Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 13

Emikolo Gyonna Gisanyusa Katonda?

Emikolo Gyonna Gisanyusa Katonda?

“Mufubenga okumanya ebyo ebikkirizibwa Mukama waffe.”​—ABEEFESO 5:10.

1. Kiki kye tulina okukola okukakasa nti tusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima, era lwaki?

YESU yagamba nti: ‘Abasinza mu ngeri entuufu bajja kusinzanga Kitaffe mu mwoyo n’amazima, kubanga Kitaffe anoonya abalinga abo okumusinzanga.’ (Yokaana 4:23; 6:44) Buli omu ku ffe alina okufuba “okumanya ebyo ebikkirizibwa Mukama waffe.” (Abeefeso 5:10) Ekyo oluusi tekiba kyangu. Sitaani agezaako okutubuzaabuza tukole ebintu ebitasanyusa Yakuwa.​—Okubikkulirwa 12:9.

2. Kiki ekyaliwo okumpi n’Olusozi Sinaayi.

2 Sitaani agezaako atya okutubuzaabuza? Engeri emu gy’akikolamu kwe kukifuula ekizibu gye tuli okwawulawo ekituufu n’ekikyamu. Lowooza ku ekyo ekyaliwo eggwanga lya Isirayiri bwe lyali lisiisidde okumpi n’Olusozi Sinaayi. Musa yali ayambuse waggulu ku lusozi, era abantu baali mu lusiisira nga bamulindirira akomewo. Abantu bwe baakoowa okumulindirira, baagamba Alooni abakolere katonda. Alooni yabakolera ekifaananyi ky’ennyana eya zzaabu. Oluvannyuma abantu baakola embaga. Baazina nga beetooloola ekifaananyi ky’ennyana era ne bakivvunnamira. Abayisirayiri baali balowooza nti mu kuvvunnamira ekifaananyi ekyo baali basinza Yakuwa. Wadde ng’abantu abo omukolo ogwo baali bagutwala ‘ng’embaga ya Yakuwa,’ ekyo tekyagufuula mukolo ogukkirizibwa mu maaso ga Yakuwa. Ekyo Yakuwa yakitwala ng’okusinza ebifaananyi era bangi ku Bayisirayiri abo baafa. (Okuva 32:1-6, 10, 28) Ekyo kituyigiriza ki? Tokkiriza kubuzaabuzibwa. ‘Tokwatanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu,’ era kkiriza Yakuwa akuyambe okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.​—Isaaya 52:11; Ezeekyeri 44:23; Abaggalatiya 5:9.

3, 4. Lwaki kikulu okumanya ensibuko y’emikolo abantu bangi gye beenyigiramu?

3 Yesu bwe yali ku nsi yayamba abatume be okumanya engeri entuufu ey’okusinzaamu Katonda. Bwe yamala okufa, abatume be beeyongera okuyigiriza abayigirizwa abapya emisingi gya Yakuwa. Naye oluvannyuma lw’abatume okufa, abayigiriza ab’obulimba baatandika okuleeta mu kibiina enjigiriza ez’obulimba, obulombolombo, awamu n’emikolo egy’ekikaafiiri. Egimu ku mikolo egy’ekikaafiiri baagituuma amannya agagirabisa ng’egy’Ekikristaayo. (2 Abassessalonika 2:7, 10; 2 Yokaana 6, 7) N’okutuusa leero mingi ku mikolo egyo gikyakuzibwa abantu bangi era gitumbula enjigiriza ez’obulimba n’ebikolwa eby’obusamize. *​—Okubikkulirwa 18:2-4, 23.

4 Okwetooloola ensi, waliwo emikolo n’ennaku enkulu ebyettanirwa ennyo abantu. Naye bwe weeyongera okumanya engeri Yakuwa gy’atunuuliramu ebintu, kisobola okukuleetera okukyusa endowooza gy’olina ku mikolo egimu. Ekyo kiyinza obutaba kyangu, naye Yakuwa ajja kukuyamba. Kati ka tulabe ensibuko y’egimu ku mikolo n’ennaku enkulu abantu bye beenyigiramu, kituyambe okumanya engeri Yakuwa gy’abitwalamu.

