Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 9

“Muddukenga Ebikolwa eby’Obugwenyufu!”

“Muddukenga Ebikolwa eby’Obugwenyufu!”

“Mufiise ebitundu byammwe eby’omubiri ebiri ku nsi ku bikwata ku bugwenyufu, ku butali bulongoofu, obuteefuga ku bikwata ku kwegatta, okuyaayaanira ebintu ebibi, n’omululu, nga kwe kusinza ebifaananyi.”​—ABAKKOLOSAAYI 3:5.

1, 2. Kiki Balamu kye yakola asobole okusuula abantu ba Yakuwa mu mitawaana?

OMUVUBI agenda mu kifo w’amanyi nti w’ajja okukwasa ekyennyanja ky’ayagala. Afuna ekintu ekisobola okusikiriza eky’ennyanja n’akiteeka ku ddobo era eddobo eryo n’alisuula mu mazzi. Alindirira okumala akaseera era bw’alaba ng’eddobo likwasizza, alisikayo n’aggyako ekyennyanja.

2 Abantu nabo basobola okukwasibwa mu ngeri y’emu. Ng’ekyokulabirako, Abayisirayiri bwe baali banaatera okutuuka mu Nsi Ensuubize, baasiisira mu Ddungu lya Mowaabu. Kabaka wa Mowaabu yasuubiza okuwa omusajja ayitibwa Balamu ssente nnyingi singa yandikolimidde Abayisirayiri. Balamu yanoonya engeri ey’okuleetera Abayisirayiri okwereetako ekikolimo. Yalondayo ekintu ekyali kiyinza okubasikiriza. Yagamba abakazi Abamowaabu okugenda mu lusiisira lw’Abayisirayiri basendesende abasajja Abayisirayiri.​—Okubala 22:1-7; 31:15, 16; Okubikkulirwa 2:14.

3. Abayisirayiri baagwa batya mu katego ka Balamu?

3 Akatego ka Balamu kaakola? Yee kaakola. Abasajja Abayisirayiri nkumi na nkumi ‘baayenda ku bawala ba Mowaabu.’ Ate era baatandika n’okusinza bakatonda ab’obulimba, omwali ne Bbaali ow’e Pyoli, katonda w’eby’okwegatta. N’ekyavaamu, Abayisirayiri 24,000 baafiira ku njegoyego z’Ensi Ensuubize.​—Okubala 25:1-9.

4. Lwaki Abayisirayiri nkumi na nkumi beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu?

4 Lwaki akatego ka Balamu kaakwasa Abayisirayiri bangi? Abayisirayiri abo ebirowoozo baabissa ku ebyo bo bye baali baagala ne beerabira ebirungi byonna Yakuwa bye yali abakoledde. Waaliwo ensonga nnyingi ezandireetedde Abayisirayiri okuba abeesigwa eri Katonda. Katonda yali abanunudde mu buddu e Misiri, ng’abawadde emmere mu ddungu, era ng’abatuusizza ku njegoyego y’Ensi Ensuubize. (Abebbulaniya 3:12) Wadde kyali kityo, baatwalirizibwa ebikolwa eby’obugwenyufu. Omutume Pawulo yagamba nti: “Tetwendanga ng’abamu ku bo bwe baayenda, . . . ne bafa.”​—1 Abakkolinso 10:8.

5, 6. Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyaliwo mu ddungu lya Mowaabu?

5 Ensi empya eri kumpi. Naffe tulinga Abayisirayiri bwe baali nga banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize. (1 Abakkolinso 10:11) Leero abantu mu nsi bettanira nnyo ebikolwa eby’obugwenyufu n’okusinga Abamowaabu. Abantu ba Yakuwa nabo basobola okutwalirizibwa ne beenyigira mu bikolwa ebyo. Ekimu ku bintu Sitaani by’asinga okukozesa okukwasa abantu ba Katonda bye bikolwa eby’obugwenyufu.​—Okubala 25:6, 14; 2 Abakkolinso 2:11; Yuda 4.

6 Weebuuze, ‘Essanyu ery’akaseera obuseera linsingira okubeera mu nsi empya emirembe gyonna?’ Kya magezi okugondera ekiragiro kya Katonda ekigamba nti: “Muddukenga ebikolwa eby’obugwenyufu.”​—1 Abakkolinso 6:18.

EBIKOLWA EBY’OBUGWENYUFU KYE KI?

7, 8. Ebikolwa eby’obugwenyufu bizingiramu ki? Lwaki bya kabi?

