Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 1

Okwagala kwa Katonda kwa Lubeerera

Okwagala kwa Katonda kwa Lubeerera

“Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye era ebiragiro bye tebizitowa.”​—1 YOKAANA 5:3.

1, 2. Lwaki oyagala Yakuwa Katonda?

OYAGALA Katonda? Oyinza okuba ng’omwagala nnyo era nga wamala okwewaayo gy’ali. Oyinza okuba nga muli owulira nti ye mukwano gwo asingayo. Naye ne bwe wali nga tonnatandika kwagala Yakuwa, ye yali akwagala. Bayibuli egamba nti: “Ffe tulina okwagala kubanga ye yasooka okutwagala.”​—1 Yokaana 4:19.

2 Lowooza ku ngeri Yakuwa gy’atulazeemu okwagala. Yatuwa ensi erabika obulungi ennyo na buli kimu kye twetaaga tusobole okunyumirwa obulamu. (Matayo 5:43-48; Okubikkulirwa 4:11) Ayagala tubeere n’enkolagana ennungi naye, era atuyambye okumanya ebimukwatako. Bwe tusoma Bayibuli tuba tuwuliriza Yakuwa, ate bwe tusaba, aba atuwuliriza. (Zabbuli 65:2) Atuwa obulagirizi era atuwa amaanyi ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu. (Lukka 11:13) Ate era yatuma n’Omwana we omwagalwa ennyo ku nsi okutununula okuva mu kibi n’okufa.​—Soma Yokaana 3:16; Abaruumi 5:8.

3. Tuyinza tutya okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa?

3 Lowooza ku mukwano gwo nfiirabulago, oyo akunywereddeko mu mbeera zonna. Kyetaagisa okufuba okusobola okukuuma omukwano gwammwe nga munywevu. Bwe kityo bwe kiri ne ku mukwano gwe tulina ne Yakuwa, mukwano gwaffe asingayo. Omukwano gwe tulina ne Yakuwa gusobola okubeera ogw’olubeerera. N’olwekyo Bayibuli etugamba nti: “Mwekuumirenga mu kwagala kwa Katonda.” (Yuda 21) Ekyo tuyinza kukikola tutya? Bayibuli egamba nti: “Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye era ebiragiro bye tebizitowa.”​—1 Yokaana 5:3.

KITEGEEZA KI OKWAGALA KATONDA?

4, 5. Okwagala kw’olina eri Yakuwa kwatandika kutya?

4 Weetegereze nti omutume Yokaana yatandika n’ebigambo bino: “Okwagala Katonda kitegeeza.” Mu kitundu kino tugenda kulaba kye kitegeeza okwagala Katonda. Naye ng’ekyo tetunnakiraba, sooka olowooze ku ngeri gye watandikamu okwagala Yakuwa.

Bwe weewaayo eri Yakuwa era n’obatizibwa kiba kiraga nti omwagala era nti oyagala okumugondera emirembe gyonna

5 Jjukira engeri gye wawuliramu bwe wasooka okukimanya nti Yakuwa ayagala obeerewo emirembe gyonna mu nsi empya. Wakitegeera nti Yakuwa akoze enteekateeka ezinaasobozesa ekyo okubaawo era wayiga ku kirabo eky’omuwendo kye yatuwa, bwe yatuma Omwana we ku nsi. (Matayo 20:28; Yokaana 8:29; Abaruumi 5:12, 18) Bwe wategeera engeri Yakuwa gye yakulagamu okwagala kyakukwatako nnyo, era naawe n’otandika okumwagala.​—Soma 1 Yokaana 4:9, 10.

6. Okwagala omuntu kizingiramu ki? Okwagala kw’olina eri Katonda kwakuleetera kukola ki?

6 Kyokka awo wali otandika butandisi okwagala Katonda. Bw’oba oyagala omuntu, tokoma ku kumugamba bugambi nti “nkwagala.” Okwagala kw’oba nakwo eri omuntu oyo kukuleetera okukola ebintu ebimusanyusa. Mu ngeri y’emu, okwagala kw’olina eri Yakuwa kwakuleetera okwagala okukola ebintu ebimusanyusa. Okwagala kw’olina eri Yakuwa bwe kweyongera okukula, kwakuleetera okwewaayo gy’ali era n’obatizibwa. Bwe kityo, wasuubiza Yakuwa nti ojja kumuweereza emirembe gyonna. (Soma Abaruumi 14:7, 8.) Oyinza otya okunywerera ku ekyo kye wasuubiza Yakuwa?

