ESSUULA 14
Beera Mwesigwa mu Bintu Byonna
“Twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.”—ABEBBULANIYA 13:18.
1, 2. Lwaki Yakuwa asanyuka nnyo bw’alaba nga tufuba okubeera abeesigwa? Waayo ekyokulabirako.
OMUKYALA omu n’omwana omuto we bava mu dduuka. Bwe baba batambula, omwana ayimirira era n’alabika ng’atidde nnyo. Akutte ddole gye yaggye mu dduuka. Teyasabye maama we kugimugulira ate ne yeerabira okugizza we yagiggye. Maama we akiraba nti omwana we anakuwadde nnyo era amubudaabuda oluvannyuma ne baddayo ku dduuka omwana asobole okuzzaayo ddole era n’okwetondera nnannyini dduuka. Maama w’omwana oyo awulira essanyu lingi nnyo okulaba ng’omwana we azzizzaayo ddole era ne yeetondera nnannyini dduuka. Lwaki awulira essanyu lingi?
2 Abazadde basanyuka nnyo abaana baabwe bwe bategeera nti kikulu nnyo okubeera abeesigwa. Ne Yakuwa Kitaffe ow’omu ggulu, “Katonda omwesigwa,” asanyuka nnyo bw’atulaba nga tukulaakulana mu by’omwoyo era nga tufuba abeesigwa mu bintu byonna. (Zabbuli 31:5) Olw’okuba twagala okumusanyusa era n’okusigala mu kwagala kwe, twoleka endowooza omutume Pawulo gye yalina. Yagamba nti: “Twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.” (Abebbulaniya 13:18) Kati ka tulabeyo embeera nnya mwe kiyinza okutubeerera ekizibu okubeera abeesigwa. Ate oluvannyuma tujja kwogera ku miganyulo egiva mu kubeera abeesigwa.
OKWEKEBERA MU BWESIMBU
3-5. (a) Ekigambo kya Katonda kitulabula kitya ku kabi akali mu kwerimbalimba? (b) Kiki ekinaatuyamba okwekebera mu bwesimbu?
3 Ekintu ekisooka, kwe kwekebera mu bwesimbu. Kyangu nnyo abantu abatatuukiridde okwerimbalimba. Ng’ekyokulabirako, Yesu yagamba Abakristaayo ab’omu Lawodikiya nti baali beerimba okulowooza nti baali bagagga, ng’ate mu butuufu, baali ‘baavu, baali bazibe b’amaaso era baali bwereere’ mu by’omwoyo. Embeera gye baalimu nga yali mbi nnyo! (Okubikkulirwa 3:17) Kyokka, okwerimbalimba kwafuula embeera gye baalimu okuba embi ennyo n’okusingawo.
4 Omuyigirizwa Yakobo yagamba nti: “Omuntu yenna bw’alowoozanga nti asinza Katonda, kyokka n’atafuga lulimi lwe, aba alimbalimba omutima gwe, era okusinza kwe tekugasa.” (Yakobo 1:26) Bwe tulowooza nti tusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima kyokka nga tukozesa bubi olulimu lwaffe, tuba twerimba. Okusinza kwaffe kuba tekugasa, era tuba tumala biseera. Kiki ekiyinza okutuyamba okwewala ekintu ng’ekyo okubaawo?
5 Mu nnyiriri eziriraanyeewo, Yakobo ageraageranya ekigambo kya Katonda ku ndabirwamu. Atukubiriza okutunula mu mateeka ga Katonda agatuukiridde era tukole n’enkyukakyuka ezeetaagisa. (Soma Yakobo 1:23-25.) Bayibuli esobola okutuyamba okwekebera mu bwesimbu era n’okumanya we twetaaga okulongoosaamu. (Okukungubaga 3:40; Kaggayi 1:5) Era tusobola okusaba Yakuwa atukebere, era atuyambe okutegeera obunafu bwaffe n’engeri gye tuyinza okubuvvuunuka. (Zabbuli 139:23, 24) Obutaba beesigwa kibi nnyo mu maaso ga Yakuwa n’olwekyo tulina okukyewalira ddala. Engero 3:32 lugamba nti: “Yakuwa akyayira ddala omuntu omukuusa, naye abagolokofu abafuula mikwano gye egy’oku lusegere.” Yakuwa asobola okutuyamba okuba n’endowooza ng’eyiye era n’okweraba nga ye bw’atulaba. Kijjukire nti Pawulo yagamba nti: “Twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.” Wadde nga tetutuukiridde, tusaanidde okufuba okubeera abeesigwa.
