agali mu Bayibuli. Bakyewaggula bajeemera Yakuwa ne Yesu, Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, era bagezaako okusendasenda abalala okubeegattako. (Abaruumi 1:25) Baagala okuleetera abo abasinza Yakuwa okutandika okubuusabuusa amazima. Abantu abamu abaali mu kibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka baafuuka bakyewaggula, era ne leero waliwo abafuuse bakyewaggula. (2 Abassessalonika 2:3) Abantu abeesigwa eri Yakuwa beewalira ddala bakyewaggula. Tetusaanidde kukkiriza kintu kyonna, gamba ng’okwagala okumanya ebisingawo oba okupikirizibwa abalala, kutuleetera kusoma oba kuwuliriza ndowooza za bakyewaggula. Tuli beesigwa eri Yakuwa era ye yekka gwe tusinza.

Essuula 5, akatundu 9

 19 OKUTANGIRIRA

Okusinziira ku Mateeka ga Musa, abantu b’eggwanga lya Isirayiri baasabanga Yakuwa okubasonyiwa ebibi byabwe. Baawangayo ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, amafuta, n’ensolo ku yeekaalu okusobola okutangirira ebibi byabwe. Mu ngeri eyo, Abayisirayiri bajjukizibwanga nti Yakuwa yali mwetegefu okubasonyiwa ebibi byabwe ng’eggwanga era ng’abantu kinnoomu. Naye oluvannyuma lwa Yesu okuwaayo obulamu bwe olw’ebibi byaffe, ebiweebwayo ebyo byali tebikyetaagisa okusobola okutangirira ebibi by’abantu. Yesu yawaayo ssaddaaka etuukiridde “omulundi gumu.”​—Abebbulaniya 10:1, 4, 10.

Essuula 7, akatundu 6

 20 OKUYISA OBULUNGI ENSOLO

Mu Mateeka ga Musa, abantu bakkirizibwanga okulya ennyama. Baalagirwa n’okuwangayo ensolo nga ssaddaaka. (Eby’Abaleevi 1:5, 6) Naye Yakuwa teyakkiriza bantu be kuyisa bubi nsolo. (Engero 12:10) Mu butuufu, Amateeka gaalimu ebiragiro ebyali bikugira abantu okuyisa obubi ensolo. Abayisirayiri baalagirwa okulabirira obulungi ebisolo byabwe.​—Ekyamateeka 22:6, 7.

Essuula 7, akatundu 6

 21 OBUTUNDUTUNDU OBUGGIBWA MU MUSAAYI N’OBUJJANJABI OBW’ENGERI ENDALA

Obutundutundu obuggibwa mu musaayi. Omumusaayi gulimu ebitundu bino bina ebikulu: obutoffaali obumyufu, obutoffaali obweru, platelets, ne plasma. Ebitundu ebyo ebina biggibwamu obutundutundu obulala. *

Abakristaayo tebakkiriza kuteekebwamu musaayi oba ekimu ku bitundu byagwo ebina ebikulu. Naye bandikkiriza obutundutundu obuggibwa mu bitundu by’omusaayi ebina ebikulu? Bayibuli tetubuulira butereevu kya kukola mu mbeera eyo. Buli Mukristaayo alina okwesalirawo ng’asinziira ku omuntu we ow’omunda atendekeddwa Bayibuli.

Abakristaayo abamu tebakkiriza kukozesa bujjanjabi buzingiramu kukozesa butundutundu buggiddwa mu bitundu ebina eby’omusaayi. Bagamba nti okusinziira ku Mateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri, omusaayi bwe gwaggibwanga mu nsolo gwalinanga ‘kuyiibwa ku ttaka.’​—Ekyamateeka 12:22-24.

Ate abalala basalawo mu ngeri ya njawulo. Omuntu waabwe ow’omunda abakkiriza okukozesa obujjanjabi obuzingiramu okukozesa obutundutundu obwo. Bagamba nti obutundutundu obwo buba tebukyakiikirira bulamu bw’ekiramu omusaayi mwe gwaggibwa.

