Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 16

Ziyiza Omulyolyomi

Ziyiza Omulyolyomi

“Muziyizenga Omulyolyomi naye anaabaddukanga.”​—YAKOBO 4:7.

1, 2. Kiki kye tulina okumanya ku Sitaani ne badayimooni?

OBULAMU mu nsi ya Katonda empya bujja kuba bulungi nnyo. Kyaddaaki tujja kuba mu bulamu Katonda bwe yali ayagala tubeemu. Naye kati tuli mu nsi efugibwa Sitaani ne badayimooni. (2 Abakkolinso 4:4) Wadde nga tetusobola kubalaba, gyebali era ba maanyi nnyo.

2 Mu ssuula eno, tugenda kulaba engeri gye tuyinza okusigala okumpi ne Yakuwa n’engeri gye tuyinza okuziyiza Sitaani. Yakuwa yasuubiza nti ajja kutuyamba. Kyokka tulina okumanya obukodyo Sitaani ne badayimooni bwe bakozesa nga bagezaako okutukwasa.

ALINGA “EMPOLOGOMA EWULUGUMA”

3. Kiki Omulyolyomi ky’ayagala okutukola?

3 Sitaani agamba nti abantu tebasinza Yakuwa olw’okuba bamwagala era nti singa bafuna ebizibu balekera awo okumuweereza. (Soma Yobu 2:4, 5.) Sitaani ne badayimooni bwe bakiraba nti omuntu ayagala okuyiga ebikwata ku Yakuwa, bagezaako okumulemesa. Kibanyiiza nnyo omuntu bwe yeewaayo eri Yakuwa n’abatizibwa. Bayibuli egamba nti Sitaani alinga ‘empologoma ewuluguma, ng’enoonya gw’eneerya.’ (1 Peetero 5:8) Sitaani ayagala okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa.​—Zabbuli 7:1, 2; 2 Timoseewo 3:12.

Bwe twewaayo eri Yakuwa, kinyiiza Sitaani

4, 5. (a) Kiki Sitaani ky’atasobola kukola? (b) Tuyinza tutya ‘okuziyiza Omulyolyomi’?

4 Naye tetusaanidde kutya Sitaani ne badayimooni. Yakuwa yassaawo ekkomo ku ebyo bye basobola okutukola. Yakuwa yasuubiza nti wajja kubaawo “ekibiina ekinene” eky’Abakristaayo ab’amazima ekijja okuyita mu “kibonyoobonyo ekinene.” (Okubikkulirwa 7:9, 14) Tewali kintu kyonna Mulyolyomi ky’asobola kukola kulemesa ekyo kutuukirira, kubanga Yakuwa akuuma abantu be.

5 Bwe tusigala okumpi ne Yakuwa, Sitaani tasobola kwonoona nkolagana yaffe ne Yakuwa. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Yakuwa ali nammwe singa nammwe muba naye.” (2 Ebyomumirembe 15:2; soma 1 Abakkolinso 10:13.) Abaweereza ba Yakuwa bangi ab’edda, gamba nga Abbeeri, Enoka, Nuuwa, Saala, ne Musa, baaziyiza Omulyolyomi olw’okuba baasigala kumpi ne Yakuwa. (Abebbulaniya 11:4-40) Naffe tusobola okukola kye kimu. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Muziyizenga Omulyolyomi naye anaabaddukanga.”​—Yakobo 4:7.

“TUMEGGANA”

6. Sitaani atulumba atya?

6 Wadde nga Sitaani akimanyi nti Yakuwa yassa ekkomo ku ebyo by’asobola okutukola, afuba okukola kyonna ekisoboka okwonoona enkolagana yaffe ne Katonda. Leero Omulyolyomi atulumba mu ngeri nnyingi, era alina obukodyo bw’azze akozesa okumala enkumi n’enkumi z’emyaka. Obumu ku bukodyo obwo bwe buluwa?