OBWESIGWA MU MAKA
6. Lwaki omwami n’omukyala buli omu asaanidde okubeera omwesigwa eri munne era bintu ki bye basaanidde okwewala?
6 Obwesigwa kintu kikulu nnyo mu maka Amakristaayo. N’olwekyo, omwami n’omukyala, buli omu talina kubaako ky’akweka munne. Abafumbo Abakristaayo bateekwa okwewala empisa embi ezirumya bannaabwe gamba ng’okuzannyirira n’omuntu gwe batafaananya kikula atali munnaabwe mu bufumbo, okuba n’enkolagana n’omuntu mu bubba okuyitira ku Intaneeti, oba okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Abafumbo abamu Abakristaayo bakola ebintu ebibi ng’ebyo kyokka ne babikweka bannaabwe mu bufumbo. Omuntu akola ebintu ng’ebyo taba mwesigwa. Kabaka Dawudi eyali omwesigwa yagamba nti: “Sibeera na bantu balimba, era nneewala abo abakweka kye bali.” (Zabbuli 26:4) N’olwekyo bw’oba oli mufumbo, tokwekanga munno bintu by’okola.
7, 8. Byakulabirako ki ebiri mu Bayibuli ebisobola okuyamba abaana okutegeera nti kikulu nnyo okubeera abeesigwa?
7 Kiba kirungi abazadde okukozesa ebyokulabirako ebiri mu Bayibuli nga bayigiriza abaana baabwe ensonga lwaki kikulu nnyo okubeera abeesigwa. Waliwo abantu abataali beesigwa, gamba nga Akani, eyabba n’agezaako Yoswa 6:17-19; 7:11-25; 2 Bassekabaka 5:14-16, 20-27; Matayo 26:14, 15; Yokaana 12:6.
okukwekerera kye yali akoze; Gekazi, eyalimba asobole okufuna eby’obugagga; ne Yuda, eyali omubbi era eyalyamu Yesu olukwe.—8 Ku luuyi olulala, waliwo abassaawo ekyokulabirako ekirungi, gamba nga Yakobo, eyakubiriza batabani be okuzzaayo ssente ze baali basanze mu nsawo zaabwe kubanga yalowooza nti ziyinza okuba nga zaateekebwamu mu butanwa. Omulala ye Yefusa ne muwala we eyeefiiriza ennyo asobole okukolera ku ekyo kitaawe kye yali yeeyamye, n’ekya Yesu ataatya kweraga eri ekibiina ky’abantu abaali abakambwe asobole okutuukiriza obunnabbi n’okukakasa nti mikwano gye tegituusibwako kabi. (Olubereberye 43:12; Ekyabalamuzi 11:30-40; Yokaana 18:3-11) Ebyo bye bimu ku byokulabirako ebiri mu Kigambo kya Katonda ebiyinza okuyamba abazadde okuyigiriza abaana baabwe okutwala obwesigwa ng’ekintu ekikulu ennyo.
9. Kiki abazadde kye basaanidde okwewala bwe baba ab’okuteerawo abaana baabwe ekyokulabirako ekirungi mu kubeera abeesigwa, era lwaki ekyo kikulu nnyo?
9 Abazadde basaanidde okuteerawo abaana baabwe ekyokulabirako ekirungi. Omutume Pawulo yabuuza nti: “Kale ggwe ayigiriza omulala, teweeyigiriza wekka? Ggwe ayigiriza nti, ‘Tobbanga,’ obba?” (Abaruumi 2:21) Abaana abamu batabulwa bazadde baabwe bwe babayigiriza nti kikulu okubeera abeesigwa kyokka nga bo abazadde si beesigwa. Bayinza okwekwasa nti si kibi okubba obuntu obutonotono n’okulimba mu busonga obutonotono. Mu butuufu, tetusaanidde kubba kintu kyonna, ka kibe kitono oba kinene, era tetusaanidde kulimba mu ngeri yonna. * (Soma Lukka 16:10.) Abaana balaba mangu obunnanfuusi ng’obwo era bwe bakula kiyinza okubaviirako obutaba beesigwa. (Abeefeso 6:4) Kyokka singa bayigira ku bazadde baabwe okuba abeesigwa, bajja kuweesa Yakuwa ekitiibwa nga bakuze mu nsi eno ejjudde abantu abatali beesigwa.—Engero 22:6.