Bw’oba ng’osalawo ebikwata ku butundutundu obuggibwa mu musaayi weebuuze:

  • Nkimanyi nti okugaana obutundutundu bwonna obuggibwa mu musaayi kitegeeza nti sijja kukkiriza erimu ku ddagala erirwanyisa endwadde oba erikozesebwa okutangira omuntu okuvaamu omusaayi?

  • Nnyinza ntya okunnyonnyola omusawo ensonga lwaki sikkiriza kuteekebwamu butundutundu bwa musaayi?

Enkola endala ez’obujjanjabi. Abakristaayo tetugaba musaayi, era tetukkiriza basawo kutuggyamu ogumu ku musaayi gwaffe bagutereke ng’ebulayo ennaku ntono oba wiiki ntono tulongoosebwe oluvannyuma bagutuzzeemu. Naye waliwo enzijanjaba ezizingiramu okukozesa omusaayi gw’oyo aba ajjanjabibwa. Buli Mukristaayo alina okwesalirawo engeri omusaayi gwe gye gunaakozesebwamu ng’alongoosebwa, ng’akeberebwa omusaayi, oba ng’ajjanjabibwa. Mu mbeera ng’ezo, omusaayi gw’omulwadde guyinza okumuggibwamu okumala akaseera katono.​—Okumanya ebisingawo laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 1, 2000, olupapula 30-31.

Ng’ekyokulabirako, waliwo enkola eyitibwa hemodilution. Mu nkola eno, omulwadde bw’aba anaatera okulongoosebwa, ogumu ku musaayi gwe gumuggibwamu ogusigadde mu mubiri ne bagwongeramu amazzi. Oluvannyuma ng’okulongoosa kugenda mu maaso oba nga kwakaggwa, omusaayi ogwo gukomezebwawo mu mubiri gwe.

Obujjanjabi obulala buyitibwa cell salvage. Mu bujjanjabi buno, omusaayi oguba guva mu muntu ng’alongoosebwa gukuŋŋaanyizibwa ne guggibwamu obucaafu, era ne gumuzzibwamu ng’okulongoosa kukyagenda mu maaso oba nga kwakaggwa.

Engeri omusawo omu gy’akozesaamu enkola z’obujjanjabi ezo eyinza okwawukana ku y’omulala. N’olwekyo, Omukristaayo bw’aba nga tannalongoosebwa oba nga tannakkiriza bujjanjabi bwonna obuzingiramu okukozesa omusaayi gwe, alina okusooka okumanya engeri omusaayi gwe gye gunaakozesebwamu.

Bw’oba osalawo ku bujjanjabi obuzingiramu okukozesa omusaayi gwo, weebuuze:

  • Singa ogumu ku musaayi gwange bagufulumya omubiri gwange nga baguyisa mu bupiira oluvannyuma ne gukomawo mu mubiri gwange, omusaayi ogwo omuntu wange ow’omunda anaasigala agutwala ng’ekitundu ky’omubiri gwange, nga tegwetaaga ‘kuyiibwa ku ttaka,’ ne bwe kiba nti gulina we gutuuse ne guyimiriramu katono?​—Ekyamateeka 12:23, 24.

  • Omuntu wange ow’omunda anannumiriza singa ogumu ku musaayi gwange gufulumizibwa mu mubiri gwange ne gulongoosebwa oluvannyuma ne guteebwa ne gukomawo mu mubiri gwange?

  • Nkimanyi nti singa ŋŋaana enkola zonna ezizingiramu okukozesa omusaayi gwange kitegeeza nti sijja kukkiriza kukeberebwa musaayi oba enkola ya hemodialysis, oba ekyuma ekikola ng’omutima oba amawuggwe?

Nga tonnasalawo ku bujjanjabi obuzingiramu okukozesa obutundutundu bw’omusaayi oba obuzingiramu okukozesa omusaayi gwo, osaanidde okusaba Yakuwa akuwe obulagirizi era fuba okunoonyereza. (Yakobo 1:5, 6) Oluvannyuma olina okusalawo ng’osinziira ku muntu wo ow’omunda atendekeddwa Bayibuli. Tosaanidde kubuuza balala kye bandikoze singa babadde mu mbeera gy’olimu era abalala tebasaanidde kukusalirawo kya kukola.​—Abaruumi 14:12; Abaggalatiya 6:5.

