Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 7

Obulamu Obutwala nga bwa Muwendo nga Katonda bw’Abutwala?

Obulamu Obutwala nga bwa Muwendo nga Katonda bw’Abutwala?

“Ggwe nsibuko y’obulamu.”​—ZABBULI 36:9.

1, 2. Kirabo ki eky’omuwendo Yakuwa kye yatuwa?

YAKUWA yatuwa ekirabo eky’omuwendo ennyo, nga kino kye kirabo eky’obulamu. (Olubereberye 1:27) Ayagala tunyumirwe obulamu. Eyo ye nsonga lwaki yatuwa emisingi egisobola okutuyamba okusalawo obulungi. Tusaanidde okukozesa emisingi egyo okutuyamba “okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.” (Abebbulaniya 5:14) Bwe tukolera ku misingi egyo tuba tukkirizza Yakuwa okututendeka. Bwe tulaba engeri gye gituganyulamu tukimanya nti ddala gya muwendo nnyo.

2 Kyokka oluusi twolekagana n’embeera enzibu ezitoogerwako butereevu mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, oluusi kiyinza okutwetaagisa okusalawo ku bikwata ku bujjanjabi obuzingiramu okukozesa omusaayi. Tuyinza tutya okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa? Bayibuli erimu emisingi egituyamba okumanya engeri Yakuwa gy’atunuuliramu obulamu n’omusaayi. Bwe tumanya emisingi egyo kituyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi ne tusigala nga tulina omuntu ow’omunda omulungi. (Engero 2:6-11) Kati ka tulabeyo egimu ku misingi gino.

KATONDA ATWALA ATYA OBULAMU N’OMUSAAYI?

3, 4. (a) Katonda yayoleka atya endowooza gy’alina ku musaayi? (b) Omusaayi gukiikirira ki?

3 Bayibuli eraga nti omusaayi mutukuvu kubanga gukiikirira obulamu. Obulamu bwa muwendo nnyo mu maaso ga Yakuwa. Kayini bwe yatta muganda we, Yakuwa yamugamba nti: “Omusaayi gwa muganda wo gunkaabirira nga gusinziira mu ttaka.” (Olubereberye 4:10) Omusaayi gwa Abbeeri gwali gukiikirira obulamu bwe. Kayini bwe yatta Abbeeri, yasaanyaawo obulamu bwe.

4 Oluvannyuma lw’Amataba ga Nuuwa, Katonda yakkiriza abantu okulya ennyama. Naye yabagamba nti: “Temulyanga ennyama erimu obulamu bwayo, nga gwe musaayi gwayo.” (Olubereberye 9:4) Ekiragiro kino kikwata ku bazzukulu ba Nuuwa bonna, nga naffe mw’otutwalidde. Kyeyoleka lwatu nti mu maaso ga Yakuwa omusaayi gukiikirira bulamu. Naffe bwe tutyo bwe tusaanidde okutwala omusaayi.​—Zabbuli 36:9.

5, 6. Amateeka ga Musa gaalaga gatya engeri Yakuwa gy’atunuuliramu obulamu n’omusaayi?

5 Mu Mateeka Yakuwa ge yawa Musa mwalimu erigamba nti: “Omuntu yenna . . . bw’anaalyanga ku musaayi ogw’engeri yonna, nja kumwesamba era nja kumutta. Kubanga obulamu buli mu musaayi.”​—Eby’Abaleevi 17:10, 11.

6 Okusinziira ku Mateeka ga Musa, omuntu bwe yattanga ensolo ey’okulya, yalinanga okuyiwa omusaayi gwayo ku ttaka. Kino kyali kiraga nti obulamu bw’ensolo eyo bwali ng’obuzziddwayo eri Oyo eyagitonda, Yakuwa. (Ekyamateeka 12:16; Ezeekyeri 18:4) Kyokka Yakuwa yali tasuubira nti Abayisirayiri baalinga basobola okutta ensolo ne bagiggyamu omusaayi gwayo gwonna ne bagumalamu. Kasita baakolanga kyonna kye basobola okuggya omusaayi mu nsolo eyabanga ettiddwa, baalinga basobola okulya ennyama yaayo ng’omuntu waabwe ow’omunda tabalumiriza. Bwe baayiwanga omusaayi gw’ensolo eyo, kyalaganga nti bassizza ekitiibwa mu Yakuwa, Ensibuko y’obulamu. Amateeka era gaalagira Abayisirayiri okuwaayo ensolo nga ssaddaaka okusobola okutangirira ebibi byabwe.​—Laba Ebyongerezeddwako 19 ne 20.