SSEKUKKULU YATANDIKA ETYA?

5. Bukakafu ki obulaga nti Yesu teyazaalibwa nga Ddesemba 25?

5 Mu bitundu bingi eby’ensi, Ssekukkulu ekuzibwa nga Ddesemba 25, era abantu bangi balowooza nti olwo lwe lunaku Yesu lwe yazaalibwako. Bayibuli tetubuulira lunaku oba mwezi Yesu mwe yazaalibwa, naye erina ky’etugamba ekituyamba okumanya kiseera ki mu mwaka Yesu mwe yazaalibwa. Lukka yagamba nti Yesu bwe yazaalibwa mu Besirekemu, ‘abasumba baali ku ttale nga bakuuma ebisibo byabwe ekiro.’ (Lukka 2:8-11) Mu Besirekemu, omwezi gwa Ddesemba guba gwa butiti era nga gwa nkuba. N’olwekyo tekisoboka kuba nti abasumba baali wabweru ekiro n’ebisolo byabwe mu mwezi ogwo. Ekyo kitulaga ki? Mu kiseera Yesu we yazaalibwa, obudde tebwali bwa butiti, n’olwekyo teyazaalibwa mu Ddesemba. Okusinziira ku ebyo Bayibuli by’eyogera ne ku byafaayo, Yesu yazaalibwa awo nga mu mwezi gwa Ssebutemba ne Okitobba.

6, 7. (a) Ebikujjuko n’obulombolombo bungi obukolebwa ku Ssekukkulu bwasibuka wa? (b) Kiki ekyanditukubirizza okugabira abalala?

6 Kati olwo Ssekukkulu yava wa? Ssekukkulu yasibuka mu mikolo egy’ekikaafiiri, gamba ng’omukolo gw’Abaruumi oguyitibwa Saturnalia, gwe baakwatanga okujjukira Saturn, katonda waabwe ow’eby’obulimi. Ekitabo ekiyitibwa The Encyclopedia Americana kigamba nti: “Ebikujjuko n’obulombolombo bungi obukolebwa ku Ssekukkulu byasibuka mu bintu ebyakolebwanga ku mukolo gw’Abaruumi oguyitibwa Saturnalia, ogwakuzibwanga mu makkati ga Ddesemba. Ng’ekyokulabirako, ku mukolo ogwo baafumbanga ebijjulo ebinene, baagabanga ebirabo, era baakoleezanga n’emisubbaawa.” Ate era amazaalibwa ga katonda w’Abaperusi ow’enjuba ayitibwa Mithra gaakuzibwanga nga Ddesemba 25.

7 Naye abantu abasinga obungi leero abakuza Ssekukkulu tebalowooza ku nsibuko yaayo eyo etali nnungi. Baba beesunga Ssekukkulu kubanga bagamba nti kiba kiseera kya kubeerako wamu n’ab’eŋŋanda zaabwe, okulya obulungi, n’okuwaŋŋana ebirabo. Kya lwatu nti twagala ab’eŋŋanda zaffe ne mikwano gyaffe, era Yakuwa ayagala abaweereza be okuba abagabi. Nga 2 Abakkolinso 9:7 bwe wagamba, “Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.” Kyokka Yakuwa tayagala tube bagabi mu biseera bimu na bimu. Ekiseera kyonna mu mwaka, abaweereza ba Yakuwa babaako bye bagabira abalala era babaako wamu n’ab’eŋŋanda zaabwe ne mikwano gyabwe, era bwe bagabira abalala baba tebasuubira nti nabo balina okubaako kye baweebwa. Bagaba olw’okuba baagala bantu bannaabwe.​—Lukka 14:12-14.

