Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 6

Engeri Gye Tuyinza Okulondamu eby’Okwesanyusaamu

Engeri Gye Tuyinza Okulondamu eby’Okwesanyusaamu

“Mukolenga ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.”​—1 ABAKKOLINSO 10:31.

1, 2. Lwaki tulina okwegendereza nga tulonda eby’okwesanyusaamu?

KIKI kye wandikoze singa oba ogenda okulya ekibala naye n’olaba nga kiriko awavundu? Wandimaze gakirya kyonna? Wandikisudde? Oba wandisazeeko awavundu n’olya awalamu?

2 Eby’okwesanyusaamu biyinza okugeraageranyizibwa ku kibala ekyo. Wadde ng’ebimu ku byo birungi, bingi ku byo bivundu kubanga birimu ebikolwa eby’obugwenyufu, eby’obukambwe, oba eby’obusamize. Bw’oba olondawo eby’okwesanyusaamu, osalawo okwesanyusaamu mu ngeri yonna nga tofuddeeyo kumanya obanga birungi oba bibi? Weewala eby’okwesanyusaamu byonna? Oba weegendereza n’olondawo ebirungi ne weewala ebibi?

3. Kiki kye tusaanidde okulowoozaako nga tulonda eby’okwesanyusaamu?

3 Ffenna twetaaga okwesanyusaamu, naye tulina okusalawo obulungi ku ngeri gye twesanyusaamu. N’olwekyo tulina okwebuuza: “Eby’okwesanyusaamu bye nnonda bikwata bitya ku nkolagana yange ne Yakuwa?”

“MUKOLENGA EBINTU BYONNA OLW’OKUWEESA KATONDA EKITIIBWA”

4. Musingi ki ogusobola okutuyamba nga tulonda eby’okwesanyusaamu?

4 Bwe twali twewaayo eri Yakuwa twamusuubiza nti tujja kukozesa obulamu bwaffe okumuweereza. (Soma Omubuulizi 5:4.) Tweyama nti tujja kukola “ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.” (1 Abakkolinso 10:31) N’olwekyo, tusaanidde okukijjukira nti ekiseera kyonna tuba baweereza ba Yakuwa, ka tube nga tuli mu nkuŋŋaana, nga tubuulira, nga tuwumuddemu, oba nga twesanyusaamu.

5. Kiki Yakuwa ky’atwetaagisa okusobola okusiima okusinza kwaffe?

5 Bye tukola mu bulamu biyinza okuleetera Yakuwa okusiima okusinza kwaffe oba obutakusiima. Kino tukirabira mu bigambo bya Pawulo bino: ‘Muweeyo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu, entukuvu, era esiimibwa Katonda.’ (Abaruumi 12:1) Yesu yagamba nti: “Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.” (Makko 12:30) Bulijjo tusaanidde okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi. Mu Isirayiri ey’edda, omuntu bwe yabanga awaayo ssaddaaka eri Yakuwa, yabanga alina okuwaayo ensolo ennamu obulungi. Singa ensolo eyo yabangako obulemu obw’engeri yonna oba ekizibu ekirala kyonna, Katonda teyagikkirizanga. (Eby’Abaleevi 22:18-20) Mu ngeri y’emu, naffe okusinza kwaffe kuyinza obutasiimibwa mu maaso ga Yakuwa. Mu ngeri ki?

6, 7. Engeri gye twesanyusaamu ekwata etya ku kusinza kwaffe?

6 Yakuwa atugamba nti: “Mubenga batukuvu, kubanga ndi mutukuvu.” (1 Peetero 1:14-16; 2 Peetero 3:11) Yakuwa tasobola kusiima kusinza kwaffe singa tekuba kutukuvu oba kuyonjo. (Ekyamateeka 15:21) Okusinza kwaffe tekusobola kuba kuyonjo singa twenyigira mu bintu Yakuwa by’akyawa, gamba ng’ebikolwa eby’obugwenyufu, eby’obukambwe, oba ebintu ebirina akakwate n’eby’obusamize. (Abaruumi 6:12-14; 8:13) Ate era Yakuwa tasobola kutusiima singa tulonda eby’okwesanyusaamu ebirimu ebintu ebyo. Bwe tulondawo eby’okwesanyusaamu ng’ebyo, okusinza kwaffe tekuba kulongoofu era Yakuwa aba takusiima. Mu butuufu ekyo kyonoona enkolagana yaffe naye.