7. Dawudi yakiraga atya nti yali assa ekitiibwa mu musaayi?

7 Ekintu ekirala ekitulaga nti omusaayi gwa muwendo ky’ekyo Dawudi kye yakola bwe yali ng’alwana n’Abafirisuuti. Dawudi bwe yalumwa ennyonta, basajja be baateeka obulamu bwabwe mu kabi ne bagenda mu kitundu omwali abalabe okumufunira amazzi. Naye bwe baagaleeta, Dawudi yagaana okuganywa “n’agafuka eri Yakuwa.” Yagamba nti: “Kikafuuwe, Ai Yakuwa, nze okukola kino! Ddala nnywe omusaayi gw’abasajja bano abatadde obulamu bwabwe mu kabi nga bagenda okugakima?” Dawudi yali akimanyi nti obulamu n’omusaayi bya muwendo nnyo mu maaso ga Katonda.​—2 Samwiri 23:15-17.

8, 9. Abakristaayo leero basaanidde kutwala batya omusaayi?

8 Oluvannyuma lw’ekibiina Ekikristaayo okutandikibwawo, Katonda yali takyetaagisa bantu be kuwaayo ssaddaaka za nsolo. Naye era baalina okuba n’endowooza entuufu ku musaayi. Erimu ku Mateeka Katonda ge yali akyetaagisa Abakristaayo okukwata ly’eryo erikwata ku ‘kwewala omusaayi.’ Okwewala omusaayi kyali kikulu nnyo ng’okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu n’okusinza ebifaananyi.​—Ebikolwa 15:28, 29.

Nnyinza ntya okunnyonnyola abalala kye nsazeewo ku bujjanjabi obuzingiramu okukozesa obutundutundu obuggibwa mu bitundu ebina eby’omusaayi?

9 Bwe kityo bwe kiri ne leero. Ffe Abakristaayo tukimanyi nti Yakuwa ye nsibuko y’obulamu era nti obulamu bwonna y’abulinako obwannannyini. Era tukimanyi nti omusaayi mutukuvu era gukiikirira obulamu. N’olwekyo tusaanidde okufumiitiriza ku misingi gya Bayibuli nga tusalawo ku bujjanjabi bwonna obuba buzingiramu okukozesa omusaayi.

OKUKOZESA OMUSAAYI MU BY’OBUJJANJABI

10, 11. (a) Abajulirwa ba Yakuwa batwala batya eky’okuteekebwako omusaayi oba ebitundu byagwo ebina ebikulu? (b) Biki buli Mukristaayo by’alina okwesalirawo?

10 Abajulirwa ba Yakuwa bakimanyi nti ‘okwewala omusaayi’ tekikoma ku kwewala bwewazi kugulya oba kugunywa. Kizingiramu n’okwewala okuteekebwamu omusaayi mu ngeri yonna. Tulina okwewala okuteekebwako omusaayi gw’omuntu yenna era tulina n’okwewala okutereka omusaayi gwaffe gwennyini oluvannyuma ne gutuzzibwamu. Era tulina n’okwewala okuteekebwamu ekimu ku bitundu ebina ebikulu ebikola omusaayi: obutoffaali obumyufu, obutoffaali obweru, platelets, ne plasma.

11 Mu nkola ezimu ez’obujjanjabi, ebitundu ebyo ebina byongera okukutulwakutulwamu ne biggibwamu obutundutundu obulala. Buli Mukristaayo alina okwesalirawo ku lulwe obanga anakkiriza obujjanjabi obuzingiramu okukozesa obutundutundu obwo. Ate era buli omu alina okwesalirawo ku lulwe obanga anakkiriza enkola, gamba ng’eyo ey’okuggya obucaafu mu musaayi (hemodialysis), enkola ey’okusaabulula omusaayi (hemodilution), n’enkola eyamba omuntu obutafiirwa musaayi mungi (cell salvage), nga zino zonna zizingiramu okukozesa omusaayi gwe naye nga tegusoose kuterekebwa.​—Laba Ebyongerezeddwako 21.

12. (a) Lwaki ebyo bye tusalawo nga tusinziira ku muntu waffe ow’omunda bikulu? (b) Tuyinza tutya okusalawo mu ngeri ey’amagezi ku bikwata ku bujjanjabi?