Bwe tumanya ensibuko y’omukolo kituyamba okumanya obanga kituufu okugwenyigiramu

8. Yesu yali akyali muwere abalaguzisa emmunyeenye we baamuweera ebirabo? Nnyonnyola.

8 Okusobola okuwagira ekyo kye bakola eky’okugaba ebirabo ku Ssekukkulu, abantu bangi bagamba nti waliwo abasajja abagezi basatu abaaleetera Yesu ebirabo ng’ali mu kiyumba ky’ebisolo nga muwere. Kyo kituufu nti waliwo abasajja abaaleetera Yesu ebirabo. Mu biseera by’edda, kyalinga kya bulijjo okuwa omuntu ow’ekitiibwa ebirabo. (1 Bassekabaka 10:1, 2, 10, 13) Naye obadde okimanyi nti Bayibuli egamba nti abasajja abo baali balaguzi, era nti baali tebasinza Yakuwa? Ate era abasajja abo we bajjira eri Yesu, Yesu yali takyali muwere era yali takyali mu kiyumba ky’ebisolo. Yali akuzeemu, ng’ali mu nnyumba.​—Matayo 2:1, 2, 11.

KIKI BAYIBULI KY’EYOGERA KU MAZAALIBWA?

9. Mazaalibwa ki agoogerwako mu Bayibuli?

9 Olunaku omwana lw’azaalibwa luba lwa ssanyu nnyo. (Zabbuli 127:3) Naye ekyo tekitegeeza nti tulina okukuza amazaalibwa. Lowooza ku kino: Waliwo amazaalibwa ga mirundi ebiri gyokka Bayibuli g’eyogerako. Agamu gaali ga Falaawo kabaka wa Misiri, ate amalala gaali ga Kabaka Kerode Antipa. (Soma Olubereberye 40:20-22; Makko 6:21-29.) Abafuzi abo bombi tebaali baweereza ba Yakuwa. Mu butuufu, tewali wonna we tusoma mu Bayibuli nti waliwo omuweereza wa Yakuwa yenna eyakuza amazaalibwa.

10. Abakristaayo abaasooka baatwalanga batya eky’okukuza amazaalibwa?

10 Ekitabo ekiyitibwa The World Book Encyclopedia kigamba nti Abakristaayo abaasooka “eky’okukuza amazaalibwa baali bakitwala ng’akalombolombo ak’ekikaafiiri.” Obulombolombo ng’obwo bwali bwesigamiziddwa ku nzikiriza ez’obulimba. Ng’ekyokulabirako, Abayonaani ab’edda baali bakkiriza nti buli muntu yalina ekitonde eky’omwoyo ekyali kimukuuma era nti ekitonde ekyo kyaliwo ng’azaalibwa. Era baalinga bakitwala nti ekitonde ekyo kyalina akakwate ne katonda eyazaalibwa ku lunaku omuntu gwe kyali kikuuma lwe yazaalibwako. Okugatta ku ekyo, amazaalibwa gakwataganyizibwa n’okulaguzisa emmunyeenye.

11. Ddi lwe tusaanidde okugaba?

11 Abantu bangi olunaku lwe baazaalibwako balutwala nga lwa njawulo nnyo. Balowooza nti ku lunaku olwo balina okusuusuutibwa n’okufiibwako mu ngeri ey’enjawulo. Naye tusobola okulaga ab’eŋŋanda zaffe ne mikwano gyaffe okwagala ekiseera kyonna mu mwaka so si ku lunaku lumu lwokka. Yakuwa ayagala tube ba kisa era bagabi ekiseera kyonna. (Soma Ebikolwa 20:35.) Tusiima nnyo Yakuwa olw’okutuwa ekirabo eky’obulamu. Okusiima okwo tetukulaga ku lunaku lwe twazaalibwako lwokka, wabula tukulaga buli lunaku.​—Zabbuli 8:3, 4; 36:9.

Okwagala kwe kuleetera Abakristaayo ab’amazima okugaba

12. Olunaku olw’okufiirako luyinza lutya okusinga olunaku olw’okuzaalibwako?

12 Omubuulizi 7:1 wagamba nti: “Erinnya eddungi lisinga amafuta amalungi, n’olunaku olw’okufiirako lusinga olw’okuzaalibwako.” Olunaku olw’okufiirako luyinza lutya okusinga olunaku olw’okuzaalibwako? Bwe tuba twakazaalibwa tuba tetulina kintu kyonna kye twakoze, ka kibe kirungi oba kibi. Naye bwe tukozesa obulamu bwaffe okuweereza Yakuwa n’okukolera abalala ebirungi, tuba tukoze “erinnya eddungi,” era ne bwe tufa Yakuwa aba ajja kutujjukira. (Yobu 14:14, 15) Abaweereza ba Yakuwa tebakuza mazaalibwa gaabwe wadde aga Yesu. Mu butuufu, omukolo gwokka Yesu gwe yatugamba okukuza gwe gw’okujjukira okufa kwe.​—Lukka 22:17-20; Abebbulaniya 1:3, 4.

