Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 3

Londa Emikwano Egyagala Katonda

Londa Emikwano Egyagala Katonda

“Omuntu atambula n’ab’amagezi naye ajja kuba wa magezi.”​—ENGERO 13:20.

1-3. (a) Kiki kye tuyigira ku bigambo ebiri mu Engero 13:20? (b) Lwaki tulina okulonda emikwano n’obwegendereza?

OKIMANYI nti abaana beetegereza nnyo bazadde baabwe? Omwana ne bw’aba tannatandika kwogera, ayiga ebintu bingi okuva ku ebyo by’alaba ne by’awulira. Bw’agenda akula, waliwo ebintu bingi by’agenda ng’akoppa ku bazadde be, oluusi nga takigenderedde na kukigenderera. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti n’abantu abakulu batera okulowooza n’okweyisa ng’abantu be babeera ennyo nabo.

2 Engero 13:20 wagamba nti: “Omuntu atambula n’ab’amagezi naye ajja kuba wa magezi.” Ekigambo ‘okutambula’ ekikozesebwa mu lunyiriri olwo kitegeeza okumala ebiseera ebingi n’omuntu. Tekitegeeza kubaako bubeezi n’omuntu. Omwekenneenya wa Bayibuli omu yagamba nti okutambula n’omuntu kizingiramu okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye n’okuwulira nti omwagala nnyo. Tutera okweyisa ng’abantu be tusinga okubeera nabo, nnaddala abo be twagala ennyo.

3 Mikwano gyaffe gisobola okutuzimba oba okutwonoona. Engero 13:20 era wagamba nti: “Oyo akolagana n’abasirusiru ajja kugwa mu mitawaana.” Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa ‘okukolagana’ kitegeeza okumala ekiseera kiwanvu n’omuntu, kwe kugamba, okuba mukwano gwe. (Engero 22:24; Ekyabalamuzi 14:20) Emikwano egyagala Katonda gijja kutukubiriza okusigala nga tuli beesigwa gy’ali. Okusobola okumanya engeri gye tuyinza okulonda obulungi emikwano, ka tulabe bantu ba ngeri ki Yakuwa b’alonda okuba mikwano gye.

MIKWANO GYA KATONDA BE BAANI?

4. Lwaki nkizo ya maanyi okuba mukwano gwa Katonda? Era lwaki Yakuwa yayita Ibulayimu mukwano gwe?

4 Yakuwa, Omuyinza w’Ebintu Byonna, atuwa enkizo okuba mikwano gye. Yakuwa alonda mikwano gye n’obwegendereza. Alonda abo abamwagala era abamwesiga. Lowooza ku Ibulayimu. Yali mwetegefu okukola ekintu kyonna Katonda kye yabanga amugambye okukola. Emirundi mingi Ibulayimu yakyoleka nti yali mwesigwa era muwulize eri Katonda. Yali mwetegefu n’okuwaayo omwana we Isaaka nga ssaddaaka eri Katonda. Ibulayimu yali mukakafu “nti Katonda yali asobola okumuzuukiza mu bafu.” (Abebbulaniya 11:17-19; Olubereberye 22:1, 2, 9-13) Olw’okuba Ibulayimu yali mwesigwa eri Yakuwa era ng’amugondera, Yakuwa yamuyita ‘mukwano gwe.’​—Isaaya 41:8; Yakobo 2:21-23.

5. Yakuwa atwala atya abo abeesigwa gy’ali?

5 Yakuwa mikwano gye agitwala nga gya muwendo nnyo. Mikwano gya Yakuwa bakitwala nti okumugondera kikulu nnyo okusinga ekintu ekirala kyonna. (Soma 2 Samwiri 22:26.) Beesigwa gy’ali era bamugondera olw’okuba bamwagala. Bayibuli egamba nti Yakuwa “abagolokofu abafuula mikwano gye egy’oku lusegere.” (Engero 3:32) Yakuwa ayita mikwano gye okukyala mu “weema” ye. Abayita okumusinza n’okumusaba ekiseera kyonna.​—Zabbuli 15:1-5.