7 Leero abantu bangi baseegu era bamenya kyere amateeka ga Katonda agakwata ku kwegatta. Okusinziira ku Bayibuli, ebikolwa eby’obugwenyufu bizingiramu okwegatta okubaawo wakati w’abantu abatali bafumbo. Era bizingiramu okwegatta okubaawo wakati w’abantu abafaanaganya ekikula, okwegatta n’ensolo, okukomberera ebitundu eby’ekyama, omuntu okwegatta n’omulala ng’akozesa ekitundu w’afulumira, n’okukwatirira oba okutigaatiga ebitundu by’omuntu omulala eby’ekyama.​—Laba Ebyongerezeddwako 23.

8 Bayibuli ekyoleka kaati nti singa omuntu yeeyongera okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, tasobola kusigala mu kibiina kya Yakuwa. (1 Abakkolinso 6:9; Okubikkulirwa 22:15) Ate era omuntu eyeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu yeeweebuula era aba teyeesigika. Ebikolwa eby’obugwenyufu bivaamu ebizibu bingi. Bireetera omuntu okulumizibwa omuntu ow’omunda, biyinza okuviirako omuntu okufuna olubuto lw’ateeyagalidde, ebizibu mu bufumbo, endwadde, n’okufa. (Soma Abaggalatiya 6:7, 8.) Singa omuntu afumiitiriza ku bizibu ebiva mu kwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, kisobola okumuyamba obutabyenyigiramu. Emirundi mingi abantu balowooza ku kukkusa kwegomba kwabwe okw’omubiri ne kibaviirako okukola ebintu ebibaleetera okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Abantu abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu emirundi mingi batandikira ku kulaba bifaananyi eby’obuseegu.

EBIFAANANYI EBY’OBUSEEGU

9. Lwaki ebifaananyi eby’obuseegu bya kabi nnyo?

9 Omuntu bw’alaba ebifaananyi eby’obuseegu kimuleetera okwagala okwegatta. Leero ebifaananyi eby’obuseegu bifulumira mu magazini, mu bitabo, mu nnyimba, ku programu z’oku ttivi, ne ku Intaneeti. Abantu bangi balowooza nti ebifaananyi ebyo tebirina kabi konna, naye ekituufu kiri nti bya mutawaana nnyo. Bisobola okuleetera omuntu okuba nga buli kiseera alowooza ku bya kwegatta, era bisobola okumuleetera okufuna okwegomba okubi. Omuntu bw’atandika okulaba ebifaananyi eby’obuseegu asobola n’okufuna emize emirala emibi gamba ng’ogw’okwemazisa. Ate era kisobola okuleetawo ebizibu mu bufumbo bwe era oluusi kiyinza n’okuviirako obufumbo okusattulukuka.​—Abaruumi 1:24-27; Abeefeso 4:19; laba Ebyongerezeddwako 24.

Weegendereze ng’okozesa Intaneeti

10. Omusingi oguli mu Yakobo 1:14, 15 gutuyamba gutya okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu?

10 Kikulu okumanya engeri ebikolwa eby’obugwenyufu gye biyinza okututwaliriza. Lowooza ku kulabula kuno okuli mu Yakobo 1:14, 15, awagamba nti: “Buli muntu agezesebwa ng’atwalirizibwa era ng’asendebwasendebwa okwegomba kwe. Oluvannyuma okwegomba bwe kuba olubuto kuzaala ekibi; ate ekibi bwe kimala okukolebwa kireeta okufa.” N’olwekyo, singa ebirowoozo ebibi bikujjira, byeggyemu mu bwangu. Singa olaba ebifaananyi eby’obuseegu mu butanwa, ggyayo mangu amaaso! Ggyako kompyuta oba kyusa omukutu gwa ttivi. Tokkiriza kwegomba kubi kuyingira mu mutima gwo. Singa okukkiriza okuyingira mu mutima gwo kusobola okukula ne kuba kwa maanyi ne kukuviirako okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu.​—Soma Matayo 5:29, 30.