Essuula 7, akatundu 11

 22 OBUYONJO MU MPISA

Okuba abayonjo mu mpisa kitegeeza nti enneeyisa yaffe n’ebikolwa byaffe biyonjo mu maaso ga Katonda. Era kizingiramu n’ebyo bye tulowooza ne bye twogera. Yakuwa atulagira okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu ebya buli ngeri. (Engero 1:10; 3:1) Tulina okuba abamalirivu okunywerera ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu nga tetunnaba na kutuuka mu mbeera eziyinza okutuleetera okukemebwa okukola ekintu ekikyamu. Buli kiseera tulina okusaba Katonda atuyambe okukuuma ebirowoozo byaffe nga biyonjo era tulina okuba abamalirivu okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu.​—1 Abakkolinso 6:9, 10, 18; Abeefeso 5:5.

Essuula 8, akatundu 11

 23 OBUGWAGWA N’OBUTALI BULONGOOFU

Obugwagwa buzingiramu omuntu okukola oba okwogera ekintu ekibi ennyo mu maaso ga Katonda kyokka n’akyoleka nti taswala. Omuntu ng’oyo akiraga nti tassa kitiibwa mu Katonda. Omuntu bw’akola ebintu eby’obugwagwa, akakiiko akalamuzi kaba kalina okuteekebwawo okukola ku nsonga eyo. Obutali bulongoofu buzingiramu ebibi ebitali bimu. Okusinziira ku bunene bw’ekibi, mu mbeera ezimu ebikolwa ebitali birongoofu, byetaagisa akakiiko akalamuzi okuteekebwawo okutunula mu nsonga.​—Abaggalatiya 5:19-21; Abeefeso 4:19; okumanya ebisingawo, laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Watchtower eya Jjulaayi 15, 2006.

Essuula 9, akatundu 7; Essuula 12, akatundu 10

 24 OKWEMAZISA

Ebikolwa eby’okwegatta Yakuwa yabissaawo nga birina kuba wakati w’omwami n’omukyala abafumbo, ng’engeri emu ey’okulagaŋŋanamu omukwano. Naye omuntu bwe yeemazisa oba bw’akozesa obubi ebitundu bye eby’ekyama olw’okwagala okukkusa okwegomba kwe okw’okwegatta, aba akozesa ekirabo eky’okwegatta mu ngeri etali nnongoofu. Omuze ogw’okwemazisa guyinza okwonoona enkolagana y’omuntu ne Yakuwa. Gusobola okuleetera omuntu okufuna okwegomba okutali kulungi, ekyo ne kimuleetera okutunuulira okwegatta mu ngeri etali ntuufu. (Abakkolosaayi 3:5) Omuntu alina omuze ogw’okwemazisa era ng’akisanze nga kizibu okugulekayo tasaanidde kuggwaamu maanyi. (Zabbuli 86:5; 1 Yokaana 3:20) Bw’oba ng’embeera yo bw’etyo bw’eri, saba Yakuwa mu bwesimbu akuyambe. Weewale ebintu ng’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu ebiyinza okukuleetera okuba n’endowooza embi. Yogerako n’omu ku bazadde bo Abakristaayo oba n’omu ku mikwano gyo omukulu mu myaka essa ekitiibwa mu mateeka ga Yakuwa. (Engero 1:8, 9; 1 Abassessalonika 5:14; Tito 2:3-5) Ba mukakafu nti Yakuwa alaba engeri gy’ofubamu okusigala ng’oli muyonjo mu mpisa era ekyo kimusanyusa nnyo.​—Zabbuli 51:17; Isaaya 1:18.