PPAASIKA

13, 14. Lwaki Abakristaayo ab’amazima tebakuza Ppaasika?

13 Ppaasika lunaku lukulu mu Kristendomu era kigambibwa nti lukuzibwa okujjukira okuzuukira kwa Yesu. Naye ddala Kristo yalagira abagoberezi be okujjukiranga okuzuukira kwe? Nedda. Ebitabo by’ebyafaayo biraga nti Ppaasika teyakuzibwanga Bakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka era nti yasibuka mu ddiini ez’edda ez’ekikaafiiri. Ekitabo ekiyitibwa The Encyclopædia Britannica kigamba nti: “Tewali wonna we kiragibwa mu Ndagaano Empya nti Abakristaayo baakuzanga Ppaasika.”

14 Ddala kiyinza okusanyusa Yakuwa abantu bwe bakuza olunaku olwasibuka mu ddiini ez’ekikaafiiri nga bagamba nti bajjukira okuzuukira kw’Omwana we? Nedda. (2 Abakkolinso 6:17, 18) Mu butuufu Yakuwa tatulagirangako kukuza kuzuukira kwa Yesu.

OLUNAKU OLUFUNDIKIRA OMWAKA N’OLUSOOKA OMWAKA

15. Ebikujjuko ebibaawo ku lunaku olufundikira omwaka n’olusooka omwaka byasibuka wa?

15 Wadde ng’ennaku ezo zikuzibwa mu ngeri za njawulo mu nsi ezitali zimu, mu nsi nnyingi, ku lunaku lwa Ddesemba 31, kya bulijjo abantu okusigala nga batunula okutuusa ssaawa mukaaga ogw’ekiro mbu basobole okusiibula omwaka omukadde. Ku lunaku olwo abantu batera okwekatankira omwenge, okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, okuwaŋŋana ebirabo, n’okweyama okukola enkyukakyuka mu mwaka omupya. Ebintu bingi ebikolebwa ku lunaku olwo mu nsi nnyingi birina akakwate n’emikolo gy’ekikaafiiri. Ekintu ekirala abantu kye bakola ku lunaku olwo kwe kutulisa ebiriroliro mbu okugoba badayimooni. Ekitabo ekiyitibwa World Book Encyclopedia ekya 1966, Omuzingo 14, olupapula 237, kigamba nti: “Edda mu Rooma, olunaku olusooka mu mwaka lwakuzibwanga okujjukira Janus, katonda w’emiryango n’enzigi era katonda w’entandikwa n’enkomerero. . . . Olunaku olusooka mu mwaka Ekkanisa yatandika okulukuza mu mwaka gwa 487 E.E., bwe yalulangirira okuba Embaga ey’Okukomola. Mu kusooka abantu tebakkirizibwanga kujaguza ku lunaku olwo kubanga abakaafiiri be baalina enkola eyo. Naye oluvannyuma lw’ekiseera ebintu byakyuka abantu ne batandika okujaguza ku lunaku olwo.”

EMBAGA EZISANYUSA KATONDA

16, 17. Kiki kye tulina okukakasa nga tuteekateeka embaga?

16 Embaga ey’obugole guba mukolo gwa ssanyu nnyo. Emikolo gy’embaga gikolebwa mu ngeri za njawulo okwetooloola ensi. Emirundi mingi abantu tebalowooza wa obulombolombo obukolebwa ku mbaga gye bwasibuka, era bwe kityo bayinza obutamanya nti obumu ku bwo bwasibuka mu nzikiriza ez’ekikaafiiri. Kyokka Abakristaayo ababa bateekateeka okukola embaga bafuba okukakasa nti byonna ebinaakolebwa ku mbaga yaabwe bisiimibwa mu maaso ga Yakuwa. Bwe bamanya ensibuko y’obulombolombo obukolebwa ku mbaga kibayamba okusalawo obulungi.​—Makko 10:6-9.

