Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 8

Yakuwa Ayagala Abantu Be Babe Bayonjo

Yakuwa Ayagala Abantu Be Babe Bayonjo

“Eri omulongoofu olaga nti oli mulongoofu.”​—ZABBULI 18:26.

1-3. (a) Lwaki maama afuba okulaba nti katabani ke kaba kayonjo? (b) Lwaki Yakuwa ayagala abantu be okuba abayonjo?

LOWOOZA ku maama ategeka katabani ke okugenda ku ssomero. Akakasa nti omwana oyo anaabye era nti engoye z’agenda okwambala nnyonjo era zirabika bulungi. Ekyo kiyamba omwana oyo okuba omulamu obulungi era n’abalala baba bakiraba nti bazadde be bamufaako.

2 Kitaffe Yakuwa ayagala tube bayonjo. (Zabbuli 18:26) Akimanyi nti bwe tuba abayonjo kituganyula. Ate era bwe tuba abayonjo tumuweesa ekitiibwa.​—Ezeekyeri 36:22; soma 1 Peetero 2:12.

3 Biki ebizingirwa mu kuba abayonjo, era bwe tuba abayonjo kituganyula kitya? Nga twetegereza eby’okuddamu mu bibuuzo bino, oyinza okulaba wa we weetaaga okulongoosaamu.

LWAKI TULINA OKUBA ABAYONJO?

4, 5. (a) Lwaki tulina okuba abayonjo? (b) Obutonde butuyigiriza ki ku ndowooza Yakuwa gy’alina ku buyonjo?

4 Yakuwa Katonda waffe muyonjo. (Eby’Abaleevi 11:44, 45) Ensonga esinga obukulu lwaki tulina okuba abayonjo eri nti twagala ‘okukoppa Katonda.’​—Abeefeso 5:1.

5 Obutonde butuyamba okumanya endowooza Yakuwa gy’alina ku buyonjo. Yakuwa yassaawo enkola ezitali zimu ezisobozesa empewo n’amazzi okulongoosebwa. (Yeremiya 10:12) Lowooza ku ngeri ezitali zimu ensi gye yeerongoosaamu wadde ng’abantu bakoze ebintu bingi okugyonoona. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yatonda obuwuka obusirikitu era ng’omuntu okubulaba aba alina kukozesa kyuma ekizimbulukusa. Obuwuka obwo busobola okukyusa ekintu eky’obutwa ne kiba nga tekikyali kya butwa. Ekyo kyewuunyisa. Bannassaayansi bakozesa obumu ku buwuka obwo okuzza obuggya ebintu ebimu abantu bye baba boonoonye.​—Abaruumi 1:20.

6, 7. Amateeka ga Musa gaalaga gatya nti abaweereza ba Yakuwa balina okuba abayonjo?

6 Ate era Amateeka Yakuwa ge yawa Abayisirayiri galaga nti obuyonjo abutwala nga kintu kikulu nnyo. Ng’ekyokulabirako, abantu baalinanga okuba abayonjo mu mubiri Yakuwa okusobola okusiima okusinza kwabwe. Ku Lunaku Olw’Okutangirirako Ebibi, kabona asinga obukulu yalinanga okunaaba emirundi ebiri. (Eby’Abaleevi 16:4, 23, 24) Ne bakabona abalala baalinanga okusooka okunaaba engalo n’ebigere ne balyoka bawaayo ssaddaaka. (Okuva 30:17-21; 2 Ebyomumirembe 4:6) Mu mbeera ezimu, omuntu bwe yamenyanga etteeka erikwata ku buyonjo, yattibwanga.​—Eby’Abaleevi 15:31; Okubala 19:17-20.

7 Kiki kye tuyigira ku Mateeka ga Musa? (Malaki 3:6) Amateeka ago gaakyoleka bulungi nti abaweereza ba Yakuwa balina okuba abayonjo. Emitindo gya Yakuwa tegikyukanga. Ne leero Yakuwa ayagala abaweereza be babe bayonjo.​—Yakobo 1:27.

BIKI EBIZINGIRWA MU KUBA ABAYONJO?

8. Biki ebizingirwa mu kuba abayonjo?

8 Mu maaso ga Yakuwa, okuba abayonjo tekikoma ku kukuuma mibiri gyaffe, ngoye zaffe, na maka gaffe nga biyonjo. Okuba abayonjo kizingiramu embeera zonna ez’obulamu bwaffe. Kizingiramu engeri gye tusinzaamu, engeri gye tweyisaamu, n’ebirowoozo byaffe. Okusobola okuba abayonjo mu maaso ga Yakuwa, tulina okuba abayonjo mu mbeera zonna ez’obulamu bwaffe.