7 Kati olwo tuyinza tutya okulonda eby’okwesanyusaamu ebisaana? Misingi ki eginaatuyamba okumanya obanga eby’okwesanyusaamu bye twagala okulondawo bisiimibwa mu maaso ga Katonda oba nedda?

KYAWA EKIBI

8, 9. Byakwesanyusaamu bya ngeri ki bye tulina okwewala, era lwaki?

8 Leero waliwo eby’okwesanyusaamu bingi. Ebimu ku byo si bibi naye ebisinga obungi bibi. Kati ka tusooke tulabe eby’okwesanyusaamu bye tusaanide okwewala.

9 Firimu nnyingi, emikutu gya Intaneeti, programu za ttivi, emizannyo gya kompyuta, n’ennyimba birimu ebintu eby’obugwenyufu, eby’obukambwe, oba eby’obusamize. Emirundi mingi ebintu ebibi biragibwa ng’ebitalina mutawaana oba ebisesa. Naye Abakristaayo balina okwewala eby’okwesanyusaamu byonna ebikontana n’emisingi gya Yakuwa egy’obutuukirivu. (Ebikolwa 15:28, 29; 1 Abakkolinso 6:9, 10) Bwe twewala eby’okwesanyusaamu ng’ebyo tuba tulaga nti tukyawa ekibi.​—Zabbuli 34:14; Abaruumi 12:9.

10. Bwe tulonda eby’okwesanyusaamu ebitasaana, biki ebiyinza okuvaamu?

10 Naye abantu abamu tebalaba kabi kali mu bya kwesanyusaamu ebirimu ebintu eby’obukambwe., eby’obugwenyufu, oba eby’obusamize Omuntu ayinza okugamba nti: ‘Kabi ki akabirimu? Nze mbiraba bulabi, sibikola.’ Bwe tulowooza tutyo tuba twerimba. Bayibuli egamba nti: “Omutima mukuusa okusinga ekintu ekirala kyonna era gwa kabi nnyo.” (Yeremiya 17:9) Bwe tulonda eby’okwesanyusaamu ebirimu ebintu Yakuwa by’akyawa, tuyinza tutya okugamba nti tukyawa ebintu ebibi? Bwe tweyongera okwesanyusaamu mu ngeri eyo, ekiseera kituuka ebintu ebyo ebibi ne tutandika okubitwala ng’ebitali bibi. N’ekivaamu, omuntu waffe ow’omunda anafuwa n’alekera awo okutulabula nga tugenda okusalawo mu ngeri enkyamu.​—Zabbuli 119:70; 1 Timoseewo 4:1, 2.

11. Abaggalatiya 6:7 watuyamba watya nga tulondawo eby’okwesanyusaamu?

11 Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Ekyo omuntu ky’asiga, era ky’alikungula.” (Abaggalatiya 6:7) Bwe tulonda eby’okwesanyusaamu ebirimu ebintu ebibi, ekiseera kiyinza okutuuka ne tutandika okukola ebintu ebyo. Ng’ekyokulabirako, abantu abamu abalondawo eby’okwesanyusaamu ebirimu ebintu eby’obugwenyufu bamala ne beenyigira mu bikolwa ebyo. Kyokka Yakuwa atuwa amagezi amalungi agatuyamba okulondawo eby’okwesanyusaamu ebisaana.