17 Obumu ku bulombolombo obukolebwa ku mbaga butwalibwa okuba nti buleetera abagole ‘emikisa.’ (Isaaya 65:11) Ng’ekyokulabirako, mu bitundu ebimu abantu bayiira abagole empeke z’omuceere oba ebintu ebirala. Balowooza nti bwe bakola bwe batyo kiba kijja kusobozesa abagole okuzaala abaana, okuwangaala, n’okufuna obukuumi. Naye Abakristaayo beewala obulombolombo bwonna obulina akakwate n’eddiini ez’obulimba.​—Soma 2 Abakkolinso 6:14-18.

18. Misingi ki emirala egya Bayibuli omuntu gy’asaanidde okulowoozaako ng’ategeka embaga?

18 Abakristaayo baagala omukolo gw’embaga yaabwe okuba ogw’essanyu era oguweesa ekitiibwa, era baagala buli muntu agubeerako agunyumirwe. Abamu ku abo ababa bayitiddwa ku mbaga bwe basabibwa okubaako bye boogera, balina okwewala okwogera ebigambo ebitali birungi, eby’obuwemu, oba ebiweebuula abagole oba abantu abalala. (Engero 26:18, 19; Lukka 6:31; 10:27) Abakristaayo bwe bakola embaga zaabwe balina okwewala omwoyo ‘gw’okweraga olw’ebintu bye balina.’ (1 Yokaana 2:16) Bw’oba ng’oteekateeka okukola embaga, fuba okulaba nga buli ky’oyagala kikolebwe ku mbaga yo tekiikuleetere kwejjusa oluvannyuma.​—Laba Ebyongerezeddwako 28.

OKUWANIKA AMAGIRAASI OBA OKUGAKOONAGANYA

19, 20. Akalombolombo k’okuwanika amagiraasi kaava wa?

19 Akalombolombo akamu akatera okukolebwa ku mbaga ne ku mikolo emirala ke k’okuwanika oba okukoonaganya amagiraasi. Mu kukola akalombolombo kano, omuntu omu awanika eggiraasi nga bw’ayogera ebigambo ebiraga nti ayagaliza abalala emikisa, olwo abalala nabo ne bawanika amagiraasi gaabwe. Abakristaayo basaanidde kutwala batya eky’okuwanika amagiraasi?

20 Ekitabo ekiyitibwa International Handbook on Alcohol and Culture kigamba nti: Okuwanika amagiraasi kuyinza okuba nga kwava mu kalombolombo ak’edda ak’ekikaafiiri abantu ke baakolanga “nga bawaayo eby’okunywa eri bakatonda baabwe.” Ekyo baakikolanga basobole ‘okuweebwa emikisa,’ era baayogeranga ebigamba, gamba nga, ‘obuwangaazi’ oba ‘obulamu obulungi!’ Ate era mu biseera eby’edda abantu baawanikanga ebikopo byabwe nga basaba bakatonda babawe emikisa. Naye eyo si ye ngeri Yakuwa gy’awaamu emikisa.​—Yokaana 14:6; 16:23.

“MMWE ABAAGALA YAKUWA MUKYAWE EBIBI”

21. Mikolo gya ngeri ki Abakristaayo gye basaanidde okwewala?

21 Nga tonnasalawo kwenyigira oba obuteenyigira mu mukolo gwonna, fumiitiriza ku ndowooza n’ebikolwa omukolo ogwo bye gutumbula. Ng’ekyokulabirako, emikolo egimu n’ebikujjuko ebimu bibaamu amazina amabi, okwekamirira omwenge, n’ebikolwa eby’obugwenyufu. Egimu ku mikolo ng’egyo gitumbula ebikolwa eby’obulyi bw’ebisiyaga ne mwoyo gwa ggwanga. Bwe twenyigira mu mikolo ng’egyo, ddala tuba tukyawa ekyo Yakuwa ky’akyawa?​—Zabbuli 1:1, 2; 97:10; 119:37.