7. Lwaki Sitaani alumba abantu ba Yakuwa?

7 Omutume Yokaana yagamba nti: “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yokaana 5:19) Ensi eno embi eri mu buyinza bwa Sitaani era ayagala n’abantu ba Yakuwa babeere wansi w’obuyinza bwe. (Mikka 4:1; Yokaana 15:19; Okubikkulirwa 12:12, 17) Omulyolyomi akimanyi nti asigazza akaseera katono, bwe kityo akola kyonna ky’asobola okulaba ng’aleetera buli omu ku ffe obutaba mwesigwa eri Katonda. Oluusi Omulyolyomi atulumba butereevu ate emirundi emirala atulumba mu ngeri enneekusifu.

8. Kiki buli Mukristaayo ky’asaanidde okumanya?

8 Abeefeso 6:12 wagamba nti: “Tumeggana . . . n’emyoyo emibi egiri mu bifo eby’omu ggulu.” Buli Mukristaayo ameggana ne Sitaani ne badayimooni. Tulina okukimanya nti abo bonna abeewaayo eri Yakuwa bameggana ne Sitaani ne badayimooni. Mu bbaluwa gye yawandiikira Abeefeso, omutume Pawulo yabakubiriza emirundi esatu ‘okuba abanywevu.’​—Abeefeso 6:11, 13, 14.

9. Kiki Sitaani ne badayimooni kye bafuba okukola?

9 Sitaani ne badayimooni bakozesa obukodyo obutali bumu okugezaako okutuggya ku Yakuwa. Okuba nti tusobodde okuvvuunuka akatego ka Sitaani akamu tekitegeeza nti tetusobola kugwa mu katego ke akalala. Omulyolyomi agezaako okumanya obunafu bwaffe we buli asobole okumanya akatego k’ayinza okukozesa okutukwasa. Naye tusobola okwewala okugwa mu butego bwa Sitaani kubanga Bayibuli etuyamba okubumanya. (2 Abakkolinso 2:11; laba Ebyongerezeddwako 31.) Akamu ku butego obwo by’eby’obusamize.

WEEWALIRE DDALA EBY’OBUSAMIZE

10. (a) Eby’obusamize kye ki? (b) Yakuwa atwala atya eby’obusamize?

10 Eby’obusamize bye bintu ebirimu amaanyi agatali ga bulijjo ebireetera abantu okukolagana ne badayimooni. Ebimu ku bintu ebyo bye bino: obulaguzi, obulogo, oba okugezaako okwogera n’abafu. Bayibuli etugamba nti eby’obusamize ‘bya muzizo’ eri Yakuwa era nti tetusobola kwenyigira mu bya busamize ate mu kiseera kye kimu ne tuba nga tumuweereza. (Ekyamateeka 18:10-12; Okubikkulirwa 21:8) Abakristaayo balina okwewalira ddala eby’obusamize eby’engeri yonna.​—Abaruumi 12:9.

11. Bwe tuba twagala nnyo ebintu ebirimu amaanyi agatali ga bulijjo kiki ekiyinza okututuukako?

11 Sitaani akimanyi nti bwe tuba twagala nnyo ebintu ebirimu amaanyi agatali ga bulijjo, kimubeerera kyangu okutuleetera okwenyigira mu by’obusamize. Okwenyigira mu by’obusamize eby’engeri yonna kyonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa.

SITAANI AGEZAAKO OKUTUBUZAABUZA

12. Sitaani atabulatabula atya endowooza y’abantu?

12 Sitaani era agezaako okutabulatabula endowooza y’abantu. Mpolampola agenda aleetera abantu okubuusabuusa okutuusa lwe batandika okulowooza nti ‘ekirungi kibi, ate ekibi kirungi.’ (Isaaya 5:20) Omulyolyomi aleetera abantu okulowooza nti amagezi agali mu Bayibuli tegakola era nti singa bagaleka basobola okuba abasanyufu.

13. Sitaani agezezzaako atya okuleetera abantu okubuusabuusa?

13 Akamu ku bukodyo Sitaani bw’asinga okukozesa ke k’okuleetera abantu okubuusabuusa. Akakodyo ako akakozesezza okumala ekiseera kiwanvu. Mu lusuku Edeni, yaleetera Kaawa okubuusabuusa bwe yamubuuza nti: “Ddala Katonda yagamba nti temulyanga ku miti gyonna egy’omu lusuku?” (Olubereberye 3:1) Mu kiseera kya Yobu, Sitaani yabuuza Yakuwa mu maaso ga bamalayika nti: “Yobu atiira bwereere Katonda?” (Yobu 1:9) Ate era oluvannyuma lwa Yesu okubatizibwa, Sitaani yamugamba nti: “Bw’oba ng’oli mwana wa Katonda, gamba amayinja gano gafuuke emmere.”​—Matayo 4:3.