9, 10. Tuyinza tutya okukuuma okusinza kwaffe nga kuyonjo?

9 Okusinza okulongoofu. Tetulina kuba na kakwate konna na kusinza okw’obulimba. Abayisirayiri bwe baali mu Babulooni, baali beetooloddwa abantu abaali basinza bakatonda ab’obulimba era abaali abagwenyufu. Isaaya yalagula nti ekiseera kyandituuse Abayisirayiri ne baddayo mu nsi yaabwe ne bazzaawo okusinza okulongoofu. Yakuwa yagamba Abayisirayiri nti: “Mufulume, temukwata ku kintu kyonna kitali kirongoofu! Mukifulumemu, mwekuume nga muli balongoofu.” Baalina okwewala okugattika okusinza okw’amazima n’enjigiriza, ebikolwa, n’obulombolombo eby’okusinza okw’obulimba okwali mu Babulooni.​—Isaaya 52:11.

10 Ne leero Abakristaayo ab’amazima balina okwewala okusinza okw’obulimba. (Soma 1 Abakkolinso 10:21.) Okwetooloola ensi, waliwo obulombolombo n’enjigiriza nnyingi ebisibuka mu madiini ag’obulimba. Ng’ekyokulabirako, mu bitundu bingi eby’ensi, abantu bakkiriza nti omuntu bw’afa, waliwo ekintu ekimuvaamu ne kisigala nga kiramu, era bakola obulombolombo bungi obwesigamiziddwa ku njigiriza eyo. (Omubuulizi 9:5, 6, 10) Abakristaayo balina okwewala obulombolombo ng’obwo. Ab’eŋŋanda zaffe bayinza okwagala twenyigire mu bulombolombo obwo. Naye olw’okuba twagala okuba abayonjo mu maaso ga Yakuwa, tetubwenyigiramu.​—Ebikolwa 5:29.

11. Kitegeeza ki okuba abayonjo mu mpisa?

11 Empisa ennongoofu. Okusobola okuba abalongoofu mu maaso ga Yakuwa, tulina okwewala ebikolwa byonna eby’obugwenyufu. (Soma Abeefeso 5:5.) Mu Bayibuli, Yakuwa atugamba nti: “Muddukenga ebikolwa eby’obugwenyufu.” Bayibuli ekyoleka kaati nti abantu abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu era ne bateenenya “tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda.”​—1 Abakkolinso 6:9, 10, 18; laba Ebyongerezeddwako 22.

12, 13. Lwaki tulina okufuba okuba abayonjo mu birowoozo?

12 Ebirowoozo ebirongoofu. Emirundi mingi ebintu bye tukola bisinziira ku kye tuba tulowooza. (Matayo 5:28; 15:18, 19) Ebirowoozo byaffe bwe biba ebirongoofu, tuba tusobola okweyisa mu ngeri ennungi. Kyokka olw’okuba tetutuukiridde, emirundi egimu tufuna ebirowoozo ebibi. Bwe tufuna ebirowoozo ng’ebyo tusaanidde okubyeggyamu mu bwangu. Ekyo bwe tutakikola, ekiseera bwe kigenda kiyitawo omutima gwaffe gwonooneka. Tuyinza okutandika okwagala okukola ebintu ebibi bye tulowoozaako. N’olwekyo, tusaanidde okufuba okulowoozanga ku bintu ebirongoofu. (Soma Abafiripi 4:8.) Ekyo kitegeeza nti tulina okwewala ebintu, gamba ng’eby’okwesanyusaamu ebirimu eby’obugwenyufu oba ebirimu ebikolwa eby’obukambwe. Tusaanidde okwegendereza bye tusoma, bye tulaba, ne bye twogerako.​—Zabbuli 19:8, 9.

13 Okusobola okusigala mu kwagala kwa Katonda, tulina okuba mu kusinza okulongoofu, okuba n’empisa ennongoofu, n’okuba n’ebirowoozo ebirongoofu. Kyokka era Yakuwa ayagala tube bayonjo mu mubiri.

TUYINZA TUTYA OKUBA ABAYONJO MU MUBIRI?

14. Lwaki tulina okukuuma emibiri gyaffe nga miyonjo awamu n’ebifo we tubeera?

14 Bwe tukuuma emibiri gyaffe nga miyonjo awamu n’ebifo we tubeera, kituganyula era kiganyula n’abalala. Kituleetera okuwulira obulungi era abalala baba baagala okubeera we tuli. Naye waliwo n’ensonga endala enkulu ennyo etwetaagisa okuba abayonjo. Bwe tuba abayonjo kiweesa Yakuwa ekitiibwa. Lowooza ku kino: Singa omwana buli kiseera aba mucaafu, kireetera abantu okufuna ekifaananyi ekibi ku bazadde be. Mu ngeri y’emu, bwe tuba abacaafu, abantu bafuna ekifaananyi ekibi ku Yakuwa. Pawulo yagamba nti: “Tetwagala kukola kintu kyonna kyesittaza, obuweereza bwaffe buleme okuvumirirwa; naye mu byonna tukiraga nti tuli baweereza ba Katonda.”​—2 Abakkolinso 6:3, 4.

