Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 4

Lwaki Tusaanidde Okugondera Abo Abatukulembera?

Lwaki Tusaanidde Okugondera Abo Abatukulembera?

“Muwenga abantu aba buli ngeri ekitiibwa, mwagalenga baganda bammwe bonna, mutyenga Katonda, muwenga kabaka ekitiibwa.”​—1 PEETERO 2:17.

1, 2. (a) Bulagirizi bw’ani bwe tulina okukolerako? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu ssuula eno?

BWE wali okyali muto, bazadde bo bayinza okuba nga baakugambanga okukola ebintu ebimu naye n’owulira nga toyagala kubikola. Bazadde bo wali obaagala era ng’okimanyi nti olina okubagondera. Wadde kyali kityo, oluusi wawuliranga nga toyagala kubagondera.

2 Yakuwa Kitaffe atwagala nnyo. Atulabirira era afaayo okulaba nti tuba ne bye twetaaga okusobola okunyumirwa obulamu. Atuwa obulagirizi bwe twetaaga okusobola okuba n’obulamu obulungi. Oluusi ayitira mu bantu okutuwa obulagirizi. Tulina okuba abawulize eri Yakuwa. (Engero 24:21) Naye lwaki oluusi kituzibuwalira okukolera ku bulagirizi obutuweebwa? Lwaki Yakuwa ayagala tukolere ku bulagirizi obutuweebwa? Era tukiraga tutya nti tugondera Yakuwa?​—Laba Ebyongerezeddwako 9.

LWAKI SI KYANGU?

3, 4. Abantu baafuuka batya abatatuukiridde? Lwaki oluusi kituzibuwalira okukolera ku bulagirizi obutuweebwa?

3 Obujeemu kye kintu abantu bonna kye babeera nakyo okuva lwe bazaalibwa. Ekyo kibadde kityo okuva Adamu ne Kaawa lwe baayonoona. Wadde nga Adamu ne Kaawa baatondebwa nga batuukiridde, baajeemera Katonda. Okuva olwo, abantu bonna abazze bazaalibwa tebatuukiridde. Emu ku nsonga lwaki oluusi kituzibuwalira okugondera Yakuwa n’abantu abatulinako obuyinza eri nti tetutuukiridde. Ensonga endala eri nti abo Yakuwa b’akozesa okutuwa obulagirizi nabo tebatuukiridde.​—Olubereberye 2:15-17; 3:1-7; Zabbuli 51:5; Abaruumi 5:12.

4 Olw’okuba tetutuukiridde, kyangu okufuna amalala. Amalala gakifuula kizibu gye tuli okukkiriza obulagirizi obuba butuweereddwa. Ng’ekyokulabirako, mu Isirayiri ey’edda, Yakuwa yalonda Musa okukulembera abantu be. Naye omusajja ayitibwa Koola eyali amaze emyaka mingi ng’aweereza Yakuwa yafuna amalala n’atandika okunyooma Musa. Wadde nga Musa yali akulembera abantu ba Katonda, teyalina malala. Bayibuli egamba nti mu kiseera ekyo Musa ye muntu eyali asingayo okuba omuwombeefu. Naye Koola yagaana okukolera ku bulagirizi bwa Musa, era yaleetera n’abantu abalala bangi okumwegattako mu kujeemera Musa. Kiki ekyatuuka ku Koola n’abantu abalala abaamwegattako mu kujeemera Musa? Bonna battibwa. (Okubala 12:3; 16:1-3, 31-35) Ekigambo kya Katonda, Bayibuli, kirimu ebyokulabirako bingi ebiraga nti kya kabi nnyo okuba n’amalala.​—2 Ebyomumirembe 26:16-21; laba Ebyongerezeddwako 10.

5. Abantu abamu bakozesezza batya obubi obuyinza bwabwe?

5 Oyinza okuba nga wali owuliddeko abantu abagamba nti, “Omuntu bw’afuna obuyinza ayonooneka.” Ebyafaayo biraga nti abantu bazze bakozesa bubi obuyinza bwabwe. (Soma Omubuulizi 8:9.) Ng’ekyokulabirako, Sawulo yali musajja mulungi era nga mwetoowaze Yakuwa we yamulondera okuba kabaka wa Isirayiri. Naye yakkiriza obuggya n’amalala okusimba amakanda mu mutima gwe ne kimuviirako okuyigganya Dawudi, wadde nga Dawudi teyalina musango. (1 Samwiri 9:20, 21; 10:20-22; 18:7-11) Oluvannyuma Dawudi yafuuka kabaka, era y’omu ku bakabaka ba Isirayiri abaasingayo obulungi. Naye oluvannyuma lw’ekiseera ne Dawudi yakozesa bubi obuyinza bwe. Yayenda ku Basuseba, muka Uliya, era yagezaako okukweka ekibi kye yali akoze n’akola olukwe Uliya attibwe mu lutalo.​—2 Samwiri 11:1-17.

LWAKI TULINA OKUGONDERA YAKUWA

6, 7. (a) Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutuleetera kukola ki? (b) Kiki ekinaatuyamba okugondera Yakuwa ne mu mbeera enzibu?

6 Tugondera Yakuwa olw’okuba tumwagala. Olw’okuba twagala Yakuwa okusinga ekintu kyonna oba omuntu yenna, tufuba okukola ebimusanyusa. (Soma Engero 27:11; Makko 12:29, 30.) Okuviira ddala mu lusuku Edeni, Sitaani abaddenga ayagala okuleetera abantu obuteesiga bufuzi bwa Yakuwa. Sitaani ayagala tulowooze nti Yakuwa talina buyinza kutugamba kye tusaanidde okukola. Naye tumanyi nti ekyo si kituufu. Tukkiriziganya n’ebigambo bino: “Yakuwa, Katonda waffe ow’amaanyi, ogwanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo, kubanga watonda ebintu byonna.”​—Okubikkulirwa 4:11.

7 Bwe wali okyali muto, bazadde bo bayinza okuba nga baakukubirizanga okubagondera ne bwe wabanga owulira nti kye bakugambye okukola tokyagala. Mu ngeri y’emu, wayinza okubaawo embeera we kiyinza okutubeerera ekizibu ennyo okugondera Yakuwa. Naye olw’okuba tumwagala era tumussaamu ekitiibwa, tufuba okumugondera. Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno. Yagondera Yakuwa ne mu mbeera enzibu ennyo. Yesu yagamba Kitaawe nti: “Kye njagala si kye kiba kikolebwa wabula ggwe ky’oyagala.”​—Lukka 22:42; laba Ebyongerezeddwako 11.

8. Yakuwa atuwa atya obulagirizi? (Laba akasanduuko “ Kkiriza Okuwabulwa.”)

8 Leero Yakuwa atuwa obulagirizi mu ngeri ezitali zimu. Ng’ekyokulabirako, atuwadde Bayibuli, era atuwadde abakadde mu kibiina. Tukiraga nti tugondera Yakuwa nga tugondera abo b’akozesa okutuwa obulagirizi. Bwe tubajeemera tuba ng’abajeemedde Yakuwa. Abayisirayiri bwe baajeemera Musa, kyanyiiza nnyo Yakuwa. Yakuwa yakitwala nti baali bajeemedde ye.​—Okubala 14:26, 27; laba Ebyongerezeddwako 12.