14. Sitaani ayinza atya okuleetera abantu okubuusabuusa obanga eby’obusamize bibi?

14 Ne leero Omulyolyomi agezaako okuleetera abantu okubuusabuusa. Agezaako okuleetera abantu okubuusabuusa obanga ddala eby’obusamize bibi, era kino akikola ng’eby’obusamize ebimu abirabisa ng’ebitalina mutawaana gwonna. N’Abakristaayo abamu bagudde mu katego kano. (2 Abakkolinso 11:3) Kati olwo kiki kye tulina okukola tuleme kubuzaabuzibwa? Tusobola tutya okukakasa nti tetugwa mu butego bwa Sitaani? Ka tulabe ebintu bibiri Sitaani by’ayinza okukozesa okutukwasa: eby’okwesanyusaamu n’eby’obujjanjabi.

SITAANI AKOZESA EBINTU BYE TWAGALA

15. Eby’okwesanyusaamu biyinza bitya okutuleetera okwenyigira mu by’obusamize?

15 Leero firimu nnyingi, programu z’oku ttivi, emizannyo gy’oku kompyuta, n’emikutu gya Intaneeti, bibaako ebintu eby’obusamize, eby’obufuusa, n’ebintu ebirala ebyoleka amaanyi agatali ga bulijjo. Abantu bangi balowooza nti ebintu ebyo tebirina mutawaana gwonna era tebakimanyi nti bisobola okubaleetera okukolagana ne badayimooni. Ate era omuntu asobola okwenyigira mu by’obusamize singa akozesa emmunyeenye oba ebibatu okwagala okumanya ebinaabaawo mu maaso, oba singa yeesiba yirizi. Sitaani akweka akabi akali mu kukozesa ebintu ebyo n’abirabisa ng’ebirungi era ebinyuma. Omuntu ayinza okulowooza nti tewali kabi konna kali mu kulaba bintu ebirimu eby’obusamize kasita kiba nti ye tabyenyigiramu. Lwaki endowooza eyo ya kabi?​—1 Abakkolinso 10:12.

16. Lwaki tusaanidde okwewala eby’okwesanyusaamu ebirina akakwate n’eby’obusamize?

16 Sitaani ne badayimooni tebasobola kumanya bye tulowooza. Naye bwe balaba ebyo bye tusalawo ne bye tusalirawo ab’omu maka gaffe, nga mu bino mwe muli n’eby’okwesanyusaamu, basobola okumanya bye twagala n’endowooza gye tulina ku bintu eby’enjawulo. Bwe tusalawo okulaba firimu, okuwuliriza ennyimba, oba okusoma ebitabo ebikwata ku by’obusamize, ku by’obufuusa, ku bantu abalinnyiddwako badayimooni, ku by’obulogo, oba ku bakanywa musaayi, Sitaani ne badayimooni bakimanya nti tuba twagala okumanya ebibakwatako. Era bwe kityo bafuba okulaba nga tweyongerera ddala okwenyigira mu by’obusamize.​—Soma Abaggalatiya 6:7.

17. Sitaani ayinza atya okugezaako okutusuula mu mutego gwe nga tunoonya eby’obujjanjabi?

17 Ate era Sitaani akimanyi nti twagala okuba abalamu obulungi, era kino nakyo agezaako okukikozesa okutusuula mu mutego gwe. Leero abantu bangi batawaanyizibwa obulwadde. Omuntu ayinza okuba ng’agezezzaako okukozesa obujjanjabi obw’enjawulo naye nga tawona. (Makko 5:25, 26) Ayinza okutuuka ekiseera n’aba nga mwetegefu okukkiriza obujjanjabi obw’engeri yonna ne bwe buba nga si bulungi. Naye ffe Abakristaayo tulina okuba abeegendereza tuleme kukozesa bujjanjabi obwekuusa ku ‘by’obulogo.’​—Isaaya 1:13.