SALAWO NG’OSINZIIRA KU MISINGI GYA BAYIBULI

12. Kiki ekinaatuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi bwe kituuka ku by’okwesanyusaamu?

12 Eby’okwesanyusaamu ebimu birabikirawo mangu nti bibi, era tulina okubyewala. Naye watya singa tekiba kyangu kumanya obanga eby’okwesanyusaamu bibi? Yakuwa tatuteerawo lukalala lwa bintu bye tusaanidde kulaba, kuwuliriza, oba kusoma. Ayagala tusalewo nga tusinziira ku muntu waffe ow’omunda atendekeddwa Bayibuli. (Soma Abaggalatiya 6:5.) Yakuwa atuteereddewo emisingi egituyamba okutunuulira ebintu nga bw’abitunuulira. Emisingi egyo gituyamba okutendeka omuntu waffe ow’omunda. Gituyamba okumanya “Yakuwa ky’ayagala” ne kitusobozesa okusalawo mu ngeri emusanyusa.​—Abeefeso 5:17.

Emisingi gya Bayibuli gituyamba okulonda eby’okwesanyusaamu ebisaana

13. Lwaki Abakristaayo basalawo mu ngeri za njawulo bwe kituuka ku by’okwesanyusaamu? Naye balina kusinziira ku ki nga basalawo?

13 Emirundi mingi eby’okwesanyusaamu Abakristaayo bye balondawo biba byawukana. Lwaki? Kubanga tunyumirwa ebintu bya njawulo. Ate era omuntu omu ky’atwala ng’ekisaana omulala ayinza okukitwala ng’ekitasaana. Wadde kiri kityo, okusobola okusalawo obulungi, Abakristaayo bonna baba balina okusalawo nga basinziira ku misingi egiri mu Bayibuli. (Abafiripi 1:9) Emisingi egyo gituyamba okulondawo eby’okwesanyusaamu ebikkirizibwa mu maaso ga Katonda.​—Zabbuli 119:11, 129; 1 Peetero 2:16.

14. (a) Kiki kye tusaanidde okulowoozaako bwe kituuka ku biseera bye tumalira ku by’okwesanyusaamu? (b) Pawulo yabuulirira atya Abakristaayo?

14 Ate era tulina okulowooza ku biseera bye tumalira ku by’okwesanyusaamu. Ekyo kisobola okutuyamba okumanya obanga eby’okwesanyusaamu tubitadde mu kifo kya ku mwanjo mu bulamu bwaffe. Okuweereza Yakuwa kwe tulina okukulembeza mu bulamu bwaffe. (Soma Matayo 6:33.) Naye singa tetwegendereza, eby’okwesanyusaamu biyinza okutuliira ebiseera bingi. Pawulo yagamba Bakristaayo banne nti: “Mwegendereze nnyo engeri gye mutambulamu; temutambula ng’abatalina magezi naye ng’abalina amagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera byammwe.” (Abeefeso 5:15, 16) N’olwekyo tusaanidde okussa ekkomo ku biseera bye tumala nga twesanyusaamu. Bulijjo tusaanidde okukakasa nti okuweereza Yakuwa kwe tukulembeza mu bulamu bwaffe.​—Abafiripi 1:10.

15. Tuyinza tutya okwewalira ddala eby’okwesanyusaamu ebiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa?

15 Tulina okwewala eby’okwesanyusaamu ebitasanyusa Yakuwa. Naye watya singa tekiba kyangu kumanya obanga eby’okwesanyusaamu bye twagala okulondawo bisanyusa Yakuwa oba nedda? Tuba tukyetaaga okuba abeegendereza? Lowooza ku kino. Singa obadde otambulira ku lusozi oluseeteevu waggulu, wanditambudde n’otuukira ddala ku kalebwerebwe? Nedda. Obulamu bwo bw’oba nga ddala obutwala nga bwa muwendo, toyinza kugenda ku kalebwerebwe kubanga okimanyi nti kiba kya bulabe. Bwe kityo bwe kiri ne ku by’okwesanyusaamu bye tulondawo. Ekigambo kya Katonda kitugamba nti: “Ebigere byo biggye awali ebibi.” (Engero 4:25-27) N’olwekyo, tetukoma ku kwewala bya kwesanyusaamu bye tumanyi nti bibi, naye era twewala n’ebyo bye tulowooza nti biyinza okuba ebibi era nti biyinza okutuviirako okufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa.