11. Yakuwa ayinza atya okutuyamba nga tufunye ebirowoozo ebibi?

11 Yakuwa atumanyi bulungi n’okusinga ffe bwe twemanyi. Akimanyi nti tetutuukiridde. Kyokka era akimanyi nti tusobola okulwanyisa okwegomba okubi. Yakuwa atugamba nti: “Mufiise ebitundu byammwe eby’omubiri ebiri ku nsi ku bikwata ku bugwenyufu, ku butali bulongoofu, obuteefuga ku bikwata ku kwegatta, okuyaayaanira ebintu ebibi, n’omululu, nga kwe kusinza ebifaananyi.” (Abakkolosaayi 3:5) Wadde ng’ekyo si kyangu, Yakuwa atugumiikiriza era mwetegefu okutuyamba. (Zabbuli 68:19) Omuvubuka omu yalina omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu n’ogw’okwemazisa. Bayizi banne emize egyo baali bagitwala ng’egya bulijjo era egitalina mutawaana, naye omuvubuka oyo yagamba nti: “Emize egyo gyayonoona omuntu wange ow’omunda era nnatandika okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu.” Omuvubuka oyo yakiraba nti yalina okulwanyisa okwegomba okubi kwe yalina era Yakuwa yamuyamba n’asobola okwekutula ku mize egyo emibi. Bw’ofuna ebirowoozo ebibi, saba Yakuwa akuwe “amaanyi agasinga ku ga bulijjo” osobole okubyeggyamu.​—2 Abakkolinso 4:7; 1 Abakkolinso 9:27.

12. Lwaki tulina ‘okukuuma omutima gwaffe’?

12 Sulemaani yagamba nti: “Kuumanga omutima gwo okusinga ekintu ekirala kyonna, kubanga gwe gusibukamu ensulo ez’obulamu.” (Engero 4:23) “Omutima” ogwogerwako wano ky’ekyo omuntu ky’ali munda, era ekyo Yakuwa ky’atunuulira. Ebintu bye tulaba birina kinene kye bitukolako. Omusajja omwesigwa ayitibwa Yobu yagamba nti: “Nnakola endagaano n’amaaso gange. Kale nnyinza ntya okutunuulira omukazi omulala ne mmwegwanyiza?” (Yobu 31:1) Okufaananako Yobu naffe tulina okwegendereza ebintu bye tulaba ne bye tulowoozaako. Ate era okufaananako omuwandiisi wa Zabbuli, tusaanidde okusaba Yakuwa ‘awunjule amaaso gaffe galeme kutunuulira bitagasa.’​—Zabbuli 119:37.

DINA YASALAWO MU NGERI ETAALI YA MAGEZI

13. Dina yalina mikwano gya ngeri ki?

13 Mikwano gyaffe girina kinene kye giyinza okutukolako. Bw’olonda emikwano egyagala Yakuwa, gisobola okukuyamba okukola kye kimu. (Engero 13:20; soma 1 Abakkolinso 15:33.) Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku Dina. Dina yali omu ku bawala ba Yakobo, omusajja eyali asinza Yakuwa. Dina teyali muwala mugwenyufu, naye yakola omukwano ogw’oku lusegere n’abawala Abakanani abaali batasinza Yakuwa. Endowooza y’Abakanani ku bikwata ku by’okwegatta yali ya njawulo nnyo ku y’abantu ba Katonda. Abakanani baali bagwenyufu. (Eby’Abaleevi 18:6-25) Dina bwe yali ne mikwano gye, yasisinkana omuvubuka Omukanani ayitibwa Sekemu, era omuvubuka oyo yeegomba Dina. Sekemu yali atwalibwa “okuba ow’ekitiibwa mu nnyumba ya kitaawe.” Naye Sekemu yali tayagala Yakuwa.​—Olubereberye 34:18, 19.

14. Kiki ekyatuuka ku Dina?

14 Sekemu yakola ekintu Abakanani kye baali batwala ng’ekya bulijjo. Yeegomba Dina, “n’amutwala n’amusobyako.” (Soma Olubereberye 34:1-4.) Ekintu ekyo ekibi Sekemu kye yakola kyaleetera Dina n’ab’ewaabwe ebizibu eby’amaanyi.​—Olubereberye 34:7, 25-31; Abaggalatiya 6:7, 8.

15, 16. Kiki ekisobola okutuyamba okweyisa mu ngeri ey’amagezi?

15 Tetwetaaga kusooka kugwa mu nsobi y’emu nga Dina gye yagwamu tusobole okumanya nti emitindo gya Yakuwa egy’empisa giriwo ku lwa bulungi bwaffe. Bayibuli egamba nti: “Omuntu atambula n’ab’amagezi naye ajja kuba wa magezi, naye oyo akolagana n’abasirusiru ajja kugwa mu mitawaana.” (Engero 13:20) Fuba okutegeera “enkola yonna ey’ebintu ebirungi,” era ekyo kijja kukuwonya ebizibu bingi.​—Engero 2:6-9; Zabbuli 1:1-3.