6. Tuyinza tutya okulaga nti twagala Yesu?

6 Yesu yagamba nti: “Omuntu yenna bw’aba ng’anjagala, ajja kukolera ku kigambo kyange, era Kitange ajja kumwagala.” (Yokaana 14:23) N’olwekyo bwe tuba ab’okuba mikwano gya Yakuwa tulina okwagala Yesu n’okukola bye yatulagira okukola. Ng’ekyokulabirako, tulina okugondera ekiragiro Yesu kye yatuwa eky’okubuulira amawulire amalungi n’okufuula abantu abayigirizwa. (Matayo 28:19, 20; Yokaana 14:15, 21) Olw’okuba twagala Yesu, tufuba ‘okutambulira mu bigere bye.’ (1 Peetero 2:21) Yakuwa asanyuka nnyo bw’alaba nga tufuba okukoppa Omwana we mu byonna bye twogera ne bye tukola.

7. Lwaki abo Yakuwa b’afuula mikwano gye be basaanidde okuba mikwano gyaffe?

7 Mikwano gya Yakuwa baba beesigwa, bawulize, era baagala Omwana we. Naffe tulonda emikwano emirungi nga Yakuwa bw’akola? Mikwano gyo bwe baba nga bakoppa Yesu era nga babuulira n’obunyiikivu amawulire amalungi ag’Obwakabaka, basobola okukuyamba okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa.

EBYOKULABIRAKO OKUVA MU BAYIBULI

8. Kiki ekikusanyusa ku mukwano ogwaliwo wakati wa Luusi ne Nawomi?

8 Mu Bayibuli tusoma ku bantu bangi abaali ab’omukwano, gamba nga Luusi ne nnyazaala we Nawomi. Abakyala abo baali ba mawanga ga njawulo era nga baakulira mu mbeera za njawulo. Okugatta ku ekyo, Nawomi yali mukulu nnyo ku Luusi. Wadde kyali kityo, baali ba mukwano nnyo kubanga bombi baali baagala Yakuwa. Nawomi bwe yali ava e Mowaabu ng’addayo mu Isirayiri, ‘Luusi yamunywererako.’ Luusi yagamba Nawomi nti: “Abantu bo be banaaba abantu bange, ne Katonda wo y’anaaba Katonda wange.” (Luusi 1:14, 16) Luusi yalaga Nawomi ekisa. Bwe baatuuka mu Isirayiri, Luusi yakola n’obunyiikivu okusobola okuyamba Nawomi. Nawomi yayagala nnyo Luusi era yamuwanga amagezi amalungi. Luusi yakolera ku magezi Nawomi ge yamuwanga, era n’ekyavaamu bombi baafuna emikisa mingi.​—Luusi 3:6.

9. Kiki ekikusanyusa ku mukwano ogwaliwo wakati wa Dawudi ne Yonasaani?

9 Abantu abalala abaali ab’omukwano ye Dawudi ne Yonasaani, era nabo baali baagala nnyo Yakuwa. Yonasaani yali asinga Dawudi emyaka nga 30, era ye yali agenda okuba kabaka wa Isirayiri addako. (1 Samwiri 17:33; 31:2; 2 Samwiri 5:4) Naye bwe yakimanya nti Yakuwa yali alonze Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri addako, teyakwatirwa Dawudi buggya era teyatandika kuvuganya naye. Mu kifo ky’ekyo, Yonasaani yakola kyonna ekisoboka okuyamba Dawudi. Ng’ekyokulabirako, Dawudi bwe yali mu buzibu, Yonasaani yamuzzaamu amaanyi n’amukubiriza ‘okweyongera okwesiga Yakuwa.’ (1 Samwiri 23:16, 17) Dawudi yali mwesigwa eri Yonasaani. Yasuubiza okulabirira ab’omu nnyumba ya Yonasaani, era ekyo yakituukiriza wadde nga Yonasaani yali yafa.​—1 Samwiri 18:1; 20:15-17, 30-34; 2 Samwiri 9:1-7.