12 Ebyo bye tusalawo nga tusinziira ku muntu waffe ow’omunda Yakuwa abitwala nga bikulu? Yee. Ebiruubirirwa byaffe n’ebyo bye tulowooza birina kye bikola ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. (Soma Engero 17:3; 24:12.) N’olwekyo, bwe tuba tusalawo ku bujjanjabi bwa ngeri ki bwe tunakkiriza, tusaanidde okusaba Yakuwa atuwe obulagirizi era tusaanidde okunoonyereza ku bujjanjabi obwo. Oluvannyuma tulina okusalawo nga tusinziira ku muntu waffe ow’omunda atendekeddwa Bayibuli. Tetusaanidde kusaba balala kutubuulira kye bandisazeewo nga bali mu mbeera y’emu ng’eyo gye tuba tulimu, era abalala tebasaanidde kutupikiriza kusalawo nga bo bwe bandisazeewo. Buli Mukristaayo ajja “kwetikka omugugu gwe.”​—Abaggalatiya 6:5, obugambo obuli wansi; Abaruumi 14:12.

AMATEEKA GA YAKUWA GALAGA NTI ATWAGALA

13. Amateeka Yakuwa g’atuwa agakwata ku musaayi gatuyigiriza ki ku Yakuwa?

13 Byonna Yakuwa by’atulagira okukola bituganyula era biraga nti atwagala. (Zabbuli 19:7-11) Kyokka okuba nti ebiragiro bya Yakuwa bituganyula si kye kyokka ekituleetera okumugondera. Tumugondera olw’okuba tumwagala. Olw’okuba twagala Yakuwa, twewala okuteekebwako omusaayi. (Ebikolwa 15:20) Ekyo era kituyamba obutafuna bizibu ebiva mu kuteekebwako omusaayi. Leero abantu abasinga obungi bamanyi ebizibu ebiva mu kuteekebwako omusaayi era abasawo bangi bakimanyi nti okulongoosa abalwadde nga tebabataddeeko musaayi kiganyula nnyo abalwadde abo. Ebyo Yakuwa by’atulagira biraga nti wa magezi era nti atwagala.​—Soma Isaaya 55:9; Yokaana 14:21, 23.

14, 15. (a) Mateeka ki Yakuwa ge yawa abantu be okubayamba obutassa bulamu bwabwe mu kabi? (b) Oyinza otya okukolera ku misingi egiri mu mateeka ago?

14 Okuva edda n’edda, amateeka ga Yakuwa gabadde ga muganyulo eri abantu be. Yakuwa yawa Abayisirayiri amateeka agaabayambanga okwewala obubenje. Ng’ekyokulabirako, erimu ku mateeka ago lyali liragira omuntu eyabanga azimbye ennyumba okuteeka omuziziko ku kasolya kaayo akaseeteevu waleme kubaawo muntu awanukayo n’agwa. (Ekyamateeka 22:8) Ate era waliwo n’etteeka eryali likwata ku nsolo. Singa omuntu yabanga n’ente etomera, yalinanga okugisiba ereme okutomera oba okutta omuntu yenna. (Okuva 21:28, 29) Singa Omuyisirayiri teyagonderanga mateeka ago ne kiviirako omuntu okufa, yabangako omusango ogw’okuyiwa omusaayi.

15 Amateeka ago gakiraga bulungi nti obulamu Yakuwa abutwala nga bwa muwendo. Ekyo kyanditukutteko kitya? Tusaanidde okukiraga nti obulamu tubutwala nga bwa muwendo mu ngeri gye tulabiriramu amaka gaffe n’ebidduka byaffe, engeri gye tuvugamu ebidduka, n’engeri gye twesanyusaamu. Abantu abamu, naddala abavubuka, bakola ebintu ebissa obulamu bwabwe mu kabi nga balowooza nti tewali kabi kayinza kubatuukako. Naye Yakuwa tayagala tweyise tutyo. Ayagala tukirage nti obulamu bwaffe awamu n’obw’abalala tubutwala nga bwa muwendo.​—Omubuulizi 11:9, 10.

16. Yakuwa atwala atya ekikolwa eky’okuggyamu olubuto?

16 Obulamu bw’abantu bonna Yakuwa abutwala nga bwa muwendo. N’obulamu bw’omwana atannazaalibwa Yakuwa abutwala nga bwa muwendo. Okusinziira ku Mateeka ga Musa, singa omuntu mu butanwa yatuusanga akabi ku mukazi ow’olubuto, omukazi oyo n’afa oba omwana ali mu lubuto n’afa, omuntu oyo yabangako omusango ogw’okutta omuntu. Wadde ng’ekyo omuntu oyo yabanga akikoze mu butanwa, yalinanga okuttibwa okusasulira obulamu bw’oyo eyabanga afudde. (Soma Okuva 21:22, 23.) Mu maaso ga Katonda, n’omwana atannazaalibwa aba muntu. Bw’olowooza ku ekyo, olowooza Yakuwa atwala atya ekikolwa eky’okuggyamu olubuto? Awulira atya bw’alaba obukadde n’obukadde bw’abaana abattibwa buli mwaka ng’abantu baggyamu embuto?

