Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 12

Yogera Ebigambo ‘Ebirungi Ebisobola Okuzimba Abalala’

Yogera Ebigambo ‘Ebirungi Ebisobola Okuzimba Abalala’

“Ekigambo ekivundu tekivanga mu kamwa kammwe, wabula ekirungi ekisobola okuzimba abalala.”​—ABEEFESO 4:29.

1-3. (a) Ekimu ku birabo ebirungi Yakuwa bye yatuwa kye kiruwa? Omuntu ayinza atya okukozesa obubi ekirabo ekyo? (b) Tuyinza tutya okukozesa obulungi ekirabo ekyo?

TAATA agulira mutabani we eggaali. Musanyufu okuwa mutabani we ekirabo ekyo. Naye watya singa mutabani we avuga bubi eggaali eyo n’atomera omuntu n’amuleetako obuvune? Taata we awulira atya?

2 Yakuwa ye Mugabi wa “buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukiridde.” (Yakobo 1:17) Ekimu ku birabo bye yatuwa bwe busobozi bw’okwogera. Okwogera kutusobozesa okutegeeza abalala ebyo bye tulowooza n’ebyo ebituli ku mutima. Era ekirabo ekyo kitusobozesa okwogera ebigambo ebizimba abalala era ebibaleetera okuwulira obulungi. Kyokka era bye twogera bisobola okulumya abalala.

3 Kikulu nnyo okulowooza ku ngeri gye tukozesaamu ekirabo eky’okwogera, era Yakuwa atuyigiriza engeri gye tuyinza okukikozesaamu obulungi. Atugamba nti: “Ekigambo ekivundu tekivanga mu kamwa kammwe, wabula ekirungi ekisobola okuzimba abalala nga bwe kiba kyetaagisa, kisobole okuganyula abawuliriza.” (Abeefeso 4:29) Kati ka tulabe engeri gye tusobola okukozesaamu ekirabo ekyo mu ngeri esanyusa Katonda n’engeri gye tusobola okukikozesa okuzzaamu abalala amaanyi.

WEEGENDEREZE ENGERI GY’OKOZESAAMU OLULIMI LWO

4, 5. Ebyo ebiri mu kitabo ky’Engero bituyamba bitya okukimanya nti ebigambo birina amaanyi?

4 Ebigambo birina amaanyi, n’olwekyo tulina okwegendereza ebyo bye twogera n’engeri gye tubyogeramu. Engero 15:4 wagamba nti: “Olulimi olukkakkamu muti gwa bulamu, naye ebigambo ebinyooleddwanyooleddwa bireetera omuntu okuggwaamu essuubi.” Ng’omuti omulungi bwe gusanyusa era bwe gubeera ogw’omugaso eri obulamu, n’ebigambo ebirungi bizzaamu abalala amaanyi. Ku luuyi olulala, ebigambo ebitali bya kisa birumya abalala era bisobola okubamalamu amaanyi.​—Engero 18:21.

Ebigambo ebirungi biweweeza

5 Engero 12:18 wagamba nti: “Ayogera nga tasoose kulowooza, ebigambo bye bifumita ng’ekitala.” Ebigambo ebitali bya kisa bisobola okulumya abalala n’okwonoona enkolagana yaffe nabo. Oboolyawo oyinza okuba ng’ojjukira ekiseera omuntu bwe yayogera naawe mu ngeri etali ya kisa n’engeri ekyo gye kyakuyisaamu. Bayibuli egamba nti: “Ebigambo by’ab’amagezi biwonya.” Ebigambo ebirungi bisobola okuwonya omutima ogumenyese era bisobola okuzzaawo enkolagana wakati w’abo ababa bafunye obutategeeragana. (Soma Engero 16:24.) Bulijjo bwe tukijjukira nti ebigambo byaffe birina kinene kye bikola ku balala, tujja kwegendereza bye twogera.

6. Lwaki tulina okwegendereza engeri gye tukozesaamu olulimi lwaffe?

6 Ensonga endala lwaki tulina okwegendereza engeri gye tukozesaamu olulimi lwaffe eri nti ffenna tetutuukiridde. “Ebirowoozo by’omu mutima gw’omuntu byekubidde ku kukola kibi,” era emirundi mingi ebyo bye twogera biraga ekyo ekituli ku mutima. (Olubereberye 8:21; Lukka 6:45) Kitwetaagisa okufuba ennyo okufuga olulimi lwaffe. (Soma Yakobo 3:2-4.) Wadde kiri kityo, tulina okweyongera okufuba okulongoosa mu ngeri gye twogeramu n’abalala.