“OKUKWATA EBIRAGIRO BYE”

7. Bwe tuba nga twagala Yakuwa, kiki kye tulina okukola? Ebimu ku biragiro bya Katonda bye biruwa?

7 Olw’okuba twagala Yakuwa, ‘tukwata ebiragiro bye.’ Ekyo tukikola tutya? Nga tumugondera. Bwe tusoma Bayibuli tumanya engeri Yakuwa gy’ayagala tweyiseemu. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa atugamba nti kikyamu okutamiira, okubba, okulimba, okwegatta n’omuntu atali munnaffe mu bufumbo, oba okusinza ekintu oba omuntu omulala yenna.​—1 Abakkolinso 5:11; 6:18; 10:14; Abeefeso 4:28; Abakkolosaayi 3:9.

8, 9. Bwe twolekagana n’embeera etayogerwako butereevu mu Bayibuli tuyinza tutya okumanya Yakuwa ky’ayagala? Waayo ekyokulabirako.

8 Naye okusobola okusanyusa Yakuwa tetulina kukoma bukomi ku kukwata biragiro bye. Teyatuwa lukalala lwa mateeka agakwata ku buli mbeera yonna gye tuyinza okwolekagana nayo mu bulamu. N’olwekyo, oluusi tuyinza okwolekagana n’embeera nga tewaliiwo tteeka mu Bayibuli ligyogerako butereevu. Mu mbeera ng’eyo tuyinza tutya okusalawo mu ngeri ey’amagezi? (Abeefeso 5:17) Bayibuli erimu emisingi egituyamba okumanya endowooza ya Yakuwa. Bwe tugisoma etuyamba okutegeera obulungi Yakuwa. Etuyamba okumanya by’ayagala ne by’atayagala.​—Soma Zabbuli 97:10; Engero 6:16-19; laba Ebyongerezeddwako 1.

9 Ng’ekyokulabirako, tuyinza tutya okusalawo ebyo bye tusaanidde okulaba ku tiivi oba ku Intaneeti? Yakuwa tatubuulira butereevu kye tusaanidde kukola, naye emisingi egiri mu Kigambo kye gituyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Eby’okwesanyusaamu ebisinga obungi leero birimu ebikolwa eby’obukambwe n’eby’obugwenyufu. Bayibuli egamba nti Yakuwa “akyawa omuntu yenna ayagala ebikolwa eby’obukambwe” era nti “abagwenyufu ajja kubasalira omusango.” (Zabbuli 11:5; Abebbulaniya 13:4) Emisingi egyo giyinza gitya okutuyamba okusalawo obulungi? Bwe tumanya nti ekintu Yakuwa takyagala oba nti kirimu eby’obugwenyufu, tusaanidde okukyewala.

10, 11. Lwaki tugondera Yakuwa?

10 Lwaki tugondera Yakuwa? Tetumugondera olw’okuba tutya okubonerezebwa oba okufuna ebizibu ebiva mu kusalawo obubi. (Abaggalatiya 6:7) Tugondera Yakuwa olw’okuba tumwagala. Okufaananako abaana abaagala okusanyusa kitaabwe, naffe twagala okusanyusa Kitaffe ow’omu ggulu. Tufuna essanyu lingi bwe tukimanya nti Yakuwa asiima ebyo bye tukola.​—Zabbuli 5:12; Engero 12:2; laba Ebyongerezeddwako 2.

11 Tetugondera Yakuwa olwo lwokka lwe kitubeerera ekyangu oba lwe tuba nga tuwulira nti tetulina kirala kya kukola. Ate era tetulondawo mateeka ga Yakuwa ge twagala kugondera na ge tutaagala kugondera. (Ekyamateeka 12:32) Mu kifo ky’ekyo tugondera amateeka ge gonna. Tulina endowooza y’emu ng’ey’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba nti: “Nsanyukira ebiragiro byo, mazima mbyagala nnyo.” (Zabbuli 119:47; Abaruumi 6:17) Twagala okuba nga Nuuwa eyakyoleka nti ayagala Yakuwa, bwe yakola buli kimu Yakuwa kye yamulagira. Bayibuli egamba nti Nuuwa “yakolera ddala bw’atyo.” (Olubereberye 6:22) Naawe oyagala Yakuwa akwogereko bw’atyo?

12. Tuyinza tutya okusanyusa Yakuwa?

12 Yakuwa awulira atya bwe tumugondera? Asanyuka nnyo. (Engero 11:20; 27:11) Nga nkizo ya maanyi nnyo okusanyusa Oyo eyatonda ebintu byonna! Kyokka Yakuwa tatuwaliriza kumugondera. Yatuwa eddembe ery’okwesalirawo. Ekyo kitegeeza nti tulina eddembe okusalawo okukola ekituufu oba ekikyamu. Yakuwa ayagala okwagala kwe tulina gy’ali kutuleetere okusalawo mu ngeri ey’amagezi tusobole okuba abasanyufu.​—Ekyamateeka 30:15, 16, 19, 20; laba Ebyongerezeddwako 3.