Abantu ba Yakuwa balina okuba abayonjo era balina okukuuma ebintu byabwe nga biyonjo

15, 16. Biki bye tulina okukola okusigala nga tuli bayonjo?

15 Emibiri gyaffe n’engoye zaffe. Obuyonjo busaanidde okuba ekitundu ky’obulamu bwaffe. Ng’ekyokulabirako, tusaanidde okunaaba mu ngalo buli lunaku. Tusaanidde okunaaba mu ngalo ne ssabbuuni nga tugenda okufumba, okulya, oba oluvannyuma lw’okukozesa kaabuyonjo oba okukwata ku kintu ekicaafu. Okunaaba mu ngalo kirabika ng’ekintu ekitono naye kikola kinene mu kuziyiza endwadde okusaasaana. Kisobola n’okutaasa obulamu bwaffe oba obw’abalala. Bwe kiba nti temulina kaabuyonjo, musobola okufunayo engeri endala ennungi ey’okwewala okumansa obubi. Abayisirayiri bwe baali batambula mu ddungu tebaalina kaabuyonjo, era baaziikanga obubi mu ttaka mu kifo ekyabanga ewala ne we baasiisiranga, era ekyabanga ewala ne we baggyanga amazzi.​—Ekyamateeka 23:12, 13.

16 Engoye zaffe tezeetaaga kuba za bbeeyi oba ezisingayo okuba ez’omulembe. Naye zirina okuba ennyonjo era nga ziri mu mbeera nnungi. (Soma 1 Timoseewo 2:9, 10.) Bulijjo twagala endabika yaffe ebe ng’eweesa Yakuwa ekitiibwa.​—Tito 2:10.

17. Lwaki tusaanidde okukuuma amaka gaffe n’ebintu bye tukozesa nga biyonjo?

17 Amaka gaffe n’ebintu bye tukozesa. Ka tube nga tubeera mu kitundu ki, tulina okukuuma amaka gaffe nga mayonjo. Ate era tulina okukakasa nti emmotoka zaffe, ppikipiki, eggaali, oba ekidduka ekirala kyonna kiyonjo, naddala bwe tuba nga tukikozesa okugenda mu nkuŋŋaana oba okugenda okubuulira. Kubanga ne bwe tuba tubuulira tutegeeza abantu ku nsi empya ennyonjo egenda okujja. (Lukka 23:43; Okubikkulirwa 11:18) Endabika y’awaka waffe n’ebintu bye tukozesa esaanidde okulaga nti tweteekerateekera okuba mu nsi empya ennyonjo.

18. Lwaki tusaanidde okukuuma ebifo mwe tusinziza nga biyonjo?

18 Ekifo mwe tusinziza. Tukiraga nti obuyonjo tubutwala nga kikulu nga tufuba okuyonja ebifo bye tusinzizaamu, ka bibe Bizimbe by’Obwakabaka oba ebizimbe ebituuza enkuŋŋaana ennene. Abantu bwe bajja ku bizimbe byaffe eby’Obwakabaka, emirundi mingi bakiraba nti biyonjo. Ekyo kiweesa Yakuwa ekitiibwa. Ffenna mu kibiina tulina enkizo ey’okwenyigira mu kuyonja Ekizimbe ky’Obwakabaka n’okukikuuma nga kiri mu mbeera nnungi.​—2 Ebyomumirembe 34:10.

WEGGYEEKO EMIZE EMIBI

19. Biki bye tulina okwewala?

19 Wadde nga Bayibuli temenya buli muze mubi gwe tulina okwewala, erimu emisingi egituyamba okutegeera endowooza Yakuwa gy’alina ku mize egyo. Yakuwa tayagala tunywe ssigala, tukozese bubi mwenge, oba tukozese ebiragalalagala. Bwe tuba nga ddala tuli mikwano gya Katonda, tujja kwewala ebintu ebyo. Lwaki? Kubanga tukimanyi nti obulamu kirabo kya muwendo nnyo. Ebintu ng’ebyo bwe tubikozesa bikendeeza ku bulamu bwaffe, bikosa emibiri gyaffe, era bikosa n’abo ababa batwetoolodde. Abantu bangi bafuba okweggyako emize egyo olw’okuba bakimanyi nti gikosa obulamu bwabwe. Naye ffe abaweereza ba Yakuwa tulina n’ensonga endala enkulu ennyo etukubiriza okwewala emize egyo. Tugyewala kubanga twagala Katonda. Omukazi omu yagamba nti: “Yakuwa yannyamba okweggyako emize emibi. . . . Nze ku lwange sandisobodde kweggyako mize egyo.” Kati ka tulabe emisingi gya Bayibuli etaano egisobola okuyamba omuntu okweggyako emize emibi.

