‘Mwekuumire mu Kwagala kwa Katonda’

Akatabo kano kajja kukuyamba okweyongera okukolera ku misingi gya Bayibuli era bwe kityo ne weekuumira mu kwagala kwa Katonda.

Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi

Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa kakubiriza bonna abaagala Yakuwa okukoppa Yesu eyasigala mu kwagala kwa Kitaawe.

ESSUULA 1

‘Okwagala Katonda kye Kitegeeza’

Mu bigambo bitono, Bayibuli ennyonnyola engeri gy’oyinza okulaga nti oyagala Katonda.

ESSUULA 2

Oyinza Otya Okuba n’Omuntu ow’Omunda Omulungi?

Kisoboka okuba ng’omuntu ow’omunda tatulumiriza naye nga si muyonjo mu maaso ga Katonda?

ESSUULA 3

Yagala Abo Katonda b’Ayagala

Yakuwa tafuula buli muntu mukwano gwe, naffe bwe twandikoze.

ESSUUULA 4

Lwaki Tusaanidde Okussa Ekitiibwa mu Abo Abatukulembera?

Bayibuli eyogera ku mbeera za mirundi esatu Katonda mw’atukubiririza okussa ekitiibwa mu abo abatukulembera.

ESSUULA 5

Okusigala nga Tweyawudde ku Nsi

Ekigambo kya Katonda kiraga ebintu bitaano bye tulina okukola okulaga nti tetuli ba nsi.

ESSUULA 6

Okulondawo eby’Okwesanyusaamu Ebirungi

Ebibuuzo bisatu ebiyinza okukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi.

ESSUULA 7

Obulamu Obutwala nga bwa Muwendo nga Katonda bw’Abutwala?

Ng’oggyeeko okwewala okutta omuntu, biki ebirala omuntu by’alina okwewala ebiraga nti obulamu abutwala nga bwa muwendo?

ESSUULA 8

Katonda Ayagala Abantu Abayonjo

Bayibuli eyinza okukuyamba okwewala emize egiyinza okukufuula atali muyonjo mu maaso ga Yakuwa.

ESSUULA 9

“Mudduke Ebikolwa Eby’Obugwenyufu!”

Buli mwaka, Abakristaayo bangi nnyo beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Oyinza otya okwewala okugwa mu mutego guno?

ESSUULA 10

Obufumbo—Kirabo Okuva eriKatonda ow’Okwagala

Oyinza otya okweteekerateekera obufumboi? Bw’oba oli mufumbo, biki by’oyinza okukola obufumbo bwo busobole okuwangaala?

ESSUULA 11

“Obufumbo Bubeerenga bwa Kitiibwa”

Ebibuuzo mukaaga by’oyinza okwebuuza ebiyinza okukuyamba okulongoosa obufumbo bwo.

ESSUULA 12

Mwogerenga “Ekirungi Ekisobola Okuzimba Abalala”

By’oyogera biyinza okulumya abalala oba okubazimba. Kozesa ekirabo ky’okwogera nga Yakuwa bw’ayagala.

ESSUULA 13

Emikolo Egitasanyusa Katonda

Emikolo egimu giyinza okulabika ng’egiweesa katonda ekitiibwa naye ng’ate gimunyiiza.

ESSUULA 14

Beera Mwesigwa mu Bintu Byonna

Okusobola okubeera omwesigwa eri abalala waliwo ky’osaanidde okusooka okukola.

ESSUULA 15

Weeyagalire mu Ebyo by’Oteganira

Eby’okuddamu mu bibuuzo bitaano bisobola okukuyamba okusalawo oba onookola omulimu ogumu, oba togukole.

ESSULA 16

Muziyizenga Omulyolyomi n’Enkwe Ze Zonna

Tukimanyi nti Sitaani wa maanyi naye ekyo si kye tumalirako ebirowoozo. Lwaki?

ESUULA 17

“Mwezimbire Ku Musingi ogw’Okukkiriza Kwammwe Okutukuvu Ennyo”

Ebintu bisatu ebiyinza okunyweza okukkiriza kwo n’osigala mu kwagala kwa Katonda.

EBYONGEREZEDDWAKO

Engeri y’Okuyisaamu Omuntu Agobeddwa mu Kibiina

Ddala kyetaagisa okwewalira ddala abantu ng’abo?

EBYONGEREZEDDWAKO

Ddi Lwe Kyetaagisa Okubikka ku Mutwe era Lwaki?

Bayibuli eraga ebintu bisatu by’olina okulowoozaako

EBYONGEREZEDDWAKO

Okukubira Bbendera Saluti, Okulonda Abakulembeze, n’Okukola Emirimu Egitali gya Kijaasi

Byawandiikibwa ki ebiyinza okukuyamba okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo mu nsonga zino?

EBYONGEREZEDDWAKO

Obutundutundu bw’Omusaayi n’Enkola Ezikozesebwa mu Kulongoosa

Bw’eweeteekateeka kati, osobola okwewala okuteekebwamu omusaayi.

EBYONGEREZEDDWAKO

Okuvvuunuka Omuze ogw’Okutigaatiga Ebitundu eby’Ekyama oba Okwemazisa

Oyinza otya okuvvuunuka omuze guno?

EBYONGEREZEDDWAKO

Bayibuli Eyogera ki Kugattululwa n’Okwawukana?

Okusinziira ku Bayibuli, ddi oyo aba agattuluddwa lwaba nga wa ddembe okuddamu okuyingira obufumbo?

EBYONGEREZEDDWAKO

Okugonjoola Obutakkaanya mu Bizineesi

Omukristaayo ayinza okuggulawo omusango ku mukkiriza munne?