OKUMANYA ENDOWOOZA YA YAKUWA

16. (a) Ebimu ku bintu Yakuwa by’akyawa bye biruwa? (b) Tukiraga tutya nti tukyawa ebyo Yakuwa by’akyawa?

16 Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Mmwe abaagala Yakuwa mukyawe ebibi.” (Zabbuli 97:10) Bayibuli etuyamba okumanya endowooza ya Yakuwa ku bintu ebitali bimu. N’olwekyo, bw’oba osoma Bayibuli fuba okulaba engeri ebyo by’osoma gye bikuyamba okumanya endowooza ya Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli eraga nti Yakuwa akyawa “olulimi olulimba, n’emikono egiyiwa omusaayi ogutaliiko musango, omutima ogugunja enkwe, ebigere ebidduka embiro okukola ebibi.” (Engero 6:16-19) Ate era eraga nti tulina okwewala “ebikolwa eby’obugwenyufu, . . . okusinza ebifaananyi, eby’obusamize, . . . obuggya, obusungu, . . . ensaalwa, obutamiivu, ebinyumu, n’ebiringa ebyo.” (Abaggalatiya 5:19-21) Olaba engeri emisingi gya Bayibuli egyo gye giyinza okukuyamba ng’olondawo eby’okwesanyusaamu? Tusaanidde okukolera ku misingi gya Bayibuli mu mbeera zonna ez’obulamu bwaffe, ka tube nga tuli ffekka oba nga tuli n’abantu abalala. (2 Abakkolinso 3:18) Mu butuufu, ebyo bye tukola nga tuli ffekka biraga ekyo kyennyini kye tuli.​—Zabbuli 11:4; 16:8.

17. Nga tetunnalondawo bya kwesanyusaamu, bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?

17 N’olwekyo, bw’oba tonnalondawo byakwesanyusaamu, sooka weebuuze nti: ‘Eby’okwesanyusaamu bino binaakwata bitya ku nkolagana yange ne Yakuwa? Binaakola ki ku muntu wange ow’omunda?’ Ka tulabeyo emisingi emirala egisobola okutuyamba nga tulonda eby’okwesanyusaamu.

18, 19. (a) Magezi ki Pawulo ge yawa Abakristaayo? (b) Misingi ki egisobola okutuyamba nga tulondawo eby’okwesanyusaamu?

18 Ebintu ebiba mu by’okwesanyusaamu bye tulondawo bye bijjula mu birowoozo byaffe. Pawulo yagamba nti: “Ebintu byonna ebituufu, ebikulu, ebituukirivu, ebirongoofu, ebyagalibwa, ebyogerwako obulungi, ebirungi, n’ebitenderezebwa, mweyongere okubirowoozangako.” (Abafiripi 4:8) Bwe tujjuza ebirowoozo byaffe ebintu ng’ebyo ebirungi, tuba tusobola okugamba nti: “Ebigambo by’akamwa kange n’okufumiitiriza kw’omutima gwange, ka bikusanyuse, Ai Yakuwa.”​—Zabbuli 19:14.