Essuula 9, akatundu 9

 25 OKUWASA OBA OKUFUMBIRWA OMUNTU ASUKKA MU OMU

Abantu abamu bawasa oba bafumbirwa omuntu asukka mu omu. Yakuwa yassaawo enteekateeka y’obufumbo ng’erina kubaamu omusajja omu n’omukazi omu. Mu Isirayiri ey’edda, Katonda yakkiriza abasajja okuba n’omukazi asukka mu omu, naye ekyo si kye kyali ekigendererwa kye. Leero Yakuwa takkiriza baweereza be kuwasa oba kufumbirwa muntu asukka mu omu. Omusajja alina kuba na mukazi omu yekka, n’omukazi alina kuba na musajja omu yekka.​—Matayo 19:9; 1 Timoseewo 3:2.

Essuula 10, akatundu 12

 26 OKUGATTULULWA N’OKWAWUKANA

Yakuwa ayagala omwami n’omukyala okubeera awamu ebbanga lyonna ery’obulamu bwabwe. (Olubereberye 2:24; Malaki 2:15, 16; Matayo 19:3-6; 1 Abakkolinso 7:39) Okusinziira ku Bayibuli, ekintu kyokka ekisobola okusinziirwako abafumbo okugattululwa kwe kuba nti omu ku bo ayenze. Mu mbeera eyo, Yakuwa awa ebbeetu oyo aba tayenze okusalawo obanga bagattululwa oba nedda.​—Matayo 19:9.

Oluusi Abakristaayo abamu basalawo okwawukana ne bannaabwe mu bufumbo wadde nga ku bombi tekuliiko aba ayenze. (1 Abakkolinso 7:11) Ezimu ku nsonga Omukristaayo kw’ayinza okusinziira okusalawo okwawukana ne munne ze zino wammanga.

  • Okugaana okulabirira ab’omu maka mu bugenderevu: Mu mbeera eno omusajja agaana okulabirira ab’omu maka ge mu by’omubiri, ne batuuka n’okuba nga tebakyalina mmere oba ebyetaago ebirala.​—1 Timoseewo 5:8.

  • Okutulugunyizibwa: Omwami oba omukyala ayinza okuba ng’atulugunyizibwa munne, ne kiba nti obulamu bwe buli mu kabi.​—Abaggalatiya 5:19-21.

  • Okuba ng’embeera ye ey’eby’omwoyo eri mu kabi: Omwami oba omukyala ayinza okuba nga munne amulemesa okuweereza Yakuwa.​—Ebikolwa 5:29.

Essuula 11, akatundu 19

 27 OKUSIIMA N’OKUZZAAMU ABALALA AMAANYI

Ffenna twetaaga okusiimibwa n’okuzzibwamu amaanyi. (Engero 12:25; 16:24) Tusobola okuzziŋŋanamu amaanyi n’okubudaabudagana okuyitira mu bigambo ebirungi era eby’ekisa. Ebigambo ng’ebyo bisobola okuyamba baganda baffe ne bannyinaffe okugumiikiriza n’okweyongera okuweereza Yakuwa wadde nga boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. (Engero 12:18; Abafiripi 2:1-4) Omuntu bw’aba aweddemu amaanyi, tusaanidde okumuwuliriza obulungi ng’aliko ky’atugamba era n’okufuba okutegeera engeri gye yeewuliramu. Ekyo kisobola okutuyamba okumanya bye tuyinza okwogera oba okukola okumuyamba. (Yakobo 1:19) Fubanga okumanya obulungi bakkiriza banno osobole okumanya bye beetaaga. Mu ngeri eyo osobola okubayamba okuddukira eri Yakuwa, ensibuko y’okubudaabuda kwonna, basobole okuzzibwamu amaanyi.​—2 Abakkolinso 1:3, 4; 1 Abassessalonika 5:11.