20, 21. Mize ki Yakuwa gy’ayagala twewale?

20 “Okuva bwe tulina ebisuubizo bino, ka twenaazeeko byonna ebyonoona omubiri n’omwoyo, obutukuvu bwaffe butuukirire mu kutya Katonda.” (2 Abakkolinso 7:1) Yakuwa ayagala twewale emize emibi egiyinza okwonoona emibiri byaffe n’ebirowoozo byaffe.

21 Emu ku nsonga lwaki tulina ‘okwenaazaako byonna ebyonoona omubiri’ eragibwa mu 2 Abakkolinso 6:17, 18. Yakuwa atugamba nti: “Mulekere awo okukwata ku kitali kirongoofu.” Era ekyo bwe tukikola atusuubiza nti: “Nange nnaabasembeza. Nnaabeera kitammwe, era nammwe munaabeera baana bange ab’obulenzi n’ab’obuwala.” Yakuwa ajja kutwagala nga taata bw’ayagala abaana be singa twewala ekintu kyonna ekiyinza okutufuula abatali bayonjo oba abatali balongoofu mu maaso ge.

22-25. Misingi ki egy’omu Bayibuli egisobola okutuyamba okwewala emize emibi?

22 “Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.” (Matayo 22:37) Lino lye tteeka erisingayo obukulu. (Matayo 22:38) Tulina okwagala ennyo Yakuwa. Tetuyinza kugamba nti twagala Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, n’obulamu bwaffe bwonna, n’amagezi gaffe gonna, bwe tuba nga tukola ebintu ebikendeeza ku bulamu bwaffe oba ebikosa obwongo bwaffe. Tusaanidde okukola kyonna ekisoboka okulaga nti obulamu tubutwala nga bwa muwendo nnyo.

23 “[Yakuwa] y’awa abantu bonna obulamu, omukka gwe bassa, n’ebintu byonna.” (Ebikolwa 17:24, 25) Singa mukwano gwo akuwa ekirabo eky’omuwendo, wandikisudde oba wandikijaajaamizza? Obulamu kirabo kya muwendo nnyo okuva eri Yakuwa. Tusiima nnyo ekirabo ekyo. N’olwekyo, tusaanidde okukozesa obulamu bwaffe mu ngeri eweesa Yakuwa ekitiibwa.​—Zabbuli 36:9.

24 “Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala.” (Matayo 22:39) Emize emibi tegikosa ffe ffekka, naye gikosa n’abantu be tubeera nabo era ng’emirundi mingi bano be bantu be tusinga okwagala. Ng’ekyokulabirako, omuntu abeera mu nju y’emu n’omunywi wa ssigala ayinza okufuna obulwadde obw’amaanyi obuva mu kusika omukka gwa ssigala. Bwe tweggyako emize emibi, tuba tulaga nti twagala abantu be tubeera nabo.​—1 Yokaana 4:20, 21.

25 “Weeyongere okubajjukiza okugondera n’okuwulira abafuzi n’ab’obuyinza.” (Tito 3:1) Mu nsi nnyingi kimenya mateeka okubeera n’ebiragalalagala oba okubikozesa. Okuva bwe kiri nti Yakuwa atulagira okugondera ab’obuyinza, tukwata amateeka ng’ago.​—Abaruumi 13:1.

Bwe tuba abayonjo era abalongoofu, tuweesa Yakuwa ekitiibwa

26. (a) Kiki kye tusaanidde okukola Yakuwa okusobola okusiima okusinza kwaffe? (b) Lwaki okuba abayonjo mu maaso ga Katonda kya muganyulo nnyo?

26 Bwe tuba nga twagala okubeera mikwano gya Yakuwa, tujja kukola enkyukakyuka ezeetaagisa. Bwe wabaawo enkyukakyuka ze twetaaga okukola, tusaanidde okuzikola mu bwangu. Tekitera kuba kyangu kweggyako mize mibi, naye tusobola okugyeggyako! Yakuwa asuubiza okutuyamba. Agamba nti: “Nze Yakuwa, nze Katonda wo, akuyigiriza osobole okuganyulwa, akukulembera mu kkubo ly’osaanidde okukwata.” (Isaaya 48:17) Bwe tufuba okuba abayonjo era abalongoofu, tuweesa Katonda waffe ekitiibwa.