17. Kiki ekiyinza okubudaabuda omukazi eyaggyamu olubuto nga tannamanya ngeri ekyo Yakuwa gy’akitwalamu?

17 Watya singa omukazi yaggyamu olubuto nga tannamanya ngeri ekyo Yakuwa gy’akitwalamu? Yakuwa asobola okumusonyiwa ng’asinziira ku ssaddaaka ya Yesu. (Lukka 5:32; Abeefeso 1:7) Omukazi eyaggyamu olubuto mu biseera eby’emabega tasaanidde kusigala ng’alumirizibwa olw’ekibi ekyo bw’aba nga yeenenya mu bwesimbu. “Yakuwa musaasizi era wa kisa. . . . Ng’ebuvanjuba bwe wali ewala ennyo okuva ebugwanjuba, bw’atyo bw’atadde ebibi byaffe ewala ennyo okuva we tuli.”​—Zabbuli 103:8-14.

WEEWALE OBUKYAYI

18. Lwaki tulina okukola kyonna ekisoboka okweggyamu obukyayi?

18 Okussa ekitiibwa mu bulamu kitandikira mu mutima. Kizingiramu endowooza gye tuba nayo ku balala. Omutume Yokaana yagamba nti: “Buli atayagala muganda we aba mutemu.” (1 Yokaana 3:15) Bwe tuba tetwagala muntu kiyinza okutuviirako okumukyawa. Omuntu bw’akyawa omulala, ayinza okutandika obutamussaamu kitiibwa, okumuwaayiriza, oba oluusi n’okumwagaliza okufa. Yakuwa amanya endowooza gye tuba nayo ku balala. (Eby’Abaleevi 19:16; Ekyamateeka 19:18-21; Matayo 5:22) Bwe tukizuula nti tulina obukyayi ku muntu, tusaanidde okufuba okubweggyamu.​—Yakobo 1:14, 15; 4:1-3.

19. Endowooza Yakuwa gy’alina ku bikolwa eby’obukambwe yanditukutteko etya?

19 Waliwo engeri endala gye tuyinza okukiraga nti obulamu tubutwala nga bwa muwendo. Zabbuli 11:5 walaga nti Yakuwa “akyawa omuntu yenna ayagala ebikolwa eby’obukambwe.” Bwe tulondawo eby’okwesanyusaamu ebirimu ebikolwa eby’obukambwe kiba kiraga nti twagala ebikolwa ebyo. Tusaanidde okwewala okuyingiza mu birowoozo byaffe ebintu eby’obukambwe, ka bibe bigambo, ndowooza, oba ebifaananyi. Mu kifo ky’ekyo, ebirowoozo byaffe tusaanidde okubijjuzaamu ebintu ebirongoofu era ebitukubiriza okuba ab’emirembe.​—Soma Abafiripi 4:8, 9.

TOBA NA KAKWATE KONNA NA BIBIINA EBITASSA KITIIBWA MU BULAMU

20-22. (a) Yakuwa atwala atya ensi ya Sitaani? (b) Abantu ba Katonda bayinza batya okukiraga nti “si ba nsi”?

20 Ensi ya Sitaani obulamu tebutwala nga bwa muwendo era mu maaso ga Yakuwa eriko omusango ogw’okuyiwa omusaayi. Mu byasa ebizze biyitawo, bannabyabufuzi baviiriddeko abantu bangi okufa, nga muno mwe muli n’abaweereza ba Yakuwa. Bayibuli egeraageranya gavumenti z’abantu ku nsolo enkambwe. (Danyeri 8:3, 4, 20-22; Okubikkulirwa 13:1, 2, 7, 8) Leero okukola eby’okulwanyisa n’okubitunda y’emu ku bizineesi ezisinga okuba ez’amaanyi. Abantu bafuna amagoba mangi mu kutunda eby’okulwanyisa nnamuzisa. Kyeyolese kaati nti “ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.”​—1 Yokaana 5:19.

21 Naye Abakristaayo ab’amazima bo “si ba nsi.” Abantu ba Yakuwa tebeenyigira mu bya bufuzi ne mu ntalo. Okuva bwe kiri nti tebalina kutta muntu yenna, tebawagira kibiina kyonna kitta bantu. (Yokaana 15:19; 17:16) Abakristaayo bwe baba bayigganyizibwa, tebeesasuza. Yesu yatulagira okwagala n’abalabe baffe.​—Matayo 5:44; Abaruumi 12:17-21.

