Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi
Ow’Oluganda Omwagalwa Ayagala Yakuwa:
Yesu yagamba nti: “Mujja kumanya amazima, era amazima gajja kubafuula ba ddembe.” (Yokaana 8:32) Ng’ebigambo ebyo bizzaamu nnyo amaanyi! Ne mu ‘nnaku zino ez’enkomerero’ enzibu ennyo era ezijjudde obulimba tusobola okutegeera amazima. (2 Timoseewo 3:1) Ojjukira lwe wasooka okutegeera agamu ku mazima agali mu Kigambo kya Katonda? Nga kiteekwa okuba nga kyakusanyusa nnyo!
Kyokka, wadde nga kikulu nnyo okutegeera amazima n’okugabuulirako abalala obutayosa, era tuteekwa okweyisa mu ngeri etuukana n’amazima ago. Okusobola okukola ekyo, kitwetaagisa okwekuumiranga mu kwagala kwa Katonda. Kino kizingiramu ki? Ebigambo Yesu bye yayogera mu kiro ekyasembayo ng’agenda okuttibwa biddamu ekibuuzo ekyo. Yagamba abatume be abeesigwa nti: “Bwe mukwata ebiragiro byange, mujja kusigala mu kwagala kwange, nga nze bwe nkutte ebiragiro bya Kitange ne nsigala mu kwagala kwe.”—Yokaana 15:10.
Weetegereze nti Yesu yasigala mu kwagala kwa Katonda olw’okuba yakwata ebiragiro bye. Ne leero, okusobola okusigala mu kwagala kwa Katonda, tulina okutambulira mu mazima buli lunaku. Mu kiro ekyo kye kimu Yesu yagamba nti: “Bwe mumanya ebintu bino, muba basanyufu bwe mubikola.”—Yokaana 13:17.
Tusuubira nti akatabo kano kajja kukuyamba okweyongera okutambulira mu mazima, mu ngeri eyo osobole okwekuumiranga mu ‘kwagala kwa Katonda okunaabasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.’—Yuda 21.
Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa