Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 2

Okuba n’Omuntu ow’Omunda Omulungi mu Maaso ga Katonda

Okuba n’Omuntu ow’Omunda Omulungi mu Maaso ga Katonda

“Mubeerenga n’omuntu ow’omunda omulungi.”​—1 PEETERO 3:16.

1, 2. Lwaki twetaaga obulagirizi nga tuli mu kifo kye tutamanyi bulungi? Kiki Yakuwa kye yatuwa okutuwa obulagirizi?

KUBA akafaananyi ng’otambula mu ddungu eddene. Embuyaga ezifuumuula omusenyu nga ziguzza eno n’eri, ziviirako endabika y’ebitundu ebiri mu ddungu okukyukakyuka buli kiseera. Kiba kyangu okubulira mu ddungu ng’eryo. Oyinza otya okumanya gy’ogenda? Oba weetaaga obulagirizi. Oyinza okukozesa kampasi, mmaapu, oba kompyuta. Oyinza okutunuulira enjuba oba emmunyeenye. Oba oyinza okutambula n’omuntu amanyi obulungi eddungu eryo. Kikulu nnyo okuba n’omuntu oba n’ekintu ekisobola okukuwa obulagirizi, obulamu bwo ne butaba mu kabi.

2 Ffenna twolekagana n’okusoomooza okutali kumu mu bulamu, era oluusi tuyinza okuwulira nga tetumanyi kya kukola. Okusobola okutuyamba okufuna obulagirizi, Yakuwa yatuwa omuntu ow’omunda. (Yakobo 1:17) Mu ssuula eno tugenda kulaba omuntu ow’omunda kye ki, era tulabe n’engeri gy’akolamu. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okutendekamu omuntu waffe ow’omunda, ensonga lwaki tulina okufaayo ku muntu ow’omunda ow’abalala, era n’engeri okuba n’omuntu ow’omunda omulungi gye kituyamba okuba n’obulamu obulungi.

OMUNTU OW’OMUNDA KYE KI ERA AKOLA ATYA?

3. Omuntu ow’omunda kye ki?

3 Omuntu ow’omunda kirabo kya muwendo nnyo okuva eri Yakuwa. Omuntu ow’omunda bwe busobozi bwe tulina obw’okumanya ekituufu n’ekikyamu. Mu Bayibuli, ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “omuntu ow’omunda” kitegeeza “okumanya ekyo ky’oli.” Omuntu waffe ow’omunda bw’aba akola bulungi, atuyamba okwekebera ne tumanyira ddala ekyo kye tuli. Atuyamba okumanya obanga endowooza yaffe n’enneewulira yaffe nnungi oba si nnungi. Atuyamba okukola ekirungi n’okwewala ekibi. Era atuleetera okuwulira essanyu nga tusazeewo mu ngeri ey’amagezi oba okulumirizibwa omutima nga tusazeewo mu ngeri embi.​—Laba Ebyongerezeddwako 5.

4, 5. (a) Kiki ekyaliwo Adamu ne Kaawa bwe baagaana okuwuliriza omuntu waabwe ow’omunda? (b) Waayo ebyokulabirako okuva mu Bayibuli ebiraga engeri omuntu ow’omunda gy’akolamu?

4 Buli omu ku ffe asobola okusalawo okuwuliriza oba obutawuliriza muntu we ow’omunda. Adamu ne Kaawa baasalawo obutawuliriza muntu waabwe ow’omunda, era ekyo kyabaviirako okwonoona. Oluvannyuma omuntu waabwe ow’omunda yabalumiriza, naye ekyo kyali tekikyasobola kubayamba. Baali bamaze okujeemera Katonda. (Olubereberye 3:7, 8) Wadde nga bombi baalina omuntu ow’omunda atuukiridde era nga bakimanyi nti kikyamu okujeemera Katonda, baasalawo obutawuliriza muntu waabwe ow’omunda.

5 Kyokka waliwo abantu bangi abaali batatuukiridde abaawuliriza omuntu waabwe ow’omunda. Omu ku bo yali Yobu. Olw’okuba yasalangawo mu ngeri ey’amagezi, Yobu yagamba nti: “Omutima gwange tegujja kunvunaana obulamu bwange bwonna.” (Yobu 27:6) Yobu bwe yayogera ku ‘mutima’ gwe, yali ayogera ku muntu we ow’omunda, kwe kugamba, obusobozi bwe obw’okumanya ekituufu n’ekikyamu. Naye ye Dawudi waliwo lw’ataawuliriza muntu we ow’omunda ne kimuleetera okujeemera Yakuwa. Oluvannyuma omutima gwe ‘gwamulumiriza.’ (1 Samwiri 24:5) Omuntu we ow’omunda ye yali amulumiriza ng’amulaga nti kye yali akoze tekyali kituufu. Okuwuliriza omuntu we ow’omunda kyamuyamba obutaddamu kukola nsobi gye yakola.

6. Lwaki tuyinza okugamba nti omuntu ow’omunda kirabo okuva eri Katonda?

6 N’abantu abatamanyi Yakuwa bamanyi nti waliwo ebintu ebituufu n’ebikyamu. Bayibuli egamba nti: “Mu birowoozo byabwe bavunaanibwa omusango oba bejjeerezebwa.” (Abaruumi 2:14, 15) Ng’ekyokulabirako, abantu abasinga obungi bamanyi nti kikyamu okutta oba okubba. Bwe bakola ekituufu, ka babe nga bakimanyi oba nedda, baba bawuliriza omuntu waabwe ow’omunda, kwe kugamba, obusobozi Yakuwa bwe yabawa obw’okumanya ekituufu n’ekikyamu. Ate era baba bakolera ku misingi Katonda gye yatuwa okutuyamba okusalawo obulungi.

7. Lwaki ebiseera ebimu omuntu waffe ow’omunda ayinza okuba omukyamu?

7 Kyokka oluusi omuntu waffe ow’omunda asobola okuba omukyamu. Ng’ekyokulabirako, ebirowoozo byaffe ebibi oba enneewulira zaffe ezitali nnungi zisobola okumuwabya. Okuba n’omuntu ow’omunda omulungi tekibaawo mu butanwa. (Olubereberye 39:1, 2, 7-12) Tulina okumutendeka. Okusobola okutuyamba okumutendeka, Yakuwa atuwadde omwoyo gwe omutukuvu n’emisingi egiri mu Bayibuli. (Abaruumi 9:1) Kati ka tulabe engeri gye tuyinza okutendekamu omuntu waffe ow’omunda.

TUYINZA TUTYA OKUTENDEKA OMUNTU WAFFE OW’OMUNDA?

8. (a) Enneewulira yaffe eyinza kukola ki ku muntu waffe ow’omunda? (b) Kiki kye tusaanidde okukola nga tetunnasalawo?

8 Abantu abamu balowooza nti okuwuliriza omuntu waabwe ow’omunda kitegeeza kukolera bukolezi ku nneewulira yaabwe. Balowooza nti basobola okukola buli kimu kye baagala kasita kiba nga kibaleetera okuwulira obulungi. Naye enneewulira yaffe tetuukiridde, era esobola okutuwabya. Oluusi enneewulira yaffe eba ya maanyi nnyo ne kiba nti esobola okuwabya omuntu waffe ow’omunda. Bayibuli egamba nti: “Omutima mukuusa okusinga ekintu ekirala kyonna era gwa kabi nnyo. Ani ayinza okugumanya?” (Yeremiya 17:9) N’olwekyo, oluusi tuyinza okulowooza nti ekintu kituufu kyokka nga kikyamu. Ng’ekyokulabirako, Pawulo bwe yali tannafuuka Mukristaayo, yayigganyanga nnyo abantu ba Katonda ng’alowooza nti kye yali akola kyali kituufu. Yali awulira ng’alina omuntu ow’omunda omulungi. Naye oluvannyuma yagamba nti: “Ansalira omusango [ankebera] ye Yakuwa.” (1 Abakkolinso 4:4; Ebikolwa 23:1; 2 Timoseewo 1:3) Pawulo bwe yamanya engeri Yakuwa gye yali atwalamu ekyo kye yali akola, yakiraba nti yalina okukyusaamu. N’olwekyo, nga tetunnakola kintu kyonna, tusaanidde okusooka okwebuuza, ‘Kiki Yakuwa ky’ayagala nkole?’

9. Okutya Katonda kitegeeza ki?

9 Bw’oba oyagala omuntu, oba toyagala kukola kintu kyonna kimunyiiza. Naffe olw’okuba twagala Yakuwa, tetwagala kukola kintu kyonna kimunyiiza. Kikulu nnyo okuba nga tutya okukola ekintu kyonna ekinyiiza Yakuwa. Ku nsonga eno, lowooza ku Nekkemiya. Yeewala okukozesa obuyinza bwe yalina nga gavana okwenoonyeza eby’obugagga. Lwaki? Yagamba nti yali ‘atya Katonda.’ (Nekkemiya 5:15) Nekkemiya yali tayagala kukola kintu kyonna kinyiiza Yakuwa. Okufaananako Nekkemiya, naffe tusaanidde okutya okukola ekintu kyonna ekinyiiza Yakuwa. Bwe tusoma Bayibuli, tusobola okumanya ebyo ebisanyusa Yakuwa.​—Laba Ebyongerezeddwako 6.

10, 11. Misingi ki egiri mu Bayibuli egisobola okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi bwe kituuka ku kunywa omwenge?

10 Ng’ekyokulabirako, Omukristaayo ayinza okusalawo okunywa omwenge oba obutagunywa. Misingi ki egisobola okumuyamba okusalawo obulungi ku nsonga eyo? Egimu ku gyo gye gino: Bayibuli tetugaana kunywa mwenge. Mu butuufu, etugamba nti omwenge kirabo okuva eri Katonda. (Zabbuli 104:14, 15) Naye Yesu yagamba abagoberezi be okwewala okunywa ennyo omwenge. (Lukka 21:34) Ate Pawulo yagamba Abakristaayo okwewala ‘ebinyumu n’okutamiira.’ (Abaruumi 13:13) Era yagamba nti abatamiivu “tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda.”​—1 Abakkolinso 6:9, 10.

11 Omukristaayo ayinza okwebuuza: ‘Okunywa omwenge nkitwala nga kikulu nnyo mu bulamu bwange? Ngunywa okusobola okuwummuza ebirowoozo? Ngunywa okusobola okufuna obuvumu? Nsobola okwefuga bwe kituuka ku bungi bw’omwenge gwe nnywa n’emirundi gye ngunywa? * Nnyumirwa okubaako ne mikwano gyange ne bwe kiba nti tewali mwenge?’ Tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe okusalawo mu ngeri ey’amagezi. (Soma Zabbuli 139:23, 24.) Bwe tukola tutyo, tuba tutendeka omuntu waffe ow’omunda okukolera ku misingi gya Bayibuli. Kyokka waliwo n’ebirala bye twetaaga okulowoozaako.

LWAKI TUSAANIDDE OKUFAAYO KU MUNTU OW’OMUNDA OW’ABALALA?

12, 13. Lwaki omuntu waffe ow’omunda ayinza okwawukana ku w’abalala? Twandyeyisizza tutya ng’omuntu waffe ow’omunda ayawukanye ku w’abalala?

12 Omuntu waffe ow’omunda ayinza okwawukana ku w’abalala. Omuntu wo ow’omunda ayinza okukukkiriza okukola ekintu ekimu kyokka ng’ate omuntu ow’omunda ow’omulala tamukkiriza kukikola. Ng’ekyokulabirako, oyinza okusalawo okunywa ku mwenge, so ng’ate omuntu omulala ye awulira nti tasaanidde kugunywa. Kiki ekiyinza okuleetera abantu ababiri okuba n’endowooza ez’enjawulo ku nsonga eyo?

Omuntu ow’omunda atendekeddwa obulungi asobola okukuyamba okusalawo okunywa omwenge oba obutagunywa

13 Emirundi mingi endowooza omuntu gy’aba nayo ku kintu esinziira ku ngeri gye yakuzibwamu, ku ngeri ab’ewaabwe gye baali bakitwalamu, ku ebyo by’ayiseemu mu bulamu, oba ensonga endala ezifaananako n’ezo. Omuntu eyalina ekizibu eky’okunywa ennyo omwenge ayinza okusalawo obutagukomberako ddala. (1 Bassekabaka 8:38, 39) Singa owa omuntu omwenge n’agugaana, oneeyisa otya? Onoonyiiga? Onoogezaako okumuwaliriza okugunywa? Onoomubuuza ensonga lwaki agaanye okugunywa? Si bwe wandikoze. Lwaki? Kubanga osaanidde okussa ekitiibwa mu muntu we ow’omunda.

14, 15. Mbeera ki eyaliwo mu kiseera kya Pawulo? Magezi ki amalungi Pawulo ge yawa?

14 Mu kiseera ky’omutume Pawulo, waaliwo embeera etuyamba okukitegeera obulungi nti omuntu waffe ow’omunda ayawukana. Emu ku nnyama eyatundibwanga mu butale yabanga ekozeseddwa mu kusinza okw’obulimba, ng’eweereddwayo eri ebifaananyi. (1 Abakkolinso 10:25) Pawulo yali takitwala nti kikyamu okugula ennyama eyo n’okugirya. Yali akitwala nti emmere yonna eva eri Yakuwa. Naye bo ab’oluganda abamu abaali basinza ebifaananyi nga tebannafuuka Bakristaayo baalina endowooza ya njawulo. Baali bakitwala nti kikyamu okulya ennyama eyo. Pawulo teyagamba nti: ‘Nze omuntu wange ow’omunda tannumiriza. Nnina eddembe okulya kye njagala.’

15 Mu kifo ky’ekyo, yali afaayo ku nneewulira za bakkiriza banne ne kiba nti yali mwetegefu okwerekereza ebintu ebimu. Pawulo yagamba nti tetulina ‘kwesanyusa ffekka, kubanga ne Kristo teyeesanyusa yekka.’ (Abaruumi 15:1, 3) Okufaananako Yesu, Pawulo yafangayo ku balala mu kifo ky’okwefaako yekka.​—Soma 1 Abakkolinso 8:13; 10:23, 24, 31-33.

16. Lwaki tetusaanidde kusalira mukkiriza munnaffe musango olw’ekyo omuntu we ow’omunda ky’amukkiriza okukola?

16 Naye watya singa omuntu ow’omunda owa mukkiriza munnaffe amukkiriza okukola ekintu ffe kye tutwala ng’ekikyamu? Mu mbeera eyo, tuba tulina okuba abeegendereza obutamuvumirira n’obutakalambira nti ye mukyamu, ffe batuufu. (Soma Abaruumi 14:10.) Yakuwa yatuwa omuntu ow’omunda tusobole okwekebera, so si okusalira abalala omusango. (Matayo 7:1) Tetwagala bintu bye tulina kwesalirawo ng’abantu kinnoomu kuleetawo njawukana mu kibiina. Mu kifo ky’ekyo, tufuba okwoleka okwagala n’okukuuma obumu mu kibiina.​—Abaruumi 14:19.

OKUBA N’OMUNTU OW’OMUNDA OMULUNGI KITUGANYULA

17. Kiki ekituuse ku muntu ow’omunda ow’abantu abamu?

17 Omutume Peetero yawandiika nti: “Mubeerenga n’omuntu ow’omunda omulungi.” (1 Peetero 3:16) Eky’ennaku, abantu bwe baba n’omuze ogw’obutakolera ku misingi gya Yakuwa, omuntu waabwe ow’omunda alekera awo okubalabula. Pawulo yagamba nti omuntu ow’omunda ng’oyo aba “ng’enkovu ey’oku mubiri ogwayokebwa ekyuma.” (1 Timoseewo 4:2) Enkovu ng’eyo ne bw’ogikwatako tobaako ky’owulira. Omuntu bwe yeemanyiiza okukola ebintu ebibi, omuntu we ow’omunda afuuka ng’enkovu eyo, n’aba nga takyakola.

Omuntu ow’omunda atendekeddwa obulungi asobola okutuwa obulagirizi, ne kituyamba okufuna essanyu n’emirembe

18, 19. (a) Omuntu waffe ow’omunda bw’atulumiriza kiba kiraga ki? (b) Kiki kye tusaanidde okukola singa omuntu waffe ow’omunda asigala atulumiriza olw’ebibi bye twenenya?

18 Singa omuntu waffe ow’omunda atulumiriza, ayinza okuba ng’atutegeeza nti tulina ensobi gye tukoze. Ekyo kisobola okutuyamba okumanya ensobi eyo ne twewala okugiddamu. Tusaanidde okuyigira ku nsobi zaffe, kituyambe obutaziddamu. Ng’ekyokulabirako, wadde nga Kabaka Dawudi yayonoona, omuntu we ow’omunda yamuleetera okwenenya. Yakyawa ebibi bye yakola era n’amalirira okugondera Yakuwa. Bwe kityo, Dawudi yasobola okugamba nti: ‘Yakuwa mulungi era mwetegefu okusonyiwa.’​—Zabbuli 51:1-19; 86:5; laba Ebyongerezeddwako 7.

19 Kyokka oluusi omuntu ayinza okusigala ng’alumirizibwa omuntu we ow’omunda wadde nga yeenenya. Enneewulira ng’eyo esobola okuleetera omuntu okuwulira nga takyali wa mugaso mu maaso ga Yakuwa. Bw’oba nga naawe bw’otyo bw’owulira, kijjukire nti tosobola kukyusa by’emabega. Ka kibe nti wali omanyi ekituufu eky’okukola n’otokikola, Yakuwa yakusonyiyira ddala era n’asangula ekibi kye wakola. Oli muyonjo mu maaso ge era kati okola by’ayagala. Wadde ng’omutima gwo guyinza okuba nga gukyakulumiriza, Bayibuli egamba nti: “Katonda asinga emitima gyaffe.” (Soma 1 Yokaana 3:19, 20.) Ekyo kitegeeza nti okwagala kwa Yakuwa n’okusonyiwa kwe bisingira wala omutima gwaffe oguba gutulumiriza. Omuntu bw’akimanya nti Yakuwa yamusonyiwa, afuna emirembe mu mutima ne kimuyamba okuweereza Yakuwa n’essanyu.​—1 Abakkolinso 6:11; Abebbulaniya 10:22.

20, 21. (a) Akatabo kano kanaakuyamba katya? (b) Ddembe ki Yakuwa lye yatuwa, era tusaanidde kulikozesa tutya?

20 Akatabo kano kajja kukuyamba okutendeka omuntu wo ow’omunda asobole okukulabula n’okukukuuma mu nnaku zino ez’enkomerero. Era kajja kukuyamba okulaba engeri gy’oyinza okukolera ku misingi gya Bayibuli mu mbeera ezitali zimu. Tekiri nti akatabo kano kagenda kutubuulira kye tulina okukola mu buli mbeera. Tukolera ku ‘tteeka lya Kristo’ eryesigamiziddwa ku misingi gya Bayibuli. (Abaggalatiya 6:2) Eky’okuba nti tewali tteeka lyogera ku kintu ekimu butereevu tekituwa bbeetu kukola kikyamu. (2 Abakkolinso 4:1, 2; Abebbulaniya 4:13; 1 Peetero 2:16) Tulina okukozesa eddembe lyaffe ery’okwesalirawo mu ngeri eraga nti twagala Yakuwa.

21 Bwe tufumiitiriza ku misingi gya Bayibuli era ne tugikolerako, tuyiga okukozesa obulungi ‘obusobozi bwaffe obw’okutegeera’ era kitusobozesa okufuna endowooza ya Yakuwa. (Abebbulaniya 5:14) Ekyo kitendeka omuntu waffe ow’omunda n’asobola okutuluŋŋamya obulungi ne tusigala mu kwagala kwa Katonda.

^ lup. 11 Abasawo bangi bagamba nti abantu abalina ekizibu ky’okunywa ennyo omwenge kibazibuwalira okwefuga. Era bagamba nti kiba kya magezi abantu ng’abo ne beewalira ddala omwenge.