9. Okwagala kutukubiriza kutya okukolera ku bulagirizi obutuweebwa?

9 Bwe tugondera Yakuwa n’abo b’awadde obuyinza, kiba kiraga nti twagala baganda baffe ne bannyinaffe. Lowooza ku kino: Bwe wagwawo akatyabaga, abadduukirize batera okukolera awamu nga ttiimu okusobola okuwonyaawo abantu bangi nga bwe kisoboka. Abadduukirize abo bwe baba ab’okukola obulungi omulimu gwabwe, baba beetaaga omuntu abawa obulagirizi era buli omu ku badduukirize abo aba alina okugoberera obulagirizi obwo. Naye watya singa omu ku bo asalawo obutakolera ku bulagirizi obuba bubaweereddwa n’asalawo okukola ebibye? Ne bw’aba ng’alina ebigendererwa ebirungi, obutakolera ku bulagirizi obuba bubaweereddwa kisobola okuteeka obulamu bwa banne mu kabi. Mu ngeri y’emu, bwe tutakolera ku bulagirizi Yakuwa awamu n’abo b’awadde obuyinza bwe batuwa, kisobola okuleetera abalala ebizibu. Naye bwe tugondera Yakuwa, tuba tulaga nti twagala baganda baffe era nti tussa ekitiibwa mu nteekateeka ya Yakuwa.​—1 Abakkolinso 12:14, 25, 26.

10, 11. Kiki kye tugenda okulaba?

10 Byonna Yakuwa by’atugamba okukola biganyula ffe. Bwe tugondera abo abatwala obukulembeze mu maka ne mu kibiina, era ne tugondera n’ab’obuyinza, kituganyula era kiganyula n’abalala.​—Ekyamateeka 5:16; Abaruumi 13:4; Abeefeso 6:2, 3; Abebbulaniya 13:17.

11 Bwe tumanya ensonga lwaki Yakuwa atugamba okugondera abatwala obukulembeze kisobola okutuyamba okubagondera. Kati ka tulabe engeri gye tuyinza okugondera abo abatwala obukulembeze mu mbeera za mirundi esatu.

MU MAKA

12. Omusajja alaga atya nti assa ekitiibwa mu Yakuwa?

12 Yakuwa ye yatandikawo enteekateeka y’amaka era buli omu mu maka alina obuvunaanyizibwa bwe yamuwa. Buli omu mu maka bw’amanya ekyo Yakuwa ky’amusuubiramu, amaka gatambula bulungi era bonna abali mu maka baba basanyufu. (1 Abakkolinso 14:33) Yakuwa yakwasa omusajja obuvunaanyizibwa obw’okuba omutwe gw’amaka. Ekyo kitegeeza nti Yakuwa asuubira omusajja okulabirira obulungi mukyala we n’abaana be era n’okubawa obulagirizi. N’olwekyo, omwami avunaanyizibwa eri Yakuwa ku ngeri gy’alabiriramu ab’omu maka ge. Omusajja Omukristaayo alina okuba ow’ekisa, ng’ayagala ab’omu maka ge, era ng’abayisa nga Yesu bwe yayisa ekibiina. Omwami bw’akola bw’atyo, aba akiraga nti assa ekitiibwa mu Yakuwa.​—Abeefeso 5:23; laba Ebyongerezeddwako 13.

Omusajja Omukristaayo asaanidde okukoppa Kristo ng’alabirira ab’omu maka ge

13. Omukyala ayinza atya okulaga nti assa ekitiibwa mu nteekateeka ya Yakuwa ey’obukulembeze?

13 Omukyala Omukristaayo naye alina obuvunaanyizibwa obukulu ennyo obwamuweebwa. Asaanidde okuwagira omwami we okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’alina ng’omutwe gw’amaka. Akolera wamu n’omwami we okutendeka abaana baabwe. Engeri emu gy’ayigirizaamu abaana be okuba abawulize kwe kubateerawo ekyokulabirako ekirungi. (Engero 1:8) Agondera omwami we era amuwagira mu ebyo by’aba asazeewo. Ne bw’aba nga takkiriziganya na mwami we ku nsonga emu, amutegeeza ekyo ky’alowooza mu ngeri ennungi era eraga nti amussaamu ekitiibwa. Omukyala Omukristaayo bw’aba ng’omwami we si mukkiriza, aba n’okusoomooza kwa maanyi. Naye bwe yeeyongera okumwagala n’okumussaamu ekitiibwa, ekiseera kiyinza okutuuka omwami we oyo n’ayagala okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’okumusinza.​—Soma 1 Peetero 3:1.