10. Kiki kye tuyigira ku mukwano ogwaliwo wakati w’Abebbulaniya abasatu?

10 Abalenzi abasatu Abebbulaniya, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, abaatwalibwa mu buwambe e Babulooni nabo baali ba mukwano. Wadde nga baali mu nsi ey’ewala era nga tebali na bazadde baabwe, baasigala beesigwa eri Yakuwa. Nga wayiseewo emyaka, okukkiriza kwabwe kwagezesebwa, Kabaka Nebukadduneeza bwe yabalagira okusinza ekifaananyi ekya zzaabu. Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego baagaana okusinza ekifaananyi ekyo era ne bagamba kabaka nti: “Tetujja kuweereza bakatonda bo wadde okusinza ekifaananyi ekya zzaabu kye wakola.” Okukkiriza kwabwe bwe kwagezesebwa, abalenzi abo abasatu baasigala beesigwa eri Katonda waabwe.​—Danyeri 1:1-17; 3:12, 16-28.

11. Kiki ekiraga nti Pawulo ne Timoseewo baali ba mukwano nnyo?

11 Pawulo bwe yasisinkana omuvubuka ayitibwa Timoseewo, yakiraba nti Timoseewo yali ayagala nnyo Yakuwa era ng’afaayo ku b’oluganda mu kibiina. Bwe kityo, Pawulo yatendeka Timoseewo asobole okuyamba bakkiriza banne abaali mu bitundu ebitali bimu. (Ebikolwa 16:1-8; 17:10-14) Timoseewo yali munyiikivu nnyo era Pawulo yagamba nti: “[Timoseewo] yakolera wamu nange okubunyisa amawulire amalungi.” Pawulo yali mukakafu nti Timoseewo yandifuddeyo nnyo ku bakkiriza banne. Pawulo ne Timoseewo baaweerereza wamu Yakuwa, era ekyo kyabafuula ba mukwano nnyo.​—Abafiripi 2:20-22; 1 Abakkolinso 4:17.

ENGERI GYE TUYINZA OKULONDA EMIKWANO

12, 13. (a) Lwaki tulina okwegendereza ne bwe tuba nga tulonda emikwano mu kibiina? (b) Lwaki omutume Pawulo yawa okulabula okuli mu 1 Abakkolinso 15:33?

12 Tulina bingi bye tusobola okuyigira ku baganda baffe ne bannyinaffe mu kibiina ebiyinza okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa. (Soma Abaruumi 1:11, 12.) Kyokka ne mu kibiina tulina okwegendereza abo be tufuula mikwano gyaffe egy’oku lusegere. Mu kibiina mulimu baganda baffe ne bannyinaffe ab’amawanga ag’enjawulo era abaakulira mu mbeera ez’enjawulo. Abamu bapya ate abalala bamaze emyaka mingi nga baweereza Yakuwa. Nga bwe kitwala ekiseera ekibala okwengera, kitwala ekiseera enkolagana omuntu gy’alina ne Yakuwa okunywera. N’olwekyo, tulina okwagala n’okugumiikiriza bakkiriza bannaffe, era bulijjo tulina okuba abeegendereza nga tulonda emikwano.​—Abaruumi 14:1; 15:1; Abebbulaniya 5:12–6:3.

13 Oluusi, mu kibiina muyinza okubaamu embeera eyinza okutwetaagisa okuba abeegendereza ennyo nga tulonda emikwano. Ow’oluganda oba mwannyinaffe ayinza okuba ng’akola ebintu ebivumirirwa mu Bayibuli. Oba ayinza okuba nga yeemulugunya ku ngeri ebintu gye bikolebwamu mu kibiina, ekintu ekiyinza okuleetawo enjawukana mu kibiina. Ekyo tekitwewuunyisa kubanga ne mu kyasa ekyasooka embeera ng’eyo yaliwo mu kibiina Ekikristaayo. Mu butuufu, omutume Pawulo yalabula Abakristaayo nti: “Temulimbibwanga. Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” (1 Abakkolinso 15:12, 33) Pawulo era yakubiriza Timoseewo okwegendereza ng’alonda mikwano gye egy’oku lusegere. Naffe tulina okwegendereza nga tulonda mikwano gyaffe egy’oku lusegere.​—Soma 2 Timoseewo 2:20-22.