Essuula 12, akatundu 16

 28 EMBAGA

Bayibuli terina mateeka g’ewa butereevu ku ngeri embaga gye zirina okukolebwamu. Buli kitundu kirina obuwangwa n’amateeka ebigobererwa mu nsonga eno. (Olubereberye 24:67; Matayo 1:24; 25:10; Lukka 14:8) Ekintu ekisinga obukulu ku lunaku lw’embaga, bwe bweyamo omwami n’omukyala bwe bakola mu maaso ga Yakuwa. Abagole bangi batera okuyita ab’eŋŋanda zaabwe ne mikwano gyabwe okubaawo nga bakuba ebirayiro era babaako n’omukadde gwe balonda okuwa emboozi eyeesigamiziddwa ku Bayibuli. Kiri eri omusajja n’omukazi okusalawo obanga banaakola akabaga oluvannyuma lw’okugattibwa era na kabaga ka ngeri ki ke banaakola. (Lukka 14:28; Yokaana 2:1-11) Ka kibe ki omwami n’omukyala kye basalawo ku ngeri gye banaateekateekamu embaga yaabwe, balina okukakasa nti embaga eyo eweesa Yakuwa ekitiibwa. (Olubereberye 2:18-24; Matayo 19:5, 6) Emisingi gya Bayibuli gisobola okubayamba okusalawo obulungi. (1 Yokaana 2:16, 17) Abagole bwe basalawo okugabula abagenyi baabwe omwenge, balina okukakasa nti omwenge ogwo tegukozesebwa mu ngeri etasaana. (Engero 20:1; Abeefeso 5:18) Bwe basalawo okuba n’ennyimba oba okusanyusibwa mu ngeri endala yonna, balina okukakasa nti ebintu ebyo biweesa Yakuwa ekitiibwa. Omwami n’omukyala essira balina kusinga kulissa ku nkolagana yaabwe ne Yakuwa n’enkolagana gye balina wakati waabwe okusinga okulissa ku mbaga yaabwe.​—Engero 18:22; okumanya ebisingawo, laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 1, 2006, olupapula 12-17.

Essuula 13, akatundu 18

 29 OKUSALAWO

Bwe tugoberera emisingi egiri mu Kigambo kya Katonda nga tuliko bye tusalawo kituyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Ng’ekyokulabirako, Omukristaayo omufumbo, omwami we oba mukyala we atali Mujulirwa wa Yakuwa ayinza okumugamba bagende baliireko wamu n’ab’eŋŋanda zaabwe ekijjulo ku lumu ku nnaku ezitwalibwa ng’enkulu mu nsi. Bwe weesanga mu mbeera eyo, kiki ky’oyinza okukola? Omuntu wo ow’omunda bw’aba akukkiriza okugenda, oyinza okunnyonnyola munno nti bwe kiba nti ku kijjulo ekyo kunaabaako obulombolombo obw’ekikaafiiri, tojja kubwenyigiramu. Era olina n’okwebuuza obanga waliwo abaneesittala ng’ogenze ku kijjulo ekyo.​—1 Abakkolinso 8:9; 10:23, 24.

Oba mukama wo ku mulimu ayinza okukuwa ebintu oba akasiimo mu kiseera ky’ennaku enkulu. Wandigaanye ebintu ebyo? Si tteeka nti olina okubigaana. Okukkiriza oba okugaana ebintu ebyo kisinziira ku nsonga eviiriddeko mukama wo okubikuwa. Okukuwa ebintu ebyo oba akasiimo ako akitwala ng’ekimu ku bintu ebizingirwa mu kukuza olunaku olukulu? Oba kyandiba nti abikuwadde kulaga bulazi nti asiima emirimu gy’okola? Okufumiitiriza ku bintu ebyo n’ebirala kisobola okukuyamba okusalawo obanga onokkiriza ebintu ebyo oba toobikkirize.

Mu mbeera endala, omuntu ayinza okukuwa ekirabo mu kiseera ky’ennaku enkulu n’agamba nti: “Nkimanyi nti tokuza nnaku nkulu, naye njagala okukuwa ekirabo kino.” Omuntu oyo ayinza okuba ng’ayagala bwagazi kukuwa kirabo ekyo. Ate ku luuyi olulala, kyandiba nti agezaako kukugezesa okulaba obanga onywerera ku ky’okkiriza oba agezaako kukuleetera kwenyigira mu kukuza olunaku olukulu? Oluvannyuma lw’okufumiitiriza ku ekyo, kiri eri ggwe okusalawo obanga onokkiriza ekirabo ekyo oba nedda. Mu byonna bye tusalawo, twagala okusigala nga tulina omuntu ow’omunda omuyonjo n’okuba abeesigwa eri Yakuwa.​—Ebikolwa 23:1.