“EBIRAGIRO BYE TEBIZITOWA”

13, 14. Lwaki tuyinza okugamba nti ebiragiro bya Katonda si bizibu kugondera? Waayo ekyokulabirako.

13 Watya singa tuwulira nti ebiragiro bya Yakuwa si byangu kukwata oba nti bitumalako eddembe? Bayibuli egamba nti: “Ebiragiro bye tebizitowa.” (1 Yokaana 5:3) Mu byawandiikibwa ebirala, ekigambo ‘okuzitowa’ kikozesebwa ku mateeka aganyigiriza abantu oba kikozesebwa ku bantu abakajjala ku balala era abakola ebibalumya. (Matayo 23:4; Ebikolwa 20:29, 30) Enkyusa ya Bayibuli eyitibwa New English Translation, egamba nti: “Ebiragiro bye tebitumenya.” Ebiragiro bya Yakuwa ‘tebizitowa,’ kwe kugamba, si bizibu kugondera. Yakuwa by’atugamba okukola tusobola okubikola.

14 Ng’ekyokulabirako, watya singa ogenda okuyambako mukwano gwo okusenguka era n’osanga ng’amaze okupakira ebintu bye mu bbookisi ez’enjawulo. Ezimu ku bbookisi ezo ziwewuka era nnyangu okusitula, ate endala zizitowa nnyo era nga kyetaagisa abantu babiri okuzisitula. Mukwano gwo oyo ayinza okukugamba okusitula wekka bbookisi enzito ennyo? Nedda! Lwaki? Kubanga aba tayagala bikumenye. Mu ngeri y’emu, Yakuwa naye tasobola kutugamba kukola kintu kye tutasobola kukola. (Ekyamateeka 30:11-14) Yakuwa atumanyi bulungi. “Amanyi bulungi bwe twakolebwa, ajjukira nti tuli nfuufu.”​—Zabbuli 103:14.

15. Lwaki tuli bakakafu nti ebiragiro bya Yakuwa biriwo ku lwa bulungi bwaffe?

15 Musa yagamba Abayisirayiri nti ebiragiro Yakuwa bye yali abawadde byaliwo ku ‘lwa bulungi bwabwe,’ era nti bwe bandibigondedde ‘bandibadde balamu.’ (Ekyamateeka 5:28-33; 6:24) Bwe kityo bwe kiri ne leero. Ebintu byonna Yakuwa by’atugamba okukola biganyula ffe. (Soma Isaaya 48:17.) Kitaffe, Yakuwa, amanyi ebyo bye twetaaga okusobola okuba n’obulamu obusingayo obulungi. (Abaruumi 11:33) Bayibuli egamba nti: “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Ekyo kiraga nti buli kimu Yakuwa ky’ayogera oba ky’akola kyoleka okwagala.

16. Lwaki tusobola okugondera Katonda wadde nga tetutuukiridde era nga tuli mu nsi efugibwa Sitaani?

16 Oluusi tekiba kyangu kugondera Katonda olw’okuba tuli mu nsi efugibwa Sitaani. Sitaani aleetera abantu okukola ebintu ebibi. (1 Yokaana 5:19) Ate era tufuna okwegomba okubi n’ebirowoozo ebibi ebisobola okutuleetera okujeemera Katonda. (Abaruumi 7:21-25) Naye olw’okuba twagala Yakuwa, tufuba okukola ekituufu. Yakuwa alaba okufuba kwaffe, era atuwa omwoyo gwe omutukuvu okutuyamba. (1 Samwiri 15:22, 23; Ebikolwa 5:32) Omwoyo omutukuvu gutuyamba okwoleka engeri ezikifuula ekyangu gye tuli okugondera Yakuwa.​—Abaggalatiya 5:22, 23.

17, 18. (a) Kiki kye tugenda okulaba mu katabo kano? (b) Kiki kye tujja okulaba mu ssuula eddako?

17 Mu katabo kano tugenda kulaba engeri gye tusobola okusanyusa Yakuwa. Tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukolera ku misingi gya Bayibuli mu bulamu bwaffe. Yakuwa tatukaka kumugondera. Bwe tusalawo okumugondera, obulamu bwaffe buba bulungi era n’ebiseera byaffe eby’omu maaso bijja kuba birungi. N’ekisinga obukulu, bwe tugondera Yakuwa kiba kiraga nti tumwagala.​—Laba Ebyongerezeddwako 4.

18 Okusobola okutuyamba okumanya ekituufu n’ekikyamu, Yakuwa yatuwa omuntu ow’omunda. Bwe tutendeka omuntu waffe ow’omunda, kituyamba ‘okukwata ebiragiro bya Katonda.’ Omuntu ow’omunda kye ki, era tuyinza tutya okumutendeka? Essuula eddako eddamu ekibuuzo ekyo.