19 Weebuuze: ‘Biki bye nnyingiza mu birowoozo byange? Oluvannyuma lw’okulaba firimu oba programu emu ku ttivi, ebirowoozo byange biba bikyali birungi? Mba mpulira nga nkyalina omuntu ow’omunda omuyonjo? (Abeefeso 5:5; 1 Timoseewo 1:5, 19) Mba mpulira nga sitya kutuukirira Yakuwa mu kusaba? Oba mba mpulira bubi? Eby’okwesanyusaamu ebyo bindeetedde okulowooza ku bintu eby’obukambwe oba eby’obugwenyufu? (Matayo 12:33; Makko 7:20-23) Eby’okwesanyusaamu bye nnonda biraga nti ‘ntwalirizibwa enteekateeka y’ebintu eno’?’ (Abaruumi 12:2) Bwe tuddamu mu bwesimbu ebibuuzo ebyo, kisobola okutuyamba okumanya enkyukakyuka ze twetaaga okukola okusobola okusanyusa Yakuwa. Twagala okuba ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Wunjula amaaso gange galeme kutunuulira bitagasa.” *​—Zabbuli 119:37.

EBYO BYE TUSALAWO BIKWATA NE KU BALALA

20, 21. Lwaki tusaanidde okufaayo ku nneewulira z’abalala nga tulonda eby’okwesanyusaamu?

20 Omusingi omulala ogusobola okutuyamba gwe guno: “Ebintu byonna bikkirizibwa, naye si byonna nti bizimba. Buli muntu alemenga kunoonya bimugasa yekka, naye anoonye ebigasa abalala.” (1 Abakkolinso 10:23, 24) Okuba nti tulina eddembe okukola ekintu tekitegeeza nti tulina okukikola. Tusaanidde okulowooza ne ku ngeri ebyo bye tusalawo gye bikwata ku bakkiriza bannaffe.

21 Omuntu waffe ow’omunda ayinza obutafaanana na wa balala. Ng’ekyokulabirako, omuntu wo ow’omunda ayinza okukukkiriza okulaba programu emu ku ttivi. Naye ate omuntu ow’omunda owa mukkiriza munno ayinza okuba nga tamukkiriza kulaba programu eyo. Kiki kye wandikoze mu mbeera ng’eyo? Wadde ng’oli wa ddembe okulaba programu eyo, oyinza okusalawo obutagiraba. Lwaki? Kubanga oba toyagala ‘kukola kibi ku muganda wo’ oba ‘okwonoona eri Kristo.’ (1 Abakkolinso 8:12) Tusaanidde okwewala okukola ekintu kyonna ekyesitazza bakkiriza bannaffe.​—Abaruumi 14:1; 15:1; 1 Abakkolinso 10:32.

22. Tuyinza tutya okulaga nti tetuli bakakanyavu nga baganda baffe basazeewo mu ngeri eyawukana ku yaffe?

22 Ku luuyi olulala, watya singa omuntu wo ow’omunda takukkiriza kulaba, kusoma, oba kukola ekintu ekimu, ate ng’omuntu ow’omunda ow’omulala ye amukkiriza? Olw’okuba oyagala muganda wo, tojja kumukaka kusalawo nga ggwe. Omuntu bw’aba avuga emmotoka aba akimanyi nti abalala basobola okuvugira ku sipiidi eya waggulu oba entono ku yiye naye nga bonna bavuzi balungi. Mu ngeri y’emu, ggwe ne muganda wo muyinza okuba nga musazeewo mu ngeri ya njawulo ku by’okwesanyusaamu naye nga mwembi mugoberedde emisingi gya Bayibuli.​—Omubuulizi 7:16; Abafiripi 4:5.

23. Kiki ekinaatuyamba okulonda obulungi eby’okwesanyusaamu?

23 Kati olwo tuyinza tutya okulonda obulungi eby’okwesanyusaamu? Bwe tukozesa omuntu waffe ow’omunda atendekeddwa Bayibuli era ne tufaayo ku nneewulira za bakkiriza bannaffe, tujja kusobola okulonda eby’okwesanyusaamu mu ngeri ey’amagezi. Era tujja kufuna essanyu olw’okukola “ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.”

^ lup. 19 Bwe tuba tulonda eby’okwesanyusaamu, tuyinza n’okulowooza ku misingi egiri mu byawandiikibwa bino: Engero 3:31; 13:20; Abeefeso 5:3, 4; ne Abakkolosaayi 3:5, 8, 20.