Essuula 13, akatundu 22

 30 BIZINEESI N’ENSONGA EZIKWATA KU MATEEKA

Emirundi mingi, obutategeeragana bwe bugonjoolwa amangu era mu ngeri ennungi, temuvaamu bizibu bya maanyi. (Matayo 5:​23-​26) Ekintu Abakristaayo bonna kye basaanidde okutwala ng’ekisinga obukulu kwe kuweesa Yakuwa ekitiibwa n’okukuuma obumu mu kibiina.​—Yokaana 13:34, 35; 1 Abakkolinso 13:4, 5.

Abakristaayo bwe bafuna obutakkaanya mu nsonga za bizineesi, basaanidde okufuba okubugonjoola awatali kugenda mu mbuga z’amateeka. Mu 1 Abakkolinso 6:1-8 tusoma ku kubuulirira omutume Pawulo kwe yawa okukwata ku Bakristaayo okutwala Bakristaayo bannaabwe mu mbuga z’amateeka. Okutwala muganda waffe mu mbuga z’amateeka kisobola okuleeta ekivume ku linnya lya Yakuwa ne ku kibiina kye. Mu Matayo 18:15-17, mulimu emitendera esatu Abakristaayo gye balina okugoberera nga bafunye obutakkaanya obw’amaanyi, oboolyawo nga waliwo awaayirizza munne oba amukumpanyizza. Emitendera egyo gye gino: (1) Balina okusooka okufuba okugonjoola obutakkaanya obwo nga bali bokka. (2) Ekyo bwe kirema, bayinza okusaba omu oba babiri ku bakkiriza bannaabwe abakuze mu by’omwoyo okubayambako mu kubugonjoola. (3) Bwe kiba kyetaagisa, basobola okusaba abakadde okuyingira mu nsonga eyo. Obuzibu bwe butuuka ku ddala eryo, abakadde bafuba okukozesa emisingi gya Bayibuli okuyamba abo ababa bafunye obutakkaanya okubugonjoola. Abamu ku abo abazingirwamu bwe baba nga si beetegefu kukolera ku misingi gya Bayibuli, abakadde bayinza okusalawo okussaawo akakiiko akalamuzi okukola ku nsonga eyo.

Kyokka waliwo embeera eziyinza okwetaagisa Abakristaayo okugenda mu kkooti, gamba bwe kituuka ku bintu ng’okugattulula obufumbo, okusalawo ani anaasigaza abaana, ssente omuntu z’alina okuwanga eyali mukyala we oba mwami we, okuliyirirwa yinsuwa, oba okukola ekiraamo. Omukristaayo bw’agenda mu kkooti okukola ku nsonga ng’ezo, aba takontanye na kubuulirira Pawulo kwe yawa, kasita aba ng’ekyo afubye okukikola mu ngeri ey’emirembe.

Singa wabaawo azizza omusango ogwa nnaggomola, gamba ng’okukwata omukazi, okukabasanya omwana, okutuusa obulabe ku muntu, obubbi obw’amaanyi, oba okutemula, Omukristaayo bw’atwala ensonga ezo mu mbuga z’amateeka aba takontanye na kubuulirira Pawulo kwe yawa.

Essuula 14, akatundu 14

 31 OBULIMBA BWA SITAANI

Okuviira ddala mu lusuku Edeni, Sitaani abadde agezaako okulimbalimba abantu. (Olubereberye 3:1-6; Okubikkulirwa 12:9) Akimanyi nti singa ayonoona endowooza yaffe, asobola okutuleetera okukola ekintu ekibi. (2 Abakkolinso 4:4; Yakobo 1:14, 15) Akozesa eby’obufuzi, amadiini, eby’obusuubuzi, eby’okwesanyusaamu, obuyigirize, n’ebirala bingi okubunyisa endowooza ye n’okuleetera abantu okugitwala ng’ennungi.​—Yokaana 14:30; 1 Yokaana 5:19.