Weesige Yakuwa ng’oli mulwadde

18. Bujjanjabi bwa ngeri ki Omukristaayo bw’alina okwewala?

18 Mu Isirayiri ey’edda, waaliwo abaali beenyigira mu ‘by’obulogo.’ Yakuwa yabagamba nti: “Bwe mwanjuluza engalo zammwe, mbakweka amaaso gange, wadde nga musaba essaala nnyingi, siziwuliriza.” (Isaaya 1:15) Kirowoozeeko, Yakuwa yali tasobola kuwuliriza na ssaala zaabwe! Tetwagala kukola kintu kyonna ekiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa n’aba nga tasobola na kutuyamba, naddala nga tuli balwadde. (Zabbuli 41:3) N’olwekyo, bwe wabaawo obujjanjabi bwe twagala okukozesa, tulina okusooka okunoonyereza tulabe obanga tebulina kakwate na bya busamize. (Matayo 6:13) Bwe buba nga bulina akakwate konna n’eby’obusamize tulina okubwewala.​—Laba Ebyongerezeddwako 32.

EMBOOZI EZIKWATA KU BADAYIMOONI

19. Sitaani aleetedde atya abantu bangi okumutya?

19 Wadde ng’abantu abamu balowooza nti Sitaani ne badayimooni tebaliiyo, waliwo bangi abakimanyi nti gye bali olw’ebintu bye bayiseemu mu bulamu. Abantu bangi batya nnyo emyoyo emibi, era bakola obulombolombo obulina akakwate ne badayimooni. Abalala banyumya ku bintu eby’entiisa badayimooni bye bakola abantu, ne kiviirako abantu okutya ennyo badayimooni. Abamu baagala nnyo okuwulira emboozi ezikwata ku badayimooni era baagala nnyo okuzinyumizaako abalala. Emboozi ezo zireetera abantu okutya Omulyolyomi.

20. Tuyinza tutya okusaasaanya obulimba bwa Sitaani?

20 Ate lowooza ku kino: Sitaani ayagala abantu bamutye. (2 Abassessalonika 2:9, 10) Mulimba era amanyi engeri y’okubuzaabuzaamu abantu abeenyigira mu by’obusamize n’abaleetera okukkiriza ebintu ebitali bituufu. Abantu abo bayinza okunyumya ebintu bye balowooza nti baalaba oba nti baawulira. Abantu abalala bwe bagenda beeyongera okunyumya ku bintu ebyo, beeyongera okubisavuwaza. Tetwagala kuyamba Sitaani kusaasaanya bulimba bwe nga tunyumya ku bintu ng’ebyo.​—Yokaana 8:44; 2 Timoseewo 2:16.

21. Mu kifo ky’okunyumya ebikwata ku badayimooni, biki bye tusaanidde okwogerako?

21 Singa omu ku baweereza ba Yakuwa aba yatawaanyizibwako badayimooni, ekyo teyandigenze ng’akinyumiza abalala. Abantu ba Yakuwa tebasaanidde kutiisibwatiisibwa kintu kyonna Sitaani ne badayimooni kye basobola okukola. Mu kifo ky’ekyo, ebirowoozo byabwe balina kubissa ku Yesu n’amaanyi Yakuwa ge yamuwa. (Abebbulaniya 12:2) Yesu teyanyumizanga bayigirizwa be bikwata ku badayimooni. Essira yalissa ku kubuulira mawulire agakwata ku Bwakabaka ne “ku bintu bya Katonda eby’ekitalo.”​—Ebikolwa 2:11; Lukka 8:1; Abaruumi 1:11, 12.

22. Kiki ky’omaliridde okukola?

22 Tetwerabiranga nti Sitaani ky’ayagala kwe kwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Ajja kukola kyonna ekisoboka okulaba ng’ayonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Naye tumanyi obukodyo bwa Sitaani, era tuli bamalirivu okwewala eby’obusamize eby’engeri yonna. Tetujja ‘kuwa Mulyolyomi kakisa konna’ kutunafuya mu by’omwoyo. (Soma Abeefeso 4:27.) Bwe tunaaziyiza Omulyolyomi, tajja kutukwasa mu butego bwe, era Yakuwa ajja kutukuuma.​—Abeefeso 6:11.