14. Emikwano gye tulonda gikwata gitya ku nkolagana yaffe ne Yakuwa?

14 Tulina okukuuma enkolagana yaffe ne Yakuwa kubanga kye kintu ekisingayo okuba eky’omuwendo kye tulina. N’olwekyo, tusaanidde okwewala okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’omuntu yenna ayinza okuleetera okukkiriza kwaffe okunafuwa oba okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Nga ppamba annyikiddwa mu mazzi agaddugala bw’atayinza kuvaamu ng’atukula, tetusobola kuba na mikwano gikola bintu bibi ne tusuubira nti tujja kukola ebintu ebirungi. Tulina okwegendereza nga tulonda abo be tufuula mikwano gyaffe egy’oku lusegere.​—1 Abakkolinso 5:6; 2 Abassessalonika 3:6, 7, 14.

Osobola okufuna emikwano emirungi egyagala Yakuwa

15. Kiki ky’oyinza okukola okusobola okufuna emikwano emirungi mu kibiina?

15 Mu kibiina mulimu abantu bangi abaagala ennyo Yakuwa. Tusobola okubafuula mikwano gyaffe. (Zabbuli 133:1) Tonoonya mikwano mu abo bokka ab’emyaka gyo oba abaakulira mu mbeera efaananako n’eyo gye wakuliramu. Kijjukire nti Yonasaani yali mukulu nnyo ku Dawudi, era nti ne Luusi yali muto nnyo ku Nawomi. Tusaanidde okukolera ku magezi gano Bayibuli g’ewa: “Mugaziwe mu mitima gyammwe.” (2 Abakkolinso 6:13; soma 1 Peetero 2:17.) Bw’oneeyongera okukoppa Yakuwa, abalala bajja kwagala nnyo okuba mikwano gyo.

BWE WAJJAWO EBIZIBU

16, 17. Singa wabaawo omuntu mu kibiina atunyiiza, kiki kye tutasaanidde kukola?

16 Mu buli maka, abantu ababaamu baba n’engeri za njawulo, endowooza za njawulo, era bakola ebintu mu ngeri ya njawulo. Bwe kityo bwe kiri ne mu kibiina Ekikristaayo. Eky’okuba nti mu kibiina buli muntu wa njawulo ku munne kituleetera okunyumirwa ennyo obulamu, era buli omu abaako ky’ayigira ku munne. Kyokka oluusi engeri ez’enjawulo ze tulina zisobola okutuleetera okufuna obutategeeragana ne bakkiriza bannaffe, oboolyawo ne tubanyiigira. Oluusi n’oluusi bakkiriza bannaffe bakola ebintu ebitunyiiza. (Engero 12:18) Ekyo kyandituleetedde okuggwaamu amaanyi oboolyawo ne tutuuka n’okwekutula ku kibiina?

17 Nedda. Omuntu ne bw’aba ng’akoze ekintu ekitunyiiza, ekyo tekisaanidde kutuleetera kwekutula ku kibiina. Yakuwa si y’aba atunyiizizza. Yakuwa ye yatuwa obulamu n’ebintu ebirala byonna. Tulina okumwagala n’okumunywererako. (Okubikkulirwa 4:11) Ekibiina kirabo okuva eri Yakuwa ekitusobozesa okukuuma okukkiriza kwaffe nga kunywevu. (Abebbulaniya 13:17) Tetusaanidde kuva ku kibiina olw’okuba abalala batukoze ebintu ebitunyiiza.​—Soma Zabbuli 119:165.

18. (a) Kiki ekisobola okutuyamba okukolagana obulungi ne bakkiriza bannaffe? (b) Lwaki tusaanidde okusonyiwa abalala?