OBWESIGWA MU KIBIINA
10. Biki bye tusaanidde okwewala nga twogera ne bakkiriza bannaffe?
10 Tusaanidde okwoleka obwesigwa nga tuli wamu ne Bakristaayo bannaffe. Nga bwe twayiga mu Ssuula 12, tulina okwegendereza nga tukozesa olulimi lwaffe, naddala nga twogera ne baganda baffe mu kibiina. Bwe tuba tunyumya kiba kyangu okwogera obubi ku balala oba okubasalaganyaako ebigambo. Singa twogera ebintu bye tuteekakasa, kiyinza okutuviirako okusaasaanya ebintu eby’obulimba, n’olwekyo kirungi nnyo okwegendereza bye twogera. (Engero 10:19) Ku luuyi olulala, ekintu ne bwe kiba nga kituufu, kiba tekitegeeza nti tulina okukyogerako. Ng’ekyokulabirako, ekintu kiyinza okuba nga tekitukwatako, oba nga kiyisa bubi omulala. (1 Abassessalonika 4:11) Abamu boogera ebigambo ebirumya abalala kyokka ne beekwasa nti kye boogedde ge mazima, naye ebigambo byaffe bulijjo bisaanidde okuba ebirungi era nga bya kisa.—Soma Abakkolosaayi 4:6.
11, 12. (a) Abamu abakola ebibi eby’amaanyi bayinza kukola ki? (b) Bulimba ki Sitaani bw’atumbula ku bikwata ku bibi eby’amaanyi, era tuyinza tutya okubulwanyisa? (c) Tuyinza tutya okuba abeesigwa eri ekibiina kya Yakuwa?
Zabbuli 12:2) Abamu bwe baba boogera n’abakadde tebababuulira kalonda yenna akwata ku ekyo kye baba bakoze. (Ebikolwa 5:1-11) Emirundi mingi ekiviirako ekyo kwe kukkiriza obulimba bwa Sitaani.—Laba akasanduuko “ Ebintu eby’Obulimba Sitaani by’Ayagala Okkirize,” ku lupapula 164-165.
11 Kikulu nnyo okuba abeesigwa eri abo abatwala obukulembeze mu kibiina. Abamu bwe bakola ekibi eky’amaanyi bagezaako okukikweka era n’okulimba abakadde nga bababuuzizza ebikwata ku kibi ekyo. Abantu ng’abo baba batambulira mu bulamu bwa mirundi ebiri, nga beeyita abaweereza Yakuwa ate ng’eno bwe bakola ebibi eby’amaanyi. Mu butuufu, abo abakola bwe batyo baba balimba. (12 Era kikulu nnyo okuba abeesigwa eri ekibiina kya Yakuwa nga tulina bye tuddamu mu buwandiike. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba nga tuwandiika lipoota yaffe ey’obuweereza, tetulina kulimba. Mu ngeri y’emu, bwe tuba tujjuzaamu foomu ekwata ku nkizo emu ey’obuweereza, tulina okwewalira ddala okujjuzaamu eby’obulimba ku mbeera y’obulamu bwaffe oba ku bintu ebirala ebitukwatako.—Soma Engero 6:16-19.