22. Kiki ekiyinza okuyamba Omukristaayo okusalawo obanga aneenyigira mu mukolo ogumu oba nedda?

22 Abakristaayo balina okwegendereza ennyo baleme kwenyigira mu mikolo egitaweesa Katonda kitiibwa. Omutume Pawulo yagamba nti: “Obanga mulya, nga munywa, oba nga mukola ekintu ekirala kyonna, mukolenga ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.” (1 Abakkolinso 10:31; laba Ebyongerezeddwako 29.) Kyo kituufu nti emikolo egimu tegibaamu bikolwa bya bugwenyufu, tegiba na kakwate na ddiini ez’obulimba, era tegitumbula mwoyo gwa ggwanga. Omukolo bwe guba nga teguliimu bintu bikontana na misingi gya Bayibuli, tuba tulina okwesalirawo kinnoomu obanga tunaagwenyigiramu oba nedda. Ate era tusaanidde okulowooza ku ngeri ekyo kye tusalawo gye kinaakwata ku balala.

WA YAKUWA EKITIIBWA MU EBYO BY’OYOGERA NE BY’OKOLA

23, 24. Tuyinza tutya okunnyonnyola ab’eŋŋanda zaffe abatali Bajulirwa ba Yakuwa ensonga lwaki tetwenyigira mu mikolo egimu?

23 Oyinza okuba nga walekera awo okwenyigira mu mikolo egitaweesa Yakuwa kitiibwa. Naye abamu ku b’eŋŋanda zo abatali Bajulirwa ba Yakuwa bayinza okulowooza nti tokyabaagala era nti tokyayagala kubeerako wamu nabo. Bayinza okuba nga balowooza nti ennaku enkulu kye kiseera kyokka ab’eŋŋanda lwe basobola okubeerako awamu. Mu mbeera ng’eyo, kiki ky’oyinza okukola? Waliwo bingi by’oyinza okukola okubakakasa nti obaagala era nti ba muwendo gy’oli. (Engero 11:25; Omubuulizi 3:12, 13) Oyinza okubayita ne bakukyalirako ku nnaku endala.

24 Ab’eŋŋanda zo bwe baba nga baagala okumanya ensonga lwaki tokyakuza nnaku nkulu, osobola okunoonyereza mu bitabo byaffe ne ku mukutu gwaffe ogwa jw.org, osobole okumanya engeri gy’oyinza okubannyonnyola ensonga lwaki tozikuza. Towakana nabo era tobakakaatikako ndowooza yo. Bayambe okukimanya nti wasooka kufumiitiriza ku bintu bingi nga tonnasalawo. Sigala ng’oli mukkakkamu era ‘ebigambo byo bulijjo bibeerenga bya kisa, era nga binoze omunnyo.’​—Abakkolosaayi 4:6.

25, 26. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okwagala amateeka ga Yakuwa?

25 Buli omu ku ffe asaanidde okuba ng’amanyi bulungi ensonga lwaki teyeenyigira mu mikolo egimu. (Abebbulaniya 5:14) Ekigendererwa kyaffe kwe kusanyusa Yakuwa. Bwe tuba nga tuli bazadde, tulina okuyamba abaana baffe okutegeera obulungi emisingi gya Bayibuli n’okugyagala. Yakuwa bw’aba wa ddala gye bali, bajja kwagala okukola ebimusanyusa.​—Isaaya 48:17, 18; 1 Peetero 3:15.

26 Yakuwa asanyuka nnyo bw’alaba nga tukola kyonna ekisoboka okumusinza mu ngeri entuufu era mu mazima. (Yokaana 4:23) Naye abantu bangi balowooza nti tekisoboka kuba mwesigwa mu nsi eno ejjudde abantu abatali beesigwa. Ddala ekyo kituufu? Essuula eddako ejja kuddamu ekibuuzo ekyo.

^ lup. 3 Osobola okunoonyereza ku mikolo egitali gimu ng’okozesa Watch Tower Publications Index, Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza, ne jw.org/lg