7, 8. Ebyo bye twogera bikwata bitya ku nkolagana yaffe ne Yakuwa?

7 Ensonga endala lwaki tulina okwegendereza ebyo bye twogera eri nti tuvunaanyizibwa eri Yakuwa olw’engeri gye tukozesaamu olulimi lwaffe. Yakobo 1:26 wagamba nti: “Omuntu yenna bw’alowoozanga nti asinza Katonda, kyokka n’atafuga lulimi lwe, aba alimbalimba omutima gwe, era okusinza kwe tekugasa.” Bwe tutafaayo ku ngeri gye tukozesaamu olulimi lwaffe, tuyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa.​—Yakobo 3:8-10.

8 N’olwekyo tulina okwegendereza ebyo bye twogera n’engeri gye tubyogeramu. Okusobola okumanya engeri Yakuwa gy’ayagala tukozeseemu olulimi lwaffe, tulina okumanya ebigambo bye tulina okwewala.

EBIGAMBO EBIMALAMU AMAANYI

9, 10. (a) Bigambo ki bangi bye batera okukozesa? (b) Lwaki tulina okwewala okukozesa ebigambo eby’obuwemu?

9 Leero abantu bangi bakozesa ebigambo eby’obuwemu, oba ebitali birongoofu. Bangi bwe basunguwala bakozesa ebigambo ebivuma oba eby’obuwemu nga balowooza nti ekyo kye kijja okuleetera abalala okutegeera engeri gye bawuliramu. Bannakatemba nabo batera okukozesa ebigambo eby’obuwemu olw’okwagala okusesa abalala. Naye omutume Pawulo yagamba nti: “Byonna mubyeggireko ddala: obusungu, ekiruyi, ebikolwa ebibi, okuvuma, n’eby’obuwemu, tebiyitanga mu kamwa kammwe.” (Abakkolosaayi 3:8) Era yagamba nti Abakristaayo balina okwewala “okusaaga okw’obuwemu.”​—Abeefeso 5:3, 4.

10 Yakuwa akyayira ddala ebigambo eby’obuwemu era n’abo abamwagala babikyayira ddala. Ebigambo ebyo si birongoofu. Bayibuli eraga nti “obutali bulongoofu” kye kimu ku ‘bikolwa eby’omubiri.’ (Abaggalatiya 5:19-21) “Obutali bulongoofu” buzingiramu ebibi ebitali bimu, era omuntu bw’akola ekintu ekimu ekitali kirongoofu kiyinza okumuviirako okukola ekirala. Singa omuntu aba n’omuze ogw’okukozesa ebigambo eby’obuwemu naye n’agaana okugulekayo, asobola okugobebwa mu kibiina.​—2 Abakkolinso 12:21; Abeefeso 4:19; laba Ebyongerezeddwako 23.

11, 12. (a) Olugambo kye ki? (b) Lwaki tulina okwewala okwogera eby’obulimba ku balala?

11 Ate era tulina okwewala olugambo. Kya mu butonde okwagala okumanya ebifa ku balala n’okubuulira abalala ebikwata ku mikwano gyaffe oba ab’eŋŋanda zaffe. N’Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka baafangayo okumanya ebikwata ku bakkiriza bannaabwe basobole okumanya engeri gye baali basobola okubayambamu. (Abeefeso 6:21, 22; Abakkolosaayi 4:8, 9) Kyokka bwe tuteegendereza, okwogera ebikwata ku balala kiyinza okuvaamu olugambo. Omuntu ow’olugambo ayinza okulaalaasa ebintu ebitali bituufu oba okwogera ebintu ebitalina kumanyibwa buli omu. Olugambo lusobola okutuleetera okuwaayiriza abalala. Abafalisaayo baawaayiriza Yesu nga bamwogerako ebintu by’ataakola. (Matayo 9:32-34; 12:22-24) Okuwaayiriza abalala kyonoona erinnya lyabwe era kitta emikwano.​—Engero 26:20.

12 Yakuwa ayagala tukozese olulimi lwaffe okuzzaamu abalala amaanyi, so si kuleetawo njawukana. Yakuwa akyawa abo ‘abaleetawo enjawukana mu b’oluganda.’ (Engero 6:16-19) Sitaani ye yasooka okwogera eby’obulimba ku balala. Yayogera eby’obulimba ku Katonda. (Okubikkulirwa 12:9, 10) Leero abantu bangi boogera eby’obulimba ku balala. Naye Abakristaayo tebasaanidde kukola bwe batyo. (Abaggalatiya 5:19-21) N’olwekyo tulina okwegendereza ebyo bye twogera era tulina okusooka okulowooza nga tetunnayogera. Nga tonnabuulira muntu yenna bikwata ku mulala, sooka weebuuze: ‘Bye ŋŋenda okwogera bituufu? Bya kisa? Bizimba? Nnandyagadde omuntu gwe njogerako okuwulira ebyo bye mmwogerako? Nnandiwulidde ntya singa omuntu omulala anjogerako ebintu ng’ebyo?’​—Soma 1 Abassessalonika 4:11.