13. Tuyinza tutya okuba abeesigwa nga tukozesa oba nga tukolera mukkiriza munnaffe?
13 Okuba abeesigwa eri bakkiriza bannaffe kizingiramu n’ensonga za bizineesi. Oluusi ab’oluganda Abakristaayo bayinza okukolera awamu bizineesi. Kyokka bwe baba ku Kizimbe ky’Obwakabaka oba nga babuulira tebasaanidde kwogera ku nsonga ng’ezo. Ow’oluganda omu ayinza okuba ng’akozesa abalala. Bwe tuba nga tulina ab’oluganda be tukozesa, tulina okuba abeesigwa gye bali, nga tetulwawo kubasasula, era nga tubasasula ssente zennyini ze twalagaana, era nga tubawa n’ensako yonna gye twakiriziganyaako oba eyeetaagisibwa mu mateeka. (1 Timoseewo 5:18; Yakobo ) Mu ngeri y’emu, singa ffe tuba tukozesebwa ow’oluganda, tulina okukola omulimu oguba gutwetaagisibwa. ( 5:1-42 Abassessalonika 3:10) Tetwandisuubidde kuyisibwa mu ngeri ya njawulo olw’okuba oyo atukozesa mukkiriza munnaffe, nga gy’obeera nti ateekeddwa okutuleka ne tutakola nnaku ezimu, okutuwa ensako, oba ebintu ebirala ebitaweebwa bakozi balala.—Abeefeso 6:5-8.
14. Singa Abakristaayo bakolera wamu bizineesi, misingi ki gye basaanidde okugoberera, era lwaki?
14 Watya singa okola bizineesi n’ow’oluganda oba singa omu ku mmwe awola munne ssente? Bayibuli erimu omusingi gwe tusaanidde okukolerako: Buli kimu mukiteeke mu buwandiike! Ng’ekyokulabirako, Yeremiya bwe yagula ennimiro, endagaano yakolebwa era n’eggibwamu kopi, waaliwo n’abajulizi era endagaano eyo yaterekebwa bulungi. (Yeremiya 32:9-12; laba ne Olubereberye 23:16-20.) Bw’oba olina bizineesi gy’okola ne bakkiriza banno, okuteeka ebintu byonna mu buwandiike, n’ossa omukono ku biwandiiko ebyo mu maaso g’abajulizi tekitegeeza nti temwesigaŋŋana. Wabula, kiba kiyamba okwewala obutategeeragana oba enjawukana. Abakristaayo abakolera awamu bizineesi basaanidde okukijjukira nti bizineesi yaabwe tesaanidde kutabangula mirembe gya kibiina. *—1 Abakkolinso 6:1-8.
OBWESIGWA MU NSI
15. Yakuwa awulira atya abantu bwe bataba beesigwa mu bizineesi, era Abakristaayo balina kuba na ndowooza ki ku butali bwesigwa mu bizineesi?
15 Omukristaayo tasaanidde kubeera mwesigwa mu kibiina mwokka. Pawulo yagamba nti: “Twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.” (Abebbulaniya 13:18) Bwe kituuka ku ngeri gye tuddukanyaamu bizineesi zaffe, Omutonzi waffe ayagala nnyo tubeere beesigwa. Mu kitabo ky’Engero, minzaani ey’obulimba eyogerwako emirundi egiwerako. (Engero 11:1; 20:10, 23) Mu biseera by’edda, kyali kya bulijjo abantu okukozesa minzaani mu bizineesi okupima ebintu ebyagulibwanga era n’okupima ssente ezaakozesebwanga okubigula. Abasuubuzi abataali beesigwa baakozesanga ebipima bya mirundi ebiri okusobola okubba abo be baagulangako oba be baaguzanga ebintu. * Ebikolwa ng’ebyo Yakuwa abikyawa! Okusobola okusigala mu kwagala kwe, tuteekwa okwewalira ddala obutali bwesigwa obw’engeri yonna.
16, 17. Bikolwa ki ebitali bya bwesigwa ebicaase mu nsi leero, naye Abakristaayo ab’amazima bamalirivu kukola ki?
16 Okuva bwe kiri nti Sitaani ye mufuzi w’ensi eno, tekitwewuunyisa nti abantu abasinga obungi si beesigwa. Buli lunaku tusobola okukemebwa okweyisa mu ngeri etali ya bwesigwa. Abantu abamu bwe baba basaba emirimu, batera okulimba ku ebyo ebikwata ku bumanyirivu bwe balina era bajingajinga ebiwandiiko eby’obuyigirize bwabwe. Abantu bwe baba bajjuzaamu foomu ezikwata ku kusengukira mu nsi endala, ku misolo, ku yinsuwa ne ku bintu ebirala ng’ebyo, batera okuwandiika eby’obulimba basobole okufuna bye baagala. Abayizi bangi bakoppa mu bigezo, oba bagenda ku Intaneeti ne bakoppayo ebyo omuntu omulala bye yakola ne balimba nti be babikoze. Era abantu batera okuwa abakungu enguzi basobole okufuna kye baagala. Ebintu nga bino tubisuubira okubeera mu nsi ejjudde abantu ‘abeeyagala bokka, abaagala ssente, abatayagala bulungi.’—2 Timoseewo 3:1-5.