22 Amadiini nago gaviiriddeko obukadde n’obukadde bw’abantu okufa. Ng’eyogera ku Babulooni Ekinene, nga gano ge madiini ag’obulimba, Bayibuli egamba nti: “Mu kyo mwasangibwamu omusaayi gwa bannabbi, n’ogw’abatukuvu, n’ogw’abo bonna abattibwa ku nsi.” Olaba ensonga lwaki Yakuwa atugamba nti: “Mukifulumemu abantu bange”? Abo abasinza Yakuwa tebalina kakwate konna ne Babulooni Ekinene.​—Okubikkulirwa 17:6; 18:2, 4, 24.

23. Okufuluma mu Babulooni Ekinene kizingiramu ki?

23 Okufuluma mu Babulooni Ekinene kizingiramu okwekutulira ddala ku madiini gonna ag’obulimba. Ng’ekyokulabirako, kiyinza okutwetaagisa okukakasa nti amannya gaffe gaggibwa mu nkalala z’abo abali mu madiini ago. Naye tulina n’okukola ekisingako awo. Tulina okukyawa ebikolwa ebibi amadiini ago bye gakola n’okubyewalira ddala. Abantu abali mu madiini ago beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, mu by’obufuzi, era balulunkanira ebintu. (Soma Zabbuli 97:10; Okubikkulirwa 18:7, 9, 11-17) Ekyo kiviiriddeko abantu bukadde na bukadde okufiirwa obulamu bwabwe.

24, 25. Okumanya Yakuwa kituyamba kitya okuba n’emirembe mu mutima n’okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo?

24 Bwe twali tetunnamanya Yakuwa, mu ngeri emu oba endala, buli omu ku ffe yawagiranga ebintu ebibi ebiri mu nsi ya Sitaani. Naye kati twakyuka. Twakkiriza ekinunulo kya Yesu era twewaayo eri Katonda. Yakuwa atuwadde “ekiwummulo.” Tulina emirembe mu mutima era tulina omuntu ow’omunda omuyonjo kubanga tukimanyi nti tusanyusa Yakuwa.​—Ebikolwa 3:19; Isaaya 1:18.

25 Ne bwe kiba nti edda twaliko mu kibiina ekimu ekitassa kitiibwa mu bulamu, Yakuwa asobola okutusonyiwa ng’asinziira ku ssaddaaka ya Yesu. Tusiima nnyo Yakuwa olw’okutuwa ekirabo eky’obulamu. Tukiraga nti tusiima ekirabo ekyo nga tufuba okuyamba abalala okuyiga ebikwata ku Yakuwa, okuva mu nsi ya Sitaani, n’okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda.​—2 Abakkolinso 6:1, 2.

BUULIRA ABALALA EBIKWATA KU BWAKABAKA

26-28. (a) Mulimu ki omukulu Yakuwa gwe yawa Ezeekyeri? (b) Mulimu ki Yakuwa gw’atuwadde leero?

26 Mu Isirayiri ey’edda, Yakuwa yalagira nnabbi Ezeekyeri okulabula abantu nti ekibuga Yerusaalemi kyali kinaatera okuzikirizibwa era ababuulire ne kye baalina okukola okusobola okuwonawo nga kizikirizibwa. Singa Ezeekyeri teyalabula bantu abo, Yakuwa yali agenda kumuvunaana olw’omusaayi gw’abantu abo. (Ezeekyeri 33:7-9) Ezeekyeri yakiraga nti obulamu yali abutwala nga bwa muwendo bwe yabuulira abantu obubaka obwo n’obunyiikivu.

27 Naffe Yakuwa atuwadde omulimu ogw’okulabula abantu nti ensi ya Sitaani eneetera okuzikirizibwa n’okubayamba okumanya ebikwata ku Yakuwa basobole okuwonawo, bayingire mu nsi empya. (Isaaya 61:2; Matayo 24:14) Tulina okukola kyonna ekisoboka okubuulira abantu obubaka obwo. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kwogera nga Pawulo nti: “Sivunaanibwa musaayi gwa muntu yenna, kubanga saalekayo kubabuulira kigendererwa kya Katonda.”​—Ebikolwa 20:26, 27.

28 Kya lwatu nti okusobola okusigala mu kwagala kwa Katonda tetulina kukoma ku kutunuulira bulamu na musaayi nga Yakuwa bw’abitunuulira, naye era tulina okusigala nga tuli bayonjo mu maaso ge. Essuula eddako ejja kwogera ku nsonga eyo.