14. Abaana bayinza batya okulaga nti bassa ekitiibwa mu nteekateeka y’obukulembeze mu maka?

14 Abaana ba muwendo eri Yakuwa, era beetaaga nnyo okuweebwa obukuumi n’obulagirizi. Abaana bwe bagondera bazadde baabwe, kisanyusa bazadde baabwe. N’ekisinga obukulu, ekyo kiba kiraga nti bassa ekitiibwa mu Yakuwa era kimusanyusa. (Engero 10:1) Amaka mangi galimu omuzadde omu. Ekyo tekiba kyangu eri omuzadde oyo n’eri abaana. Naye abaana bwe bagondera maama waabwe oba taata waabwe, obulamu tebukaluba nnyo. Kyokka tewali maka gatuukiridde. Wadde kiri kityo, amaka gasobola okubaamu essanyu singa buli omu mu maka akolera ku bulagirizi bwa Yakuwa. Ekyo kireetera Yakuwa, Oyo eyatandikawo amaka, ettendo.​—Abeefeso 3:14, 15.

MU KIBIINA

15. Tulaga tutya nti tussa ekitiibwa mu nteekateeka y’obukulembeze mu kibiina?

15 Yakuwa atuwa obulagirizi okuyitira mu kibiina Ekikristaayo, era yalonda Yesu okuba omutwe gw’ekibiina. (Abakkolosaayi 1:18) Yesu naye yakwasa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abantu ba Katonda ku nsi. (Matayo 24:45-47) Leero “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” ke Kakiiko Akafuzi. Akakiiko Akafuzi katuwa bye twetaaga mu kiseera ekituufu okusobola okusigala nga tuli banywevu mu kukkiriza. Abakadde, abaweereza, n’abalabirizi abakyalira ebibiina bayamba ebibiina okwetooloola ensi era bakolera ku bulagirizi obubaweebwa Akakiiko Akafuzi. Ab’oluganda abo bonna balina obuvunaanyizibwa obw’okutulabirira mu by’omwoyo. Bavunaanyizibwa eri Yakuwa ku ngeri gye batuukirizaamu obuvunaanyizibwa obwo. N’olwekyo, bwe tugondera abasajja abo, tuba tugondera Yakuwa.​—Soma 1 Abassessalonika 5:12; Abebbulaniya 13:17; laba Ebyongerezeddwako 14.

16. Lwaki tusobola okugamba nti abakadde n’abaweereza balondebwa omwoyo omutukuvu?

16 Abakadde n’abaweereza bayamba ab’oluganda mu kibiina okusigala nga beesigwa eri Yakuwa n’okuba obumu. Kyokka nabo tebatuukiridde. Naye abakadde n’abaweereza balondebwa batya? Ab’oluganda abo balina okutuukiriza ebisaanyizo ebiri mu Bayibuli. (1 Timoseewo 3:1-7, 12; Tito 1:5-9) Yakuwa yakozesa omwoyo omutukuvu okuluŋŋamya abawandiisi ba Bayibuli okuwandiika ebisaanyizo ebyo. Abakadde bwe baba tebannasemba wa luganda yenna kuba mukadde oba muweereza, basooka kusaba Yakuwa abawe omwoyo gwe omutukuvu gubawe obulagirizi. Kyeyoleka kaati nti ebibiina byonna bikulemberwa Yesu ne Yakuwa. (Ebikolwa 20:28) Abasajja abalondebwa okulabirira ebibiina baba birabo okuva eri Katonda.​—Abeefeso 4:8.