16 Okusoma Ekigambo kya Katonda, okusaba nga tetunnasalawo kintu kyonna, n’okukolera ku bulagirizi obutuweebwa omuddu omwesigwa era ow’amagezi kijja kutuyamba okuba ab’amagezi. (Matayo 24:45; Yakobo 1:5) Tukimanyi nti ffenna tetutuukiridde era tulina obunafu obutali bumu. (Yeremiya 17:9) Naye watya singa wabaawo akulabula nti bw’otokyusa makubo go, oyolekedde okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu? Onoonyiiga, oba onookolera ku kulabula okwo?​—2 Bassekabaka 22:18, 19.

17. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri okulabula bakkiriza bannaffe kwe batuwa gye kuyinza okutuyambamu.

17 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mbeera eno. Watya singa mwannyinaffe omu ku mulimu gy’akolera wabaawo omusajja atandika okumuyisa mu ngeri ey’enjawulo era n’amusaba bagende baliireko wamu naye eky’emisana. Omusajja oyo tasinza Yakuwa, naye alabika nga mulungi era nga wa kisa. Mwannyinaffe omulala bw’abalaba nga bali bombi, asalawo okwogerako ne mwannyinaffe oyo n’amulabula. Mwannyinaffe oyo aneeyisa atya? Anaatandika okwewolereza oba anassaayo omwoyo ku kulabula okwo? Mwannyinaffe oyo ayinza okuba ng’ayagala Yakuwa era ng’ayagala okukola ekituufu. Naye bw’asalawo okugendanga okuliirako awamu eky’emisana n’omusajja oyo, ddala aba ‘adduka ebikolwa eby’obugwenyufu’ oba ‘aba yeesiga mutima gwe’?​—Engero 22:3; 28:26; Matayo 6:13; 26:41.

YIGIRA KU YUSUFU

18, 19. Yusufu yasobola atya okudduka ebikolwa eby’obugwenyufu?

18 Yusufu bwe yali akyali muvubuka, yatundibwa mu buddu e Misiri. Ng’ali eyo, buli lunaku muka mukama we yamugambanga okwegatta naye, naye Yusufu yali akimanyi nti ekyo kyali kikyamu. Yusufu yali ayagala Yakuwa era ng’ayagala okumusanyusa. N’olwekyo, wadde ng’enfunda n’enfunda omukazi oyo yagezaako okumusendasenda, Yusufu yagaana okwegatta naye. Okuva bwe kiri nti Yusufu yali muddu, yali tasobola kumala gava wa mukama we. Naye lumu omukazi oyo bwe yagezaako okumukaka okwegatta naye, Yusufu ‘yadduka n’afuluma ebweru.’​—Soma Olubereberye 39:7-12.

19 Yusufu teyandisobodde kudduka bikolwa bya bugwenyufu singa yakkiriza ebirowoozo ebibi okuyingira mu mutima gwe, oboolyawo n’atandika n’okukuba akafaananyi nga yeegasse ne muka mukama we. Enkolagana Yusufu gye yalina ne Yakuwa yali agitwala nga ya muwendo nnyo okusinga ekintu ekirala kyonna. Yagamba muka mukama we nti: “Mukama wange . . . tewali na kimu ky’atankwasa okuggyako ggwe, kubanga oli mukazi we. Kale nnyinza ntya okukola ekibi ekyenkanidde awo ne nnyonoona mu maaso ga Katonda?”​—Olubereberye 39:8, 9.

20. Kiki ekiraga nti engeri Yusufu gye yeeyisaamu yasanyusa Yakuwa?

20 Wadde nga Yusufu yali wala nnyo n’ab’eŋŋanda ze, yasigala nga mwesigwa eri Katonda era Katonda yamuwa emikisa mingi. (Olubereberye 41:39-49) Yusufu okusigala nga mwesigwa kyasanyusa nnyo Yakuwa. (Engero 27:11) Si kyangu okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu. Wadde kiri kityo, tusaanidde okujjukira ebigambo bino: “Mmwe abaagala Yakuwa mukyawe ebibi. Akuuma obulamu bw’abantu be abeesigwa; abanunula mu mukono gw’omubi.”​—Zabbuli 97:10.