13, 14. (a) Okuvuma kuyisa kutya abalala? (b) Okuvuma kye ki? Lwaki Abakristaayo basaanidde okwewala okuvuma abalala?

13 Ffenna oluusi n’oluusi tubaako ebintu bye twogera naye oluvannyuma ne tubyejjusa. Kyokka tulina okwewala okuba nga buli kiseera tunoonya ensobi mu balala oba okwogera nabo obubi. Tetusaanidde kuvuma balala. Pawulo yagamba nti: “Mweggyeemu okusiba ekiruyi, okunyiiga, okusunguwala, okuyomba, okuvuma.” (Abeefeso 4:31) Ekigambo “okuvuma” era kisobola okuvvuunulwa nga “ebigambo ebibi,” “ebigambo ebirumya,” oba “ebigambo ebinyiiza.” Okuvuma abalala kibaweebuula era kibaleetera okuwulira nga tebalina mugaso. Okusingira ddala abaana bakosebwa nnyo bwe bavumibwa. N’olwekyo tulina okwegendereza ebigambo bye tukozesa nga twogera nabo.​—Abakkolosaayi 3:21.

14 Okuvuma kwe kwogera ebigambo ng’olina ekigendererwa eky’okulumya omulala. Nga kiba kibi nnyo omuntu okuvuma munne mu bufumbo oba okuvuma abaana be! Omuntu agaana okulekayo omuze ogw’okuvuma agobebwa mu kibiina. (1 Abakkolinso 5:11-13; 6:9, 10) Nga bwe tulabye, bwe twogera ebigambo eby’obuwemu, ebitali bituufu, oba ebitali bya kisa, twonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa awamu n’abalala.

EBIGAMBO EBIZIMBA

15. Bigambo bya ngeri ki ebinyweza enkolagana yaffe n’abalala?

15 Tuyinza tutya okukozesa ekirabo eky’okwogera mu ngeri esanyusa Yakuwa? Wadde nga Bayibuli tetubuulira buli kimu kye tusaanidde okwogera oba kye tutasaanidde kwogera, etugamba okwogera ebigambo ‘ebirungi ebisobola okuzimba’ abalala. (Abeefeso 4:29) Ebigambo ebizimba biba birongoofu, bya kisa, era nga bya mazima. Yakuwa ayagala tukozese olulimi lwaffe okuzzaamu abalala amaanyi. Naye ekyo oluusi tekiba kyangu. Okwogera ebigambo ebitali bya kisa oba ebirumya tekyetaagisa kufuba kwa mangi, naye okwogera ebigambo ebisaana kyetaagisa okufuba okw’amaanyi. (Tito 2:8) Kati ka tulabe engeri gye tuyinza okukozesaamu ebigambo byaffe okuzimba abalala.

16, 17. (a) Lwaki tusaanidde okusiima abalala? (b) Baani be tuyinza okusiima?

16 Yakuwa ne Yesu basiima abalala era tusaanidde okubakoppa. (Matayo 3:17; 25:19-23; Yokaana 1:47) Bwe tuba ab’okusiima abalala tulina okulowooza ku birungi bye bakola. Engero 15:23 wagamba nti: “Ekigambo ekyogerwa mu kiseera ekituufu nga kiba kirungi!” Omuntu bw’atusiima mu bwesimbu olw’ebyo bye tuba tukoze kituzzaamu nnyo amaanyi.​—Soma Matayo 7:12; laba Ebyongerezeddwako 27​.