17. Kiki oluusi mwannyinaffe ky’asaanidde okukola okulaga nti assa ekitiibwa mu nteekateeka ya Yakuwa ey’obukulembeze?

17 Oluusi ekibiina kiyinza obutabaamu bakadde oba baweereza kukola bintu ebyetaagisa. Mu mbeera ng’eyo, ab’oluganda abalala ababatize bayinza okukola ebintu ebyo. Naye singa ab’oluganda abo nabo baba tebaliiwo, mwannyinaffe asobola okukola ebintu ebyo ebirina okukolebwa ow’oluganda omubatize. Mwannyinaffe bw’aba akola ebintu ebyo, alina okwesiba akatambaala ku mutwe oba okwambala enkoofiira. (1 Abakkolinso 11:3-10) Mu ngeri eyo aba akiraga nti assa ekitiibwa mu nteekateeka ya Yakuwa ey’obukulembeze mu maka ne mu kibiina.​—Laba Ebyongerezeddwako 15.

AB’OBUYINZA

18, 19. (a) Kiki kye tuyigira ku ebyo ebiri mu Abaruumi 13:1-7? (b) Tukiraga tutya nti tussa ekitiibwa mu b’obuyinza?

18 Yakuwa alese gavumenti z’abantu okuba n’obuyinza obw’ekigero, era tusaanide okuzigondera. Gavumenti zikola enteekateeka eziganyula abantu mu ggwanga. Abakristaayo basaanidde okukolera ku bulagirizi obusangibwa mu Abaruumi 13:1-7. (Soma.) Tulina okussa ekitiibwa mu ‘b’obuyinza’ era tusaanidde okugondera amateeka g’ensi n’ag’ebitundu mwe tubeera. Amateeka ago gayinza okukwata ku maka gaffe, bizineesi zaffe, n’ebintu byaffe ebirala. Ng’ekyokulabirako, tusaanidde okusasula emisolo n’okutegeeza gavumenti ebintu by’eba egwanidde okumanya. Naye watya singa gavumenti etugamba okukola ekintu ekikontana n’amateeka ga Katonda? Omutume Peetero yagamba nti: “Tuteekwa kugondera Katonda so si bantu.”​—Ebikolwa 5:28, 29.

19 Bwe tuba tukolagana n’omukungu wa gavumenti, gamba ng’omulamuzi oba owa poliisi, tulina okukiraga nti tumussaamu ekitiibwa. Abaana Abakristaayo balina okussa ekitiibwa mu basomesa baabwe n’abantu abalala abakola ku ssomero. Ku mirimu gye tukolera, tusaanidde okussa ekitiibwa mu bakama baffe ne bwe kiba nti abakozi abalala tebabassaamu kitiibwa. Bwe tukola bwe tutyo tuba tukoppa omutume Pawulo, eyassanga ekitiibwa mu b’obuyinza ne mu mbeera enzibu. (Ebikolwa 26:2, 25) Ab’obuyinza ne bwe baba nga batuyisa bubi, tusigala tubawa ekitiibwa.​—Soma Abaruumi 12:17, 18; 1 Peetero 3:15.

20, 21. Birungi ki ebivaamu bwe tussa ekitiibwa mu balala?

20 Leero abantu beeyongedde obutassa kitiibwa mu balala. Naye abaweereza ba Yakuwa ba njawulo ku bantu abalala. Bafuba okussa ekitiibwa mu bantu bonna. Bakolera ku bigambo by’omutume Pawulo bino: “Muwenga abantu aba buli ngeri ekitiibwa.” (1 Peetero 2:17) Bwe tussa ekitiibwa mu balala, bakiraba. Yesu yagamba nti: “Muleke ekitangaala kyammwe kyakirenga abantu, basobole okulaba ebikolwa byammwe ebirungi, bagulumize Kitammwe.”​—Matayo 5:16.

21 Bwe tulaga nti tussa ekitiibwa mu nteekateeka ey’obukulembeze mu maka, mu kibiina, ne mu mbeera endala ez’obulamu, abalala bakiraba era kiyinza n’okubaleetera okwagala okumanya ebikwata ku Yakuwa. Ate era kiba kiraga nti tussa ekitiibwa mu Yakuwa. Ekyo kisanyusa Yakuwa era kiba kiraga nti tumwagala.