21. Muganda waffe omu yakoppa atya Yusufu?

21 Bulijjo abaweereza ba Yakuwa bakiraga nti ‘bakyawa ekibi’ era nti ‘baagala ekirungi.’ (Amosi 5:15) K’obe ng’oli wa myaka emeka, osobola okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa. Ow’oluganda omu omuvubuka yayolekagana n’ekikemo ku ssomero. Omuwala omu yamugamba nti singa amuyambako mu kigezo eky’okubala, yandyegasse naye. Kiki muganda waffe oyo kye yakola? Yakoppa Yusufu. Muganda waffe oyo agamba nti: “Ekyo omuwala oyo kye yaŋŋamba okukola nnakigaanirawo. Okusigala nga ndi mwesigwa eri Yakuwa kireetedde abalala okusigala nga bampa ekitiibwa.” Essanyu omuntu ly’afuna nga yeenyigidde mu bikolwa eby’obugwenyufu liba lya ‘kaseera buseera,’ era yeereetera obulumi n’ennaku nnyingi. (Abebbulaniya 11:25) Bwe tugondera Yakuwa kituviiramu essanyu ery’olubeerera.​—Engero 10:22.

KKIRIZA YAKUWA AKUYAMBE

22, 23. Yakuwa ayinza atya okutuyamba nga tukoze ekibi eky’amaanyi?

22 Bulijjo Sitaani afuba okutukwasa ng’akozesa ebikolwa eby’obugwenyufu, era tulina okufuba ennyo okumulwanyisa. Ffenna oluusi n’oluusi tufuna ebirowoozo ebibi. (Abaruumi 7:21-25) Ekyo Yakuwa akimanyi bulungi era “ajjukira nti tuli nfuufu.” (Zabbuli 103:14) Naye watya singa Omukristaayo yeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu? Aba akyasobola okuyambibwa? Yee. Bwe yeenenya mu bwesimbu, Yakuwa amuyamba. Katonda “mwetegefu okusonyiwa.”​—Zabbuli 86:5; Yakobo 5:16; soma Engero 28:13.

23 Yakuwa era atuwadde ‘ebirabo mu bantu,’ nga bano be bakadde abatufaako ennyo. (Abeefeso 4:8, 12; Yakobo 5:14, 15) Abakadde abo basobola okutuyamba okuzzaawo enkolagana yaffe naye.​—Engero 15:32.

KOZESA ‘AMAGEZI’

24, 25. ‘Amagezi’ gayinza gatya okutuyamba okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu?

24 Okusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi, tulina okumanya engeri amateeka ga Yakuwa gye gatuganyulamu. Tetwagala kuba ng’omuvubuka ayogerwako mu Engero 7:6-23. Olw’okuba teyalina “magezi,” yagwa mu mutego gwa Sitaani ne yeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Omuntu ow’amagezi afuba okumanya endowooza Katonda gy’alina ku kintu era n’akola ekisanyusa Katonda. Bayibuli egamba nti: “Oyo afuna amagezi aba ayagala obulamu bwe. N’oyo ayagala okutegeera, ebintu bijja kumugendera bulungi.”​—Engero 19:8.

25 Oli mukakafu nti emitindo gya Yakuwa mituufu era gyesigika? Okkiriza nti bw’ogikolerako ojja kufuna essanyu erya nnamaddala? (Zabbuli 19:7-10; Isaaya 48:17, 18) Bw’oba teweekakasa kya kuddamu mu bibuuzo ebyo, lowooza ku bintu ebirungi Yakuwa by’akukoledde. Bayibuli egamba nti: “Mulegeeko mulabe nti Yakuwa mulungi.” (Zabbuli 34:8) Bw’onookola bw’otyo ojja kweyongera okwagala Katonda. Yagala ebyo Yakuwa by’ayagala era okyawe ebyo by’akyawa. Ebirowoozo byo bijjuze ebintu ebituufu, ebituukirivu, ebirongoofu, ebyagalibwa, n’eby’ogerwako obulungi. (Abafiripi 4:8, 9) Bw’onookola bw’otyo, ojja kuba nga Yusufu eyaganyulwa mu kukolera ku magezi agava eri Yakuwa.​—Isaaya 64:8.

26. Kiki kye tujja okulaba mu ssuula eddako?

26 K’obe ng’oli mufumbo oba nedda, Yakuwa ayagala onyumirwe obulamu era obe musanyufu. Essuula ebbiri eziddako zirimu amagezi agasobozesa obufumbo okubaamu essanyu.