17 Bw’ofuba okunoonya ebirungi mu balala, kijja kukubeerera kyangu okubasiima. Ng’ekyokulabirako, oboolyawo waliwo omuntu mu kibiina gw’olaba ng’afuba okutegeka obulungi emboozi ze oba ng’afuba okubaako by’addamu mu nkuŋŋaana. Oba wayinza okubaawo omuvubuka afubye okunywerera ku Yakuwa wadde ng’apikirizibwa ku ssomero, oba nnamukadde afuba okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira obutayosa. Bw’osiima abantu ng’abo kibazzaamu nnyo amaanyi. Ate era kikulu omwami okugamba mukyala we nti amwagala era nti asiima by’akola. (Engero 31:10, 28) Ng’ekimera bwe kyetaaga amazzi n’ekitangaala, abantu beetaaga okusiimibwa olw’ebirungi bye bakola. Ekyo kikulu nnyo nnaddala bwe kituuka ku baana. Fubanga okubasiima olw’engeri ennungi ze booleka oba olw’ebirungi bye bakola. Abaana bwe basiimibwa kibazzaamu nnyo amaanyi era kibaleetera okuba abamalirivu okweyongera okukola ekituufu.

Tusobola okuzzaamu abalala amaanyi okuyitira mu bye twogera n’engeri gye tubyogeramu

18, 19. Lwaki tulina okufuba okuzzaamu abalala amaanyi n’okubabudaabuda? Ekyo tuyinza kukikola tutya?

18 Bwe tuzzaamu abalala amaanyi era ne tubabudaabuda, tuba tukoppa Yakuwa. Yakuwa afaayo nnyo ku ‘banaku’ n’abo “abanyigirizibwa.” (Isaaya 57:15) Yakuwa ayagala ‘tuzziŋŋanengamu amaanyi’ era ‘tubudaabudenga abennyamivu.’ (1 Abassessalonika 5:11, 14) Ekyo bwe tufuba okukikola, akiraba era atusiima.

19 Mu kibiina muyinza okubaamu omuntu gw’olaba ng’aweddemu amaanyi oba nga mwennyamivu. Oyinza otya okumuyamba? Oyinza obutasobola kukola ku kizibu kye, naye osobola okukiraga nti omufaako. Ng’ekyokulabirako, oyinza okufunayo akadde okubeerako naye. Osobola okumusomerayo ekyawandiikibwa mu Bayibuli oba okusabirako awamu naye. (Zabbuli 34:18; Matayo 10:29-31) Mukakase nti bakkiriza banne bamwagala. (1 Abakkolinso 12:12-26; Yakobo 5:14, 15) Era yogera naye mu ngeri eraga nti by’oyogera obitegeeza.​—Soma Engero 12:25.

20, 21. Kiki ekiyinza okukifuula ekyangu eri abalala okukkiriza amagezi ge tubawa?

20 Engeri endala gye tuyinza okuzimba abalala kwe kubawa amagezi amalungi. Olw’okuba tetutuukiridde, ffenna oluusi twetaaga okuwabulwa. Engero 19:20 wagamba nti: “Wulirizanga okubuulirirwa era okkirizenga okukangavvulwa, olyoke obe wa magezi.” Abakadde si be bokka abasaanidde okuwa abalala amagezi n’okubawabula. Abazadde beetaaga okuwa abaana baabwe obulagirizi. (Abeefeso 6:4) Ate era ne bannyinaffe basobola okuwaŋŋana amagezi. (Tito 2:3-5) Olw’okuba twagala bakkiriza bannaffe, tusaanidde okubawabula mu ngeri eteebaleetere kuwulira bubi. Ekyo tuyinza kukikola tutya?

21 Oboolyawo ojjukira lwe baakuwa amagezi amalungi mu ngeri eyakifuula ekyangu gy’oli okugakolerako. Lwaki kyakubeerera kyangu okugakolerako? Oboolyawo wakiraba nti oyo eyakuwa amagezi ago yali akufaako. Oba ayinza okuba nga yayogera naawe mu ngeri ey’ekisa era ey’okwagala. (Abakkolosaayi 4:6) Ate era, amagezi ge yakuwa ayinza okuba nga yageesigamya ku Bayibuli. (2 Timoseewo 3:16) Bwe tuba tuwa abalala amagezi, tulina okugeesigamya ku Kigambo kya Katonda. Tetulina kukakaatika ndowooza zaffe ku balala oba okunyoolanyoola ebyawandiikibwa bikwatagane n’endowooza zaffe. Bw’olowooza ku ngeri omuntu oyo gye yakuwaamu amagezi kisobola okukuyamba ng’owa abalala amagezi.

22. Omaliridde kukozesa otya olulimi lwo?

22 Okwogera kirabo okuva eri Katonda. Okwagala kwe tulina gy’ali kusaanidde okutukubiriza okukozesa ekirabo ekyo obulungi. Kijjukire nti ebigambo birina amaanyi agasobola okumenya oba okuzimba abalala. N’olwekyo ka tukole kyonna ekisoboka okukozesa ebigambo byaffe okuzimba abalala n’okubazzaamu amaanyi.