17 Abakristaayo ab’amazima bamalirivu obutakola bintu ng’ebyo. Ekikifuula ekizibu ennyo okubeera omwesigwa leero kwe kuba nti abo abakola ebintu ebitali bya bwesigwa balabika ng’abakulaakulana era ng’abali obulungi mu nsi Zabbuli 73:1-8) Ate bo Abakristaayo bayinza okuba n’obuzibu mu by’enfuna kubanga baagala okusigala nga beesigwa “mu bintu byonna.” Kati olwo kya muganyulo okubeera omwesigwa? Awatali kubuusabuusa kya muganyulo! Ka tulabe emiganyulo egiri mu kubeera abeesigwa?
ey’akakyo kano. (EMIGANYULO EGIRI MU KUBEERA OMWESIGWA
18. Lwaki kya muganyulo nnyo okumanyibwa ng’omuntu omwesigwa?
18 Okumanyibwa ng’omuntu omwesigwa, era ow’amazima kya muganyulo nnyo. (Laba akasanduuko “ Ndi Mwesigwa Kwenkana Wa?” ku lupapula 167.) Okubeera omwesigwa tekisinziira ku bitone bye tulina, ku bya bugagga bye tulina, endabika yaffe, ekitundu gye twakulira, oba ku bintu ebirala ebiri ng’ebyo. N’olwekyo omuntu yenna asobola okubeera omwesigwa. Wadde kiri kityo, bangi balemererwa okubeera abeesigwa. (Mikka 7:2) Kyo kituufu nti abamu bayinza okukujerega olw’okubeera omwesigwa, naye abalala bajja kukusiima, era n’ekinaavaamu bajja kukussaamu ekitiibwa era bakwesige. Bangi ku Bajulirwa ba Yakuwa baganyuddwa olw’okubeera abeesigwa. Basigadde ku mirimu gyabwe ng’abakozi abatali beesigwa bagobebwa, oba bafunye emirimu olw’okuba beesigwa.
19. Miganyulo ki emirala gye tufuna bwe tubeera abeesigwa?
19 K’obe ng’oganyuddwa mu ngeri eyo oba nedda, okuba omwesigwa kirimu emiganyulo egisinga ne ku egyo. Ojja kuba n’omuntu ow’omunda omulungi. Pawulo yagamba nti: “Tumanyi nti tulina omuntu ow’omunda omuyonjo.” (Abebbulaniya 13:18) Okugatta ku ekyo, Kitaffe ow’omu ggulu akiraba nti tufuba okubeera abeesigwa, era ayagala abantu abeesigwa. (Soma Zabbuli 15:1, 2; Engero 22:1.) Mazima ddala, okubeera omwesigwa kikuyamba okusigala mu kwagala kwa Katonda, era eyo ye mpeera esingayo obukulu gye tuyinza okufuna. Kati ka twekenneenye ensonga endala ekwatagana n’eno: Engeri Yakuwa gy’atunuuliramu emirimu.
^ lup. 9 Singa omuntu aba n’omuze ogw’okulimba—ng’alina ekiruubirirwa eky’okulumya abalala mu bugenderevu—kiyinza okwetaagisa akakiiko k’abakadde okutunula mu nsonga eyo.
^ lup. 14 Ku bikwata ku ekyo ekisaanidde okukolebwa singa mufuna ebizibu mu bizineesi yammwe, laba Ebyongerezeddwako, “ku lupapula 222-223.
^ lup. 15 Ekipima ekimu baakikozesanga mu kugula ebintu ate ekirala mu kutunda, nga buli kimu kiganyula bo bennyini. Era baakozesanga minzaani ng’oluuyi olumu luwanvu oba luzito okusinga olulala basobole okubba abo be baaguzanga oba be baagulangako ebintu.