18 Twagala baganda baffe ne bannyinaffe era twagala okukolagana nabo obulungi. Yakuwa tasuubira muntu yenna kukola bintu mu ngeri etuukiridde, era naffe ekyo tetusaanidde kukisuubira. (Engero 17:9; 1 Peetero 4:8) Ffenna tukola ensobi, naye okwagala kutuleetera okweyongera “okusonyiwagananga.” (Abakkolosaayi 3:13) Okwagala kujja kutuyamba okwewala okuzimbulukusa ensobi entonotono abalala ze baba bakoze. Kyo kituufu nti omuntu bw’akola ekintu ne kitunyiiza, tekiba kyangu kuggya birowoozo byaffe ku kintu ekyo. Kyangu okunyiigira omuntu oyo oboolyawo ne tumusibira n’ekiruyi. Naye ekyo kiba kitumalako bumazi ssanyu na mirembe. Kyokka bwe tusonyiwa omuntu aba atunyiizizza, tufuna emirembe, tukuuma obumu mu kibiina, n’ekisingira ddala obukulu, tuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.​—Matayo 6:14, 15; Lukka 17:3, 4; Abaruumi 14:19.

OMUNTU BW’AGOBEBWA MU KIBIINA

19. Ddi lwe tulina okulekera awo okukolagana n’omuntu mu kibiina?

19 Mu maka amalungi, buli omu aba afuba okusanyusa banne. Naye watya singa omu ku b’omu maka afuuka mujeemu, era buli omu mu maka n’afuba okumukubiriza okukyusa amakubo ge naye n’agaana okukyusa. Omuntu oyo ayinza okusalawo okuva awaka, oba omutwe gw’amaka ayinza okumulagira okuvaawo. Ekintu ekifaananako bwe kityo kiyinza okubaawo mu kibiina. Omuntu ayinza okusalawo okweyongera okukola ebintu ebitasanyusa Katonda era ebisobola okwonoona ekibiina. Omuntu oyo ayinza okugaana okukolera ku magezi agamuweebwa era n’akyoleka mu bikolwa bye nti takyayagala kubeera mu kibiina. Ayinza okusalawo okuva mu kibiina, oba ayinza okugobebwa mu kibiina. Ekyo bwe kibaawo, Bayibuli etulagira okulekera awo okukolagana n’omuntu oyo. (Soma 1 Abakkolinso 5:11-13; 2 Yokaana 9-11) Tekiba kyangu kukolera ku kiragiro ekyo singa omuntu aba asazeewo okuva mu kibiina oba aba agobeddwa mu kibiina aba mukwano gwaffe, oba ng’atulinako oluganda. Naye mu mbeera ng’eyo tulina okukyoleka nti twagala Yakuwa okusinga omuntu omulala yenna.​—Laba Ebyongerezeddwako 8.

20, 21. (a) Lwaki enkola ey’okugoba mu kibiina omwonoonyi agaanye okwenenya nnungi? (b) Lwaki tusaanidde okwegendereza nga tulonda emikwano?

20 Enkola Yakuwa gye yassaawo ey’okugoba mu kibiina omwonoonyi agaanye okwenenya nnungi. Ekuuma ekibiina ne kitoonoonebwa abo abatassa kitiibwa mu mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. (1 Abakkolinso 5:7; Abebbulaniya 12:15, 16) Etusobozesa okukyoleka nti tussa ekitiibwa mu Yakuwa, erinnya lye, n’amateeka ge. (1 Peetero 1:15, 16) Era enkola eyo eganyula n’oyo aba agobeddwa mu kibiina. Okukangavvula okwo kuyinza okumuyamba okukiraba nti ky’akola kikyamu era ne kimuleetera okukyusa amakubo ge. Waliwo abantu bangi abaagobebwako mu kibiina, naye oluvannyuma ne bakomawo eri Yakuwa.​—Abebbulaniya 12:11.

21 Mu ngeri emu oba endala, mikwano gyaffe balina kinene kye batukolako. N’olwekyo tusaanidde okwegendereza nga tulonda emikwano. Mikwano gyaffe bwe baba abo Yakuwa b’ayagala bajja kutuyamba okusigala nga tuli beesigwa gy’ali emirembe gyonna.