Sitaani ekimanyi nti asigazza akaseera katono okulimbalimba abantu. N’olwekyo, akola butaweera okulimbalimba abantu bangi nga bwe kisoboka. Okusingira ddala Sitaani ayagala okulimbalimba abo abaweereza Yakuwa. (Okubikkulirwa 12:12) Bwe tuteegendereza, mpolampola Sitaani ayinza okwonoona ebirowoozo byaffe. (1 Abakkolinso 10:12) Ng’ekyokulabirako, Yakuwa ayagala obufumbo okuba obw’olubeereera. (Matayo 19:5, 6, 9) Naye abantu abasinga obungi leero obufumbo babutwala ng’obw’akaseera obuseera, bwe basobola okuvaamu we baba baagalidde. Firimu nnyingi ne programu za ttivi zitumbula endowooza eyo. Tetusaanidde kukkiriza ndowooza eyo kututwaliriza.

Engeri endala Sitaani gy’akozesa okulimbalimba abantu kwe kutumbula omwoyo gwa kyetwala. (2 Timoseewo 3:4) Bwe tuteegendereza tuyinza okulekera awo okussa ekitiibwa mu abo Yakuwa b’awadde obuyinza. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda ayinza okutandika okuwakanya obulagirizi bw’abakadde mu kibiina. (Abebbulaniya 12:5) Oba mwannyinaffe ayinza okutandika okubuusabuusa enteekateeka y’obukulembeze Yakuwa gye yassaawo mu maka.​—1 Abakkolinso 11:3.

Tusaanidde okuba abamalirivu obutakkiriza Sitaani kwonoona ndowooza yaffe. Mu kifo ky’ekyo, tulina okufuba okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa n’okukuumira ‘ebirowoozo byaffe ku bintu eby’omu ggulu.’​—Abakkolosaayi 3:2; 2 Abakkolinso 2:11.

Essuula 16, akatundu 9

 32 OBUJJANJABI

Ffenna twagala okuba abalamu obulungi n’okufuna obujjanjabi obusingayo obulungi nga tulwadde. (Isaaya 38:21; Makko 5:25, 26; Lukka 10:34) Leero waliwo obujjanjabi obutali bumu obuweebwa abasawo n’abantu abalala. Bwe tuba tusalawo ku bujjanjabi bwe tunakkiriza, tusaanidde okukolera ku misingi gya Bayibuli. Tukijjukira nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okutuwonyeza ddala endwadde. Tetwagala kwemalira nnyo ku mbeera ya bulamu bwaffe ne tutuuka n’okulagajjalira obuweereza bwaffe.​—Isaaya 33:24; 1 Timoseewo 4:16.

Ate era tulina okwewala obujjanjabi bwonna obulabika nga bulina akakwate n’amaanyi ga badayimooni. (Ekyamateeka 18:10-12; Isaaya 1:13) Bwe tuba nga tetunnakkiriza bujjanjabi bwonna oba ddagala lyonna, tusaanidde okufuba okusooka okumanya engeri gye likolamu n’endowooza abaligaba gye balirinako. (Engero 14:15) Tusaanidde okukijjukiranga nti Sitaani ayagala okutuleetera okwenyigira mu bikolwa eby’obusamize. Ne bwe kiba nti tuteebereza buteebereza nti obujjanjabi bulina akakwate ne badayimooni, kiba kya magezi okubwewala.​—1 Peetero 5:8.

Essuula 16, akatundu 18

^ lup. 98 Ebitundu ebyo ebina ebikulu, abasawo abamu nabyo babitwala ng’obutundutundu obwo. N’olwekyo, kiyinza okukwetaagisa okunnyonnyola omusawo nti tokkiriza kuteekebwamu musaayi wadde ebitundu byagwo bino ebina ebikulu: obutoffaali obumyufu, obutoffaali obweru, platelets, ne plasma.